Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Kye Weeyama Okituukirizanga”

“Kye Weeyama Okituukirizanga”

“Oteekwa okutuukiriza bye weeyama eri Yakuwa.”MAT. 5:33.

ENNYIMBA: 63, 59

1. (a) Kiki Yefusa ne Kaana kye baali bafaanaganya? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

YEFUSA yali mukulembeze muvumu era yali mulwanyi muzira. Kaana yali mukyala mwetoowaze era nga muwulize. Ng’oggyeeko okuba nti bombi baali basinza Katonda ow’amazima, kiki ekirala Yefusa ne Kaana kye baali bafaanaganya? Buli omu ku bo alina kye yeeyama eri Yakuwa era n’akituukiriza. Ekyokulabirako Yefusa ne Kaana kye baateekawo kisobola okuyamba abo bonna ababaako kye beeyama eri Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino bisatu: Obweyamo kye ki? Lwaki kikulu nnyo okutuukiriza ebyo bye tuba tweyamye eri Katonda? Biki bye tuyigira ku Yefusa ne Kaana?

2, 3. (a) Obweyamo kye ki? (b) Ebyawandiikibwa byogera ki ku bweyamo bwe tuba tukoze eri Katonda?

2 Okusinziira ku Bayibuli, obweyamo kiba kintu omuntu ky’asuubiza Katonda. Omuntu ayinza okusuubiza okubaako ekintu ky’akola, okubaako ekirabo ky’awaayo, okubaako obuweereza bwe yeenyigiramu, oba okubaako ebintu ebimu bye yeewala. Obweyamo omuntu abukola kyeyagalire. Wadde kiri kityo, obweyamo omuntu bw’akola Katonda abutwala nga bukulu nnyo era amusuubira okubutuukiriza. Mu maaso ga Yakuwa obweyamo bulinga ekirayiro. Ekirayiro bye bigambo omuntu by’ayogera okukakasa nti ajja kukola ekintu ky’aba agambye oba nti tajja kukikola. (Lub. 14:22, 23; Beb. 6:16, 17) Ebyawandiikibwa biraga bitya nti kikulu okutuukiriza obweyamo bwe tukola eri Katonda?

3 Amateeka ga Musa gaagamba nti: “Omusajja bw’aneeyamanga eri Yakuwa oba bw’anaalayiranga . . . , takyusanga ky’ayogedde. Byonna by’anaabanga yeeyamye alina okubituukiriza.” (Kubal. 30:2) Ne Sulemaani yagamba nti: “Buli lw’obaako kye weeyamye eri Katonda, tolwangawo kukituukiriza; kubanga Katonda tasanyukira basirusiru. Kye weeyama okituukirizanga.” (Mub. 5:4) Yesu naye yakiraga nti kikulu okutuukiriza ebyo bye tweyama eri Katonda bwe yagamba nti: “Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti: ‘Tolayiranga n’ototuukiriza, naye oteekwa okutuukiriza bye weeyama eri Yakuwa.’”Mat. 5:33.

4. (a) Lwaki kikulu okutuukiriza ebyo bye tuba tweyamye eri Katonda? (b) Kiki kye tugenda okulaba ku Yefusa ne Kaana?

4 Kikulu nnyo okutuukiriza ebyo bye tuba tweyamye eri Katonda, kubanga ekyo kikwata ku nkolagana yaffe naye. Dawudi yawandiika nti: “Ani ayinza okwambuka ku lusozi lwa Yakuwa, era ani ayinza okuyimirira mu kifo kye ekitukuvu? . . . Oyo atalayiridde bulamu bwange [obulamu bwa Yakuwa] kirayiro kya bulimba.” (Zab. 24:3, 4; obugambo obuli wansi.) Kiki Yefusa ne Kaana kye beeyama? Kyali kyangu okutuukiriza bye beeyama?

BAATUUKIRIZA EBYO BYE BEEYAMA ERI KATONDA

5. Kiki Yefusa kye yeeyama, era biki ebyaddirira?

5 Yefusa yatuukiriza ekyo kye yeeyama mu maaso ga Yakuwa ng’agenda okulwanyisa Abaamoni abaali babonyaabonya abantu ba Katonda. (Balam. 10:7-9) Yefusa yagamba Yakuwa nti: “Bw’onoowaayo Abaamoni mu mukono gwange, oyo yenna anaafuluma mu mulyango gw’ennyumba yange okunsisinkana nga nkomyewo mirembe nga nva okulwana n’Abaamoni, anaaba wa Yakuwa.” Biki ebyava mu lutalo olwo? Yefusa yawangula Abaamoni era bwe yakomawo awaka, muwala we gwe yali ayagala ennyo ye yasooka okufuluma okumukulisaayo. Omuwala oyo yali alina okumuwaayo ‘abe wa Yakuwa.’ (Balam. 11:30-34) Ekyo kyali kitegeeza ki eri omuwala oyo?

