Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?

Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?

“Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.”​—1 KOL. 10:31.

ENNYIMBA: 34, 61

1, 2. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okwambala mu ngeri esaana? (Laba ekifaananyi waggulu.)

NGA lwogera ku lukuŋŋaana lw’abakulembeze b’eddiini olumu, olupapula lw’amawulire lwagamba nti: “Abantu bangi baayambala mu ngeri ey’ekisaazisaazi, nnaddala ebbugumu we lyabeerera eringi. Ekyo si bwe kiba ku nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa. . . . Abasajja n’abalenzi bambala amakooti ne basiba n’ettaayi, ate abakazi n’abawala bambala sikaati empanvu ekimala . . . era nga zirabika bulungi.” Mu butuufu, emirundi mingi Abajulirwa ba Yakuwa basiimibwa nnyo olw’okwambala “ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa, era ebiraga nti beegendereza.” Bambala “mu ngeri esaanira abakazi abagamba nti bawa Katonda ekitiibwa.” (1 Tim. 2:​9, 10) Wadde ng’omutume Pawulo yali ayogera ku bakazi Abakristaayo, ebyo bye yayogera bikwata ne ku basajja Abakristaayo.

2 Okwambala mu ngeri esaana kikulu nnyo eri abaweereza ba Yakuwa era ne Yakuwa akitwala nga kikulu. (Lub. 3:​21) Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa alina emitindo egikwata ku nnyambala n’okwekolako gy’ayagala abaweereza be bagoberere. N’olwekyo bwe tuba tusalawo ku by’okwambala n’okwekolako tetulina kusinziira ku ekyo ffe kye twagala. Tulina n’okulowooza ku ekyo ekisanyusa Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

3. Kiki kye tuyiga ku bikwata ku nnyambala mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri?

3 Ng’ekyokulabirako, mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri mwalimu ebiragiro ebyakuumanga Abayisirayiri obutoonoonebwa bikolwa bibi eby’abantu ab’amawanga agaali gabeetoolodde. Mu Mateeka ago Yakuwa yalagira abaweereza be okwewala okwambala engoye ezikifuula ekizibu okwawulawo omusajja ku mukazi. (Soma Ekyamateeka 22:5.) Ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa akyayira ddala ennyambala ereetera abasajja okulabika ng’abakazi oba abakazi okulabika ng’abasajja.

4. Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okusalawo mu ngeri ey’amagezi ku bikwata ku nnyambala?

4 Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi egisobola okuyamba Abakristaayo okusalawo obulungi ku bikwata ku nnyambala, ka babe nga babeera mu nsi ki, nga ba ggwanga ki, oba nga babeera mu mbeera ki ey’obudde. Tetwetaaga kuweebwa lukalala lulaga misono gya ngoye egikkirizibwa n’egitakkirizibwa. Naye tulina emisingi gy’omu Byawandiikibwa egituyamba okulonda engoye ezitusanyusa ate nga zisaanira. Kati ka tulabe egimu ku misingi egiri mu Bayibuli egisobola okutuyamba okumanya “ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde” nga tusalawo ku by’okwambala.​—Bar. 12:​1, 2.

“TUKIRAGA NTI TULI BAWEEREZA BA KATONDA”

5, 6. Engeri gye twambalamu esaanidde kukwata etya ku balala?

5 Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 6:⁠4. (Soma.) Engeri gye tulabikamu erina kinene ky’ekola ku ngeri abalala gye batutwalamu. (1 Sam. 16:⁠7) N’olwekyo, ffe abaweereza ba Katonda bwe tuba tusalawo ku bikwata ku nnyambala, tetulowooza ku ebyo byokka ffe bye twagala. Emisingi egiri mu Bayibuli gisaanidde okutukubiriza okwewala okwambala engoye ezitukwata ennyo, ezitangaala, oba ezisiikuula okwegomba okubi. Tulina okwewala okwambala engoye eziraga ebitundu by’omubiri ebitalina kulabibwa balala. Tetusaanidde kwambala mu ngeri eyinza okuleetera abalala okutunula ebbali oba okwesittala nga batulabye.

