Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ganyulwa mu Bujjuvu mu Bintu Yakuwa by’Atuwa

Ganyulwa mu Bujjuvu mu Bintu Yakuwa by’Atuwa

“Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa.”​—IS. 48:17.

ENNYIMBA: 117, 114

1, 2. (a) Abajulirwa ba Yakuwa batwala batya Bayibuli? (b) Kitabo ki ekya Bayibuli ekisinga okukunyumira?

ABAJULIRWA BA YAKUWA baagala nnyo Bayibuli. Bayibuli etuwa obulagirizi obwesigika era etuyamba okubudaabudibwa n’okuba n’essuubi. (Bar. 15:4) Bayibuli tetugitwala ng’ekitabo ekirimu amagezi g’abantu, wabula tugitwala “ng’ekigambo kya Katonda.”​—1 Bas. 2:13.

2 Kya lwatu nti buli omu ku ffe alina ebitabo ebisinga okumunyumira mu Bayibuli. Abamu banyumirwa nnyo okusoma ebitabo by’Enjiri, ebituyamba okulaba engeri Yesu gye yayolekamu engeri za Yakuwa. (Yok. 14:9) Abalala baagala nnyo okusoma ebitabo by’obunnabbi, gamba ng’ekitabo ky’Okubikkulirwa ekituyamba okumanya “ebintu ebiteekwa okubaawo amangu.” (Kub. 1:1) Ate era ffenna tubudaabudibwa nnyo mu kusoma ekitabo kya Zabbuli era tuganyuddwa nnyo mu kukolera ku magezi agali mu kitabo ky’Engero. Mazima ddala Bayibuli kitabo ekiganyula buli omu.

3, 4. (a) Tutwala tutya ebitabo byaffe? (b) Bitabo ki bye tufuna nga bikubiddwa okuyamba abantu ab’ebiti ebitali bimu?

3 Olw’okuba twagala nnyo Bayibuli, twagala nnyo n’ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli. Tusiima nnyo emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna okuyitira mu bitabo, brocuwa, magazini, ne mu bintu ebirala. Tukimanyi nti ebintu ebyo Yakuwa by’atuwa bituyamba okuba obulindaala mu by’omwoyo, okuliisibwa obulungi, n’okuba “abanywevu mu kukkiriza.”​—Tit. 2:2.

4 Ng’oggyeeko ebitabo ebikubibwa okuyamba Abajulirwa ba Yakuwa bonna awamu, tufuna n’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebikubibwa okuyamba abantu ab’ebiti ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, ebimu bikubibwa okuyamba abaana n’abavubuka; ate ebirala bikubibwa okuyamba abazadde. Bingi ku bitabo byaffe awamu n’ebyo ebiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti bitegekebwa okuyamba abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Okuba nti Yakuwa atuwadde emmere ey’eby’omwoyo ennyingi bw’etyo, kiraga nti atuukirizza ekyo kye yasuubiza nti: “Aliteekerateekera amawanga gonna ekijjulo eky’ebya ssava.”​—Is. 25:6.

5. Kiki ekireetera Yakuwa essanyu?

5 Bangi ku ffe tuyinza okuba nga tuwulira nti obudde bwe tulina tebutumala kusoma Bayibuli n’ebitabo byonna ebiginnyonnyola. Naye Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba ‘okukozesa obulungi ebiseera byaffe’ okusoma Bayibuli obutayosa n’okwesomesa. (Bef. 5:15, 16) Ekituufu kiri nti ebitabo byonna bye tufuna tuyinza obutabisoma mu ngeri y’emu. Kyokka waliwo ekintu kye tulina okwegendereza. Kintu ki ekyo?

6. Ndowooza ki eyinza okutulemesa okuganyulwa mu bujjuvu mu bimu ku bintu eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa?

6 Singa tulowooza nti ebintu ebimu ebiri mu Bayibuli oba ebifulumira mu bitabo byaffe tebitukwatako, tuyinza okufiirwa emiganyulo egibirimu. Ng’ekyokulabirako, watya singa tuwulira nti ekitundu ekimu ekya Bayibuli tekikwata ku mbeera yaffe? Oba watya singa ekitabo ekimu kikwata ku kiti ky’abantu abamu kyokka nga ffe tetugwa mu kiti ekyo? Ebitundu ng’ebyo tutera obutabissaako nnyo mwoyo oba oluusi ne tutabisomera ddala? Bwe kiba kityo, tuyinza okwesanga nga tufiirwa ebintu bingi ebyandituganyudde. Tuyinza tutya okwewala okugwa mu mutego ogwo? Ffenna tusaanidde okukijjukira nti Katonda ye Nsibuko y’emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Katonda yagamba nti: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa.” (Is. 48:17) Kati ka twetegereze ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okuganyulwa mu bitabo byonna ebya Bayibuli ne mu bitundu ebitali bimu ebifulumira mu bitabo byaffe.

EBINAATUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI

7. Lwaki tulina okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga tusoma Bayibuli?

7 Soma ng’olina endowooza ennuŋŋamu. Bayibuli egamba nti “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.” (2 Tim. 3:16) Kyo kituufu nti ebitundu ebimu ebya Bayibuli byawandiikibwa nga bikwata ku muntu omu oba ku bantu abamu. Eyo ye nsonga lwaki tusaanidde okusoma Bayibuli nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Ow’oluganda omu agamba nti: “Bwe mba nsoma Bayibuli, nkijjukira nti ekitundu ekimu kisobola okubaamu eby’okuyiga bingi. Ekyo kinnyamba okufumiitiriza ennyo ku bye mba nsoma.” Bwe tuba tugenda okusoma Ekigambo kya Katonda, tusaanidde okusooka okusaba Katonda atuyambe okuba n’endowooza ennuŋŋamu era atuwe amagezi tusobole okulaba ebintu by’ayagala tuyige.​—Ezer. 7:10; soma Yakobo 1:5.

Oganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli? (Laba akatundu 7)

8, 9. (a) Bwe tuba tusoma Bayibuli, bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza? (b) Ebisaanyizo abakadde bye balina okutuukiriza bituyigiriza ki ku Yakuwa?

8 Baako bye weebuuza. Bw’oba olina ekitundu kyonna ky’osoma mu Bayibuli, siriikiriramu weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Bye nsomye binjigiriza ki ku Yakuwa? Nnyinza ntya okubikolerako mu bulamu bwange? Nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala?’ Bwe tufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo, kijja kutuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bisaanyizo omuntu by’alina okutuukiriza okusobola okufuuka omukadde. (Soma 1 Timoseewo 3:2-7.) Okuva bwe kiri nti bangi ku ffe tetuweereza nga bakadde, tuyinza okulowooza nti ebyo ebiri mu nnyiriri ezo tebitukwatako. Naye bwe tulowooza ku bimu ku by’okuddamu mu bibuuzo bino wammanga, tujja kukiraba nti ebyo ebyogerwako mu nnyiriri ezo bituganyula ffenna mu ngeri ezitali zimu.

9 Binjigiriza ki ku Yakuwa? Okuba nti Yakuwa yateekawo ebisaanyizo ebyo, kiraga nti asuubira abo abatwala obukulembeze mu kibiina okutuukanya obulamu bwabwe n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Abasuubira okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi era abasuubira okuyisa obulungi ekibiina, “kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.” (Bik. 20:28) Yakuwa ayagala tuwulire nti ddala abakadde mu kibiina ba bukuumi gye tuli. (Is. 32:1, 2) N’olwekyo, okusoma ku bisaanyizo abakadde bye balina okutuukiriza kituyamba okukiraba nti Yakuwa atufaako nnyo.

10, 11. (a) Tuyinza tutya okuganyulwa mu kusoma ku bisaanyizo abakadde bye balina okutuukiriza? (b) Ennyiriri ezoogera ku bisaanyizo ebyo tuyinza tutya okuzikozesa okuyamba abalala?

10 Ebintu bino nnyinza ntya okubikolerako mu bulamu bwange? Buli luvannyuma lwa kiseera, buli mukadde asaanidde okwekebera okulaba obanga akyatuukiriza ebisaanyizo ebyo, kimuyambe okumanya we yeetaaga okulongoosaamu. Ow’oluganda “aluubirira okuba omulabirizi” asaanidde okufumiitiriza ennyo ku bisaanyizo ebyo, kubanga kimwetaagisa okufuba okubituukiriza. (1 Tim. 3:1) Mu butuufu, buli Mukristaayo asobola okuganyulwa mu kufumiitiriza ku bisaanyizo ebyo kubanga bingi ku byo byogera ku bintu Yakuwa bye yeetaagisa Abakristaayo bonna. Ng’ekyokulabirako, ffenna tulina okwewala okuba abakakanyavu era tulina okuba n’endowooza ennuŋŋamu. (Baf. 4:5; 1 Peet. 4:7) Abakadde bwe bateekawo ekyokulabirako ekirungi, tubaako bingi bye tubayigirako era ne tubakoppa.​—1 Peet. 5:3; Beb. 13:7.