6. (a) Kyali kyangu eri Yefusa ne muwala we okutuukiriza ekyo Yefusa kye yeeyama eri Katonda? (b) Ebyo ebiri mu Ekyamateeka 23:21, 23 ne Zabbuli 15:4 biraga bitya nti kikulu okutuukiriza ebyo bye tweyama eri Katonda?

6 Okusobola okutuukiriza obweyamo taata we bwe yali akoze, muwala wa Yefusa yalina okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Yefusa yakola obweyamo obwo nga tasoose kulowooza? Nedda. Ateekwa okuba nga yali akimanyi nti muwala we yali asobola okuba oyo eyandisoose okufuluma mu nnyumba okumusisinkana. Wadde kyali kityo, tekyali kyangu eri Yefusa ne muwala we kutuukiriza bweyamo obwo kubanga kyali kizingiramu okwefiiriza okw’amaanyi. Yefusa bwe yalaba muwala we, ‘yayuza ebyambalo bye’ n’agamba nti muwala we yali amunakuwazza nnyo. Ate ye muwala we yakaaba olw’okuba yali agenda kusigala nga mbeerera.’ Lwaki bombi embeera eyo teyabanguyira? Yefusa teyalina mwana wa bulenzi, era muwala we oyo omu yekka gwe yalina yali tagenda kufumbirwa asobole okumuzaalira abazzukulu. Tewaaliwo ngeri yonna ya kutwala mu maaso linnya lya Yefusa. Naye ekyo si kye kyali kisinga obukulu gye bali. Yefusa yagamba nti: “Nnayasamya akamwa kange eri Yakuwa era siyinza kukyusa.” Ate muwala we yagamba nti: “Nkola nga bwe wasuubiza.” (Balam. 11:35-39) Yefusa ne muwala we baali beesigwa eri Yakuwa era baali bamalirivu okutuukiriza obweyamo bwabwe eri Katonda Asingayo Okuba Waggulu, wadde nga kyali kizingiramu okwefiiriza okw’amaanyi.Soma Ekyamateeka 23:21, 23; Zabbuli 15:4.

7. (a) Kiki Kaana kye yeeyama, lwaki yakyeyama, era biki ebyavaamu? (b) Ekyo Kaana kye yeeyama kyandikutte kitya ku Samwiri? (Laba obugambo obuli wansi.)

7 Kaana ye muntu omulala eyatuukiriza obweyamo bwe eri Yakuwa. Yeeyama ng’ali mu nnaku ey’amaanyi olw’okuba yali mugumba ate nga muggya we amuyeeya olutata. (1 Sam. 1:4-7, 10, 16) Kaana yasaba Katonda ne yeeyama nti: “Ai Yakuwa ow’eggye, bw’onootunuulira ennaku y’omuweereza wo n’onzijukira, era n’oteerabira muweereza wo, era n’omuwa omwana ow’obulenzi, nja kumuwa Yakuwa obulamu bwe bwonna, era akamweso tekaliyita ku mutwe gwe.” * (1 Sam. 1:11) Yakuwa yaddamu essaala ya Kaana, Kaana n’azaala omwana ow’obulenzi. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Kaana! Kyokka teyeerabira ekyo kye yali yeeyamye eri Katonda. Bwe yazaala omwana oyo, yagamba nti: “Nnamusaba Yakuwa.”1 Sam. 1:20.

8. (a) Kyali kyangu eri Kaana okutuukiriza obweyamo bwe? (b) Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 61 bikuyamba bitya okujjukira ekyokulabirako ekirungi Kaana kye yateekawo?

