Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Ŋŋanyuddwa Nnyo mu Kutambula n’Abantu ab’Amagezi

Ŋŋanyuddwa Nnyo mu Kutambula n’Abantu ab’Amagezi

NKYAJJUKIRA olunaku olumu ku makya, nze ne bannange bwe twali mu kiyumba ekyali ekinnyogovu. Ffenna empewo yali etuyiseemu era nga tukankana. Ebyo byaliwo emyaka mingi emabega nga ndi mu Brookings, mu ssaza ly’e South Dakota, mu Amerika. Twali tuyimiridde okumpi n’ekibenseni ekyalimu amazzi agannyogoga. Kati ka mbabuulire ebinkwatako musobole okumanya ensonga lwaki nnali mu kifo ekyo.

AMAKA MWE NNAKULIRA

Taata wange wange omuto Alfred ng’ali ne taata

Nnazaalibwa nga Maaki 7, 1936, era nze nnali nsembayo obuto mu baana abana bazadde bange be baazaala. Twali tubeera ku faamu emu entono eyali mu buvanjuba bwa South Dakota. Okulima kyali kintu kikulu nnyo ewaffe, naye si kye kyali kisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Bazadde bange baabatizibwa mu 1934 ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Olw’okuba baali beewaddeyo eri Yakuwa, okukola Katonda by’ayagala kye kintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwabwe. Taata wange Clarence awamu ne taata wange omuto Alfred, baaweerezaako ng’abakwanaganya b’akakiiko k’abakadde mu kibiina ky’e Conde, mu South Dakota.

Ffenna ng’amaka tetwayosanga nkuŋŋaana na kubuulira nnyumba ku nnyumba. Ekyokulabirako ekirungi bazadde baffe kye baatuteerawo era n’okutendekebwa kwe baatuwa byatuyamba nnyo ffe abaana. Nze ne mwannyinaze Dorothy twafuuka ababuulizi nga tulina emyaka mukaaga. Mu 1943, nnayingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, mu kiseera ekyo eryali lyakatandikibwawo.

Nga mpeereza nga payoniya mu 1952

Twanyumirwanga nnyo okugenda ku nkuŋŋaana ennene. Ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1949 mu kibuga Sioux Falls, South Dakota, Ow’oluganda Grant Suiter ye yali omwogezi akyadde. Emboozi gye yawa yalina omutwe ogugamba nti, “Enkomerero eri Kumpi n’Okusinga Bwe Musuubira!” Yakikkaatiriza nti Abakristaayo bonna abeewaayo eri Yakuwa balina okulangirira n’obunyiikivu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, obwamala edda okussibwawo mu ggulu. Ekyo kyankubiriza okwewaayo eri Yakuwa. Ku lukuŋŋaana olunene olwaddako olwali mu Brookings, nnali omu ku abo abaali mu kiyumba ekinnyogovu, kye njogeddeko waggulu, abaali balindiridde okubatizibwa. Ffenna abana baatubatiriza mu kibenseni eky’ekyuma, nga Noovemba 12, 1949.

Nneeteerawo ekiruubirirwa eky’okufuuka payoniya. Nnatandika okuweereza nga payoniya nga Jjanwali 1, 1952, nga ndi wa myaka 15. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.” Waaliwo ab’eŋŋanda zange bangi ab’amagezi abampagira bwe nnasalawo okuweereza nga payoniya. (Nge. 13:20) Taata wange omuto ayitibwa Julius, eyali ow’emyaka 60, naye yali payoniya era twabuuliriranga wamu. Wadde nga yali ansinga emyaka mingi, twanyumirwanga okubuulirira awamu. Nnamuyigirako ebintu bingi. Waayita akaseera katono Dorothy naye n’atandika okuweereza nga payoniya.

