Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Weesigenga Yakuwa era Kolanga Ebirungi”

“Weesigenga Yakuwa era Kolanga Ebirungi”

“Weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi . . . era beeranga mwesigwa mu by’okola.”Zab. 37:3.

ENNYIMBA: 133, 63

1. Busobozi ki Yakuwa bwe yawa abantu?

YAKUWA yatonda abantu n’abawa obusobozi obw’enjawulo. Yabawa obusobozi obw’okulowooza bwe basobola okukozesa okugonjoola ebizibu n’okukola enteekateeka. (Nge. 2:11) Yawa abantu obusobozi bw’okweteerawo ebiruubirirwa n’okubituukako. (Baf. 2:13) Era yatonda abantu nga balina omuntu ow’omunda abasobozesa okwawulawo ekirungi n’ekibi, ekyo ne kibayamba okwewala okukola ebintu ebibi n’okutereeza ebyo ebiba bisobye.Bar. 2:15.

2. Yakuwa ayagala tukozese tutya obusobozi bwaffe?

2 Yakuwa atusuubira okukozesa obulungi obusobozi bwe yatuwa. Lwaki? Olw’okuba Yakuwa atwagala, akimanyi nti bwe tukozesa obulungi obusobozi bwe yatuwa kituleetera essanyu. Okuyitira mu Kigambo kye, Yakuwa atukubiriza okukozesa obulungi obusobozi bwaffe. Ng’ekyokulabirako, mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, tusoma nti: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi”; era tusoma nti: “Buli kintu omukono gwo kye gufuna okukola, okikolanga n’amaanyi go gonna.” (Nge. 21:5; Mub. 9:10) Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani tusoma nti: “Buli lwe tuba tufunye akakisa, ka tukolerenga bonna ebirungi”; era tusoma nti: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala.” (Bag. 6:10; 1 Peet. 4:10) Mu butuufu, Yakuwa ayagala tukozese obusobozi bwaffe okutuganyula n’okuganyula abalala.

3. Kiki ekiraga nti obusobozi abantu bwe balina buliko ekkomo?

3 Ku luuyi olulala, Yakuwa amanyi nti obusobozi abantu bwe balina buliko ekkomo. Tetusobola kumalawo butali butuukirivu, kibi, na kufa; era tetusobola kusalirawo balala kya kukola kubanga buli omu alina eddembe ery’okwesalirawo. (1 Bassek. 8:46) Ate era ne bwe tuba nga tulina bingi bye tumanyi, tusigala tuli ng’abaana mu maaso ga Yakuwa.Is. 55:9.

Bw’oba oyolekagana n’ebizibu, “weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi”

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu buli mbeera gye tubaamu, tusaanidde okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa, nga tuli bakakafu nti ajja kutuyamba era atukolere ebyo bye tutasobola kukola. Mu kiseera kye kimu, tulina okukola kyonna kye tusobola okugonjoola ebizibu bye tuba tufunye n’okuyamba abalala. (Soma Zabbuli 37:3.) Ekyo kitegeeza nti tulina ‘okwesiga Yakuwa era tulina okukola ebirungi’; tulina ‘okuba abeesigwa mu bye tukola.’ Kati ka tulabe ebyo bye tuyinza okuyigira ku Nuuwa, Dawudi, n’abaweereza ba Katonda abalala abeesiga Yakuwa ne bakola ebirungi. Abaweereza ba Yakuwa abo baamanya ebyo bye baali basobola okukola n’ebyo bye baali batasobola kukola, ekyo ne kibayamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

BWE TUBA NGA TWETOOLODDWA ABANTU ABAKOLA EBIBI

5. Embeera yali etya mu kiseera kya Nuuwa?

5 Mu kiseera kya Nuuwa, ensi yali “ejjudde ebikolwa eby’obukambwe” n’ebikolwa eby’obugwenyufu. (Lub. 6:4, 9-13) Nuuwa yali akimanyi nti Yakuwa yali ajja kuzikiriza bantu abo ababi. Wadde kyali kityo, Nuuwa ateekwa okuba nga yanakuwalanga nnyo okulaba abantu nga bakola ebintu ebibi. Kyokka Nuuwa yakimanya nti waaliwo ebintu bye yali asobola okukola n’ebyo bye yali tasobola kukola.

