Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bulijjo “Omulamuzi w’Ensi Yonna” by’Akola Biba Bituufu

Bulijjo “Omulamuzi w’Ensi Yonna” by’Akola Biba Bituufu

“Olwazi, by’akola bituukiridde, amakubo ge gonna ga bwenkanya.”MA. 32:4.

ENNYIMBA: 112, 89

1. Ibulayimu yakiraga atya nti yali mukakafu nti Yakuwa mwenkanya? (Laba ekifaananyi waggulu.)

“OMULAMUZI w’ensi yonna taakole kituufu?” (Lub. 18:25) Ibulayimu yabuuza ekibuuzo ekyo okulaga nti yali mukakafu nti omusango Yakuwa gwe yali agenda okusalira Sodomu ne Ggomola yali agenda kugusala mu bwenkanya. Ibulayimu yali akimanyi bulungi nti Yakuwa yali tayinza ‘kutta batuukirivu awamu n’ababi.’ Nga wayise emyaka nga 400, Yakuwa yeeyogerako bw’ati: “Olwazi, by’akola bituukiridde, amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; mutuukirivu era mwenkanya.”Ma. 31:19; 32:4.

2. Lwaki Yakuwa tasobola kukola bintu bitali bya bwenkanya?

2 Lwaki Ibulayimu yali mukakafu nti bulijjo Yakuwa by’akola biba bya bwenkanya? Kubanga Yakuwa ye nsibuko y’obwenkanya n’obutuukirivu. Mu butuufu, ebigambo ‘obwenkanya n’obutuukirivu’ bitera okukozesebwa awamu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Okutwalira awamu, tewali njawulo wakati w’obwenkanya n’obutuukirivu. Okuva bwe kiri nti emitindo gya Yakuwa gya butuukirivu, bulijjo alamula mu bwenkanya. Bayibuli egamba nti: “[Yakuwa] ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.”Zab. 33:5.

3. Waayo ekyokulabirako ekiraga obutali bwenkanya obuliwo leero.

3 Abantu ab’emitima emirungi kibasanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa mwenkanya, kubanga leero ensi gye tulimu ejjudde obutali bwenkanya. Abantu bangi leero bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu basingisibwa emisango gye batazza era ne basibibwa mu makomera. Oluusi wamala kuyitawo emyaka mingi nga basibiddwa mu kkomera ne kiryoka kizuulibwa nti tebaalina musango. Obutali bwenkanya ng’obwo buleetera abantu ennaku n’obulumi bungi. Kyokka waliwo obutali bwenkanya obulala obuyinza okuba obuzibu ennyo okugumira. Bwe buluwa obwo?

OBUTALI BWENKANYA MU KIBIINA

4. Kiki ekiyinza okugezesa okukkiriza kw’Omukristaayo?

4 Abakristaayo basuubira nti oluusi abantu abatasinza Yakuwa bajja kubayisa mu ngeri etali ya bwenkanya. Kyokka singa tulaba obutali bwenkanya oba singa tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya mu kibiina, kiyinza okugezesa ennyo okukkiriza kwaffe. Wandikoze ki singa owulira nti omu ku bakkiriza banno akuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya oba singa owulira nti oyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya mu kibiina? Ekyo onookikkiriza okukwesittaza?

5. Lwaki tekisaanidde kutwewuunyisa singa omu ku bakkiriza bannaffe atuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya?

5 Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, tusaanidde okukimanya nti oluusi abalala mu kibiina bayinza okutuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya oba nti ffe kennyini tuyinza okuyisa abalala mu kibiina mu ngeri etali ya bwenkanya. (1 Yok. 1:8) Wadde ng’ekyo tekitera kubaawo, bwe kibaawo, Abakristaayo abeesigwa tekibeewuunyisa era tekibeesittaza. Eyo ye nsonga lwaki okuyitira mu Kigambo kye Yakuwa atuwadde obulagirizi obusobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga waliwo mukkiriza munnaffe atuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya.Zab. 55:12-14.

