Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Onjagala Okusinga Bino?”

“Onjagala Okusinga Bino?”

“Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala okusinga bino?” ​—YOK. 21:15.

ENNYIMBA: 128, 45

1, 2. Oluvannyuma lwa Peetero okumala ekiro kyonna ng’avuba, kiki ekyaliwo?

 ABAYIGIRIZWA ba Yesu musanvu baali bamaze ekiro kyonna nga bavuba mu nnyanja y’e Ggaliraaya naye ne batakwasaayo kyennyanja wadde ekimu. Yesu yali ku lubalama lw’ennyanja eyo n’abalengera, n’abagamba nti: “‘Musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja kukwasa.’ Baasuula akatimba, naye ne batasobola kukasikayo olw’okuba ebyennyanja byali bingi.”​—Yok. 21:1-6.

2 Oluvannyuma lwa Yesu okubagabula eky’enkya, yabuuza Simooni Peetero nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala okusinga bino?” Kiki Yesu kye yali ayogerako? Peetero yali ayagala nnyo okuvuba. N’olwekyo, kirabika Yesu yali ayagala Peetero amubuulire kiki kye yali asinga okwagala. Yali asinga kwagala byennyanja n’omulimu ogw’okuvuba, oba yali asinga kwagala Yesu n’ebyo bye yayigiriza? Peetero yamuddamu nti: “Yee, Mukama wange, omanyi nti nkwagala.” (Yok. 21:15) Peetero yakiraga nti ddala yali ayagala Yesu. Okuva olwo yayoleka okwagala okwo nga yeenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa era yali mpagi mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka.

3. Kiki Abakristaayo kye basaanidde okwegendereza?

3 Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yagamba Peetero? Tulina okuba abeegendereza tuleme kukkiriza kwagala kwe tulina eri Kristo kukendeera, ne tuddirira mu buweereza bwaffe. Yesu yali akimanyi nti okweraliikirira eby’obulamu kisobola okutuwugula. Mu lugero olukwata ku musizi, Yesu yagamba nti abantu abamu bandikkirizza “ekigambo ky’Obwakabaka” era mu kusooka ne babaako enkyukakyuka ennungi ze bakola naye oluvannyuma “okweraliikirira okw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga bizisa ekigambo.” (Mat. 13:19-22; Mak. 4:19) Mu butuufu singa tetwegendereza, ebintu ebitweraliikiriza mu bulamu bisobola okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yalabula abayigirizwa be nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya n’okunywa n’okweraliikirira eby’obulamu.”​—Luk. 21:34.

4. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya obanga ddala twagala Kristo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 22.)

4 Nga Peetero bwe yakola, naffe tukiraga nti twagala Kristo nga tukulembeza omulimu gwe yatuwa. Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okukulembeza omulimu ogwo mu bulamu bwaffe? Buli luvannyuma lwa kiseera tusaanidde okwebuuza: ‘Kiki kye nsinga okwagala? Ekisinga okunsanyusa kwe kwenyigira mu bintu ebya bulijjo oba kwe kwenyigira mu bintu eby’omwoyo?’ Kati tugenda kulaba ebintu bisatu bye tusaanidde okufuba okukuumira mu kifo ekituufu, okwagala kwe tulina eri Kristo n’eri ebintu eby’omwoyo kuleme kuddirira. Ebintu ebyo bye bino: Emirimu, eby’okwesanyusaamu, n’eby’obugagga.

OMULIMU GWO GUKUUMIRE MU KIFO EKITUUFU

5. Buvunaanyizibwa ki Katonda bwe yawa emitwe gy’amaka?

5 Ng’oggyeeko okuba nti Peetero yali anyumirwa nnyo okuvuba, ogwo gwe mulimu gwe yakolanga okweyimirizaawo. Emitwe gy’amaka bakimanyi nti Katonda yabawa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe mu by’omubiri. (1 Tim. 5:8) Balina okukola ennyo okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Naye mu nnaku zino ez’enkomerero, emirimu gitera okuleetera abantu okweraliikirira.

6. Lwaki ennaku zino emirimu si myangu?

6 Olw’okuba emirimu gya bbula, abantu bangi bawalirizibwa okukola okusukka ku ssaawa ze balina okunnyukirako, kyokka ate ng’ebiseera ebimu basasulwa kitono nnyo. Ate era olw’okuba amakampuni mangi gakozesa abantu ekisukkiridde, kireetera abantu okukoowa ennyo, mu mubiri ne mu birowoozo. Abakozi abatali beetegefu kukola kisukkiridde, emirundi mingi bafiirwa emirimu gyabwe.

