Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusiima Ekisa eky’Ensusso Katonda Kye Yatulaga

Okusiima Ekisa eky’Ensusso Katonda Kye Yatulaga

“Ffenna twafuna ekisa eky’ensusso kingi okuva gy’ali.”​—YOK. 1:16.

ENNYIMBA: 95, 13

1, 2. (a) Mu bufunze, yogera ku lugero lwa Yesu olukwata ku nnannyini nnimiro y’emizabbibu. (b) Olugero olwo lutuyamba lutya okutegeera kye kitegeeza okwoleka omwoyo omugabi n’okwoleka ekisa eky’ensusso?

LUMU ku makya, omusajja eyalina ennimiro y’emizabbibu yagenda mu katale okufuna abantu abanaakola mu nnimiro ye. Abasajja be yafuna bakkiriza ssente ze yasuubiza okubawa era ne bagenda okukola. Omusajja oyo yali akyetaaga abakozi abalala era emirundi egiwerako, yaddayo mu katale okufuna abakozi abalala, era n’abo be yafuna olweggulo yabasuubiza okubasasula ssente ezibamala. Akawungeezi, yayita abakozi be bonna okubawa ssente zaabwe, era bonna yabawa ssente ze zimu ka kibe nti baali bakoze olunaku lwonna oba nga baali bakozeeyo essaawa emu yokka. Abo abaali bakoze okuva ku makya bwe baalaba ng’abawadde ssente ze zimu n’abo abajja oluvannyuma, beemulugunya. Nnannyini nnimiro yabagamba nti: ‘Ssente ze mbawadde si ze twakkiriziganyizzaako? Sirina ddembe kusasula bakozi bange nga bwe njagala? Munkwatiddwa obuggya olw’okuba ndi mugabi?’​—Mat. 20:1-15.

2 Olugero olwo Yesu lwe yagera lutujjukiza emu ku ngeri za Yakuwa eyogerwako ennyo mu Bayibuli, nga kino kye ‘kisa kye eky’ensusso.’ [1] (Soma 2 Abakkolinso 6:1.) Abakozi abaakolera essaawa emu yokka baali balabika ng’abatagwanira kuweebwa ssente ze baaweebwa, naye nnannyini nnimiro yabalaga ekisa eky’ensusso. Ng’ayogera ku bigambo “ekisa eky’ensusso,” omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Ebigambo ebyo birina amakulu ag’ekirabo eky’omuwendo ekiweebwa omulala nga takikoleredde era nga takigwanira.”

EKIRABO YAKUWA KYE YATUWA

3, 4. Lwaki Yakuwa yalaga abantu ekisa eky’ensusso era yakibalaga atya?

3 Ebyawandiikibwa byogera ku ‘kirabo kya Katonda eky’ekisa eky’ensusso.’ (Bef. 3:7) Lwaki Yakuwa yawa abantu ekirabo ekyo era yakibawa atya? Singa ffenna twali tukola mu ngeri etuukiridde byonna Yakuwa by’ayagala tukole, twandibadde tugwanira okulagibwa ekisa kye. Naye ekyo si bwe kiri. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n’atayonoona.” (Mub. 7:20) N’omutume Pawulo naye yagamba nti: “Bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda” era nti “empeera y’ekibi kwe kufa.” (Bar. 3:23; 6:23a) Ffenna empeera etugwanira kwe kufa.

4 Kyokka Yakuwa yalaga abantu abatatuukiridde okwagala kungi nnyo bwe yasindika “Omwana we eyazaalibwa omu yekka” okubafiiririra. Ekintu ekyo Yakuwa kye yakolera abantu kye kikyasinzeeyo okwoleka ekisa kye eky’ensusso. (Yok. 3:16) Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti Yesu “kati atikkiddwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo olw’okuba yafa. Yafa asobole okulega ku kufa ku lwa buli muntu olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso.” (Beb. 2:9) Mu butuufu, “ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.”​—Bar. 6:23b.

5, 6. Biki ebivaamu singa tufugibwa (a) ekibi? (b) ekisa eky’ensusso?

