Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa k’Awe “Enteekateeka Zo Zonna Omukisa”

Yakuwa k’Awe “Enteekateeka Zo Zonna Omukisa”

“Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo, era ajja kukuwa omutima gwo bye gwagala.”ZAB. 37:4.

ENNYIMBA: 89, 140

1. Kiki abavubuka kye balina okusalawo ku bikwata ku biseera eby’omu maaso, naye lwaki tebasaanidde kutya? (Laba ekifaananyi waggulu.)

MMWE abavubuka, muteekwa okuba nga mukimanyi nti bw’oba tonnatandika lugendo, kiba kya magezi okusooka okumanya wa gy’olaga. Obulamu bulinga olugendo, era ekiseera ekisingayo obulungi mw’oyinza okusalirawo ekyo ky’oyagala okubeera mu biseera eby’omu maaso ky’ekyo ng’okyali muvubuka. Naye ekyo si kyangu. Omuwala ayitibwa Heather agamba nti: “Okusalawo okwo kukulu nnyo kubanga ebyo by’osalawo bikwata ku bulamu bwo bwonna.” Naye temusaanidde kutya. Yakuwa agamba nti: “Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.”Is. 41:10.

2. Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala osalewo mu ngeri eneekusobozesa okuba omusanyufu mu biseera eby’omu maaso?

2 Yakuwa ayagala osalewo mu ngeri ey’amagezi ku bikwata ku biseera byo eby’omu maaso. (Mub. 12:1; Mat. 6:20) Ayagala obeere musanyufu. Kino tukirabira ku bintu ebirungi bye yatonda ebituleetera essanyu. Ate era tukirabira ne ku kuba nti atulabirira era atubuulira engeri esingayo obulungi gye tuyinza okutambuzaamu obulamu bwaffe. Yakuwa agamba abo abagaana okukolera ku magezi ge nti: “Mwalondawo ebitansanyusa. . . . Laba! Abaweereza bange balisanyuka, naye mmwe muliswala. Laba! Abaweereza bange balyogerera waggulu n’essanyu, olw’essanyu eririba mu mitima gyabwe.” (Is. 65:12-14) Bwe tusalawo mu ngeri ey’amagezi, tuweesa Yakuwa ekitiibwa.Nge. 27:11.

ENTEEKATEEKA EZINAAKULEETERA ESSANYU

3. Nteekateeka za ngeri ki Katonda z’ayagala okole?

3 Nteekateeka za ngeri ki Yakuwa z’ayagala okole? Yakuwa yatonda abantu ng’okusobola okuba abasanyufu balina okumumanya n’okumuweereza n’obwesigwa. (Zab. 128:1; Mat. 5:3) Abantu baawukana ku nsolo, kubanga zo kye zeetaaga kyokka kwe kulya, okunywa, n’okuzaala. Katonda ayagala okole enteekateeka ezisukka ku ebyo ensolo bye zeetaaga, kubanga akimanyi nti ekyo kye kijja okukuleetera essanyu erya nnamaddala. Omutonzi wo ye “Katonda ow’okwagala,” “Katonda omusanyufu,” eyatonda abantu “mu kifaananyi kye.” (2 Kol. 13:11; 1 Tim. 1:11; Lub. 1:27) Bw’okoppa Katonda ojja kufuna essanyu erya nnamaddala. Bayibuli egamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Naawe okirabye nti ebigambo ebyo bituufu? Katonda bw’atyo bwe yatutonda. N’olwekyo, Yakuwa ayagala okole enteekateeka ezinaakusobozesa okwagala Katonda ne bantu banno.Soma Matayo 22:36-39.

4, 5. Kiki ekyaleetera Yesu essanyu?

4 Yesu yateerawo abaana ekyokulabirako ekirungi. Bwe yali akyali muto, Yesu ateekwa okuba nga naye yazannyanga era yasanyukiranga wamu n’abalala. Bayibuli egamba nti waliwo “ekiseera eky’okuseka . . . n’ekiseera eky’okuzina.” (Mub. 3:4) Ate era Yesu yasomanga Ebyawandiikibwa, ekintu ekyamuyamba okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. Bwe yali wa myaka 12, abayigiriza b’omu yeekaalu beewuunya nnyo olw’engeri gye yali ategeeramu Ebyawandiikibwa n’olw’ebyo bye yali addamu.Luk. 2:42, 46, 47.