6, 7. Mbeera ki etali ya bwenkanya ow’oluganda omu gye yayolekagana nayo mu kibiina, era ngeri ki ennungi ze yayoleka ezaamuyamba okwaŋŋanga embeera eyo?

6 Lowooza ku w’Oluganda Willi Diehl. Okuva mu 1931, Diehl yaweereza n’obwesigwa ku Beseri y’e Bern, mu Switzerland. Mu 1946, yagenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogw’omunaana mu Amerika. Bwe yava mu ssomero eryo, yasindikibwa okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Switzerland. Ng’ayogera ku bimukwatako, Ow’oluganda Diehl yagamba nti: “Mu Maayi 1949, nnategeeza ofiisi y’ettabi ey’e Bern nti nnali ŋŋenda kuwasa.” Ofiisi y’ettabi ly’e Bern yamuddamu etya? “Tewali nkizo gy’ogenda kusigaza okuggyako ey’okuweereza nga payoniya owa bulijjo.” Ow’oluganda Diehl yagattako nti: “Sakkirizibwanga kuwa mboozi . . . Ab’oluganda bangi baali tebakyatubuuza era nga batuyisa ng’abantu abaagobebwa mu kibiina.”

7 Kiki Ow’oluganda Diehl kye yakola? Agamba nti: “Twali tukimanyi nti okusinziira ku Byawandiikibwa si kikyamu kuwasa oba kufumbirwa. N’olwekyo, twasaba nnyo Yakuwa atunyweze era ne tumwesiga.” Oluvannyuma lw’ekiseera, endowooza etaali nnuŋŋamu ku bufumbo ab’oluganda abo gye baalina yatereezebwa era Ow’oluganda Diehl n’addamu okuweebwa enkizo ze. Yakuwa yamuwa emikisa olw’okusigala nga mwesigwa gy’ali. * N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Singa nze nnayisibwa bwe ntyo, nnandibadde n’endowooza nga Diehl gye yalina? Nnandirindiridde Yakuwa oba nandigezezzaako okulwanyisa obutali bwenkanya obwo?’Nge. 11:2; soma Mikka 7:7.

8. Lwaki oyinza okulowooza mu bukyamu nti oyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba nti waliwo omuntu mu kibiina ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya?

8 Oluusi mu bukyamu oyinza okulowooza nti oyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba nti omuntu omu mu kibiina ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Tusobola okulowooza tutyo olw’okuba tetutuukiridde era olw’okuba oluusi tuba tetumanyi byonna bizingirwamu. Ka kibe nti kye tulowooza kituufu oba kikyamu, singa twesiga Yakuwa, ne tumusaba, era ne tumunywererako, kijja kutuyamba ‘obutasunguwalira Yakuwa.’Soma Engero 19:3.

9. Byakulabirako ki bye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako?

9 Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kulaba ebyokulabirako bisatu ebiraga obutali bwenkanya obwaliwo mu bantu ba Yakuwa mu biseera by’edda. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebikwata ku Yusufu n’engeri baganda be gye baamuyisaamu. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri Yakuwa gye yakwatamu Akabu, kabaka wa Isirayiri, era n’ebyo ebyaliwo nga Peetero ali mu Antiyokiya ekya Busuuli. Nga twetegereza ebyokulabirako bino, weetegereze ebintu ebinaakuyamba okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo era ng’onyweredde ku Yakuwa, nnaddala ng’owulira nti oyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya.

YUSUFU YAYISIBWA MU NGERI ETALI YA BWENKANYA

10, 11. (a) Yusufu yayisibwa atya mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Kakisa ki Yusufu ke yafuna ng’ali mu kkomera?

10 Yusufu yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa eyayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya abantu abatali bamu. Naye ekyasinga okumuluma kwe kuba nti baganda be bennyini nabo baamuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya. Yusufu bwe yali akyali mutiini, baganda be baamutunda mu buddu era n’atwalibwa e Misiri nga teyeeyagalidde. (Lub. 37:23-28; 42:21) Oluvannyuma lw’ekiseera ng’ali mu Misiri, baamusibako omusango ogw’okugezaako okukwata muka mukama we era ne bamusiba mu kkomera nga tasoose kuwozesebwa. (Lub. 39:17-20) Okuva mu kiseera Yusufu lwe yatundibwa mu buddu okutuusa lwe yaggibwa mu kkomera, gyali emyaka 13. Biki bye tuyigira ku Yusufu ebisobola okutuyamba nga waliwo mukkiriza munnaffe atuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya?