ABALABIRIZI ABAKYALIRA EBIBIINA BANNYAMBA NNYO

Bwe nnali nkyali muvubuka, bazadde bange baayitanga abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe ne babeerako naffe. Omu ku bo ye Jesse Cantwell ne mukyala we Lynn era bannyamba nnyo. Be bamu ku abo abandeetera okusalawo okuweereza nga payoniya. Banfaako nnyo era ekyo kyankubiriza okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Bwe baabanga bakyalidde ebibiina ebyali okumpi n’ewaffe, oluusi bampitanga okugenda okubuulirako awamu nabo. Ekyo kyandeeteranga essanyu lingi era kyanyweza okukkiriza kwange!

Omulabirizi omulala eyannyamba ennyo ye Bud Miller ne mukyala we Joan. Mu kiseera we baakyalira ekibiina kyaffe nnalina emyaka 18, ng’egyo gye myaka gye nnalina okugenderako okulabika mu maaso g’akakiiko akayingiza abantu mu magye. Akakiiko ako kaali kaagala nkole omulimu ogwali gukontana n’ekiragiro kya Yesu eky’obutabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi. Naye nze nnali njagala kubeera mubuulizi w’amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Yok. 15:19) Bwe kityo, nnasaba abaali ku kakiiko ako bantwale ng’omubuulizi.

Kyankwatako nnyo Ow’oluganda Miller bwe yasalawo okugenda nange okulabika mu maaso g’akakiiko ako. Ow’oluganda oyo teyali wa nsonyi era yali tamala gatiisibwatiisibwa. Kyaŋŋumya nnyo okuba n’omusajja ng’oyo eyali amanyi ennyo Ebyawandiikibwa. Omwaka gwa 1954 bwe gwali gunaatera okuggwaako, akakiiko ako kakkiriza okuntwala ng’omubuulizi. Ekyo kyansobozesa okutuuka ku kiruubirirwa kyange ekirala eky’eby’omwoyo.

Nga ndi ku kimotoka kya faamu, nga nnaakatandika okuweereza ku Beseri

Mu kiseera ekyo, nnayitibwa okugenda okuweereza ku Beseri, era nnakolanga ku Watchtower Farm, eyali e Staten Island, mu New York. Nnaweerezaayo okumala emyaka esatu. Ekiseera kye nnamala nga mpeereza eyo, nnayiga ebintu bingi kubanga nnakolera wamu n’abantu ab’amagezi bangi.

OKUWEEREZA KU BESERI

Nga tuli n’Ow’oluganda Franz ku WBBR

Ku faamu y’e Staten Island kwaliko ne leediyo y’Abajulirwa ba Yakuwa eyali eyitibwa WBBR, era leediyo eyo yaliwo okuva mu 1924 okutuuka mu 1957. Ababeseri abaali wakati w’e 15 ne 20 be baakolanga ku faamu eyo. Bangi ku ffe twali bato era nga tetulina bumanyirivu. Naye twakolanga n’Ow’oluganda Eldon Woodworth, eyali omukulu mu myaka era yali omu ku baafukibwako amafuta. Olw’okuba ow’oluganda oyo yali wa magezi era ng’atufaako nnyo, yatuyamba okunywera mu by’omwoyo. Ebiseera ebimu obutali butuukirivu bw’abalala bwe bweyolekanga, Ow’oluganda Woodworth yagambanga nti, “Okuba nti Yakuwa asobola okukozesa abantu abatatuukiridde okukola by’ayagala kikolwa kya kitalo.”

Harry Peterson yali munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira

Ate era twafuna n’enkizo okukolerako awamu n’Ow’oluganda Frederick W. Franz. Olw’okuba ow’oluganda oyo yali mugezi nnyo ate ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa, twaganyulwa nnyo mu kukolera awamu naye, era yatufangako kinnoomu. Ow’oluganda Harry Peterson ye yali atufumbira emmere. Kyatwanguyiranga okumuyita Peterson mu kifo ky’okumuyita erinnya lye, Papargyropoulos. Ow’oluganda oyo naye yali yafukibwako amafuta era yali munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira. Wadde ng’Ow’oluganda Peterson yakolanga n’obunyiikivu omulimu gwe yalina ku Beseri, teyalagajjalira mulimu gwa kubuulira. Buli mwezi yagabanga magazini bikumi na bikumi. Ate era yali amanyi nnyo Ebyawandiikibwa era yaddamu ebibuuzo byaffe bingi bye twamubuuzanga.