5 Yesu ne bwe yakula yali musanyufu nnyo. Biki ebyamuleetera essanyu? Ekimu ku byo kwe kuba nti yali akimanyi nti Katonda yali ayagala ‘abuulire abaavu amawulire amalungi era alangirire nti abazibe b’amaaso bajja kulaba.’ (Luk. 4:18) Yesu yakola Katonda by’ayagala, era ekyo kyamuleetera essanyu. Nga woogera ku ngeri Yesu gye yali atwalamu okukola Katonda by’ayagala, Zabbuli 40:8 wagamba nti: “Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala.” Yesu kyamuleeteranga essanyu okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda. (Soma Lukka 10:21.) Lumu bwe yali amaze okuyigiriza omukazi omu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.” (Yok. 4:31-34) Okwagala Katonda n’abantu kyaleetera Yesu essanyu. Naawe kisobola okukuleetera essanyu.

6. Lwaki kirungi okubuulirako Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo ku nteekateeka zo?

6 Waliwo Abakristaayo bangi abakulu abaafuna essanyu lingi nga baweereza nga bapayoniya mu myaka gyabwe egy’obuvubuka. Lwaki tobabuulirako ku nteekateeka z’olina? Bayibuli egamba nti: “Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka, naye bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo ekituukibwako.” (Nge. 15:22) Abakristaayo abo bajja kukuyamba okukiraba nti okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna kikuyigiriza ebintu ebikuganyula obulamu bwo bwonna. Wadde nga yali amaze emyaka butabalika nga Kitaawe amuyigiriza mu ggulu, Yesu yeeyongera okuyiga ebintu bingi bwe yali ng’aweereza Katonda wano ku nsi. Ng’ekyokulabirako, yafuna essanyu mu kubuulira abantu amawulire amalungi n’okusigala nga mwesigwa eri Katonda ng’agezesebwa. (Soma Isaaya 50:4; Beb. 5:8; 12:2) Kati ka tulabeyo obumu ku buweereza obw’ekiseera kyonna obusobola okukuleetera essanyu.

LWAKI OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA KIREETA ESSANYU?

7. Lwaki Abakristaayo bangi bafuna essanyu mu kuyigiriza abantu Bayibuli?

7 Yesu yagamba nti: “Mugende mufuule abantu . . . abayigirizwa . . . nga mubayigiriza.” (Mat. 28:19, 20) Bw’okola enteekateeka okufuula abantu abayigirizwa, ojja kufuna essanyu lingi era ekyo kijja kuweesa Katonda ekitiibwa. Nga bwe kibeera mu mirimu emirala gyonna, ekiseera bwe kigenda kiyitawo weeyongera okukuguka mu mulimu ogwo. Ow’oluganda ayitibwa Timothy, eyatandika okuweereza nga payoniya nga muvubuka, yagamba nti: “Njagala obuweereza obw’ekiseera kyonna kubanga ye ngeri gye ndagamu Yakuwa nti mmwagala. Mu kusooka, kyanzibuwaliranga okufuna abayizi ba Bayibuli, naye oluvannyuma lw’ekiseera nnagenda mu kitundu ekirala era mu bbanga lya mwezi gumu gwokka nnafuna abayizi ba Bayibuli abawerako. Omu ku bo yatandika okujja mu nkuŋŋaana. Bwe nnava mu Ssomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina, * nnasindikibwa mu kitundu ekirala era nnafunayo abayizi ba Bayibuli bana. Nnyumirwa nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli, era kinsanyusa nnyo okulaba engeri omwoyo omutukuvu gye gubayambamu okukola enkyukakyuka.”1 Bas. 2:19.

8. Abavubuka bangi beenyigidde batya mu bujjuvu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?

8 Abakristaayo abamu abakyali abato bayize ennimi endala. Ng’ekyokulabirako, Jacob, abeera mu Amerika, yagamba nti: “Bwe nnali wa myaka musanvu, nnakiraba nti abaana bangi be nnali nsoma nabo baali boogera Luvyetinaamu. Nnali njagala okubabuulira ebikwata ku Yakuwa, bwe kityo nnasalawo okuyiga olulimi lwabwe. Nnayiga olulimi olwo okusingira ddala nga ngeraageranya Omunaala gw’Omukuumi ogw’Olungereza n’ogw’Oluvyetinaamu. Era nnakola omukwano ku b’oluganda abaali mu kibiina ky’Oluvyetinaamu. Bwe nnaweza emyaka 18, nnatandika okuweereza nga payoniya. Oluvannyuma nnagenda mu Ssomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina. Ekyo kiŋŋanyudde nnyo mu buweereza bwange, kubanga kati nze mukadde nzekka mu kibinja ky’Oluvyetinaamu ekiri mu kitundu kye mpeererezaamu. Abavyetinaamu bangi beewuunya nnyo okuba nti nnayiga olulimi lwabwe. Bannyaniriza mu maka gaabwe era bangi ku bo bafuuse bayizi ba Bayibuli. Abamu baabatizibwa n’okubatizibwa.”—Geraageranya ne Ebikolwa 2:7, 8.

9. Omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa gutuyigiriza ki?

9 Okukola omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa kikuyigiriza okuba omukozi omulungi, okumanya engeri y’okwogeramu n’abantu, kikumalamu okutya, era kikuyigiriza okukwata abantu mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 21:5; 2 Tim. 2:24, obugambo obuli wansi.) Naye ekisinga okuleeta essanyu mu mulimu ogwo kwe kuba nti oyiga okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa okunnyonnyola abalala ebyo by’okkiririzaamu. Era oyiga okukolera awamu ne Katonda.1 Kol. 3:9.

10. Oyinza otya okufuna essanyu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa ng’oli mu kitundu abantu gye batawuliriza?

10 Osobola okufuna essanyu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa ne bwe kiba nti abantu mu kitundu ky’obuuliramu tebawuliriza. Omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa tugukolera wamu. Ab’oluganda bonna mu kibiina beenyigira mu kunoonya abantu ab’emitima emirungi. Wadde ng’ow’oluganda oba mwannyinaffe omu yekka y’azuula omuntu ow’omutima omulungi, ffenna tuba twenyigidde mu kunoonya omuntu oyo era ffenna tusanyukira wamu. Ng’ekyokulabirako, Brandon yamala emyaka mwenda ng’abuulira mu kitundu ekitavaamu bibala. Agamba nti: “Njagala nnyo okubuulira amawulire amalungi kubanga ekyo Yakuwa ky’ayagala. Nnatandika okuweereza nga payoniya nga nnaakamala okusoma. Njagala nnyo okuzzaamu amaanyi abavubuka abali mu kibiina era nsanyuka nnyo okulaba nga bakulaakulana mu by’omwoyo. Bwe nnava mu Ssomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina, nnasindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala. Kyo kituufu nti sinnafunayo muntu akulaakulana n’atuuka okubatizibwa, naye bo abalala babafunye. Wadde kiri kityo, ndi musanyufu nnyo okuba nti nnakola enteekateeka okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa.”Mub. 11:6.

ENTEEKATEEKA ZO GYE ZIYINZA OKUKUTWALA

11. Buweereza ki obutukuvu abavubuka bangi bwe beenyigiddemu?

11 Waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okuweerezaamu Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, abavubuka bangi beenyigidde mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ebizimbe by’Obwakabaka bingi byetaagibwa mu bitundu ebitali bimu. Omulimu gw’okuzimba ebizimbe ebyo mutukuvu, guweesa Yakuwa ekitiibwa, era guleeta essanyu lingi. Okufaananako obuweereza obulala bwonna obutukuvu, okukolerako awamu n’ab’oluganda abalala mu mulimu ogwo kireeta essanyu lingi. Okwenyigira mu mulimu ogwo nakyo kikuyamba okuyiga ebintu bingi, gamba ng’okumanya engeri y’okwewalamu obubenje, okuba omukozi omunyiikivu, n’okukolagana obulungi n’abo abatwala obukulembeze.

Abo abayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna bafuna emikisa mingi (Laba akatundu 11-13)

12. Okuweereza nga payoniya kiyinza kukusobozesa kufuna nkizo ki endala?

12 Ow’oluganda ayitibwa Kevin agamba nti: “Okuviira ddala mu buto nnali njagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Bwe nnaweza emyaka 19, nnatandika okuweereza nga payoniya. Okusobola okweyimirizaawo, nnakoleranga wamu n’ow’oluganda eyali omuzimbi. Nnayiga okusereka n’okuwanga amadirisa n’enzigi. Oluvannyuma, nnamala emyaka ebiri nga nkolera wamu n’ab’oluganda abaali bazimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’amayumba g’ab’oluganda ebyali byonooneddwa omuyaga. Bwe nnakimanyaako nti mu South Africa waaliyo obwetaavu bw’abazimbi, nnajjuzaamu foomu era ne mpitibwa okugenda. Eno mu Afirika, buli luvannyuma lwa wiiki ntono tumaliriza Ekizimbe ekimu eky’Obwakabaka ne tukwata ekirala. Nze ne bakkiriza bannange be nzimba nabo tulinga ba mu maka gamu. Tubeera wamu, tusomera wamu Bayibuli, era tukolera wamu. Era nnyumirwa nnyo okubuulirako awamu n’ab’oluganda ab’omu bitundu gye tuba tuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Enteekateeka ze nnakola nga nkyali muto zindeetedde essanyu lingi.”