8 Kaana olwaggya Samwiri ku mabeere, nga wa myaka ng’esatu, yatuukiriza kye yali yeeyamye eri Katonda. Kaana teyeekwasa busongasonga kulema kutuukiriza kye yeeyama. Yatwala Samwiri eri Eli, Kabona Asinga Obukulu, ku weema entukuvu mu Siiro era n’amugamba nti: “Ono ye mwana ow’obulenzi gwe nnasaba, era Yakuwa yaddamu okusaba kwange. Nange kaakano mmuwadde Yakuwa. Ennaku zonna ez’obulamu bwe, aweereddwa Yakuwa.” (1 Sam. 1:24-28) Ng’ali ku weema entukuvu, ‘omwana Samwiri yeeyongera okukulira mu maaso ga Yakuwa.’ (1 Sam. 2:21) Naye tekyali kyangu eri Kaana kutuukiriza bweyamo obwo. Yali ayagala nnyo omwana we, kyokka kati yali tagenda kuddamu kubeera naye. Kaana ateekwa okuba ng’oluusi yawuliranga nga yandyagadde okubeerako n’omwana we amuwambaatireko, azannyeko naye, era amulabe ng’akula. Wadde kyali kityo, Kaana teyejjusa olw’obweyamo bwe yakola. Kyamusanyusa nnyo okutuukiriza ekyo kye yali yeeyamye eri Yakuwa.1 Sam. 2:1, 2; soma Zabbuli 61:1, 5, 8.

Otuukiriza ebyo bye weeyama eri Yakuwa?

9. Biki bye tugenda okulaba?

9 Oluvannyuma lw’okulaba ensonga lwaki kikulu okutuukiriza ebyo bye tuba tweyamye eri Katonda, kati ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Bintu ki Abakristaayo bye basobola okweyama? Era lwaki twandifubye okutuukiriza ebyo bye tuba tweyamye?

OBWEYAMO BWE WAKOLA NGA WEEWAAYO ERI YAKUWA

Nga weewaayo gy’ali (Laba akatundu 10)

10. Bweyamo ki obusingayo obukulu Omukristaayo bw’akola, era buzingiramu ki?

10 Obweyamo obusingayo obukulu Omukristaayo bw’akola, kwe kwewaayo eri Yakuwa. Lwaki? Kubanga atuukirira Yakuwa mu kusaba n’amusuubiza nti ajja kukozesa obulamu bwe okuweereza Katonda emirembe gyonna, embeera k’ebe nzibu etya. Nga Yesu bwe yagamba, omuntu oyo yeeyama ‘okulekera awo okwetwala yekka,’ era n’asuubiza okukulembezanga Katonda by’ayagala mu bulamu bwe. (Mat. 16:24) Okuva olwo, omuntu oyo ‘aba wa Yakuwa.’ (Bar. 14:8) Buli muntu eyeewaayo eri Yakuwa alina okutwala obweyamo obwo nga bukulu nnyo. Aba alina okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Yakuwa nnaamusasula ki olw’ebirungi byonna by’ankoledde? Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa, mu maaso g’abantu be bonna.”Zab. 116:12, 14.

11. Kiki ekyaliwo ku lunaku lwe wabatizibwa?

11 Weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa? Bwe kiba kityo, ekyo kirungi! Kijjukire nti ku lunaku lwe wabatirizibwako, mu maaso g’abajulirwa abangi, wabuuzibwa obanga wali weewaddeyo eri Yakuwa era obanga wali “okitegeera nti bwe weewaayo eri Katonda era n’obatizibwa kikwawulawo ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kibiina kye ekikulemberwa omwoyo gwe.” Bwe waddamu nti “Yee,” kyalaga nti wali oyatudde mu lujjudde nti wali weewaddeyo eri Yakuwa era kyalaga nti wali otuukirizza ebisaanyizo eby’okubatizibwa ng’omuweereza wa Yakuwa atongozeddwa. Tewali kubuusabuusa nti ekyo kyasanyusa nnyo Yakuwa!

12. (a) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza? (b) Bintu ki omutume Peetero bye yayogerako bye tusaanidde okwekebera okulaba obanga tubirina?

12 Naye okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa. Bwe tumala okubatizibwa tulina okutuukiriza obweyamo bwaffe nga tweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Bukya mbatizibwa, waliwo ekiraga nti nneeyongedde okukulaakulana mu by’omwoyo? Nkyeyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna? (Bak. 3:23) Nsaba Yakuwa, nsoma Ekigambo kye, mbeerawo mu nkuŋŋaana, era nyiikirira okubuulira? Oba kyandiba nti nziriridde mu bimu ku bintu ebyo?’ Omutume Peetero yalaga nti tusobola okwewala okuddirira mu buweereza bwaffe singa okukkiriza kwaffe tukwongerako okumanya, obugumiikiriza, n’okwemalira ku Katonda.Soma 2 Peetero 1:5-8.