5 Abantu bonna baatuuka batya okusikira ekibi n’okufa? Bayibuli egamba nti: “Olw’ekibi ky’omuntu omu [Adamu] okufa kwafuga nga kabaka” mu baana n’abazzukulu ba Adamu. (Bar. 5:12, 14, 17) Naye eky’essanyu kiri nti tusobola okusalawo okulekera awo okufugibwa ekibi. Bwe tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, tutandika okufugibwa ekisa kya Yakuwa eky’ensusso. Mu ngeri ki? Bayibuli egamba nti: “Ekibi bwe kyeyongera, n’ekisa eky’ensusso kyeyongera nnyo n’okusingawo. Lwa kigendererwa ki? Ng’ekibi bwe kyafugira awamu n’okufa nga kabaka, n’ekisa eky’ensusso kijja kufuga nga kabaka okuyitira mu butuukirivu kitutuuse mu bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Yesu Kristo.”​—Bar. 5:20, 21.

6 Wadde nga tukyali boonoonyi, tetusaanidde kukkiriza kibi kutufuga. Singa twesanga nga tukoze ekibi, tusaanidde okusaba Yakuwa atusonyiwe. Pawulo yagamba Abakristaayo nti: “Ekibi tekirina kubafuga, kubanga temufugibwa mateeka wabula mufugibwa ekisa eky’ensusso.” (Bar. 6:14) N’olwekyo, tusaanidde okufugibwa ekisa kya Katonda eky’ensusso. Miganyulo ki egivaamu? Pawulo yagamba nti: “Ekisa kya Katonda eky’ensusso . . . kituyigiriza okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi, era n’okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka y’ebintu eno.”​—Tit. 2:11, 12.

EKISA EKY’ENSUSSO ‘KIRAGIBWA MU NGERI EZITALI ZIMU’

7, 8. Bayibuli bw’egamba nti ekisa kya Yakuwa eky’ensusso ‘kiragibwa mu ngeri ezitali zimu,’ eba etegeeza ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.)

7 Omutume Peetero yagamba nti: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso ekiragibwa mu ngeri ezitali zimu.” (1 Peet. 4:10) Ekyo kitegeeza ki? Ka tube nga tufunye kizibu ki, Yakuwa asobola okutuyamba ne tusobola okukyaŋŋanga. (1 Peet. 1:6) Bulijjo Katonda ajja kutuweera ddala ekyo kye twetaaga okusobola okwaŋŋanga ekizibu kyonna kye tuba tufunye.  

8 Mu butuufu, ekisa kya Yakuwa eky’ensusso kiragibwa mu ngeri ezitali zimu. Omutume Yokaana yagamba nti: “Ffenna twafuna ekisa eky’ensusso kingi okuva gy’ali olw’okuba ajjudde ekisa eky’ensusso.” (Yok. 1:16) Ekisa kya Yakuwa eky’ensusso ekiragibwa mu ngeri ezitali zimu kituviiramu emikisa mingi. Egimu ku gyo gye giruwa?

9. Tuganyulwa tutya mu kisa kya Yakuwa eky’ensusso, era tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekisa ky’atulaga?

9 Okusonyiyibwa ebibi. Olw’ekisa kya Yakuwa eky’ensusso tusonyiyibwa ebibi byaffe, kasita kiba nti twenenyezza era ne tufuba okulwanyisa okwegomba okubi. (Soma 1 Yokaana 1:8, 9.) Okuba nti Katonda atulaga obusaasizi, kyanditukubirizza okumutendereza. Bwe yali awandiikira Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta, Pawulo yagamba nti: “[Yakuwa] yatuggya mu buyinza bw’ekizikiza n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, mu oyo twasumululwa okuyitira mu kinunulo, ekitegeeza nti ebibi byaffe byasonyiyibwa.” (Bak. 1:13, 14) Bwe tusonyiyibwa ebibi byaffe kitusobozesa okufuna emikisa emirala mingi.

