Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beekutula ku Ddiini ez’Obulimba

Beekutula ku Ddiini ez’Obulimba

“Mukifulumemu abantu bange.”—KUB. 18:4.

ENNYIMBA: 72, 82

1. Kiki ekiraga nti abantu ba Katonda bandivudde mu buwambe mu Babulooni Ekinene, era bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

MU KITUNDU ekyayita, twalaba engeri Abakristaayo ab’amazima gye baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Kyokka baali tebajja kusigala mu buwambe obwo emirembe gyonna. Singa baali ba kusigala mu buwambe mu madiini ag’obulimba emirembe gyonna, ekiragiro kya Katonda ekigamba nti “Mukifulumemu abantu bange” kyandibadde tekirina makulu. (Soma Okubikkulirwa 18:4.) Mu kitundu kino, tugenda kulaba ddi abantu ba Katonda lwe baava mu buwambe mu Babulooni Ekinene! Naye tugenda kusooka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Ku bikwata ku Babulooni Ekinene, kiki Abayizi ba Bayibuli kye baali bamaliridde okukola ng’omwaka gwa 1914 tegunnatuuka? Baganda baffe baali banyiikivu kwenkana wa mu mulimu gw’okubuulira mu kiseera kya Ssematalo I? Okuba nti abantu ba Katonda baali beetaaga okuwabulwa mu kiseera ekyo, kye kiraga nti baali mu buwambe mu Babulooni Ekinene?

“OKUGWA KWA BABULOONI”

2. Kiki Abayizi ba Bayibuli kye baali bamaliridde okukola nga ne Ssematalo I tannabaawo?

2 Ng’ebula emyaka nga 40 Ssematalo I atandike, Ow’oluganda Charles Taze Russell ne banne baakiraba nti amadiini agaali geeyita Amakristaayo gaali tegayigiriza mazima agali mu Bayibuli. Bwe kityo, baamalirira okwekutula ku madiini ago ag’obulimba. Mu 1879, Zion’s Watch Tower yagamba nti eddiini yonna egamba nti ekkiririza mu Kristo naye nga yeenyigira mu by’obufuzi eba kitundu kya Babulooni Ekinene, Bayibuli kyeyogerako nga malaaya.​—Soma Okubikkulirwa 17:1, 2.

3. Kiki Abayizi ba Bayibuli kye baakola ekyalaga nti baali bamalirivu okwekutula ku madiini ag’obulimba? (Laba ekifaananyi ku lupapula 26.)

3 Abantu abaali batya Katonda baali bamanyi kye baalina okukola. Baali bakimanyi nti tebasobola kufuna mikisa gya Katonda singa beeyongera okuba n’akakwate konna n’amadiini ag’obulimba. Bwe kityo, bangi ku Bayizi ba Bayibuli baawandiika amabaluwa agalaga nti baali bavudde mu madiini ag’obulimba. Abamu ku bo baagenda mu makanisa ge baalimu ne basoma amabaluwa ago ng’abalala bonna bawulira. Ekyo bwe kyabanga tekisoboka, baawanga buli muntu eyali mu ddiini mwe bavudde ebbaluwa eraga nti bo bagivuddemu. Abayizi ba Bayibuli baali bamalirivu okwekutulira ddala ku madiini ag’obulimba! Emabegako, okukola ekintu ng’ekyo kyali kisobola okubaviirako okuttibwa. Naye emyaka gya 1870 we gyatuukira, gavumenti zaali tezikyawagira nnyo madiini. Kati abantu baali basobola okwogera kyere ebikwata ku Bayibuli, era nga basobola okuwakanya ebyo amadiini bye gaayigirizanga ebikontana ne Bayibuli.

4. Ssematalo I bwe yali agenda mu maaso, abantu ba Katonda baalina ndowooza ki ku Babulooni Ekinene? Nnyonnyola.

4 Abayizi ba Bayibuli baakiraba nti kyali tekimala kubuulira ab’eŋŋanda zaabwe, mikwano gyabwe, n’abantu abaali mu madiini ge baali bavuddemu ndowooza gye baalina ku madiini ag’obulimba. Abantu mu nsi yonna baali beetaaga okukimanya nti Babulooni Ekinene malaaya! Bwe kityo, okuva mu Ddesemba 1917 okutuuka ku ntandikwa ya 1918, Abayizi ba Bayibuli mu kiseera ekyo abaali abatono, baagaba n’obuyiikivu tulakiti eziwerera ddala 10,000,000 ezaalina omutwe “Okugwa kwa Babulooni.” Ekyo kyanyiiza nnyo abakulembeze b’amadiini; naye Abayizi ba Bayibuli beeyongera okugaba tulakiti ezo. Baali bamalirivu okugondera “Katonda so si bantu.” (Bik. 5:29) Ekyo kiraga ki? Kiraga nti Ssematalo I bwe yali agenda mu maaso, abantu ba Katonda baali tebatwalibwa mu buwambe mu madiini ag’obulimba, wabula baali bageekutulako bwekutuzi, era nga bayamba n’abalala okugeekutulako.