13. Kiki Omukristaayo eyeewaayo n’abatizibwa ky’asaanidde okumanya?

13 Omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa, tasobola kusazaamu bweyamo obwo. Omuntu bw’akoowa okuweereza Yakuwa oba okutambulira ku misingi gya Bayibuli, tasobola kugamba nti teyeewaayo eri Katonda era nti okubatizibwa kwe tekwali kwa nnamaddala. * K’abe nga yalina kigendererwa ki, aba yakiraga mu maaso g’abantu nti yali yeewaddeyo eri Yakuwa. N’olwekyo, bw’akola ekibi eky’amaanyi, aba avunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa n’ekibiina kye. (Bar. 14:12) Tetwagala kubeera ng’abo Yesu be yagamba nti baali balese ‘okwagala kwe baalina mu kusooka.’ Mu kifo ky’ekyo, twagala naffe Yesu atwogereko nti: “Mmanyi ebikolwa byo, okwagala kwo, okukkiriza kwo, obuweereza bwo n’obugumiikiriza bwo, era mmanyi nti ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga eby’olubereberye.” (Kub. 2:4, 19) Bulijjo ka tufubenga okutuukiriza okwewaayo kwaffe, era ekyo kijja kusanyusa nnyo Yakuwa.

OBWEYAMO OMUNTU BW’AKOLA NG’AYINGIRA OBUFUMBO

Ng’oyingira obufumbo (Laba akatundu 14)

14. Obweyamo obulala obukulu ennyo omuntu bw’akola bwe buliwa, era lwaki bukulu?

14 Obweyamo obulala obukulu ennyo omuntu bw’akola bwe bw’okuyingira obufumbo. Lwaki? Kubanga obufumbo butukuvu. Omusajja n’omukazi balayira mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu. Bwe baba bagattibwa, basuubiza nti buli omu ajja kwagala munne era amusseemu ekitiibwa ‘ebbanga lyonna lye banaamala ku nsi nga bali mu nteekateeka ya Katonda ey’obufumbo.’ Abalala bayinza obutoogera bigambo ebyo byennyini naye era beeyama mu maaso ga Katonda. Bwe bamala okulayira, balangirirwa nti bafuuse mwami na mukyala, era basuubirwa okubeera mu bufumbo obwo ebbanga lyonna lye bamala nga balamu. (Lub. 2:24; 1 Kol. 7:39) Yesu yagamba nti: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” N’olwekyo, omwami n’omukyala bwe bayingira obufumbo basaanidde okukimanya nti bwe bafuna ebizibu mu bufumbo bwabwe ekyo tekitegeeza nti balina okugattululwa.Mak. 10:9.

15. Lwaki Abakristaayo balina okwewala endowooza abantu abasinga obungi mu nsi gye balina ku bufumbo?

15 Kya lwatu nti teriiyo bufumbo butuukiridde. Obufumbo bubeeramu omusajja n’omukazi abatatuukiridde. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti ebiseera ebimu abafumbo ‘baba n’okubonaabona.’ (1 Kol. 7:28) Kyokka leero abantu bangi obufumbo tebabutwala ng’ekikulu. Bwe bafuna ebizibu, balekawo bannaabwe mu bufumbo. Naye Abakristaayo tebasaanidde kukola bwe batyo. Omuntu bw’amenya endagaano y’obufumbo aba alimbye Katonda, ate nga Katonda ekyawa abalimba! (Leev. 19:12; Nge. 6:16-19) Omutume Pawulo yagamba nti: “Wagattibwa n’omukyala? Toyawukana naye.” (1 Kol. 7:27) Pawulo yayogera ebigambo ebyo olw’okuba yali akimanyi nti Yakuwa akyawa abo abaggatululwa ne bannaabwe mu bukuusa.Mal. 2:13-16.

16. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku kugattululwa n’okwawukana mu bufumbo?

16 Yesu yalaga nti ekintu kyokka ekisobola okusinziirwako okugattululwa mu bufumbo kwe kuba nti omu ku bafumbo aba ayenze era nga munne agaanye okumusonyiwa. (Mat. 19:9; Beb. 13:4) Ate kwo okwawukana? Bayibuli nakwo ekwogerako. (Soma 1 Abakkolinso 7:10, 11.) Naye Bayibuli teraga butereevu nsonga muntu kw’ayinza kusinziira kwawukana ne munne. Kyokka Abakristaayo abamu bakirabye nti kyetaagisa okwawukana ne bannaabwe mu bufumbo mu mbeera nga zino: nga munnaabwe akola ebintu ebiteeka obulamu bwabwe mu kabi, oba ng’abalemesa okuweereza Yakuwa, oba ng’afuuse kyewaggula. *