13. Okuweereza ku Beseri kireetera kitya abavubuka essanyu?

13 Abamu ku bavubuka abaakolera ku nteekateeka zaabwe ne bayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna kati baweereza ku Beseri. Okuweereza ku Beseri kireeta essanyu lingi kubanga emirimu gyonna egikolebwayo gya Yakuwa. Ab’oluganda abakola ku Beseri bayambako mu mulimu gw’okukuba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Omubeseri ayitibwa Dustin agamba nti: “Nneeteerawo ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga ndi wa myaka mwenda, era bwe nnamala okusoma nnatandika okuweereza nga payoniya. Nga wayise omwaka gumu n’ekitundu, nnayitibwa okugenda okuweereza ku Beseri, gye nnayigira okukozesa ebyuma ebikuba ebitabo n’okukola programu za kompyuta. Okuweereza ku Beseri kinnyambye okulaba obulungi engeri omulimu gw’okubuulira gye gutambulamu mu nsi yonna. Njagala nnyo okuweereza ku Beseri kubanga emirimu gye tukolayo giyamba abantu okufuuka mikwano gya Katonda.”

ONEETEEKERATEEKERA OTYA EBISEERA EBY’OMU MAASO?

14. Oyinza otya okukola enteekateeka okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?

14 Oyinza otya okukola enteekateeka okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Okusookera ddala, kikulu okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. N’olwekyo, nnyiikirira okusoma Bayibuli era ofumiitirize ku by’osoma. Ate era yoleka okukkiriza kwo ng’obaako by’oddamu mu nkuŋŋaana. Bw’oba okyasoma, fuba okwongera okufuna obumanyirivu mu kubuulira abalala amawulire amalungi. Yiga okutandika emboozi n’abantu ng’obabuuza okuwa endowooza yaabwe ku nsonga emu era ng’owuliriza bulungi nga baliko kye baddamu. Era osobola okwewaayo okukola emirimu egitali gimu mu kibiina, gamba ng’okuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka. Yakuwa ayagala nnyo okukozesa abantu abeetoowaze, era abaagala okuweereza. (Soma Zabbuli 110:3; Bik. 6:1-3) Omutume Pawulo yasaba okukolera awamu ne Timoseewo omulimu gw’obuminsani olw’okuba Timoseewo ab’oluganda “baali bamwogerako bulungi.”Bik. 16:1-5.

15. Tuyinza tutya okukola enteekateeka ez’okweyimirizaawo?

15 Emirundi mingi abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna balina okubaako kye bakola okweyimirizaawo. (Bik. 18:2, 3) Kiyinza okukwetaagisa okusomayo koosi etemala kiseera kiwanvu era eneekusobozesa okufuna amangu omulimu ogutali gwa kiseera kyonna. Ng’okola enteekateeka ezo, weebuuze ku mulabirizi wammwe ow’ekitundu ne bapayoniya abali mu kitundu kyammwe. Basabe bakubuulire emirimu bapayoniya gye bayinza okukola. Ate era nga Bayibuli bw’egamba, “buli ky’okola kikwase Yakuwa, olwo nno by’oteekateeka bijja kugenda bulungi.”Nge. 16:3; 20:18.

16. Okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna ng’okyali muvubuka kiyinza kitya okukuyamba mu biseera eby’omu maaso?

16 Yakuwa akwagaliza ebiseera eby’omu maaso ebirungi. (Soma 1 Timoseewo 6:18, 19.) Okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna kikusobozesa okukolera awamu n’abaweereza ba Yakuwa abalala abali mu buweereza obwo abasobola okukuyamba okukula mu by’omwoyo. Bangi bakirabye nti okuba nti baayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga bakyali bavubuka kibayambye okuba n’obufumbo obulungi. Bangi ku abo abaaweereza nga bapayoniya nga tebannafumbiriganwa beeyongera okuweereza nga bapayoniya n’oluvannyuma lw’okufumbiriganwa.Bar. 16:3, 4.

17, 18. Lwaki tuyinza okugamba nti okukola enteekateeka kizingiramu omutima gwo?

17 Okukola enteekateeka kizingiramu omutima gwo. Zabbuli 20:4 wagamba nti: ‘Yakuwa akuwe omutima gwo bye gwagala, era awe enteekateeka zo omukisa.’ N’olwekyo, lowooza ku ngeri gy’onookozesaamu obulamu bwo. Lowooza ku ebyo Yakuwa by’akola mu kiseera kino n’engeri gy’oyinza okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gwe. Ba mumalirivu okukola enteekateeka ezimusanyusa.

18 Bw’oweereza Yakuwa mu bujjuvu kijja kukuleetera essanyu lingi kubanga ojja kuba okola ebintu ebimuweesa ekitiibwa. Ka “Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo, era ajja kukuwa omutima gwo bye gwagala.”Zab. 37:4.

^ lup. 7 Kati liyitibwa Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka.