Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Amagedoni kye ki?

Abamu bagamba nti . . .

lujja kuba lutalo abantu mwe bajja okuzikiririza ensi yonna, oba okusaanyaawo obutonde, nga bakozesa eby’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya. Ggwe olowooza otya?

Bayibuli ky’egamba

Amagedoni lwe ‘lutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,’ nga Katonda azikiriza abantu abibi.​—Okubikkulirwa 16:14, 16.

Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli

  • Ku lutalo Amagedoni Katonda tajja kusaanyaawo nsi, wabula ajja kuzikiriza abantu aboonoona ensi.—Okubikkulirwa 11:18.

  • Olutalo Amagedoni lujja kukomya entalo zonna.—Zabbuli 46:8, 9.

Kisoboka okuwonawo ku lutalo Amagedoni?

Wandizzeemu otya?

  • Yee

  • Nedda

  • Oboolyawo

Bayibuli ky’egamba

“Ekibiina ekinene” eky’abantu okuva mu mawanga gonna bajja kuwonawo mu “kibonyoobonyo ekinene,” ekijja okukomekkerezebwa n’olutalo Amagedoni.​—Okubikkulirwa 7:9, 14.

Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli

  • Katonda ayagala abantu bangi nga bwe kisoboka okuwonawo ku lutalo Amagedoni. Tayagala muntu yenna azikirizibwe.​—Ezeekyeri 18:32.

  • Bayibuli eraga engeri omuntu gy’ayinza okuwonawo ku lutalo Amagedoni.​—Zeffaniya 2:3.