10. Muganyulo ki gwe tufuna olw’ekisa kya Yakuwa eky’ensusso?

10 Okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Olw’okuba tetutuukiridde, tuzaalibwa nga tuli balabe ba Katonda. Pawulo yagamba nti: “Bwe twali tukyali balabe twatabaganyizibwa ne Katonda okuyitira mu kufa kw’Omwana we.” (Bar. 5:10) Okuba nti twatabaganyizibwa ne Katonda, kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi naye. Bwe yali awandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Pawulo yalaga nti ekisa kya Yakuwa eky’ensusso kye kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Yagamba nti: “Nga bwe tuyitiddwa abatuukirivu olw’okukkiriza, ka tubeere mu mirembe ne Katonda okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo, era okuyitira mu ye tutuuse ku kisa eky’ensusso kye tulimu kati olw’okukkiriza.” (Bar. 5:1, 2) Ng’enkizo eyo ya maanyi nnyo!

Engeri Katonda gy’atulagamu ekisa eky’ensusso: Enkizo ey’okuwulira amawulire amalungi (Laba akatundu 11)

11. Abaafukibwako amafuta bayamba batya ‘ab’endiga endala’ okufuuka abatuukirivu?

11 Okufuulibwa abatuukirivu. Ffenna tuzaalibwa nga tetuli batuukirivu. Naye nnabbi Danyeri yakiraga nti mu kiseera eky’enkomerero, “abo ab’amagezi,” ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘bandiyambye bangi okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu.’ (Soma Danyeri 12:3.) Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa, abaafukibwako amafuta bayambye ‘ab’endiga endala’ okufuuka abatuukirivu. (Yok. 10:16) Kyokka ekyo kisobose olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso. Pawulo yagamba nti: “Baaweebwa buwa ekirabo eky’okuyitibwa abatuukirivu olw’ekisa kye eky’ensusso era baasumululwa ekinunulo Kristo Yesu kye yasasula.”​—Bar. 3:23, 24.

Enkizo ey’okusaba (Laba akatundu 12)

12. Okusaba kwoleka kutya ekisa kya Katonda eky’ensusso?

12 Okutuukirira entebe ya Yakuwa okuyitira mu kusaba. Olw’ekisa kye eky’ensusso, Yakuwa atukkiriza okutuukirira entebe ye nga tuyitira mu kusaba. Mu butuufu, entebe ya Yakuwa, Pawulo agiyita “entebe ey’ekisa eky’ensusso” era atukubiriza okugituukirira “nga twogera n’obuvumu.” (Beb. 4:16a) Enkizo eyo Yakuwa agituwadde okuyitira mu Mwana we, “mwe tuyitira okwogera n’obuvumu era ne tutuukirira Katonda nga tetutya olw’okuba tumukkiririzaamu.” (Bef. 3:12) Okuba nti tusobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba nkizo ya kitalo nnyo eyoleka ekisa kye eky’ensusso.

Obuyambi mu kiseera ekituufu (Laba akatundu 13)

13. Ekisa kya Katonda eky’ensusso kitusobozesa kitya okufuna obuyambi mu kiseera kye tubwetaagiramu?

13 Okufuna obuyambi mu kiseera we tubwetaagira. Pawulo yatukubiriza okusabanga Yakuwa, “tulyoke tusaasirwe era tulagibwe ekisa eky’ensusso mu kiseera we twetaagira obuyambi.” (Beb. 4:16b) Ekiseera kyonna we tubeerera mu buzibu, tusobola okusaba Yakuwa atuyambe. Yakuwa addamu okusaba kwaffe wadde ng’ekyo tateekeddwa kukikola. Emirundi egisinga Yakuwa atuddamu ng’ayitira mu bakkiriza bannaffe, tusobole ‘okubeera abagumu tugambe nti: “Yakuwa ye muyambi wange; Siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?” ’​—Beb. 13:6.

14. Mu ngeri ki endala gye tuganyulwa mu kisa kya Katonda eky’ensusso?

14 Okubudaabudibwa. Omukisa omulala gwe tufuna olw’ekisa kya Yakuwa eky’ensusso kwe kubudaabudibwa nga tuli mu nnaku. (Zab. 51:17) Bwe yali awandiikira Abakristaayo b’omu Ssessalonika abaali bayigganyizibwa, Pawulo yagamba nti: “Mukama waffe Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n’atuwa okubudaabuda okw’olubeerera n’essuubi eddungi okuyitira mu kisa kye eky’ensusso, ka babudaabudde emitima gyammwe era babanyweze.” (2 Bas. 2:16, 17) Nga kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa atufaako nnyo!

