Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyamba Abaana b’Abagwira

Okuyamba Abaana b’Abagwira

“Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.”​—3 YOK. 4.

ENNYIMBA: 88, 41

1, 2. (a) Buzibu ki abaana bangi ababeera mu nsi engwira bwe boolekagana nabwo? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

 OW’OLUGANDA Joshua yagamba nti: “Bwe nnali nkyali muto, nnayogeranga lulimi lwa bazadde bange awaka ne mu kibiina. Naye bwe nnatandika okusoma, olulimi olwogerwa mu nsi gye twalimu ng’abagwira lwe lwannyanguyiranga okwogera. Ekiseera kyatuuka ne mba nga sikyayogera lulimi lwa bazadde bange. Nnali sikyategeera bulungi byali byogerwa mu nkuŋŋaana, era nnali sikyategeera buwangwa bwa bazadde bange.” Ekyo ekyatuuka ku Joshua kituuse ne ku baana abalala bangi.

2 Leero abantu abasukka mu 240,000,000 babeera mu nsi ngwira. Bw’oba oli muzadde ng’oli mu nsi engwira, oyinza otya okuyamba abaana bo okunywera mu by’omwoyo basobole okweyongera ‘okutambulira mu mazima’? (3 Yok. 4) Era abalala bayinza batya okuyamba abazadde ng’abo?

ABAZADDE, MUSSEEWO EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI

3, 4. (a) Abazadde bayinza batya okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi? (b) Kiki abazadde kye batalina kusuubira mu baana baabwe?

3 Abazadde, ekyokulabirako kye mussaawo kisobola okuyamba abaana bammwe okutambulira mu kkubo ery’obulamu. Abaana bammwe bwe babalaba nga mukulembeza “Obwakabaka,” bayiga okwesiga Yakuwa nti ajja kukola ku byetaago byabwe. (Mat. 6:33, 34) N’olwekyo, mwewale omwoyo ogw’okwagala ebintu. Mu kifo ky’okukulembeza ebintu eby’omubiri, mukulembeze ebintu eby’omwoyo. Mwewale amabanja. Munoonye eby’obugagga eby’omu ggulu, kwe kugamba, enkolagana ennungi ne Yakuwa, so si eby’obugagga eby’oku nsi oba “ekitiibwa ky’abantu.”​—Soma Makko 10:21, 22; Yok. 12:43.

4 Mufube okulaba nti eby’okukola tebibamalaako budde bwa kubeerako wamu n’abaana bammwe. Mubayambe okukiraba nti kibasanyusa nnyo bwe mubalaba nga bakulembeza Obwakabaka mu kifo ky’okwenoonyeza oba okubanoonyeza ebitiibwa n’eby’obugagga. Mwewale endowooza etali ya mu Byawandiikibwa egamba nti abaana be balina okukolerera bazadde baabwe babatuuseeko buli kalungi konna. Bayibuli egamba nti: “Abaana si be bateekeddwa okuteekerateekera abazadde wabula abazadde be basaanidde okuteekerateekera abaana baabwe.”​—2 Kol. 12:14.

ABAZADDE MUFUBE OKUYIGA ENNIMI ENDALA

5. Lwaki abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Yakuwa?

5 Nga Bayibuli bwe yagamba, abantu “okuva mu nnimi zonna ez’amawanga” bajja mu kibiina kya Yakuwa. (Zek. 8:23) Naye abazadde bwe baba nga tebamanyi lulimi baana baabwe lwe basinga kutegeera, kiyinza okubabeerera ekizibu okubayigiriza amazima. Abazadde, abaana bammwe be bayizi bammwe aba Bayibuli abasingayo obukulu, era bwe bayiga ebikwata ku Yakuwa bajja kufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3) Okusobola okuyamba abaana bammwe okuyiga ebikwata ku Yakuwa, mulina okukozesa buli kakisa ke mufuna okubayigiriza.​—Soma Ekyamateeka 6:6, 7.

