Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ANI AYINZA OKUTUBUDAABUDA?

Engeri Katonda gy’Atubudaabudamu

Engeri Katonda gy’Atubudaabudamu

Omutume Pawulo yagamba nti Yakuwa * ye “Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Abakkolinso 1:3, 4) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti buli omu ku ffe Katonda asobola okumuyamba era nti Kitaffe oyo ow’omu ggulu asobola okutubudaabuda, ne bwe tuba nga tufunye ekizibu eky’amaanyi ennyo.

Naye tulina okubaako kye tukolawo bwe tuba nga twagala Katonda atubudeebude. Omusawo tasobola kutuyamba okuggyako nga tukoze enteekateeka ne tugenda ne tumulaba. Nnabbi Amosi yabuuza nti: “Ababiri bayinza okutambulira awamu nga tebamaze kulagaana kusisinkana?” (Amosi 3:3) N’olwekyo, Ebyawandiikibwa bitukubiriza nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”​—Yakobo 4:8.

Tukakasa tutya nti Katonda ajja kutusemberera? Ekisooka, emirundi mingi Ebyawandiikibwa biraga nti Katonda ayagala okutuyamba. (Laba ebiri mu  kasanduuko ku lupapula 5.) Eky’okubiri, waliwo abantu abawa obujulizi nti Katonda yababudaabuda nga bali mu buzibu. Abamu baaliwo mu biseera eby’edda, ate abalala ba mu kiseera kino.

Okufaananako abantu bangi leero, Kabaka Dawudi yafuna ebizibu bingi, era yasaba Katonda amuyambe. Lumu yeegayirira Yakuwa nti: “Wulira okuwanjaga kwange nga nkusaba onnyambe.” Yakuwa yamuyamba? Yamuyamba, kubanga Dawudi yagattako nti: “Annyambye, era omutima gwange gujaguza.”​—Zabbuli 28:2, 7.

ENGERI YESU GY’ABUDAABUDAMU ABANTU ABALINA EBIZIBU

Katonda yawa Yesu obuvunaanyizibwa obw’okubudaabuda abantu. Obuvunaanyizibwa obwo buzingiramu ‘okusiba ebiwundu by’abo abalina emitima egimenyese’ awamu ‘n’okubudaabuda abo bonna abakungubaga.’ (Isaaya 61:1, 2) Yesu yafangayo nnyo ku bantu abaali ‘bategana era nga bazitoowereddwa.’​—Matayo 11:28-30.

Yesu yabudaabunganga atya abantu? Yabawanga amagezi amalungi, yabayisanga mu ngeri ey’ekisa, era abamu yabawonya endwadde. Lumu omugenge yamugamba nti: “Bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.” Yesu yamukwatirwa ekisa, era n’amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.” (Makko 1:40, 41) Omugenge oyo yawona.

Leero Omwana wa Katonda taliiwo wano ku nsi kutubudaabuda, naye kitaawe Yakuwa, “Katonda ow’okubudaabuda kwonna,” akyayamba abo abali mu bwetaavu. (2 Abakkolinso 1:3) Ka tulabe ebintu bina Katonda by’akozesa okutubudaabuda.

  • Bayibuli. “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.”​—Abaruumi 15:4.

  • Omwoyo Omutukuvu. Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, ekibiina Ekikristaayo kyali mu mirembe. Lwaki? “Kyali kitambulira mu kutya Yakuwa era nga kibudaabudibwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu.” (Ebikolwa 9:31) Omwoyo mutukuvu gwa maanyi nnyo, era Katonda asobola okugukozesa okubudaabuda omuntu yenna ali mu mbeera enzibu.

  • Okusaba. Bayibuli egamba nti: ‘Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mutegeezenga Katonda bye mwetaaga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.’​—Abafiripi 4:6, 7.

  • Bakristaayo Bannaffe basobola okutubudaabuda nga tuli mu buzibu. Omutume Pawulo yagamba nti Bakristaayo banne ‘baamuzzaamu nnyo amaanyi’ bwe yali ‘ayolekagana n’ebizibu era ng’abonaabona.’​—Abakkolosaayi 4:11; 1 Abassessalonika 3:7.

Naye oyinza okuba nga weebuuza obanga ddala ebintu ebyo biyamba. Ka tulabe ebyokulabirako by’abantu abaafuna ebizibu bye twayogeddeko ku ntandikwa. Engeri Katonda gye yababudaabudamu ejja kukulaga nti akyatuukiriza ekisuubizo kye ekigamba nti: “Nga maama bw’abudaabuda omwana we, nange bwe ntyo bwe ndibabudaabuda.”​—Isaaya 66:13.

^ lup. 3 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.