Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Gayo Gye Yayambamu Baganda Be

Engeri Gayo Gye Yayambamu Baganda Be

GAYO n’Abakristaayo abalala abaaliwo ng’ekyasa ekyasooka kinaatera okuggwaako baayolekanga n’okusoomooza okutali kumu. Abantu abamu abaali basaasaanya enjigiriza ez’obulimba baali bagezaako okunafuya bakkiriza bannaabwe n’okuleetawo enjawukana mu bibiina. (1 Yok. 2:18, 19; 2 Yok. 7) Omusajja ayitibwa Diyotuleefe yali ayogerera bubi omutume Yokaana n’abalala, nga tasembeza ba luganda abaali bakyalira ebibiina, era ng’agezaako n’okusendasenda abalala okweyisa nga ye. (3 Yok. 9, 10) Eyo ye mbeera eyaliwo omutume Yokaana we yawandiikira Gayo ebbaluwa. Ebbaluwa eyo omutume Yokaana yagiwandiika awo nga mu mwaka gwa 98 E.E., era eyitibwa “Ebbaluwa ey’Okusatu eya Yokaana.”

Wadde nga Gayo yayolekagana n’okusoomooza okutali kumu, yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Gayo yakyoleka atya nti yali mwesigwa eri Yakuwa? Lwaki tusaanidde okumukoppa? Ebbaluwa Yokaana gye yawandiika eyinza etya okutuyamba okukoppa Gayo?

EBBALUWA GYE YAWANDIIKIRA MUKWANO GWE OMWAGALWA

Omuwandiisi w’ebbaluwa ya Yokaana ey’okusatu yeeyita “omusajja omukadde.” Ekyo kyayamba Gayo, omwana we mu by’omwoyo, okukitegeera nti eyali agiwandiise yali mutume Yokaana. Yokaana yayogera bw’ati ku Gayo: “Gayo omwagalwa, gwe njagalira ddala.” Era Yokaana yakiraga nti yali ayagaliza Gayo okubeera omulamu obulungi mu by’omubiri nga bwe yali omulamu obulungi mu by’omwoyo. Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu Gayo amaanyi.​—3 Yok. 1, 2, 4.

Wadde nga Yokaana teyakiraga butereevu mu bbaluwa ye, Gayo ayinza okuba nga yali mukadde mu kibiina. Yokaana yeebaza Gayo olw’okusembeza ab’oluganda wadde nga yali tabamanyi. Ekyo Gayo kye yakola, Yokaana yakiraba nti kyali kyoleka nti Gayo yali mwesigwa eri Yakuwa, kubanga okuva edda abaweereza ba Yakuwa abeesigwa babaddenga basembeza abagenyi.​—Lub. 18:1-8; 1 Tim. 3:2; 3 Yok. 5.

Okuba nti Yokaana yasiima Gayo olw’okusembeza ab’oluganda kiraga nti waaliwo Abakristaayo abatali bamu abaayitirangako ewa Yokaana nga bava okukyalako mu bibiina ebitali bimu, era Abakristaayo abo bayinza okuba nga baabuuliranga Yokaana bye baabanga basanze mu lugendo lwabwe. Oboolyawo Yokaana yamanya ebikwata ku bibiina okuyitira mu b’oluganda abo.

Abakristaayo abaabanga bali ku lugendo baayagalanga nnyo okusula mu maka ga bakkiriza bannaabwe. Ekyo kyali kityo kubanga ebifo ebisulwamu ebya lukale tebyali birungi era byabangamu n’ebikolwa eby’obugwenyufu. N’olwekyo, bwe kyabanga kisoboka, abantu abaabanga ku ŋŋendo baasulanga mu maka ga mikwano gyabwe; era bwe kityo n’Abakristaayo baasulanga mu maka ga Bakristaayo bannaabwe.

“BAAGENDA . . . KU LW’ERINNYA LYE”

Yokaana yakubiriza Gayo okweyongera okwoleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi. Yamugamba ‘okusiibula mu ngeri esiimibwa Katonda’ ab’oluganda abaali ku lugendo. Okusiibula ab’oluganda abo mu ngeri eyo kyali kitegeeza okubawa bye baali beetaaga mu lugendo lwabwe olwali lusigaddeyo. Tewali kubuusabuusa nti bw’atyo Gayo bwe yali atera okukolera ab’oluganda abaabanga bayitiddeko ewuwe nga bali ku lugendo, kubanga ab’oluganda ng’abo baali baabuulira Yokaana nti Gayo yabalaga okwagala kungi era nti yalina okukkiriza okw’amaanyi.​—3 Yok. 3, 6.

Ab’oluganda abo bayinza okuba nga baali baminsani, oba nga baali babaka ba Yokaana, oba nga baali balabirizi abakyalira ebibiina. Ka babe nga baali bagwa mu kiti ki, ab’oluganda abo baali batambula olw’amawulire amalungi. Yokaana yagamba nti: “Baagenda okubuulira ku lw’erinnya lye.” (3 Yok. 7) Okuva bwe kiri nti mu lunyiriri 6 Yokaana yali yaakoogera ku Katonda, ebigambo “ku lw’erinnya lye” biyinza okuba nga bitegeeza linnya lya Yakuwa. N’olwekyo, abatambuze abo baali Bakristaayo era baali bagwana okufiibwako ennyo. Yokaana yagamba nti: “Tuvunaanyizibwa okusembeza abantu ng’abo tulyoke tukolere wamu nabo mu mazima.”​—3 Yok. 8.

AMUWA AMAGEZI KU NGERI Y’OKUKWATAMU EMBEERA ENZIBU

Yokaana teyawandiikira Gayo bbaluwa eyo kumwebaza bwebaza kyokka, wabula yali ayagala n’okumuyamba okumanya engeri y’okukwatamu embeera enzibu eyali mu kibiina. Olw’ensonga etemanyiddwa, waaliwo Omukristaayo eyali ayitibwa Diyotuleefe eyali tayagala kusembeza ba luganda abaalinga bakyalira ebibiina era yali alemesa n’abalala okusembeza ab’oluganda abo.​—3 Yok. 9, 10.

Tewali kubuusabuusa nti Abakristaayo abeesigwa baali tebaagala kusula mu maka ga Diyotuleefe, ne bwe kyabanga nti kyali kisoboka okusulayo. Diyotuleefe yali ayagala okuba n’ekifo ekisooka mu kibiina, ng’anyoomoola ebintu ebyavanga eri Yokaana, era ng’ayogera bubi ku mutume Yokaana n’abalala. Wadde nga Yokaana teyagamba nti Diyotuleefe yali muyigiriza wa bulimba, Diyotuleefe yali awakanya obuyinza bw’omutume Yokaana. Okuba nti Diyotuleefe yali ayagala obukulu n’okuba nti yali teyeeyisa nga Mukristaayo, kyalaga nti teyali mwesigwa. Ebyo bye tusoma ku Diyotuleefe biraga obuzibu obuyinza okujjawo mu kibiina singa mubaamu abantu abaagala ennyo ebitiibwa era ab’amalala. Bwe kityo, Yokaana yagamba Gayo nti: “tokoppanga bibi.” Ebigambo ebyo naffe bitukwatako.​—3 Yok. 11.

ENSONGA EYANDITUKUBIRIZZA OKUKOLA EBIRUNGI

Obutafaananako Diyotuleefe, Omukristaayo ayitibwa Demeteriyo ye yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Yokaana yawandiika nti: “Bonna bawadde obujulirwa ku Demeteriyo . . . Mu butuufu naffe tumuwaako obujulirwa, era okimanyi nti obujulirwa bwe tuwa bwa mazima.” (3 Yok. 12) Kiyinzika okuba nga Demeteriyo yali yeetaaga obuyambi bwa Gayo, era ng’okuyitira mu bbaluwa ya Yokaana ey’okusatu, Yokaana yali amwanjula eri Gayo. Demeteriyo ayinza okuba nga ye yaleeta ebbaluwa eyo eri Gayo. Okuba nti Demeteriyo ayinza okuba nga yali mubaka wa Yokaana oba nga yali mulabirizi akyalira ebibiina, ayinza okuba nga yayongera okukkaatiriza ebyo Yokaana bye yali awandiise.