6 Bwe twambala ebyambalo ebisaana, ebiyonjo, era ne twekolako mu ngeri esaana, abantu bajja kukiraba nti tuli baweereza ba Yakuwa Mukama Afuga Byonna era bajja kutussaamu ekitiibwa. Era bayinza n’okwagala okusinza Katonda gwe tusinza. Ate era bwe twambala mu ngeri esaana, kireetera abantu okussa ekitiibwa mu kibiina kya Yakuwa kye tukiikirira. N’ekivaamu bayinza okussaayo omwoyo ku bubaka bwe tubuulira.

7, 8. Okusingira ddala ddi lwe tusaanidde okwambala engoye ezisaana?

7 Okwagala kwe tulina eri Katonda, eri bakkiriza bannaffe, n’eri abantu b’omu kitundu mwe tubeera kusaanidde okutukubiriza okwambala mu ngeri eweesa obubaka bwaffe ekitiibwa era ereetera Yakuwa ettendo. (Bar. 13:​8-​10) Ekyo kikulu nnaddala nga twenyigira mu bintu eby’omwoyo, gamba nga tuli mu nkuŋŋaana oba nga tubuulira. Tulina okwambala “mu ngeri esaanira [abantu] abagamba nti bawa Katonda ekitiibwa.” (1 Tim. 2:​10) Kya lwatu nti engoye ezisaanira mu kitundu ekimu ziyinza okuba nga mu kitundu ekirala tezisaanira. N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bafaayo ku mpisa z’omu kitundu mwe babeera, baleme kwesittaza balala.

Engeri gy’oyambalamu eweesa Katonda gw’okiikirira ekitiibwa? (Laba akatundu 7, 8)

8 Soma 1 Abakkolinso 10:31. Bwe tuba ku nkuŋŋaana zaffe ennene tusaanidde okwambala mu ngeri esaana mu kifo ky’okukoppa emisono gy’ensi egitasaana. Ne bwe tuba nga tuzzeeyo mu bifo gye tusula oba nga tuli mu biseera byaffe eby’eddembe, ng’olukuŋŋaana luwedde oba nga terunnatandika, tusaanidde okwewala okwambala mu ngeri ey’ekisaazisaazi ennyo. Bwe tukola tutyo, tetujja kutya kumanyisa balala nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa. Ate era kijja kutwanguyira okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira.

9, 10. Ebigambo ebiri mu Abafiripi 2:4 bituyamba bitya nga tusalawo ku by’okwambala?

9 Soma Abafiripi 2:⁠4. Lwaki Abakristaayo basaanidde okufaayo ku ngeri ennyambala yaabwe gy’ekwata ku bakkiriza bannaabwe? Emu ku nsonga eri nti abantu ba Katonda bafuba nnyo okukolera ku kubuulirira kuno okuli mu Bayibuli okugamba nti: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta.” (Bak. 3:​2, 5) Tetwandyagadde kukifuula kizibu eri bakkiriza bannaffe kukolera ku kubuulirira okwo. Baganda baffe ne bannyinaffe abaalekayo empisa ez’obugwenyufu bayinza okuba nga bakyalwanyisa ebirowoozo ebibi. (1 Kol. 6:​9, 10) Tetusaanidde kukifuula kizibu gye bali kulwana lutalo olwo.

10 Bwe tuba ne bakkiriza bannaffe, tusaanidde okukakasa nti engeri gye twambaddemu ekubiriza buli omu okuba n’empisa entukuvu. Ekyo tusaanidde okukikola ka tube nga tuli mu nkuŋŋaana oba nga tuli awantu awalala wonna. Tulina eddembe okweronderawo bye twagala okwambala. Wadde kiri kityo, buli omu ku ffe asaanidde okwambala mu ngeri ekifuula ekyangu eri abalala okusigala nga bayonjo mu maaso ga Katonda mu birowoozo, mu bigambo, ne mu nneeyisa. (1 Peet. 1:​15, 16) Okwagala okwa nnamaddala “tekweyisa mu ngeri etesaana, tekwenoonyeza byakwo.”​—1 Kol. 13:​4, 5.