7, 8. (a) Ani gwe tulina okukulembeza mu bulamu? (b) Kiki ow’oluganda omu mu Thailand kye yayiga?

7 Abakristaayo, tukimanyi nti Yakuwa Katonda gwe tulina okukulembeza, so si abo abatukozesa. (Luk. 10:27) Emirimu tugikola okusobola okufuna ebintu bye twetaaga mu bulamu n’okufuna ssente ze twetaaga okukozesa mu buweereza bwaffe. Kyokka bwe tutaba beegendereza, omulimu gwaffe gusobola okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu mu Thailand yagamba nti: “Nnali nnyumirwa nnyo omulimu gwange ogw’okukanika kompyuta, naye gwali gunneetaagisa okukola okumala essaawa nnyingi nnyo. Bwe kityo saafunanga biseera bimala kwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Nnakiraba nti okusobola okukulembeza Obwakabaka, kyali kinneetaagisa okukyusa omulimu gwe nnali nkola.” Kiki ow’oluganda oyo kye yakola?

8 Agamba nti: “Oluvannyuma lw’okwetegekera omwaka nga gumu, nnasalawo okutunda ayisikuliimu ku nguudo. Mu kusooka, embeera teyali nnyangu mu by’enfuna, era nnawulira nga mpeddemu amaanyi. Bwe nnasisinkananga abo be nnakolanga nabo, bansekereranga era ne bambuuza ensonga lwaki nnali ndowooza nti okutunda ayisikuliimu kyali kisinga okukanika kompyuta nga ndi mu ofiisi ennungi. Nnasaba Yakuwa annyambe okugumiikiriza n’okutuuka ku kiruubirirwa kyange eky’okufuna ebiseera ebisingawo okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Waayita ekiseera kitono, embeera n’etandika okutereera. Nnamanya ayisikuliimu bakasitoma bange gwe baali basinga okuwoomerwa, era nneeyongera okukuguka mu kukola ayisikuliimu. Ekiseera kyatuuka nga ayisikuliimu yenna gwe nkola mmutunda ne mmumalawo mu lunaku lumu. Mu butuufu, nnali nfuna ssente nnyingi okusinga ezo ze nnali nfuna mu kukanika kompyuta. Era ndi musanyufu okuba nti kati sikyeraliikirira nnyo nga bwe nnali nneeraliikirira nga nkola omulimu ogw’okukanika kompyuta. N’ekisinga obukulu, kati mpulira nga nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.”​—Soma Matayo 5:3, 6.

9. Kiki ekiyinza okutuyamba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku mirimu gye tukola?

9 Ebyawandiikibwa bitukubiriza okubeera abakozi abanyiikivu, era bwe tukola emirimu n’obunyiikivu kivaamu emiganyulo. (Nge. 12:14) Wadde kiri kityo, nga bwe tulabye mu kyokulabirako ky’ow’oluganda ow’omu Thailand, emirimu tusaanidde okugikuumira mu kifo ekituufu. Yesu yagamba nti: “Kale musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebyo ebirala byonna [ebyetaago eby’obulamu] biribongerwako.” (Mat. 6:33) Okusobola okumanya obanga tulina endowooza ennuŋŋamu ku mirimu gye tukola ne ku bintu eby’omwoyo, tusaanidde okwebuuza: ‘Omulimu gwe nkola okweyimirizaawo gunnyumira nnyo kyokka ng’ate byo ebintu eby’omwoyo tebinnyumira era nga mbikola kutuusa butuusa luwalo?’ Okufumiitiriza ku ngeri gye tutwalamu emirimu gyaffe n’ebintu eby’omwoyo kisobola okutuyamba okumanya ki kye tusinga okwagala.

10. Kintu ki ekikulu Yesu kye yayigiriza?

10 Yesu yatulaga ekyo kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe. Lumu Yesu yakyalira Maliyamu ne muganda we Maliza. Maliza bwe yali nga yeemalidde ku kutegeka ekijjulo, ye Maliyamu yatuula okumpi ne Yesu n’amuwuliriza. Maliza bwe yeemulugunya ng’agamba nti Maliyamu yali tamuyambako, Yesu yagamba Maliza nti: “Maliyamu alonze ekisinga obulungi era tekijja kumuggibwako.” (Luk. 10:38-42) Yesu yayigiriza Maliza ekintu ekikulu ennyo. Okusobola obutakkiriza mirimu gyaffe kutuwugula era n’okukiraga nti tusinga kwagala Kristo, bulijjo tulina okulondawo “ekisinga obulungi,” kwe kugamba, okukulembezanga ebintu eby’omwoyo.