Lwaki Yokaana yakubiriza Gayo okweyongera okusembeza abagenyi ate nga Gayo yali ayoleka omwoyo ogwo? Kyandiba nti Yokaana yali ayagala kwongera kumuzzaamu maanyi? Kyandiba nti Yokaana yali yeeraliikiridde nti Gayo ayinza okutya okweyongera okwoleka omwoyo ogwo olw’okuba Diyotuleefe yali agezaako okugoba Abakristaayo mu kibiina abaali booleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi? K’ebe nsonga ki eyamuviirako okuwandiikira Gayo, Yokaana yazzaamu Gayo amaanyi ng’agamba nti: “Oyo akola ebirungi ava eri Katonda.” (3 Yok. 11) Eyo ye nsonga eyanditukubirizza ffenna okukolanga ebirungi.

Ebbaluwa eyo Yokaana gye yawandiika yayamba Gayo okweyongera okwoleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi? Okuba nti ebbaluwa ya Yokaana ey’okusatu yateekebwa mu Bayibuli esobole n’okuyamba abalala ‘okukoppanga ebirungi,’ kiraga nti yamuyamba.

BYE TUYIGA MU BBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU

Bayibuli tetubuulira bisingawo bikwata ku Gayo. Naye tulina bingi bye tusobola okuyigira ku ebyo ebitono by’emwogerako.

Tuyinza tutya okwoleka omwoyo ‘gw’okusembeza abagenyi’?

Ekisooka, abasinga obungi ku ffe twasobola okuyiga amazima olw’okuba waaliwo omuweereza wa Yakuwa eyatambulanga olugendo oluwanvu okujja okutuyigiriza. Kyo kituufu nti leero Abakristaayo batono abatambula eŋŋendo empanvu ku lw’amawulire amalungi. Naye, okufaananako Gayo, naffe tusobola okuwagira n’okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaffe abatambula eŋŋendo empanvu ku lw’amawulire amalungi, gamba ng’abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe. Oba tuyinza okuba nga tulina kye tuyinza okukolawo okuyamba bakkiriza bannaffe abagenda okuweereza mu bitundu ebirala oba mu nsi endala awali obwetaavu obusingako. N’olwekyo ka tufube ‘okusembezanga abagenyi.’​—Bar. 12:13; 1 Tim. 5:9, 10.

Eky’okubiri, tekisaanidde kutwewuunyisa singa oluusi mu kibiina mubaamu abantu abawakanya abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Ekyo kyatuuka ku mutume Yokaana ne ku mutume Pawulo. (2 Kol. 10:7-12; 12:11-13) Twandyeyisizza tutya singa embeera ng’eyo ejjawo mu kibiina kyaffe? Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna, ng’asobola okuyigiriza, nga yeefuga bwe bamuyisa obubi, era ng’aba mukkakkamu bw’aba abuulirira abajeemu.” Bwe tusigala nga tuli bakkakkamu ne mu mbeera nga waliwo abawakanya abo abatwala obukulembeze, kisobola okuleetera abamu ku bantu abo okutereeza endowooza yaabwe. Era ekiseera bwe kigenda kiyitawo, Yakuwa ayinza ‘okubasobozesa okwenenya basobole okutegeerera ddala amazima.’​—2 Tim. 2:24, 25.

Eky’okusatu, tusaanidde okusiima n’okwebaza bakkiriza bannaffe abaweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga baziyizibwa. Omutume Yokaana yazzaamu Gayo amaanyi era n’amukakasa nti kye yali akola kyali kituufu. Ne leero abakadde basaanidde okukoppa Yokaana nga bafuba okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi baleme ‘kukoowa.’​—Is. 40:31; 1 Bas. 5:11.

Wadde ng’ebbaluwa Yokaana gye yawandiikira Gayo kye kitabo ekisingayo obumpi mu Bayibuli, ya muganyulo nnyo eri Abakristaayo leero.