6. Abaana bo bwe bayiga olulimi lwo kibaganyula kitya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

6 Olulimi olwogerwa mu kitundu kye mubeeramu abaana bo baluyigira ku ssomero oba ku bantu b’omu kitundu ekyo, naye olulimi lwo baluyiga boogera naawe. Ng’oggyeeko okuba nti abaana okuyiga olulimi lwo kibasobozesa okuba n’empuliziganya ennungi naawe, kibaganyula ne mu ngeri endala. Abaana bo bwe bayiga ennimi ez’enjawulo kibawagala obwongo era kibayamba okwanguyirwa okukolagana n’abantu abalala. Kisobola n’okubayamba okugaziya ku buweereza bwabwe. Carolina, abeera ne bazadde be mu nsi engwira, agamba nti: “Okubeera mu kibiina eky’olulimi lwa bazadde bange kindeetedde essanyu lingi. Nsobodde okuyambako awali obwetaavu obusingako.”

7. Kiki kye wandikoze singa omwana wo tategeera bulungi lulimi lwo?

7 Kyokka oluusi ekiseera bwe kigenda kiyitawo, abaana b’abagwira bayigira ddala olulimi n’obuwangwa bw’omu kitundu mwe bali ne kiba nti baba tebakyayagala oba nga tebakyasobola kwogera na bazadde baabwe mu lulimi lwabwe. Abaana bammwe bwe baba nga bwe batyo bwe bali, muyinza okufuba okuyiga olulimi olwogerwa mu kitundu? Ekyo bwe mukikola, kijja kubanguyira okukuliza abaana bammwe mu mazima, kubanga mujja kuba mutegeera bye boogera, eby’okwesanyusaamu bye baagala, bye bakola ku ssomero, era mujja kuba musobola bulungi okuwuliziganya n’abasomesa baabwe. Kyo kituufu nti kyetaagisa ebiseera, okufuba ennyo, n’okuba omwetoowaze okusobola okuyiga olulimi olulala. Naye watya singa omwana wo aziba amatu, tewandifubye kuyiga lulimi lwa bakiggala osobole okuwuliziganya n’omwana wo? Bwe kityo bwe kyandibadde ne mu mbeera ng’olulimi omwana wo lw’ategeera lwawukana ku lulwo. *

8. Oyinza otya okuyamba abaana bo mu by’omwoyo ne bwe kiba nti tomanyi bulungi lulimi lwe boogera?

8 Kyo kituufu nti oluusi abazadde abali mu nsi engwira bayinza obutasobola kuyiga bulungi lulimi lwa mu kitundu ekipya abaana baabwe lwe baba bamanyi obulungi. Ekyo kiyinza okukifuula ekizibu eri abazadde okuyigiriza obulungi abaana baabwe “ebyawandiikibwa ebitukuvu.” (2 Tim. 3:15) Bwe kiba nti naawe bw’otyo bw’oli, okyasobola okuyamba abaana bo okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumwagala. Omukadde ayitibwa Shan agamba nti: “Maama yali tamanyi bulungi lulimi lwe twali twogera ate nga nze ne bannyinaze naffe tetutegeera bulungi lulimi lwe. Naye bwe twamulaba ng’afuba okwesomesa, okusaba, n’okukubiriza okusinza kw’amaka buli wiiki, twakiraba nti okuyiga ebikwata ku Yakuwa kintu kikulu nnyo.”

9. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe abayinza okuba nga beetaaga okuyiga ebikwata ku Yakuwa mu nnimi bbiri?

9 Abaana abamu kiyinza okubeetaagisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa mu nnimi bbiri. Lwaki? Kubanga ku ssomero bakozesa olulimi lulala, n’awaka bakozesa olulimi lulala. Bwe kityo, abazadde abamu bafuba okukozesa ebitabo ne vidiyo mu nnimi zombi. Tewali kubuusabuusa nti abazadde abali mu nsi engwira balina okufuba ennyo era balina okuba abayiiya okusobola okuyamba abaana baabwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.