11 Yusufu yafuna akakisa okubuulirako musibe munne ku buzibu bwe. Omusibe oyo bwe yali nga tannaleetebwa mu kkomera, yali musenero wa Falaawo. Omusajja oyo bwe yali akyali mu kkomera, yaloota ekirooto era Yusufu n’amuyamba okutegeera amakulu gaakyo. Yusufu yagamba omusajja oyo nti yali agenda kusumululwa addemu okuweereza ng’omusenero mu lubiri lwa Falaawo. Yusufu bwe yali abuulira omusajja oyo amakulu g’ekirooto ekyo, yakozesa akakisa ako okumubuulira ku mbeera ye. Tulina bye tusobola okuyigira ku ebyo Yusufu bye yayogera n’ebyo by’ataayogera.Lub. 40:5-13.

12, 13. (a) Ebigambo Yusufu bye yagamba omusenero biraga bitya nti embeera gye yalimu yali emunyiga? (b) Kiki Yusufu ky’ataabuulira musenero wa Falaawo?

12 Soma Olubereberye 40:14, 15. Weetegereze nti Yusufu yagamba omusajja oyo nti yali ‘yawambibwa.’ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa okuwambibwa, obutereevu kitegeeza “okubbibwa.” Kyeyoleka lwatu nti Yusufu yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ate era Yusufu yategeeza omusajja oyo nti omusango gwe baali bamusibidde teyaguzza. Era bw’atyo yagamba omusenero oyo amwogerereyo ewa Falaawo. Lwaki? Yusufu yagamba nti: “Nsobole okuggibwa mu kifo kino.”

13 Embeera Yusufu gye yalimu yali temunyiga? Tewali kubuusabuusa nti yali emunyiga. Yusufu yali akimanyi bulungi nti yali ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Eyo ye nsonga lwaki embeera ye yagitegeezaako omusenero wa Falaawo, kubanga yali akimanyi nti yali asobola okumuyamba. Kyokka Ebyawandiikibwa tebiraga nti Yusufu alina gwe yabuulirako, k’abe Falaawo, nti baganda be be baamutunda. Mu butuufu, baganda be bwe bajja mu Misiri ne batabagana ne Yusufu, Falaawo yabaaniriza era n’abakkiriza okubeera mu Misiri “mu kitundu ky’ensi [eyo] ekisinga obulungi.”Lub. 45:16-20.

Okulaalaasa ebigambo kyongera bwongezi kwonoona mbeera (Laba akatundu 14)

14. Kiki ekinaatuyamba obutamala googera bubi ku bakkiriza bannaffe nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya mu kibiina?

14 Singa Omukristaayo alowooza nti ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya, asaanidde okwegendereza obutamala gagenda ng’abuulira buli omu ku nsonga ze. Kya lwatu nti singa Omukristaayo akimanyaako nti omu ku bakkiriza banne akoze ekibi eky’amaanyi, asaanidde okutegeeza abakadde ensonga eyo. (Leev. 5:1) Naye ensonga bw’eteba ya maanyi nnyo, Omukristaayo asaanidde okufuba okutabagana ne mukkiriza munne awatali kubuulirako muntu mulala yenna ku nsonga ye, ka babe abakadde mu kibiina. (Soma Matayo 5:23, 24; 18:15.) Kikulu okukolera ku misingi gya Bayibuli mu mbeera ng’ezo. Emirundi egimu tuyinza n’okukizuula nti tetuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya nga bwe tubadde tulowooza. Mu butuufu, kituleetera essanyu okuba nti tetwagenda nga twonoona erinnya lya mukkiriza munnaffe gwe twali tulowooza nti yali atuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya! Kijjukire nti ka kibe nti twayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba nedda, okugenda nga tulaalaasa ebigambo tekivaamu kalungi konna. Bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa n’eri abantu be, kijja kutuyamba okwewala okukola ensobi eyo. Ng’ayogera ku oyo “atambulira mu bugolokofu,” omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti, “takozesa lulimi lwe kuwaayiriza balala, takola muntu munne kintu kibi, era tayogera bubi ku mikwano gye.”Zab. 15:2, 3; Yak. 3:5.