BABUULIRA N’OBUNYIIKIVU MU KISEERA KYA SSEMATALO I

5. Bukakafu ki obulaga nti ab’oluganda abaaliwo mu kiseera kya Ssematalo I baali banyiikivu?

5 Emabega twali tulowooza nti Yakuwa yanyiigira abantu be abaaliwo mu kiseera kya Ssematalo I olw’okuba tebeenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira mu kiseera ekyo. Era twali tulowooza nti ekyo kyaleetera Yakuwa okubaleka ne batwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene okumala akaseera. Kyokka oluvannyuma, abaweereza ba Katonda abaaliwo mu myaka gya 1914-1918 baakiraga nti baakola kyonna ekisoboka okubuulira. Era waliwo obukakafu bungi obulaga nti baabuulira n’obunyiikivu mu kiseera ekyo. Ebyo bye tweyongedde okumanya ebikwata ku Bayizi ba Bayibuli abaaliwo mu kiseera ekyo bituyambye okwongera okutegeera ebintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli.

6, 7. (a) Kusoomooza ki Abayizi ba Bayibuli kwe baafuna mu kiseera kya Ssematalo I? (b) Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Abayizi ba Bayibuli abo baali banyiikivu.

6 Abayizi ba Bayibuli abaaliwo mu kiseera kya Ssematalo I (1914-1918) baabuulira n’obunyiikivu mu kiseera ekyo. Waliwo ensonga ezitali zimu ezaakifuula ekizibu gye bali okubuulira mu kiseera ekyo, era tugenda kulabayo ensonga bbiri. Esooka, ekintu ekikulu kye baali bakola nga babuulira kwe kugabira abantu ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Ekitabo The Finished Mystery bwe kyawerebwa mu 1918, tekyali kyangu eri baganda baffe abo kubuulira. Baali tebannayiga bulungi kukozesa Bayibuli yokka nga buulira, era nga kumpi ekitabo ekyo kye kyabakoleranga ogw’okwogera. Ey’okubiri, mu mwaka gwa 1918 waabalukawo obulwadde bwa Sseseba. Obulwadde obwo obwali obw’akabi ennyo bwakifuula kizibu eri ababuulizi okubuulira mu bifo ebitali bimu. Wadde kyali kityo, abayizi ba Bayibuli baakola kyonna ekisoboka okubuulira.

Abayizi ba Bayibuli baali banyiikivu nnyo! (Laba akatundu 6, 7)

7 Mu mwaka gwa 1914 gwokka, Abayizi ba Bayibuli abo abaali abatono baalaga abantu abasukka mu 9,000,000 vidiyo eyitibwa “Photo-Drama of Creation.” Vidiyo eyo yali eraga ebyafaayo by’omuntu okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi okutuukira ddala ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi. Kirowoozeeko: Abantu abaalaba vidiyo eyo mu 1914 baali bangi okusinga ababuulizi b’Obwakabaka abaliwo leero mu nsi yonna! Lipoota ziraga nti mu mwaka gwa 1916 abantu nga 809,393 be baabeerangawo mu nkuŋŋaana z’abaweereza ba Yakuwa mu Amerika, kyokka mu 1918 omuwendo ogwo gwali gulinye ng’abantu ababaawo mu nkuŋŋaana bali nga 949,444. Tewali kubuusabuusa nti Abayizi ba Bayibuli abaaliwo mu kiseera ekyo baali banyiikivu!

8. Ab’oluganda baalabirirwa batya mu by’omwoyo mu kiseera kya Ssematalo I?

8 Mu kiseera kya Ssematalo I, ab’oluganda abaali batwala obukulembeze baafuba okuwa emmere ey’eby’omwoyo Abayizi ba Bayibuli abaali mu bitundu by’ensi ebitali bimu n’okubazzaamu amaanyi. Ekyo kyayamba nnyo ab’oluganda okusigala nga babuulira. Ow’oluganda Richard H. Barber, eyaliwo mu kiseera ekyo yagamba nti: “Nga tuyitira mu balabirizi abatonotono abakyalira ebibiina, twasobola okutuusa magazini ya Watch Tower mu Canada gye yali ewereddwa. Nnafuna enkizo okuweereza ab’oluganda abatali bamu ekitabo ekiyitibwa The Finished Mystery kubanga ebitabo byabwe baali babibawambyeko. Ow’oluganda Rutherford yatugamba okutegeka enkuŋŋaana ennene mu bibuga ebitali bimu mu Amerika n’okusindika ab’oluganda abatali bamu okuwa emboozi bazzeemu bakkiriza bannaffe amaanyi.”