KIBIINA KYA LULIMI KI KYE MUNAAKUŊŊAANIRANGAMU?

10. (a) Ani alina okusalawo ekibiina ab’omu maka mwe banaakuŋŋaanira? (b) Kiki ky’alina okukola nga tannasalawo?

10 Abagwira ababeera mu kitundu ekiri ewala n’ekibiina ekyogera olulimi lwabwe baba balina okukuŋŋaanira mu kibiina ekibali okumpi, ekikozesa olulimi olw’omu kitundu ekyo. (Zab. 146:9) Naye bwe kiba nti waliwo ekibiina ekibali okumpi ekikozesa olulimi lwammwe, ekyebuuzibwa kiri nti: Kibiina ki kye munaakuŋŋaaniramu? Oluvannyuma lw’okusaba, okufumiitiriza ennyo, n’okukubaganya ebirowoozo ne mukyala we n’abaana baabwe, omutwe gw’amaka aba alina okusalawo. (1 Kol. 11:3) Biki omutwe gw’amaka by’asaanidde okulowoozaako ng’asalawo? Misingi ki egy’omu Bayibuli egisobola okumuyamba? Ka tulabeyo egimu ku gyo.

11, 12. (a) Olulimi olukozesebwa mu nkuŋŋaana lukwata lutya ku ebyo omwana by’ayiga? (b) Lwaki abaana abamu bagaana okuyiga olulimi lwa bazadde baabwe?

11 Abazadde balina okumanya ekyo abaana baabwe kye beetaaga. Kyo kituufu nti omwana okusobola okunyweza amazima, talina kukoma ku ebyo byokka by’awuliriza mu nkuŋŋaana, ka zibe mu lulimi ki. Naye abaana bwe babeera mu nkuŋŋaana ezikubirizibwa mu lulimi lwe bategeera obulungi baganyulwa nnyo. Ekyo si bwe kitera okuba singa abaana babeera mu kibiina ekyogera olulimi lwe batategeera bulungi. (Soma 1 Abakkolinso 14:9, 11.) Ate era ekiseera bwe kigenda kiyitawo, olulimi abazadde b’omwana lwe bakozesa luyinza okuba nga terukyatuuka mwana ku mutima. Mu butuufu, abaana abamu baba basobola n’okubaako bye baddamu mu nkuŋŋaana, okuwa emboozi, n’okulaga ebyokulabirako, naye nga bye boogera tebibava ku mutima.

12 Ng’oggyeeko olulimi, waliwo ebintu ebirala ebireetera omutima gw’omwana okukwatibwako. Bwe kityo bwe kyali eri Joshua, eyayogeddwako waggulu. Mwannyina Esther agamba nti: “Omutima gw’omwana okusobola okukwatibwako, alina okuba ng’ategeera olulimi, obuwangwa, n’eddiini ya bazadde be.” Omwana bw’aba tategeera bulungi buwangwa bwa bazadde be, kiyinza okumuviirako okugaana okuyiga olulimi lwa bazadde be n’enzikiriza yaabwe. Kiki abazadde abagwira kye bayinza okukola?

13, 14. (a) Lwaki abazadde abamu abaali mu nsi engwira baasalawo okugenda mu kibiina ekyali kikozesa olulimi olwogerwa mu kitundu? (b) Baasobola batya okusigala nga banywevu mu by’omwoyo?

