Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Omutume Pawulo yagamba nti Yakuwa “tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira.” (1 Kol. 10:13) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yakuwa amanya nga bukyali ebigezo bye tusobola okugumira n’alyoka asalawo bigezo ki bye tunaayolekagana nabyo?

Ekyo bwe kiba ekituufu lowooza ku mbeera eno. Omulenzi omu bwe yetta, kitaawe yabuuza nti: ‘Ddala Yakuwa yakiraba nga bukyali nti nze ne mukyala wange twandisobodde okugumira ekizibu kino n’alyoka akikkiriza kibeewo?’ Ddala kiba kituufu okulowooza nti Yakuwa y’asalawo buli kimu ekitutuukako mu bulamu bwaffe?

Bwe twekenneenya ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 10:13 tukiraba nti tekiba kituufu kulowooza nti Yakuwa alaba nga bukyali ebizibu bye tusobola okugumira n’alyoka asalawo bizibu ki by’anakkiriza okututuukako. Ka tulabe ensonga nnya lwaki tugamba bwe tutyo.

Ensonga esooka, Yakuwa yawa abantu eddembe ly’okwesalirawo. Yakuwa ayagala twesalirewo engeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe. (Ma. 30:19, 20; Yos. 24:15) Bwe tusalawo okutambulira mu makubo ge, atuwa obulagirizi. (Nge. 16:9) Naye bwe tusalawo mu ngeri etali ya magezi, atuleka ne twolekagana n’ebizibu ebivudde mu kusalawo kwaffe okubi. (Bag. 6:7) Singa Yakuwa y’asalawo ebizibu bye tunaayolekagana nabyo n’ebyo bye tutajja kwolekagana nabyo, ddala tuba tulina eddembe ery’okwesalirawo?

Ensonga ey’okubiri, Yakuwa taziyiza ‘biseera bizibu n’ebintu ebitasuubirwa’ kututuukako. (Mub. 9:11) Omuntu ayinza okugwa ku kabenje olw’okuba mu kifo ekikyamu, mu kiseera ekikyamu. Yesu yayogera ku kabenje akaagwaawo, omunaala bwe gwagwa, era abantu 18 ne bafa. Yesu yakiraga nti Katonda si ye yaleetera abantu abo okufa. (Luk. 13:1-5) Kyandibadde kya magezi okulowooza nti Katonda y’asalawo abanaafa n’abo abataafe nga wagguddewo akabenje oba ekintu ekirala ekitasuubirwa?

Ensonga ey’okusatu, engeri buli omu ku ffe gye yeeyisaamu erina akakwate n’ensonga ekwata ku bugolokofu bw’omuntu Sitaani gye yaleetawo. Sitaani yagamba nti abaweereza ba Yakuwa bamuweereza olw’okuba alina by’abawa, era nti singa tufuna ebizibu tetusobola kusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. (Yob. 1:9-11; 2:4; Kub. 12:10) Singa Yakuwa aziyiza ebizibu ebimu okututuukako, olowooza tekyandireetedde ebigambo Sitaani bye yayogera okulabika ng’ebituufu?

Ensonga ey’okuna, Yakuwa asalawo obutamanya ebintu ebimu ebijja okututuukako mu biseera eby’omu maaso. Kyo kituufu nti Yakuwa bw’aba ayagala asobola okumanya byonna ebinaatutuukako mu biseera eby’omu maaso. (Is. 46:10) Naye Bayibuli eraga nti Yakuwa asalawo obutamanya ebintu ebimu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Lub. 18:20, 21; 22:12) Yakuwa atwagala nnyo era mutuukirivu, n’olwekyo tayingirira ddembe lye yatuwa ery’okwesalirawo.Ma. 32:4; 2 Kol. 3:17.

Kati olwo Pawulo bwe yagamba nti “Katonda . . . tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira” yali ategeeza ki? Wano Pawulo yali ayogera ku ekyo Yakuwa ky’akola nga twolekagana n’ekizibu, so si nga tetunnayolekagana nakyo. * Ebigambo bya Pawulo ebyo bitukakasa nti ka tube nga tufunye kizibu ki, bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuwa obuyambi bwe twetaaga okusobola okukyaŋŋanga. (Zab. 55:22) Kati ka tulabe ensonga bbiri lwaki Pawulo yayogera bw’atyo.

Esooka, ebizibu bye tufuna ‘bituuka ku bantu bonna.’ Nga tukyali mu nsi ya Sitaani eno, tujja kweyongera okufuna ebizibu, oboolyawo ng’ebimu bya maanyi nnyo. Naye bwe twesiga Yakuwa, tujja kusobola okugumira ebizibu ebyo, era tujja kusigala nga tuli beesigwa gy’ali. (1 Peet. 5:8, 9) Mu 1 Abakkolinso essuula 10 tusoma ku bizibu ebimu Abayisirayiri bye baafuna nga bali mu ddungu. (1 Kol. 10:6-11) Abo abeesiga Yakuwa baasobola okugumira ebizibu ebyo. Naye Abayisirayiri abamu baajeemera Yakuwa, bwe kityo, tebaasigala nga beesigwa gy’ali.

Ey’okubiri, “Katonda mwesigwa.” Ebyo bye tusoma ku ngeri Katonda gy’azze akolaganamu n’abantu be biraga nti alaga okwagala okutajjulukuka eri “abo abamwagala n’abo abakwata ebiragiro bye.” (Ma. 7:9) Era biraga nti bulijjo Katonda atuukiriza ebyo by’aba asuubizza. (Yos. 23:14) N’olwekyo tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa: (1) Tajja kukkiriza kizibu kyonna kye tuba twolekagana nakyo kusukka ku kigero kye tusobola okugumira, era (2) ‘ajja kututeerawo obuddukiro.’

Yakuwa “atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna”

Yakuwa ateerawo atya abo abamwesiga obuddukiro nga bafunye ebizibu? Kyo kituufu nti Yakuwa bw’aba ayagadde asobola okuggyawo ekizibu. Naye Pawulo yagamba nti: “[Yakuwa] ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.” N’olwekyo, emirundi egisinga obungi Yakuwa atuteerawo obuddukiro ng’atuwa ebyo bye twetaaga okusobola okugumira ebizibu. Lowooza ku bintu bino wammanga Yakuwa by’akozesa okutuyamba okugumira ebizibu:

  • “Atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Kol. 1:3, 4) Yakuwa asobola okutubudaabuda ng’akozesa Ekigambo kye, omwoyo gwe omutukuvu, n’emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa omuddu omwesigwa.Mat. 24:45; Yok. 14:16, obugambo obuli wansi, Bar. 15:4.

  • Asobola okutuwa obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (Yok. 14:26) Bwe tufuna ebizibu, omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okujjukira ebyawandiikibwa ebisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

  • Asobola okukozesa bamalayika okutuyamba.Beb. 1:14.

  • Asobola okutuyamba ng’ayitira mu bakkiriza bannaffe. Bakkiriza bannaffe basobola okutugumya okuyitira mu bye boogera ne bye bakola.Bak. 4:11.

Kati olwo ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 10:13 bitegeeza ki? Yakuwa si y’alondawo ebizibu bye tujja okufuna. Naye bwe tufuna ebizibu ne twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, tajja kuleka bizibu ebyo kusukka ku kigero kye tusobola okugumira; ajja kututeerawo obuddukiro tusobole okubigumira. Ng’ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi!

^ lup. 2 Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okukemebwa’ era kisobola okutegeeza “okugezesebwa” oba “ekizibu.”