Ng’abantu tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe (Laba akatundu 6-9)

6, 7. (a) Biki Nuuwa bye yali tasobola kukola? (b) Embeera yaffe efaananako etya eya Nuuwa?

6 Nuuwa bye yali tasobola kukola: Wadde nga Nuuwa yabuulira n’obunyiikivu ng’alabula abantu, yali tasobola kukaka bantu kukkiriza ebyo bye yali abuulira, era yali tasobola kwanguya Mataba kujja. Nuuwa yalina okwesiga Yakuwa nti ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okuzikiriza abantu ababi, era nti ekyo yandikikoze mu kiseera ekituufu.Lub. 6:17.

7 Naffe tuli mu nsi ejjudde ebikolwa ebibi, era tukimanyi nti Yakuwa ajja kuzikiriza abantu ababi. (1 Yok. 2:17) Wadde kiri kityo, tetusobola kukaka bantu kukkiriza ‘mawulire malungi ag’Obwakabaka.’ Era tetusobola kwanguyaako ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Mat. 24:14, 21) Okufaananako Nuuwa, naffe tulina okwesiga Yakuwa nti ajja kubaako ky’akolawo mu kiseera ekituufu. (Zab. 37:10, 11) Tuli bakakafu nti ekiseera kye ekigereke bwe kinaatuuka, Yakuwa tajja kukkiriza nsi eno embi kusigalawo wadde olunaku olumu.Kaab. 2:3.

8. Kiki Nuuwa kye yeemalirako? (Laba ekifaananyi ku lupapula 7.)

8 Nuuwa bye yali asobola okukola: Mu kifo ky’okuleka ebintu bye yali tasobola kukola okumumalamu amaanyi, Nuuwa ebirowoozo bye yabimalira ku ebyo bye yali asobola okukola. ‘Ng’omubuulizi w’obutuukirivu,’ Nuuwa yeeyongera okubuulira n’obunyiikivu obubaka Katonda bwe yali amulagidde okubuulira. (2 Peet. 2:5) Ekyo kyanyweza okukkiriza kwe. Ng’oggyeeko okubuulira, Nuuwa era yakozesa amaanyi ge n’amagezi ge gonna okutuukiriza omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde ogw’okuzimba eryato.Soma Abebbulaniya 11:7.

9. Tuyinza tutya okukoppa Nuuwa?

9 Okufaananako Nuuwa, tufuba okuba “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58) Emirimu gye tukola gizingiramu okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima, okukola nga bannakyewa ku nkuŋŋaana ennene, oba okuweereza ku Beseri. N’okusinga byonna, tukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira, kubanga gutuyamba okunyweza essuubi lyaffe. Mwannyinaffe omu omwesigwa yagamba nti: “Bw’oba obuulira abantu ku birungi Obwakabaka bwa Katonda bye bugenda okukola, okiraba nti abantu bangi tebalina ssuubi era balaba nti ebizibu bye balina bya lubeerera.” Mu butuufu, okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kituyamba okunyweza essuubi lyaffe n’okuba abamalirivu okweyongera okudduka embiro ez’obulamu.1 Kol. 9:24.

BWE TUKOLA ENSOBI

10. Kiki Dawudi kye yakola?

10 Yakuwa yagamba nti Dawudi yali musajja ‘asanyusa omutima gwe.’ (Bik. 13:22) Okutwalira awamu, Dawudi yali mwesigwa eri Yakuwa. Wadde kyali kityo, lumu yakola ekibi eky’amaanyi. Dawudi yayenda ku Basuseba. Yagezaako okukweka ekibi kye yali akoze ng’akola enteekateeka Uliya, omwami wa Basuseba, attibwe mu lutalo. Ate era ebbaluwa eyali erambika olukwe lwe yali akoze olw’okutta Uliya yagikwasa Uliya agitwale ewa Yowaabu! (2 Sam. 11:1-21) Kyokka ebibi Dawudi bye yakola byamanyibwa. (Mak. 4:22) Ekyo bwe kyabaawo, kiki Dawudi kye yakola?