13 Abazadde Abakristaayo bakulembeza ebyetaago by’abaana baabwe eby’omwoyo mu kifo ky’okukulembeza ebyo bye baagala. (1 Kol. 10:24) Samuel, taata wa Joshua ne Esther yagamba nti: “Nze ne mukyala wange twafuba okwetegereza abaana baffe tusobole okumanya lulimi ki olubasobozesa okutegeera obulungi ebintu ebikwata ku Yakuwa, era twasaba Yakuwa atuwe obulagirizi. Engeri Yakuwa gye yaddamu okusaba kwaffe si gye twali twagala. Naye twakiraba nti abaana baffe baali baganyulwa kitono mu nkuŋŋaana ezaali zikubirizibwa mu lulimi lwaffe, era bwe kityo twasalawo okudda mu kibiina ekyali kikozesa olulimi olwogerwa mu kitundu. Twagenderanga wamu n’abaana baffe mu nkuŋŋaana ne mu kubuulira. Era twayitanga ab’oluganda ab’omu kitundu okuliirako awamu naffe emmere n’okusanyukirako awamu nabo. Ekyo kyayamba abaana baffe okumanya ab’oluganda abatali bamu n’okutandika okutwala Yakuwa nga Katonda waabwe, nga Kitaabwe, era nga Mukwano gwabwe. Ekyo kyali kikulu nnyo gye tuli okusinga abaana baffe okuyiga olulimi lwaffe.”

14 Samuel era agamba nti: “Okusobola okusigala nga naffe tuli banywevu mu by’omwoyo, nze ne mukyala wange twagendanga ne mu nkuŋŋaana ezaali zikubirizibwa mu lulimi lwaffe. Ebiseera twalina bitono ddala era twakoowanga nnyo. Naye Yakuwa yawa omukisa okufuba kwaffe. Kati abaana baffe bonna abasatu bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.”

ABAANA KYE BAYINZA OKUKOLA

15. Lwaki mwannyinaffe ayitibwa Kristina yasalawo okudda mu kibiina ekikozesa olulimi olw’omu kitundu?

15 Abaana bwe bagenda bakula bayinza okukiraba nti bajja kusobola okuweereza obulungi Yakuwa singa babeera mu kibiina ekikozesa olulimi lwe bategeera obulungi. Bwe kiba kityo, ekyo abazadde tebasaanidde kukitwala bubi. Kristina agamba nti: “Nnalina ebigambo ebitonotono bye mmanyi mu lulimi lwa bazadde bange, naye ebyo ebyayogerwanga mu nkuŋŋaana saabitegeeranga bulungi. Bwe nnali wa myaka 12, nnagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu lulimi lwe twali tukozesa ku ssomero. Ku olwo lwe nnasooka okukiraba nti ebyo ebyali biyigirizibwa ge mazima! Ekintu ekirala ekyannyamba ennyo kwe kutandika okusaba Yakuwa mu lulimi lwe twali tukozesa ku ssomero. Kati nnali nsobola okweyabiza Yakuwa!” (Bik. 2:11, 41) Kristina bwe yakula, yayogerako ne bazadde be n’abategeeza nti yali asazeewo okudda mu kibiina ekyogera olulimi olukozesebwa mu kitundu. Kristina agamba nti: “Okuyiga ebikwata ku Yakuwa mu lulimi lwe twali tukozesa ku ssomero kyankwatako nnyo.” Waayita ekiseera kitono, Kristina n’atandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.

16. Lwaki Nadia musanyufu nnyo okuba nti yasigala mu kibiina ekikozesa olulimi lwa bazadde be?

16 Bw’oba ng’oli mwana, owulira nti wandyagadde okubeera mu kibiina ekikozesa olulimi olwogerwa mu kitundu? Bwe kiba kityo, nsonga ki ekuleetera okwagala okudda mu kibiina ekyo. Okudda mu kibiina ekyo kinaakuyamba okwongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? (Yak. 4:8) Oba kyandiba nti oyagala okugenda mu kibiina ekyo osobole okwekolera by’oyagala oba oleme kuba na buvunaanyizibwa bwa maanyi? Nadia, kati aweereza ku Beseri yagamba nti: “Nze ne baganda bange bwe twatuuka mu myaka egy’obutiini, twayagala okudda mu kibiina ekikozesa olulimi olwogerwa mu kitundu.” Naye bazadde be baakiraba nti abaana baabwe okudda mu kibiina ekyo kyandibakosezza mu by’omwoyo. Nadia era agamba: “Kati tukiraba nti kyali kya magezi bazadde baffe okufuba okutuyigiriza olulimi lwabwe n’obutatukkiriza kudda mu kibiina ekyali kikozesa olulimi olwogerwa mu kitundu. Ekyo kituganyudde nnyo era kitusobozesezza okugaziya ku buweereza bwaffe.”