OKWAMBALA EBYAMBALO EBISAANA MU KISEERA EKITUUFU ERA MU KIFO EKITUUFU

11, 12. Kiki kye tusaanidde okumanya nga tulondawo eby’okwambala?

11 Abaweereza ba Katonda bwe baba basalawo ku bikwata ku nnyamba, bakijjukira nti “buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo.” (Mub. 3:​1, 17) Kyo kituufu nti embeera y’obudde, ebitundu gye tubeera, n’embeera y’eby’enfuna, birina kinene kye bikola ku ngeri gye twambalamu. Wadde kiri kityo, tulina okukijjukira nti emitindo gya Yakuwa tegikyukakyuka na mbeera ya budde.​—Mal. 3:⁠6.

12 Oluusi wabaawo okusoomooza kungi bwe kituuka ku kwambala engoye ezisaana, naddala mu biseera eby’ebbugumu. N’olwekyo, baganda baffe ne bannyinaffe kibayisa bulungi bwe bakiraba nti twewala okwambala engoye ezitukwata ennyo oba ezitangaala. (Yob. 31:1) Ate era ne bwe tuba nga tuli ku bbiici oba nga tugenze okuwuga engoye ze twambala zirina okuba nga zisaana. (Nge. 11:​2, 20) Wadde ng’abantu bangi mu nsi bambala obugoye obuwugirwamu obulaga ebitundu by’omubiri ebitasaanidde kulagibwa, ffe abaweereza ba Yakuwa tufuba okwambala mu ngeri eweesa Katonda waffe omutukuvu ekitiibwa.

13. Ebigambo ebiri mu 1 Abakkolinso 10:​32, 33 bituyamba bitya nga tusalawo ku ngeri y’okwambalamu?

13 Ensonga endala etukubiriza okwambala mu ngeri esaana eri nti, tufaayo ku muntu w’omunda ow’abalala, omuli bakkiriza bannaffe n’abo abatali bakkiriza bannaffe. (Soma 1 Abakkolinso 10:​32, 33.) Tulina okwewala okwambala engoye eziyinza okwesitazza abalala. Pawulo yagamba nti: “Buli omu ku ffe asanyusenga munne ku lw’obulungi bwe, asobole okumuzimba. Kubanga ne Kristo teyeesanyusanga yekka.” (Bar. 15:​2, 3) Yesu yafuba nnyo okuyamba abalala era ekyo kye yakulembeza mu kifo ky’okukulembeza ebibye; mu ngeri eyo yakola ebyo Katonda by’ayagala. N’olwekyo, naffe twewala okwambala engoye ffe ze twagala naye ng’ate zisobola okulemesa abalala okussaayo omwoyo ku bubaka bwe tubabuulira.

14. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okutendereza Yakuwa mu ngeri gye bambalamu?

14 Abazadde Abakristaayo balina obuvunaanyizibwa okuyamba ab’omu maka gaabwe okuyiga okukolera ku misingi gya Bayibuli. Abazadde balina okukakasa nti bo bennyini awamu n’abaana baabwe basanyusa omutima gwa Yakuwa nga bambala era nga beekolako mu ngeri esaana. (Nge. 22:6; 27:11) Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe okutya Yakuwa nga bo bennyini bateerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi era nga babawa obulagirizi obulungi. Kiba kirungi abazadde okuyamba abaana baabwe okumanya engeri y’okulondamu engoye ezisaana na wa gye bayinza okuziggya. Balina okubayamba obutalowooza ku ebyo byokka bye baagala naye n’okulowooza ku ekyo ekinaabayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe balina obw’okukiikirira Yakuwa Katonda.

KOZESA BULUNGI EDDEMBE LYO ERY’OKWESALIRAWO

15. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ku bikwata ku by’okwambala?

15 Ekigambo kya Katonda kirimu obulagirizi obusobola okutuyamba okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa. Kyo kituufu nti ffenna tetwambala mu ngeri y’emu. Engoye ze twambala zisinziira nnyo ku ebyo bye twagala kinnoomu ne ku mbeera yaffe ey’eby’enfuna. Wadde kiri kityo, engoye zaffe zirina okuba nga zisaanira, nga nnyonjo, nga zituukana n’embeera, era nga zikkirizibwa mu kitundu gye tubeera.