Nga waliwo ebibi bye twakola (Laba akatundu 11-14)

11, 12. (a) Dawudi bwe yamala okwonoona, kiki kye yali tasobola kukola? (b) Bwe twenenya mu bwesimbu, tusaanidde kuba bakakafu ku ki?

11 Dawudi kye yali tasobola kukola: Dawudi yali tasobola kuggyawo kibi kye yali akoze. Era yali tasobola kwewala bizibu ebyava mu kibi ekyo. Mu butuufu, ebimu ku bizibu ebyo yayolekagana nabyo obulamu bwe bwonna. (2 Sam. 12:10-12, 14) N’olwekyo, Dawudi yali yeetaaga okuba n’okukkiriza. Yalina okuba omukakafu nti singa yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa yandimusonyiye era n’amuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebyava mu kibi kye yakola.

12 Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna twonoona. Ebibi ebimu bye tukola biba bya maanyi okusinga ku birala. Ate era ebibi ebimu bye tukola tetusobola kubiggyawo. Tuba tulina okwolekagana n’ebizibu ebiba bivudde mu bibi ebyo. (Bag. 6:7) Naye bwe twesiga Yakuwa, tuba bakakafu nti bwe twenenya mu bwesimbu, ajja kutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye tuba twolekagana nabyo ne bwe kiba nti ebizibu ebyo ffe twabyereetera.Soma Isaaya 1:18, 19; Ebikolwa 3:19.

13. Dawudi yasobola atya okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa?

13 Dawudi kye yali asobola okukola: Dawudi yakkiriza Yakuwa okumuyamba okuwona mu by’omwoyo. Ekyo yakikola ng’akkiriza okuwabulwa okwava eri Yakuwa okuyitira mu nnabbi Nasani. (2 Sam. 12:13) Dawudi era yasaba Yakuwa n’amwatulira ebibi bye, era n’amusaba amusonyiwe. (Zab. 51:1-17) Mu kifo ky’okukkiriza ebibi bye yakola okumumalamu amaanyi, Dawudi yayigira ku nsobi ze. Mu butuufu, teyaddamu kukola bibi ebyo eby’amaanyi. Dawudi yafa nga mwesigwa eri Yakuwa.Beb. 11:32-34.

14. Kiki kye tuyigira ku Dawudi?

14 Kiki kye tuyigira ku Dawudi? Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tulina okusaba Yakuwa atusonyiwe. Tulina okumwatulira ebibi byaffe. (1 Yok 1:9) Era tulina okutuukirira abakadde batuyambe mu by’omwoyo. (Soma Yakobo 5:14-16.) Bwe tukozesa ebintu Yakuwa by’ataddewo okutuyamba, kiraga nti tumwesiga nti asobola okutusonyiwa n’okutuwonya mu by’omwoyo. Tulina okuyigira ku nsobi zaffe, ne tweyongera okuweereza Yakuwa, era ne tweyongera okunyweza essuubi lyaffe.Beb. 12:12, 13.

EMBEERA ENDALA

Nga tuli balwadde (Laba akatundu 15)

15. Kiki kye tuyigira ku Kaana?

15 Waliwo n’abaweereza ba Yakuwa abalala ab’edda abaamwesiga era ne babaako kye bakolawo nga bali mu mbeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, mu maanyi ge, Kaana yali tasobola kuggyawo kizibu kye yalina eky’obutazaala. Naye yali mukakafu nti Yakuwa ajja kumuyamba, era bw’atyo yeeyongera okugendanga ku weema entukuvu okusinza Yakuwa era n’amubuulira byonna ebyamuli ku mutima. (1 Sam. 1:9-11) Tuyinza tutya okukoppa Kaana? Bwe tuba tulina obulwadde obw’amaanyi oba nga tulina ekizibu ekirala kyonna kye tutasobola kuggyawo, tusaanidde okukwasa Yakuwa byonna ebitweraliikiriza nga tuli bakakafu nti atufaako. (1 Peet. 5:6, 7) Era tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okubaawo mu nkuŋŋaana n’okukozesa mu bujjuvu ebintu ebirala byonna Yakuwa by’atuwadde okutunyweza mu by’omwoyo.Beb. 10:24, 25.