BANNYINAZE BANNYAMBA NNYO

Ebibala bye twakungulanga ku faamu twabiteekanga mu mikebe ne tubitereka. Buli mwaka twaterekanga emikebe gy’ebibala nga 45,000 era Ababeseri be baabiryanga. Bwe nnali nkola omulimu ogwo, nnafuna enkizo okukolerako awamu ne mwannyinaze Etta Huth, eyali omukyala ow’amagezi. Ye yali avunaanyizibwa ku bipimo by’eddagala lye twassanga mu bibala ne bitayonooneka. Bannyinaffe abalala ab’omu kitundu nabo bajjanga ku faamu okutuyambako mu mulimu ogwo era Etta ye yabawanga eby’okukola. Wadde nga Etta yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi ku faamu, yassanga ekitiibwa mu b’oluganda abaali batwala obukulembeze. Mu butuufu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.

Nga ndi ne Angela ne Etta Huth

Angela Romano y’omu ku bannyinaffe abajjanga okutuyambako mu mulimu gw’okuteeka ebibala mu mikebe. Etta ye yayigiriza Angela amazima. N’olwekyo, okuweereza ku Beseri kyansobozesa okuzuula omuntu omulala ow’amagezi kati gwe mmaze naye emyaka 58. Nze ne Angela twafumbiriganwa mu Apuli 1958, era tufunye enkizo nnyingi nga tuweerereza wamu Yakuwa. Angela abadde mwesigwa nnyo eri Yakuwa era ekyo kinywezezza nnyo obufumbo bwaffe. Mu butuufu, mmwesiga nnyo.

TUWEEREZA NG’ABAMINSANI ERA TUKYALIRA EBIBIINA

Leediyo ya WBBR bwe yatundibwa mu 1957, nnaweerezaako ku Beseri y’omu Brooklyn okumala ekiseera kitono. Bwe nnawasa Angela, nnava ku Beseri era ffembi twaweereza nga bapayoniya mu Staten Island okumala emyaka ng’esatu. Okumala ekiseera, nnakolerako abaagula leediyo yaffe era kati leediyo eyo yali eyitibwa WPOW.

Nze ne Angela twewala okwetuumako ebintu ebingi tusobole okuweereza wonna we twandibadde twetaagibwa. Mu 1961 twakkiriza okugenda okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Falls City, mu ssaza lya Nebraska. Naye bwe twali twakatuukayo, twayitibwa okugenda mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka mu South Lansing, New York, era mu kiseera ekyo essomero eryo lyali limala omwezi gumu. Essomero eryo lyatunyumira nnyo era twali twesunga okukozesa ebyo bye twali tuyize nga tuzzeeyo e Nebraska. Naye ate kyatwewuunyisa nnyo bwe twasindikibwa okugenda okuweereza ng’abaminsani mu Cambodia! Ensi ya Cambodia erabika bulungi nnyo era obulamu bwayo bwali bwa njawulo nnyo ku obwo bwe twali tumanyiiridde. Twali twesunga nnyo okubuulira amawulire amalungi mu nsi eyo.