16. Lwaki tusaanidde okufuba okwambala mu ngeri esaana?

16 Kyo kituufu nti si kyangu buli kiseera kusalawo mu ngeri ey’amagezi. Mu maduuka mangi n’obutale bafa ku kutunda misono gya ngoye eziri ku mulembe. N’olwekyo kiyinza okutwetaagisa okuwaayo ebiseera ebiwerako okusobola okufuna sikaati, ebiteeteeyi, bbulawuzi, essaati, oba empale ezisaana era ezitatukwata nnyo. Naye bwe tufuba okufuna engoye ennungi era ezisaana, kisanyusa nnyo bakkiriza bannaffe. Era essanyu lye tufuna olw’okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda lisingira wala okufuba kwonna kwe tuteekamu okusobola okwambala mu ngeri esaana.

17. Ebimu ku bintu ebiyinza okuleetera ow’oluganda okusalawo okukuza oba obutakuza birevu bye biruwa?

17 Ate kiri kitya ku kukuza ebirevu? Amateeka ga Musa geetaagisanga abasajja okukuza ebirevu. Naye Abakristaayo tebakyafugibwa Mateeka ago. (Leev. 19:27; 21:5; Bag. 3:​24, 25) Mu bitundu ebimu, omuntu bw’akuza ebirevu era n’abikomola bulungi tekirina muntu yenna gwe kyesitazza era tekiremesa bantu kuwuliriza mawulire ga Bwakabaka ge tubuulira. Mu butuufu, ab’oluganda abamu abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina balina ebirevu. Wadde kiri kityo, ab’oluganda abamu mu bitundu ebyo bayinza okusalawo obutakuza birevu. (1 Kol. 8:​9, 13; 10:32) Mu bitundu ebirala, si kya bulijjo omusajja okukuza ebirevu era mu bitundu ng’ebyo kiba tekisaana Mukristaayo kukuza birevu. Mu butuufu, Omukristaayo mu kitundu ng’ekyo bw’akuza ebirevu, aba taweesa Katonda kitiibwa era aba aliko eky’okunenyezebwa.​—Bar. 15:​1-3; 1 Tim. 3:​2, 7.

18, 19. Okubuulirira okuli mu Mikka 6:8 kutuyamba kutya?

18 Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa tatuteerawo lukunkumuli lw’amateeka agakwata ku ngeri y’okwambalamu n’okwekolako. Mu kifo ky’ekyo, atuwadde eddembe ery’okwesalirawo nga tugoberera emisingi egiri mu Byawandiikibwa. Bwe kityo, ne bwe kituuka ku nnyambala n’okwekolako, tusobola okukiraga nti ‘tuli beetoowaze nga tutambula ne Katonda waffe.’​—Mi. 6:8.

19 Tukiraga nti tuli beetoowaze nga tukikkiriza nti Yakuwa mulongoofu, mutukuvu, era nti y’asobola okutuwa obulagirizi obusingayo obulungi. Bwe tuba abeetoowaze, tujja kufuba okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa. Ate era tukiraga nti tuli beetoowaze nga tufaayo ku nneewulira n’endowooza z’abalala.

20. Engeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako esaanidde kukwata etya ku balala?

20 Engeri gye twambalamu erina okuleetera abalala okukirabirawo nti tuweereza Yakuwa. Baganda baffe ne bannyinaffe n’abantu bonna okutwalira wamu balina okukiraba nti ddala tukiikirira Katonda waffe omutukuvu. Katonda atuteereddewo emitindo gye egy’obutuukirivu era tufuba okugikolerako. Ab’oluganda ne bannyinaffe abafuba okwambala mu ngeri ereetera abantu ab’emitima emirungi okwagala okuyiga amazima era ereetera Yakuwa ettendo basiimibwa nnyo. Bwe tusalawo mu ngeri ey’amagezi ku bikwata ku by’okwambala kijja kuleetera Yakuwa, Oyo ayambadde “ekitiibwa n’obulungi,” ettendo.​—Zab. 104:​1, 2.