11 Ebintu bino nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala? Tusobola okukozesa ennyiriri ezoogera ku bisaanyizo by’abakadde okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okukitegeera nti abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa ba njawulo ku bakulembeze b’amadiini ga Kristendomu. Ate era bwe tusoma ku bisaanyizo ebyo, kituyamba okulaba nti abakadde bafuba nnyo okubituukiriza tusobole okuganyulwa. Ekyo bwe tukifumiitirizaako, kituleetera okwongera okubassaamu ekitiibwa. (1 Bas. 5:12) Gye tukoma okussa ekitiibwa mu bakadde, nabo gye bakoma okuba abasanyufu.​—Beb. 13:17.

12, 13. (a) Ebitabo n’ebintu ebirala omuddu omwesigwa by’atuwadde tuyinza kubikozesa kunoonyereza ku ki? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okunoonyereza gye kiyinza okutuyamba okuyiga ebintu ebirala bye tutandisobodde kulaba mangu.

12 Noonyereza. Bwe tukozesa ebitabo n’ebintu ebirala omuddu omwesigwa by’atuwadde, tusobola okunoonyereza ku bintu nga bino:

  • Ani yawandiika ekitundu kino ekya Bayibuli?

  • Kyawandiikirwa wa era ddi lwe kyawandiikibwa?

  • Bintu ki ebikulu ebyaliwo mu kiseera ekitabo kya Bayibuli kino mwe kyawandiikirwa?

Okumanya ebintu ng’ebyo kisobola okutuyamba okuyiga ebintu ebirala bye tutandisobodde kulaba mangu.

13 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebiri mu Ezeekyeri 14:13, 14. Wagamba nti: “Ensi bw’eyonoona mu maaso gange n’etekuuma bwesigwa, nja kugigololera omukono gwange ngirwanyise, nsanyeewo amaterekero gaayo ag’emmere. Nja kugireetamu enjala nzite abantu baamu bonna n’ensolo. ‘Abasajja bano abasatu; Nuuwa, Danyeri, ne Yobu, ne bwe bandibadde mu nsi eyo, bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.” Bwe tunoonyereza, tukizuula nti ekitundu ekyo eky’ekitabo kya Ezeekyeri kyawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 612 E.E.T. Mu kiseera ekyo, Nuuwa ne Yobu baali baafa dda era Yakuwa yali akyajjukira obwesigwa bwe baayoleka nga bamuweereza. Kyokka ye Danyeri yali akyali mulamu. Mu butuufu, Yakuwa we yagambira nti Danyeri yali mutuukirivu nga Nuuwa ne Yobu, Danyeri ayinza okuba nga yali anaatera okuweza emyaka 20 oba ng’agiyisizzaamu katono. Ekyo kituyigiriza ki? Yakuwa alaba engeri abaweereza be bonna gye bafuba okumuweereza n’obwesigwa era abasiima nnyo, ka babe bakulu oba bato.​—Zab. 148:12-14.

GANYULWA MU BITABO EBITALI BIMU

14. Ebitabo ebikubibwa okuyamba abaana bibaganyula bitya, era biyinza bitya okuganyulwa n’abantu abalala? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)

14 Nga bwe tuganyulwa mu kusoma ebitundu byonna ebiri mu Kigambo kya Katonda, bwe tutyo bwe tuganyulwa ne mu kulya emmere yonna ey’eby’omwoyo gye tufuna. Lowooza ku byokulabirako bino. Ebintu ebitegekebwa okuyamba abaana n’abavubuka. Mu myaka egiyise, wabaddewo ebitabo bingi ebikubiddwa okuyamba abaana n’abavubuka. [1] Ebimu ku bitabo ebyo byategekebwa okubayamba okwaŋŋanga okupikirizibwa kwe boolekagana nakwo ku ssomero oba okusoomooza kwe bafuna mu kiseera ekya kaabuvubuka. Ffenna tuyinza tutya okuganyulwa mu kusoma ebitabo ebyo? Bwe tusoma ebitabo ebyo, kituyamba okumanya okusoomooza abaana abaweereza Yakuwa n’obwesigwa kwe boolekagana nakwo. N’ekivaamu, tuba tusobola okubayamba n’okubazzaamu amaanyi.

15. Lwaki Abakristaayo abakulu basaanidde okusoma ebitabo ebyategekebwa okuyamba abaana?

15 Bingi ku bintu ebisoomooza ebyogerwako mu bitabo ebyo ne mu bitundu ebyo, tebikwata ku bavubuka bokka. Ffenna twetaaga okulwanirira okukkiriza kwaffe, okwefuga, okwewala okutwalirizibwa okupikirizibwa, okwewala emikwano emibi, n’eby’okwesanyusaamu ebitasaana. Ensonga ezo awamu n’endala nnyingi zoogerwako mu bitabo ebyakubibwa okuyamba abatiini. Ddala Abakristaayo abakulu bandirowoozezza nti bo tebasaanidde kusoma bitabo ebyategekebwa okuyamba abaana? Nedda! Wadde ng’ebitabo ebyo byawandiikibwa mu ngeri esikiriza abaana n’abavubuka, amagezi agabirimu geesigamiziddwa ku Byawandiikibwa era ffenna gatuganyula.