ENGERI ABALALA GYE BASOBOLA OKUYAMBAMU

17. (a) Baani Yakuwa be yakwasa obuvunaanyizibwa obw’okukuza abaana? (b) Abazadde bayinza batya okufuna obuyambi basobole okuyamba abaana baabwe okuyiga amazima?

17 Obuvunaanyizibwa obw’okukuliza abaana mu mazima Yakuwa yabukwasa bazadde so si bajjajjaabwe oba omuntu omulala yenna. (Soma Engero 1:8; 31:10, 27, 28.) Naye abazadde abatamanyi lulimi lwogerwa mu kitundu bayinza okwetaaga obuyambi okusobola okutuuka abaana baabwe ku mutima. Abazadde ng’abo bwe banoonya obuyambi mu nsonga eyo kiba tekitegeeza nti balagajjalidde obuvunaanyizibwa bwabwe; wabula mu kukola kino baba bafuba okukuliza abaana baabwe mu “kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Bef. 6:4) Ng’ekyokulabirako, abazadde bayinza okusaba abakadde babawe ku magezi ku ngeri y’okukubirizaamu okusinza kw’amaka oba ku ngeri gye bayinza okuyamba abaana baabwe okufuna emikwano emirungi.

Abazadde n’abaana baganyulwa nnyo mu kubeerako awamu ne bakkiriza bannaabwe (Laba akatundu 18, 19)

18, 19. (a) Ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo bayinza batya okuyamba abaana? (b) Kiki abazadde kye basaanidde okweyongera okukola?

18 Ate era oluusi n’oluusi abazadde bayinza okuyita ab’omu maka amalala okubeegattako mu kusinza kw’amaka. Era abaana bangi banywera mu by’omwoyo bwe baba n’ab’emikwano abakulu mu by’omwoyo, abasobola okubuulirako awamu nabo oba okusanyukirako awamu nabo. (Nge. 27:17) Shan, eyayogeddwako waggulu, yagamba nti: “Siyinza kwerabira ab’oluganda abannyamba ennyo. Bwe bannyambangako okutegeka emboozi ez’essomero, nnabayigirangako ebintu bingi. Era nnanyumirwanga nnyo ekiseera kye nnabeeranga nabo nga tusanyukirako wamu.”

19 Kya lwatu nti abo abazadde be balonda okubayambako mu kutendeka abaana baabwe balina okuyamba abaana abo okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe, nga baboogerako bulungi era nga beewala okwezza obuvunaanyizibwa bw’abazadde. Ate era abo abayamba abaana basaanidde okwewala okweyisa mu ngeri etesaana. (1 Peet. 2:12) Abazadde basaanidde okwegendereza baleme kweggyako buvunaanyizibwa bwabwe obw’okutendeka abaana baabwe mu by’omwoyo. Balina okufaayo okumanya obuyambi obuweebwa abaana baabwe era nabo balina okweyongera okuyigiriza abaana baabwe.

20. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okufuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa?

20 Abazadde, musabe Yakuwa abayambe era mufube nnyo okuyigiriza abaana bammwe. (Soma 2 Ebyomumirembe 15:7.) Okuyamba abaana bammwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa mukitwale nga kikulu okusinga ebyo bye mwagala. Mukole kyonna ekisoboka okulaba nti Ekigambo kya Katonda kituuka ku mitima gy’abaana bammwe. Bulijjo mube n’essuubi nti abaana bammwe basobola okufuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. Abaana bammwe bwe banaanywerera ku Kigambo kya Katonda era ne bakoppa ekyokulabirako kyammwe ekirungi, mujja kuwulira ng’omutume Yokaana eyagamba nti: “Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.”​—3 Yok. 4.

^ lup. 7 Laba Awake! eya Maaki 2007, lup. 10-12.