BAALI BEETAAGA OKULONGOOSEBWA

9. (a) Lwaki abantu ba Katonda baali beetaaga okuwabulwa wakati wa 1914 ne 1919? (b) Okuba nti baali beetaaga okuwabulwa tekyandituleetedde kulowooza ki?

9 Kyokka tekiri nti buli kintu Abayizi ba Bayibuli kye baakola wakati w’omwaka gwa 1914 ne 1919 kyali kituukana n’emisingi gya Bayibuli. Wadde nga baali beesimbu, baganda baffe abo baali tebategeera bulungi ekyo Yakuwa kye yalagira bwe yagamba nti tulina okugondera ab’obuyinza. (Bar. 13:1) N’olwekyo, okutwalira awamu tebeewalira ddala kubaako ludda lwe bawagira mu lutalo. Ng’ekyokulabirako, pulezidenti wa Amerika bwe yalangirira nti Maayi 30, 1918, lwali lugenda kuba lunaku lwa kusabira mirembe, magazini ya Watch Tower yakubiriza Abayizi ba Bayibuli okwegatta ku bantu abalala okusabira emirembe. Ab’oluganda abamu baatuuka n’okuwagira olutalo olwo mu by’ensimbi, era abamu baayingira n’amagye. Kyokka kiba kikyamu okulowooza nti Abayizi ba Bayibuli baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene mu kiseera ekyo olw’okuba baalina ebintu bye baali bakola ebikontana n’emisingi gya Bayibuli. Mu butuufu, Abayizi ba Bayibuli baali bakimanyi nti balina okweyawula ku madiini ag’obulimba, era mu kiseera kya Ssematalo I, baali banaatera okwekutulira ddala ku Babulooni Ekinene.​—Soma Lukka 12:47, 48.

10. Abayizi ba Bayibuli baakiraga batya nti baali bassa ekitiibwa mu bulamu?

10 Wadde ng’Abayizi ba Bayibuli baali tebategeera bulungi nsonga ekwata ku butabaako ludda lwe bawagira mu bya bufuzi by’ensi eno nga ffe bwe tukimanyi leero, baali bakimanyi nti kikyamu okutta. Mu butuufu, n’ab’oluganda abaayingira amagye ne bagenda mu ddwaniro beewala okukozesa ebyokulwanyisa bye baalina okutta. Abamu ku bo bwe baagaana okutta, baabateeka mu bifo eby’omu maaso mu ddwaniro nga baagala battibwe.

11. Ab’obuyinza beeyisa batya ng’Abayizi ba Bayibuli bagaanye okulwana mu lutalo?

11 Sitaani yanyiiga nnyo olw’okulaba engeri bakkiriza bannaffe abo gye baayolekamu obwesigwa eri Yakuwa mu kiseera ekyo. N’ekyavaamu, yabaleetera ‘emitawaana nga yeeyambisa amateeka.’ (Zab. 94:20) Bwe yali ayogera n’Ow’oluganda Rutherford ne Van Amburgh, omuduumizi w’eggye lya Amerika ayitibwa Franklin Bell yagamba nti: ‘Ekitongole ky’amateeka ekya Amerika kyasaba olukiiko lw’Amerika olukulu okuyisa etteeka okutta buli muntu yenna agaana okulwana mu lutalo.’ Omuduumizi w’eggye oyo yali ayogera ku Bayizi ba Bayibuli. Nga musunguwavu nnyo, omuduumizi w’eggye oyo yagamba Ow’oluganda Rutherford nti: “Etteeka eryo teryayisibwa kubanga [Pulezidenti wa Amerika] Wilson teyaliwagira; naye tumanyi engeri gye tujja okubakwasaamu!”

12, 13. (a) Lwaki ab’oluganda munaana baasindikibwa mu kkomera bamaleyo ebbanga ddene? (b) Okuba nti ab’oluganda abo baasibibwa mu kkomera kyabaleetera okwekkiriranya? Nnyonnyola.