ENGERI GYE TUTWALAMU EBY’OKWESANYUSAAMU

11. Ebyawandiikibwa byogera ki ku kuwummulamu?

11 Twetaaga okufunangayo ebiseera okuwummulako oluvannyuma lw’okukola ennyo. Bayibuli egamba nti: “Eri omuntu, tewali kisinga kulya na kunywa na kweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira.” (Mub. 2:24) Ne Yesu yakiraga nti kikulu okufunangayo akadde okuwummulako. Lumu abayigirizwa be bwe baakomawo nga bakooye nga bava okubuulira, Yesu yabagamba nti: “Mujje tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.”​—Mak. 6:31, 32.

12. Kiki kye tusaanidde okwegendereza bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu? Waayo ekyokulabirako.

12 Wadde nga kikulu okufunayo ebiseera okuwummulamu n’okwesanyusaamu, singa tetwegendereza, tuyinza okwesanga ng’eby’okwesanyusaamu bye tukulembeza mu bulamu bwaffe. Mu kyasa ekyasooka, abantu bangi baalina endowooza egamba nti: “Ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.” (1 Kol. 15:32) Ne leero abantu abasinga obungi balina endowooza eyo. Ng’ekyokulabirako, emyaka egiwerako emabega, waliwo omuvubuka omu mu Bulaaya eyatandika okujjanga mu nkuŋŋaana zaffe. Naye olw’okuba yali ayagala nnyo eby’amasanyu, yalekera awo okukuŋŋaananga awamu n’abantu ba Yakuwa. Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yakiraba nti okwemalira ku by’okwesanyusaamu kyali kimuviiriddemu bizibu byereere era yatandika okwejjusa. Bwe kityo, yaddamu okuyiga Bayibuli era oluvannyuma n’afuuka omubuulizi. Bwe yamala okubatizibwa yagamba nti: “Ekintu kyokka kye nnejjusa kiri nti nnamala ekiseera kiwanvu nga sinnakitegeera nti okuweereza Yakuwa kireeta essanyu lingi okusinga okwemalira ku kunoonya eby’amasanyu mu nsi eno.”

13. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga akabi akayinza okuba mu by’okwesanyusaamu. (b) Kiki ekisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku by’okwesanyusaamu?

13 Ekigendererwa ky’okwesanyusaamu kwe kutusobozesa okuwummulamu n’okuzza emibiri gyaffe obuggya. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, biseera byenkana wa bye tusaanidde okumalira ku by’okwesanyusaamu? Lowooza ku kino: Bangi ku ffe tuwoomerwa nnyo keeki ne swiiti, kyokka tukimanyi nti singa keeki ne swiiti bye tusinga okulya, kisobola okukosa obulamu bwaffe. Emmere gye tusaanidde okusinga okulya y’eyo ey’omugaso eri emibiri gyaffe. Mu ngeri y’emu, singa eby’okwesanyusaamu bye tusinga okwettanira mu bulamu bwaffe, kisobola okutukosa mu by’omwoyo. Ekyo okusobola okukyewala, tulina okufuba okulaba nti twenyigira mu bintu eby’omwoyo obutayosa. Tuyinza tutya okumanya obanga tulina endowooza ennuŋŋamu ku by’okwesanyusaamu? Tusaanidde okumanya essaawa ze tumala buli wiiki nga twenyigira mu bintu eby’omwoyo, gamba ng’okubeerawo mu nkuŋŋaana, okubuulira, n’okwesomesa. Oluvannyuma tusaanidde okugeraageranya essaawa ezo ku ezo ze tumala buli wiiki nga twesanyusaamu, gamba nga twenyigira mu by’emizannyo, nga tulaba ttivi, oba nga tuzannya emizannyo gya kompyuta. Bw’ogeraageranyaamu, kiki ky’olaba? Kyandiba nti kikwetaagisa okukendeeza ku budde bw’omalira ku by’okwesanyusaamu?​—Soma Abeefeso 5:15, 16.

14. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo obulungi nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

14 Abantu kinnoomu n’emitwe gy’amaka ba ddembe okweronderawo eby’okwesanyusaamu ebibanyumira, kasita biba nga tebiriimu bintu bikontana na misingi gya Bayibuli. * Eby’okwesanyusaamu ebirungi “kirabo ekiva eri Katonda.” (Mub. 3:12, 13) Kyo kituufu nti eby’okwesanyusaamu abantu bye banyumirwa bya njawulo. (Bag. 6:4, 5) Kyokka, ka tube nga tulonzeewo bya kwesanyusaamu ki, tusaanidde okubikuumira mu kifo ekituufu. Yesu yagamba nti: “Eby’obugagga byo gye biba n’omutima gwo gye gubeera.” (Mat. 6:21) N’olwekyo, okwagala kwe tulina eri Yesu kujja kutukubiriza okulowooza, okwogera, n’okweyisa mu ngeri eraga nti ebintu eby’Obwakabaka bye tutwala ng’ebikulu mu bulamu bwaffe okusinga ekintu ekirala kyonna.​—Baf. 1:9, 10.

