Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ANI AYINZA OKUTUBUDAABUDA?

Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu

Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu

Abantu bafuna ebizibu ebitali bimu, era tetusobola kubyogerako byonna mu kitundu kino. Naye ka twetegereze ebyo eby’emirundi ena bye twayogeddeko ku ntandikwa. Weetegereze engeri Katonda gye yabudaabudamu abantu abaalina ebizibu ebyo.

BW’OBA TOLINA MULIMU

“Nnatandika obutanyooma mulimu gwonna, era twalekera awo okusaasaanya ssente ku bintu ebiteetaagisa.”​—Jonathan

Seth * agamba nti: “Nze ne mukyala wange twafiira emirimu gyaffe mu kiseera kye kimu. Okumala emyaka ebiri, ab’eŋŋanda zaffe be baabutuwanga obusente bwe twakozesanga, ate oluusi twafunangayo n’obulimu obutonotono. Embeera eyo yanakuwaza nnyo mukyala wange era nange yandeetera okuwulira nga sikyalina mugaso.

“Kiki ekyatuyamba mu mbeera eyo enzibu? Mukyala wange yalowoozanga nnyo ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:34. Mu lunyiriri olwo, Yesu yagamba nti tetusaanidde kweraliikirira bya nkya, kubanga buli lunaku luba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. Yasabanga Yakuwa, era ekyo kyamuyamba nnyo. Ate nze ebigambo ebiri mu Zabbuli 55:22 byannyamba nnyo. Nange omugugu gwange nnagutikka Yakuwa ng’omuwandiisi wa zabbuli eyo bwe yakola, era Yakuwa yannyamba. Wadde kati nnina omulimu, nze ne mukyala wange tussa mu nkola amagezi Yesu ge yawa mu Matayo 6:20-22, ne tutaluubirira kufuna bintu bingi. N’ekisinga obukulu, tufubye okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, era naffe omukwano gwaffe gweyongedde okunywera.

Jonathan agamba nti: “Embeera y’eby’enfuna bwe yagootaana mu nsi yaffe, bizineesi yaffe eyali emaze emyaka 20 yagwa. Ekyo kyandeetera okweraliikirira ennyo era nze ne mukyala wange twatandika okufuna obutategeeragana. Twali tetukyasobola na kwewola bintu olw’okutya nti tetujja kusobola kusasula.

“Naye ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe omutukuvu byatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Nnatandika obutanyooma mulimu gwonna, era twalekera awo okusaasaanya ssente ku bintu ebiteetaagisa. Olw’okuba tuli Bajulirwa ba Yakuwa, bakkiriza bannaffe nabo baatuyamba nnyo. Baatugumyanga, era embeera bwe yabanga ezibuwadde, baatuwanga obuyambi bwe twabanga twetaaga.”

OBUFUMBO BWE BUSATTULUKUKA

Raquel agamba nti: “Omwami wange bwe yandekaawo kyannuma nnyo, era nnawulira ng’obusungu bujula okunzita. Naye Katonda yambudaabuda. Nnamusabanga buli lunaku era yampa emirembe. Yannyiga ebiwundu bye nnalina ku mutima.

“Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, kyannyamba okufuga obusungu. Nnakolera ku bigambo by’omutume Pawulo ebiri mu Abaruumi 12:21 awagamba nti: ‘Tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi, naye wangulanga ebintu ebibi ng’okola ebirungi.’

“Wabaawo ekiseera lwe kyetaagisa okwesonyiwa ekintu. . . . Kati nnina ebiruubirirwa ebirala mu bulamu.”​—Raquel

“Waliwo mukwano gwange eyampa amagezi agannyamba ennyo. Yandaga Omubuulizi 3:6 n’aŋŋamba nti wabaawo ekiseera lwe kyetaagisa okwesonyiwa ekintu. Amagezi ago tegaali mangu kugoberera, naye gaali malungi. Kati nnina ebiruubirirwa ebirala mu bulamu bwange.”

Elizabeth agamba nti: “Obufumbo bwo bwe busattulukuka, oba weetaaga okubudaabudibwa. Nnina mukwano gwange eyambudaabuda ennyo. Yakaabiranga wamu nange, yaŋŋumyanga, era yandaga okwagala kungi. Ndi mukakafu nti Yakuwa ye yamukozesa okumbudaabuda.”