12 Ng’omuduumizi w’eggye oyo bwe yagamba, ab’obuyinza baafuna engeri y’okubonerezaamu Abayizi ba Bayibuli. Ow’oluganda Rutherford, Van Amburgh, n’ab’oluganda abalala mukaaga abaali bakiikirira Watch Tower Society baakwatibwa. Omulamuzi eyasala omusango gwabwe yagamba nti ab’oluganda abo baali ba mutawaana nnyo n’okusinga ekibinja ky’abasirikale ba Bugirimaani. Era yagamba nti ab’oluganda abo baali bayisizzaamu nnyo amaaso gavumenti, amagye, n’amadiini amalala gonna, era nti baalina okubonerezebwa ennyo. (Faith on the March, ekyawandiikibwa A. H. Macmillan, lup. 99) Bwe kityo, ab’oluganda abo baasindikibwa mu kkomera mu Atlanta, Georgia bamaleyo ebbanga ddene. Naye olutalo bwe lwaggwa, baateebwa era n’emisango gye baali babasibyeko ne gibaggibwako.

13 Wadde nga baali basibiddwa mu kkomera, ab’oluganda abo omunaana baasigala beesigwa eri Yakuwa. Mu bbaluwa gye baawandiikira pulezidenti wa Amerika nga bamusaba bateebwe baagamba nti: “Bayibuli egamba nti ‘Tottanga.’ N’olwekyo, omuntu yenna eyeewaayo eri Katonda naye n’amujeemera mu bugenderevu tasobola kusiimibwa mu maaso ge, era ajja kuzikirizibwa. Eyo ye nsonga lwaki ffe tetusobola kutta muntu yenna.” Ab’oluganda abo baayoleka obuvumu mu kuwandiikira pulezidenti ebbaluwa eyo! Ab’oluganda abo baali bamalirivu okusigala nga beesigwa eri Yakuwa!

ABANTU BA KATONDA BASUMULULWA!

14. Okusinziira ku Byawandiikibwa, kiki ekyaliwo okuva mu 1914 okutuuka mu 1919?

14 Malaki 3:1-3 (Soma.) woogera ku kintu ekyaliwo okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa y’omwaka gwa 1919. Mu kiseera ekyo “abaana ba Leevi” baalongoosebwa. Yakuwa Katonda, “Mukama ow’amazima,” yajjira wamu ne Yesu Kristo, “omubaka w’endagaano,” ne balambula abo abaali baweerereza mu yeekaalu ey’eby’omwoyo. Oluvannyuma lw’okulongoosebwa, abantu ba Yakuwa baali basobola okukwasibwa obuvunaanyizibwa obulala. Mu 1919, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yalondebwa okuwa abaweereza ba Katonda emmere ey’eby’omwoyo. (Mat. 24:45) Kati abantu ba Katonda baali tebakyali mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Okuva mu kiseera ekyo, abantu ba Katonda bazze beeyongera okuyiga ebimukwatako era ne beeyongera okumwagala. Mu butuufu abantu ba Katonda basanyufu nnyo! [1]

15. Tuyinza tutya okiraga nti tusiima Yakuwa olw’okutununula okuva mu Babulooni Ekinene?

15 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti twasumululwa okuva mu Babulooni Ekinene! Sitaani tasobodde kusaanyaawo kusinza okw’amazima. Kyokka tetusaanidde kwerabira nsonga lwaki Yakuwa yatusumulula okuva mu madiini ag’obulimba. Yakuwa ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa. (2 Kol. 6:1) Naye abantu bangi nnyo bakyali mu madiini ag’obulimba era beetaaga okuyambibwa. N’olwekyo ka ffenna tufube okukoppa bakkiriza bannaffe abeesigwa, tuyambe abantu bangi nga bwe kisoboka okuva mu madiini ag’obulimba.

^ [1] (akatundu 14) Ebyatuuka ku Bayudaaya nga bali mu buwambe e Babulooni n’ebyo ebyatuuka ku Bakristaayo oluvannyuma lw’obwakyewaggula okutandikawo bifaanagana. Kyokka, tetusobola kugamba nti okutwalibwa kw’Abayudaaya mu buwambe kwali kusonga ku ebyo ebyandituuse ku Bakristaayo ng’obwakyewaggula bubaluseewo. N’olwekyo tetusaanidde kulowooza nti buli kimu ekyatuuka ku Bayudaaya nga bali mu buwambe kirina kye kyali kiraga ekyandituuse ku Bakristaayo. Ebimu ku byaliwo byawukana. Ng’ekyokulabirako, Abayudaaya baamala emyaka 70 mu buwambe, ate bo Abakristaayo baamala ebyasa ebiwerako nga bali mu buwambe.