OKWEWALA OMWOYO OGW’OKWAGALA EBINTU

15, 16. (a) Omukristaayo ayinza atya okugwa mu katego ak’okwagala ebintu? (b) Magezi ki amalungi Yesu ge yawa agatuyamba okwewala omwoyo ogw’okwagala ebintu?

15 Leero abantu bangi beemalidde ku kufuna engoye, amasimu, kompyuta, n’ebintu ebirala ebiri ku mulembe. N’olwekyo, buli luvannyuma lwa kiseera ffenna tusaanidde okwebuuza nti: ‘Okwefunira ebintu kifuuse kikulu nnyo gye ndi ne kiba nti mmala ebiseera bingi nga ndowooza oba nga nnoonyereza ku mmotoka oba ku misono gy’engoye egiri ku mulembe okusinga bye mmala nga nneetegekera enkuŋŋaana? Nneemalira nnyo ku bintu eby’obulamu buno ne kiba nti nfuna ebiseera bitono nnyo okusaba n’okusoma Bayibuli?’ Bwe tukizuula nti twagala ebintu okusinga bwe twagala Kristo, tusaanidde okulowooza ku bigambo bya Yesu bino: “Mwekuume okwegomba okwa buli ngeri.” (Luk. 12:15) Lwaki Yesu yayogera ebigambo ebyo?

16 Yesu yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri.” Yagattako nti: “Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.” Ekyo kiri kityo kubanga Katonda ayagala okumwemalirako ate nga n’eby’obugagga byetaagisa omuntu okubyemalirako. Nga Yesu bwe yalaga, tuba tulina okulondawo kiki oba ani gwe tuneemalirako, bya bugagga oba Katonda. (Mat. 6:24) Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tulina okweyongera okulwanyisa “okwegomba kw’emibiri gyaffe,” nga muno mw’otwalidde n’omwoyo ogw’okwagala ebintu.​—Bef. 2:3.

17. (a) Lwaki abantu abalowooza eby’omubiri kibazibuwalira okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku by’obugagga? (b) Kiki ekisobola okutuyamba okwewala omwoyo ogw’okwagala ebintu?

17 Abantu abalowooza eby’omubiri kibabeerera kizibu okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku by’obugagga. Lwaki? Kubanga tebatunuulira bintu nga Katonda bw’abitunuulira. (Soma 1 Abakkolinso 2:14.) Olw’okuba tebasobola kukozesa bulungi busobozi bwabwe obw’okulowooza, kibabeerera kizibu okwawulawo ekituufu ku kikyamu. (Beb. 5:11-14) N’ekivaamu, abamu batandika okwegomba ennyo ebintu era gye bakoma okubifuna gye bakoma okwagala okufuna ebirala. (Mub. 5:10) Naye waliwo ekisobola okutuyamba okulwanyisa omwoyo ogw’okwagala ebintu, nga kuno kwe kusoma Bayibuli obutayosa. (1 Peet. 2:2) Ng’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda bwe kyayamba Yesu okuziyiza ebikemo, naffe bwe tukolera ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda kijja kutuyamba okwewala omwoyo ogw’okwagala ebintu. (Mat. 4:8-10) Bwe tukola tutyo, tuba tukiraga nti twagala Yesu okusinga ebintu.

Biki by’okulembeza mu bulamu? (Laba akatundu 18)

18. Kiki ky’omaliridde okukola?

18 Yesu bwe yabuuza Peetero nti, “Onjagala okusinga bino?” yali ajjukiza Peetero nti asaanidde okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwe. Erinnya Peetero litegeeza “Olwazi,” era Peetero yanywerera ku Yesu, bw’atyo n’atuukana bulungi n’amakulu g’erinnya lye. (Bik. 4:5-20) Naffe leero tusaanidde okukuuma okwagala kwe tulina eri Kristo nga kunywevu, ng’emirimu gyaffe, eby’okwesanyusaamu, n’ebintu, tubikuumira mu kifo ekituufu. Ebyo bye tusalawo mu bulamu ka bikyoleke nti naffe tulinga Peetero, eyagamba Yesu nti: “Mukama wange, omanyi nti nkwagala.”

^ lup. 14 Laba ekitundu “Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 15, 2011, lup. 9-12, kat. 6-15.