LOWOOZA KU NKOLAGANA YO NE YAKUWA

15. Enkolagana Yusufu gye yalina ne Yakuwa yamuganyula etya?

15 Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku nkolagana Yusufu gye yalina ne Yakuwa. Mu myaka 13 Yusufu gye yamala ng’ayita mu mbeera enzibu, yakyoleka nti yalina endowooza ya Yakuwa. (Lub. 45:5-8) Teyanenya Yakuwa olw’embeera enzibu gye yali ayitamu. Wadde nga teyeerabira kubonaabona kwe yayitamu, teyasiba kiruyi. N’ekisinga obukulu, teyakkiriza butali butuukirivu bw’abalala n’ebibi abalala bye baamukola okumuleetera okuva ku Yakuwa. Olw’okuba Yusufu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa, kyamusobozesa okulaba engeri Yakuwa gye yaggyawo obutali bwenkanya era n’amuwa emikisa awamu n’ab’eŋŋanda ze.

16. Bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya mu kibiina, lwaki tusaanidde okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa?

16 Naffe tusaanidde okutwala enkolagana yaffe ne Yakuwa nga ya muwendo nnyo era tusaanidde okugikuuma. Tetusaanidde kukkiriza butali butuukirivu bwa baganda baffe kutuggya ku Katonda waffe gwe twagala era gwe tusinza. (Bar. 8:38, 39) Bakkiriza bannaffe bwe batuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya, tusaanidde okukoppa Yusufu nga tweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era nga tutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Bwe tukola kyonna ekisoboka okutereeza embeera nga tukolera ku Byawandiikibwa, ensonga tusaanidde okuzireka mu mikono gya Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja kutereeza ebintu mu ngeri entuufu era mu kiseera ekituufu.

WEESIGE “OMULAMUZI W’ENSI YONNA”

17. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga “Omulamuzi w’ensi yonna”?

17 Nga tukyali mu nsi eno embi, tusuubira okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ebiseera ebimu ggwe oba omuntu omulala gw’omanyi mu kibiina ayinza okuyisibwa mu ngeri gy’olowooza nti si ya bwenkanya. Ekyo bwe kibaawo, tokikkiriza kukwesittaza. (Zab. 119:165) Mu kifo ky’ekyo, sigala ng’oli mwesigwa eri Katonda era nyiikira okumusaba. Ate era osaanidde okukimanya nti oluusi oba tomanyi byonna bizingirwamu. Olw’okuba tetutuukiridde, oluusi ebintu tuyinza okubitegeera mu ngeri enkyamu. Nga bwe tulabye mu kyokulabirako kya Yusufu, tusaanidde okwewala okulaalaasa ebigambo, kubanga ekyo kyongera bwongezi kwonoona mbeera. Ate era mu kifo ky’okusalawo okugonjoola ebintu mu magezi gaffe, tusaanidde okwesiga Yakuwa era tumulindirire okutuusa lw’alitereeza ensonga. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa nga bwe yawa Yusufu emikisa. Tusaanidde okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa “Omulamuzi w’ensi yonna” by’akola biba bituufu, kubanga “amakubo ge gonna ga bwenkanya.”Lub. 18:25; Ma. 32:4.

18. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebyokulabirako ebirala bibiri ebiraga obutali bwenkanya obwaliwo mu bantu ba Katonda mu biseera by’edda. Ekyo kijja kutuyamba okulaba engeri obwetoowaze n’okusonyiwa abalala gye kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bwenkanya.

^ lup. 7 Laba ebikwata ku Diehl mu kitundu ekirina omutwe “Jehovah Is My God, in Whom I Will Trust” mu Watchtower eya Noovemba 1, 1991.