Ng’omwana waffe avudde ku Yakuwa (Laba akatundu 16)

16. Kiki abazadde kye bayigira ku Samwiri?

16 Ate bo abazadde abalina abaana abavudde ku Yakuwa? Nnabbi Samwiri yali tasobola kukaka baana be kukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu gye yali abayigirizza. (1 Sam. 8:1-3) Ensonga yazirekera Yakuwa. Wadde kyali kityo, ye Samwiri yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa era n’asanyusa omutima gwe. (Nge. 27:11) Leero, abazadde abamu beesanze mu mbeera efaananako ng’eya Samwiri. Bakakafu nti, okufaananako taata w’omwana omujaajaamya eyogerwako mu lugero lwa Yesu, Yakuwa mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi abeenenya. (Luk. 15:20) Abazadde abo bafuba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa, nga basuubira nti ekyokulabirako ekirungi kye bateekawo kiyinza okuyamba abaana baabwe okukomawo eri Yakuwa.

Nga tuli baavu (Laba akatundu 17)

17. Kiki kye tuyigira ku nnamwandu omwavu?

17 Kati lowooza ku, nnamwandu omwavu eyaliwo mu kiseera kya Yesu. (Soma Lukka 21:1-4.) Nnamwandu oyo yali talina ky’asobola kukolawo kumalawo bikolwa bibi ebyali bikolebwa mu yeekaalu. (Mat. 21:12, 13) Ate era kirabika teyalina nnyo kye yali asobola kukolawo kutereeza mbeera ye ey’eby’enfuna. Wadde kyali kityo, yawaayo “obusente bubiri,” wadde nga ‘bwe bwokka bwe yalina.’ Nnamwandu oyo yeesiga Yakuwa, nga mukakafu nti singa akulembeza ebintu eby’omwoyo, Yakuwa yandimulabiridde. Okukkiriza kwe yalina kwamukubiriza okuwagira okusinza okw’amazima. Naffe tuli bakakafu nti bwe tukulembeza Obwakabaka, Yakuwa ajja kutulabirira.Mat. 6:33.

18. Waayo ekyokulabirako ky’omuweereza wa Yakuwa eyalina endowooza ennuŋŋamu.

18 Ne leero waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abakiraze nti beesiga Yakuwa. Lowooza ku w’Oluganda Malcolm, eyasigala nga mwesigwa okutuukira ddala bwe yafa mu 2015. Mu kiseera kye yamala ng’aweereza Yakuwa, ye ne mukyala we baafuna ebizibu ebitali bimu. Yagamba nti: “Oluusi tufuna ebizibu nga tetubisuubira ate ng’ebimu bya maanyi nnyo. Naye Yakuwa ayamba abo abamwesiga.” Magezi ki Malcolm ge yawa? Yagamba nti: “Saba Yakuwa akuyambe okusigala ng’omuweereza n’obunyiikivu. Essira lisse ku ebyo by’osobola okukola, so si ku ebyo by’otosobola kukola.” *

19. (a) Lwaki ekyawandiikibwa ky’omwaka 2017 kituukirawo? (b) Onookolera otya ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2017?

19 Leero ng’abantu ababi ‘beeyongerera ddala okuba ababi,’ tusuubira okweyongera okufuna ebizibu eby’amaanyi. (2 Tim. 3:1, 13) N’olwekyo, tulina okufuba okulaba nti tetukkiriza bizibu bye tufuna kutumalamu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okwesiga Yakuwa okutuyamba era naffe tusaanidde okubaako kye tukolawo okusobola okugonjoola ebizibu bye tufuna. N’olwekyo kituukirawo okuba nti ekyawandiikibwa ky’omwaka 2017 kiri nti: “Weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi”!Zab. 37:3.

Ekyawandiikibwa ky’Omwaka 2017: “Weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi.”Zabbuli 37:3

^ lup. 18 Laba Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 15, 2013, lup. 17-20.