BW’OBA NG’OLI MULWADDE OBA NG’OKADDIYE

“Bwe mmala okusaba, mpulira ng’omwoyo gwe gumpadde amaanyi.”​—Luis

Luis gwe twayogeddeko mu kitundu ekyasoose mulwadde wa mutima, era emirundi ebiri yabulako katono okufa. Takyasobola kussa bulungi era alina okubeera ku kyuma kya oxygen okumala essaawa 16 buli lunaku. Agamba nti: “Nsaba Yakuwa buli kiseera era bwe mmala okusaba, mpulira ng’omwoyo gwe gumpadde amaanyi. Okusaba kunnyamba ogumira embeera gye ndimu kubanga ndi mukakafu nti Yakuwa anfaako.”

Ate ye Petra atemera mu myaka 80 agamba nti: “Waliwo ebintu bingi bye njagala okukola naye sisobola kubikola. Kimpisa bubi okulaba ng’amaanyi gange gagenda gakendeera. Mpulira ng’obulamu bukendedde era kati eddagala lye limbeesaawo. Ntera okulowooza ku bigambo bya Yesu bwe yasaba Kitaawe nti bwe kiba kisoboka aggyewo ekizibu ekyali kimwolekedde. Yakuwa yawa Yesu amaanyi, era nange ampa amaanyi. Okusaba buli lunaku kinzizaamu nnyo amaanyi. Bwe mmala okwogera ne Yakuwa nfuna obuweerero.”​—Matayo 26:39.

Julian amaze emyaka ng’asatu ng’alumizibwa obulwadde obuyitibwa multiple sclerosis alina endowooza y’emu. Agamba nti: “Kati ntambulira mu kagaali, naye obulamu bwange bulina ekigendererwa olw’okuba nfuba okuyamba abalala. Okuyamba abalala kuleeta essanyu era ne Yakuwa atuwa amaanyi buli lwe tuba tugeetaaga. Nange mpulira ng’omutume Pawulo eyagamba nti: ‘Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.’”​—Abafiripi 4:13.

BW’OFIIRWA OMUNTU WO

Antonio agamba nti: “Bwe nnawulira nti taata afunye akabenje, saasooka kukikkiriza. Nnawulira nga si kya bwenkanya, kubanga yali atambula, emmotoka n’emulumba ebbali n’emukooma. Naye nnali sirina kye nnyinza kukolawo. Taata yamala ennaku ttaano mu ddwaliro nga tategeera era oluvannyuma n’afa. Nnafuba okwegumya ne sikaaba nga maama andaba, naye bwe nnali nzekka nnakaaba nnyo era ne nneebuuza ebibuuzo bingi.”

“Mu kiseera ekyo ekizibu ennyo nnasaba nnyo Yakuwa angumye, era nnagenda nguma mpolampola. Nnajjukira Bayibuli ky’egamba nti ‘ebintu ebitasuubirwa’ bisobola okutuuka ku muntu yenna. Ndi mukakafu nti taata ajja kuzuukira nziremu okumulaba, kubanga Katonda talimba.”​—Omubuulizi 9:11; Yokaana 11:25; Tito 1:2.

“Wadde nga mutabani waffe yafa, waliwo ebintu ebirungi bingi bye tumujjukirako ebituleetera essanyu.”​—Robert

Robert eyayogeddwako mu kitundu ekisoose naye agamba nti: “Nze ne mukyala wange Maribel twasaba Yakuwa era twafuna emirembe egyogerwako mu Abafiripi 4:6, 7. Ekyo kyatuyamba okubuulira bannamawulire ku ssuubi ery’okuzuukira. Wadde nga mutabani waffe yafa, waliwo ebintu ebirungi bingi bye tumujjukirako ebituleetera essanyu. Ebirowoozo byaffe tufuba okubissa ku bintu ebyo.

“Bakkiriza bannaffe bwe baatugamba nti baatulaba ku ttiivi nga tunnyonnyola bannamawulire essuubi ery’okuzuukira, kyokka nga tuli bakkakkamu, twabagamba nti Yakuwa yawulira essaala zaabwe n’atuwa amaanyi. Ndi mukakafu nti Yakuwa yatubudaabuda okuyitira mu bubaka obungi obukubagiza ab’oluganda bwe baatuweereza.”

Ebyokulabirako ebyo biraga nti Katonda abudaabuda abantu abalina ebizibu ebitali bimu. Naawe asobola okukubudaabuda. K’obe ng’ofunye kizibu ki, Yakuwa asobola okukuyamba. * N’olwekyo mweyune, kubanga ye “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.”​—2 Abakkolinso 1:3.