16. Mu ngeri ki endala ebitabo byaffe gye biyambamu abaana?

16 Ng’oggyeeko okuba nti ebitabo byaffe biyamba abaana okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo, era bibayamba okukula mu by’omwoyo n’okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. (Soma Omubuulizi 12:1, 13.) Ne mu ngeri eyo, ebitabo ebyo bisobola okuyamba n’Abakristaayo abakulu. Ng’ekyokulabirako, Awake! eya Apuli 2009 yalimu ekitundu ekyalina omutwe “Abavubuka . . . Nnyinza Ntya Okunyumirwa Okusoma Bayibuli?” Ekitundu ekyo kyalimu amagezi agatali gamu era kyalimu n’akasanduuko omuntu ke yali ayinza okusalamu n’akateeka mu Bayibuli okumuyamba okumanya engeri gy’ayinza okugisomamu. Abantu abakulu nabo baaganyulwa mu kitundu ekyo? Mwannyinaffe omu omufumbo ow’emyaka 24 era omuzadde, yagamba nti: “Bulijjo kyali kinzibuwalira okumanya engeri gye nnyinza okusomamu Bayibuli obulungi. Nnakolera ku magezi agali mu kitundu ekyo, era akasanduuko akaalimu kannyambye nnyo. Kati mba nneesunga okusoma Bayibuli. Kati ndaba engeri ebitabo bya Bayibuli gye bikwataganamu obulungi. Sinyumirwangako kusoma Bayibuli nga bwe kiri kati.”

17, 18. Okusoma ebitabo n’ebitundu ebitegekebwa okuyamba abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa kituganyula kitya? Waayo ekyokulabirako.

17 Ebintu ebitegekebwa okuyamba abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Okuva mu 2008 tubadde tunyumirwa nnyo okusoma Omunaala gw’Omukuumi ogw’okusoma mu kibiina, okusingira ddala ogutegekebwa okuyamba Abajulirwa ba Yakuwa. Kati ate magazini zaffe ezikubibwa okusingira ddala okuyamba abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa? Zisobola okutuganyula? Lowooza ku kyokulabirako kino. Kuba akafaananyi ng’emboozi ya bonna egenda kutandika era ng’omuntu gwe wayita okujja mu nkuŋŋaana azze. Kya lwatu nti ekyo kikusanyusa nnyo. Ng’emboozi egenda mu maaso, oba olowooza ku muntu oyo era ogezaako okweteeka mu bigere bye. N’ekivaamu oyongera okusiima amazima agakwata ku nsonga eyogerwako mu mboozi eyo.

18 Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku bitabo byaffe ebikubibwa okuyamba abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna gunnyonnyola ensonga ezitali zimu ez’omu Byawandiikibwa mu ngeri eyanguyira n’omuntu atali Mujulirwa wa Yakuwa okuzitegeera obulungi. N’ebitundu ebiri ku mukutu gwaffe ogwa jw.org, gamba ng’ebyo ebiri wansi w’omutwe “Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino” ne “Ebibuuzo Abantu Bye Batera Okwebuuza,” nabyo byangu okutegeera. Bwe tusoma ebintu ebyo, kituyamba okwongera okusiima amazima ge tubadde tumanyi obulungi. Ate era tuyiga engeri endala gye tusobola okunnyonnyolamu abantu ensonga ezitali zimu nga tubuulira. Magazini ya Awake! nayo etuyamba okwongera okulaba obukakafu obulaga nti ddala Katonda gy’ali, era etuyamba okumanya engeri gye tuyinza okulwaniriramu okukkiriza kwaffe.​—Soma 1 Peetero 3:15.

19. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima Yakuwa olw’ebintu by’atuwa?

19 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa atuwadde ebintu bingi ebituyamba ennyo mu by’omwoyo. (Mat. 5:3) Ka ffenna tweyongere okukozesa mu bujjuvu ebintu byonna Yakuwa by’atuwa. Bwe tukola tutyo, kiraga nti tusiima Oyo atuyigiriza tusobole okuganyulwa.​—Is. 48:17.

^ [1] (akatundu 14) Ebimu ku bintu ebyategekebwa okuyamba abavubuka mwe muli akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1 ne 2, n’ebitundu wansi w’omutwe “Young People Ask,” ku Intaneeti.