15. Ssuubi ki lye tulina olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso?

15 Okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Ng’abantu abatatuukiridde, tetwalina ssuubi lyonna. (Soma Zabbuli 49:7, 8.) Naye Yakuwa yatuwa essuubi ery’ekitalo. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Kitange ayagala buli muntu ategeera Omwana n’amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:40) Essuubi lye tulina ery’okufuna obulamu obutaggwaawo kirabo okuva eri Katonda ekyoleka ekisa kye eky’ensusso. Pawulo yagamba nti: “Ekisa kya Katonda eky’ensusso ekireetera abantu aba buli ngeri obulokozi kyoleseddwa.”​—Tit. 2:11.

TOKOZESA BUBI KISA KYA KATONDA EKY’ENSUSSO

16. Abamu ku Bakristaayo abaasooka baakozesa batya obubi ekisa kya Katonda eky’ensusso?

16 Wadde nga tufuna emikisa mingi olw’ekisa kya Yakuwa eky’ensusso, tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa tafaayo ku ngeri gye tweyisaamu. Abamu ku Bakristaayo abaasooka baali batandise ‘okufuula ekisa kya Katonda eky’ensusso okuba ekyekwaso eky’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwagwa.’ (Yud. 4) Abakristaayo abo abataali beesigwa bayinza okuba nga baali balowooza nti basobola okumala gakola ebintu ebibi oluvannyuma ne basaba Katonda abasonyiwe. N’ekisinga obubi, baagezaako okusendasenda ne bakkiriza bannaabwe okukola ebintu ebibi bye baali bakola. Singa ne leero Omukristaayo akola bw’atyo aba “anyoomodde omwoyo ogw’ekisa eky’ensusso.”​—Beb. 10:29.

17. Kulabula ki Peetero kwe yawa?

17 Leero Sitaani aleetedde Abakristaayo abamu okulowooza nti basobola okweyisa nga bwe baagala olw’okuba Katonda musaasizi. Naye tusaanidde okukijjukira nti wadde nga Yakuwa mwetegefu okusonyiwa, atusuubira okufuba ennyo okulwanyisa okwegomba okubi. Yaluŋŋamya Peetero okuwandiika nti: “Abaagalwa, okuva bwe mutegedde ebintu ebyo nga bukyali, mwekuume muleme kutwalirizibwa kwonoona kw’abantu abo abajeemu ne muva we munyweredde. Naye mweyongerenga okufuna ekisa eky’ensusso n’okumanya okukwata ku Mukama waffe era Omulokozi, Yesu Kristo.”​—2 Peet. 3:17, 18.

OBUVUNAANYIZIBWA BWE TULINA

18. Okuva bwe kiri nti Katonda atulaze ekisa eky’ensusso, buvunaanyizibwa ki bwe tulina?

18 Olw’okuba Yakuwa atulaze ekisa kye eky’ensusso, atusuubira okukozesa ebirabo bye tulina okumuweesa ekitiibwa n’okuyamba abalala. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Pawulo yagamba nti: “Okuva bwe tulina ebirabo eby’enjawulo okusinziira ku kisa eky’ensusso ekyatulagibwa, . . . bwe kuba kuweereza, ka tweyongere okuweereza; oyo ayigiriza yeeyongere okuyigiriza; oyo azzaamu abalala amaanyi yeeyongere okubazzaamu amaanyi; . . . oyo asaasira asaasirenga n’omutima gwonna.” (Bar. 12:6-8) N’olwekyo, olw’okuba Katonda atulaze ekisa eky’ensusso, tulina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira n’obunyiikivu, okuyigiriza abalala Bayibuli, okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, n’okusonyiwa abo ababa batusobezza.

19. Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

19 Olw’okuba tusiima Katonda olw’ekisa eky’ensusso ky’atulaze, tusaanidde okufuba “okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.” (Bik. 20:24) Ensonga eno ejja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

^ [1] (akatundu 2) Laba amakulu g’ebigambo “Ekisa eky’ensusso” mu Enkyusa ey’Ensi Empya “Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu.”