17. Kiki ekiyinza okuyamba omwami n’omukyala Abakristaayo okunyweza obufumbo bwabwe?

17 Omwami n’omukyala bwe batuukirira abakadde nga bafunye ebizibu mu bufumbo bwabwe, abakadde basaanidde okubabuuza obanga gye buvuddeko awo balabye vidiyo eyitibwa What Is True Love? era obanga basomedde wamu brocuwa Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu. Lwaki? Kubanga vidiyo eyo ne brocuwa eyo birimu amagezi agayambye bangi okunyweza obufumbo bwabwe. Omwami n’omukyala omu baagamba nti: “Okuva lwe twatandika okusoma brocuwa eno tweyongedde okufuna essanyu mu bufumbo bwaffe.” Omukyala omu amaze emyaka 22 mu bufumbo ayogera bw’ati ku bufumbo bwe obwali bunaatera okusasika: “Wadde nga ffembi twali babatize, buli omu yali akola bibye. Vidiyo eyo yajjira mu kiseera kyennyini mwe twali tugyetaagira! Kati tuli basanyufu.” Oli mufumbo? Bwe kiba kityo, kola kyonna ekisoboka okukolera ku misingi gya Yakuwa mu bufumbo bwo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kusobola okutuukiriza obweyamo bwe wakola ng’oyingira obufumbo, era ojja kuba musanyufu!

OBWEYAMO BWE WAKOLA NG’OYINGIDDE OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

18, 19. (a) Kiki abazadde bangi Abakristaayo kye bakoze? (b) Bweyamo ki abo abali mu buweereza obw’enjawulo obw’ekiseera kyonna bwe bakola?

18 Waliwo ekintu ekirala Yefusa ne Kaana kye bafaanaganya. Bombi obweyamo bwe baakola bwaviirako abaana baabwe okuweereza Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo ku weema entukuvu. Tewali kubuusabuusa nti ekyo kyabaleetera essanyu. Ne leero, waliwo abazadde bangi Abakristaayo abakubirizza abaana baabwe okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, kwe kugamba, okwemalira ku kuweereza Yakuwa. Abazadde ng’abo basaanidde okusiimibwa ennyo.Balam. 11:40; Zab. 110:3.

Ng’oyingidde obuweereza obw’ekiseera kyonna (Laba akatundu 19)

19 Leero, waliwo abaweereza ba Yakuwa nga 67,000 abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo. Abamu baweereza ku Beseri, abalala bakola gwa kuzimba, oba gwa kukyalira bibiina, oba gwa kusomesa mu masomero g’ekibiina, oba baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo oba ng’abaminsani. Ate abalala balabirira ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene oba ebibaamu amasomero g’ekibiina. Bonna bakola “Obweyamo obw’Okubeera Abawulize n’Okubeera Abaavu.” Bwe bakola obweyamo obwo, bakkiriza okukola omulimu gwonna oguba gubaweereddwa mu kibiina kya Yakuwa, okwerekereza ebintu ebimu, n’obutakola mirimu mirala okuggyako nga baweereddwa olukusa. Abo abali mu buweereza obwo si be batwalibwa ng’ab’enjawulo, wabula obuweereza bwabwe bwe butwalibwa ng’obw’enjawulo. Bakimanyi nti ekiseera kyonna kye bamala nga bali mu buweereza obwo obw’enjawulo balina okutuukiriza obweyamo bwabwe.

20. Kiki kye tusaanidde okukola buli lunaku, era lwaki?

20 Ku bintu bye tulabye mu kitundu kino, bimeka ku byo bye weeyama eri Yakuwa? Weeyamako kimu, bibiri, oba byonna ebisatu? Awatali kubuusabuusa oteekwa okuba ng’okiraba nti kikulu nnyo okutuukiriza obweyamo bwo. (Nge. 20:25) Bwe tulema okutuukiriza ebyo bye tweyama eri Yakuwa, ebivaamu tebiba birungi. (Mub. 5:6) N’olwekyo, okufaananako owandiisi wa zabbuli, ka ‘tutenderezenga erinnya lya Yakuwa emirembe n’emirembe nga bwe tusasula obweyamo bwaffe buli lunaku.’Zab. 61:8.

^ lup. 7 Okusinziira ku ekyo Kaana kye yeeyama, omwana gwe yandizadde yandibadde Munaziri obulamu bwe bwonna. Ekyo kitegeeza nti yandiweereddwayo okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’enjawulo.Kubal. 6:2, 5, 8.

^ lup. 13 Okusinziira ku mitendera abakadde gye bayitamu nga tebannasemba muntu kubatizibwa, tekitera kubaawo omuntu okubatizibwa mu bukyamu.

^ lup. 16 Laba ekitundu “Bayibuli Eyogera ki ku Kugattululwa nʼOkwawukana mu Ebyongerezeddwako mu katabo ‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda’.