Kyokka embeera y’eby’obufuzi mu Cambodia yayonooneka ne kiba nti twalina okuvaayo ne tugenda mu bukiikaddyo bwa Vietnam. Naye waayita emyaka ebiri gyokka ne ndwala nnyo, bwe kityo ne batukubiriza okuddayo mu nsi yaffe. Kyantwalira ekiseera okutereera era bwe nnatereera twaddamu okuyingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

Nga ndi ne Angela mu 1975, nga bagenda okutubuuza ebibuuzo ku ttivi

Mu Maaki 1965 twaweebwa enkizo ey’okutandika okukyalira ebibiina. Nze ne Angela, twamala emyaka 33 nga tukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina, era twayambangako ne mu kuteekateeka enkuŋŋaana ennene. Nnanyumirwanga nnyo enkuŋŋaana ennene era kyandeeteranga essanyu lingi okwenyigira mu kuziteekateeka. Twamala emyaka mingi nga tuweerereza mu kibuga New York, era waliwo enkuŋŋaana eziwerako ze twafunira mu kisaawe ky’e Yankee.

NZIRAMU OKUWEEREZA KU BESERI ERA NSOMESA MU MASOMERO

Nze ne Angela twafuna enkizo endala nnyingi. Ng’ekyokulabirako, mu 1995, nnaweebwa enkizo okusomesa mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza. Waayita emyaka esatu ne tuyitibwa okugenda okuweereza ku Beseri. Kyansanyusa nnyo okuddamu okuweereza ku Beseri oluvannyuma lw’emyaka 40 bukya nvaayo. Okumala ekiseera, nnaweereza mu Kitongole eky’Obuweereza era nnasomesa mu masomero g’ekibiina agatali gamu. Mu 2007 Akakiiko Akafuzi kaateeka amasomero gonna agabeera ku Beseri wansi w’ekitongole ekirabirira amasomero g’ekibiina (Theocratic Schools Department), era nnamala emyaka egiwerako nga nkola ng’omulabirizi w’ekitongole ekyo.

Mu myaka egiyise, wabaddewo enkyukakyuka ezitali zimu mu masomero g’ekibiina. Mu 2008, Essomero ly’Abakadde lyatandikibwawo. Mu myaka ebiri egyaddirira, abakadde abasukka mu 12,000 be baatendekebwa mu ssomero eryo ku Beseri y’e Patterson n’ey’e Brooklyn. Essomero eryo likyagenda mu maaso mu bitundu by’ensi ebitali bimu, era ab’oluganda ab’enjawulo baatendekebwa okusomesa mu ssomero eryo. Mu 2010 Essomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza lyatandika okuyitibwa Essomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina, era oluvannyuma essomero eddala lyatandikibwawo eriyitibwa Essomero ly’Abakristaayo Abafumbo.

Mu mwaka gw’Obuweereza 2015, amasomero ago abiri gaagattibwa wamu ne gafuuka Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Ab’oluganda ne bannyinaffe abafumbo n’abo abatali bafumbo basobola okugenda mu ssomero eryo. Ab’oluganda bangi baasanyuka nnyo okukimanya nti essomero eryo lyali ligenda kukubirizibwa mu nsi ezitali zimu. Kindeetera essanyu lingi okukiraba nti waliwo amasomero mangi agatendeka ab’oluganda ne bannyinaffe, era kinsanyusa nnyo okusisinkana ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abajja mu masomero ago.

Bwe ndowooza ku myaka gye mmaze nga mpeereza Yakuwa okuva lwe nnabatizibwa mu kibenseni ekyalimu amazzi agaali gannyogoga, nneebaza Yakuwa olw’abantu be ab’amagezi abannyambye okutambulira mu mazima. Mu bo mubaddemu ab’emyaka egy’enjawulo era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo, naye nga bonna baagala nnyo Yakuwa. Ekyo kyeyolekedde mu bikolwa byabwe ne mu ndowooza ennuŋŋamu gye boolese. Mu kibiina kya Yakuwa mulimu abantu bangi ab’amagezi be tusobola okutambula nabo. Ntambudde nabo era ŋŋanyuddwa nnyo.

Kinsanyusa nnyo okusisinkana abayizi abava mu nsi ezitali zimu