Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?

Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?

“Nammwe mugumiikirize.”​—YAK. 5:8.

ENNYIMBA: 78, 139

1, 2. (a) Kiki ekiyinza okutuleetera okwebuuza ebbanga lye tunaamala nga tulindirira Yakuwa? (b) Lwaki ebyo bye tusoma ku baweereza ba Yakuwa ab’edda bituzzaamu amaanyi?

NNABBI Isaaya ne nnabbi Kaabakuuku beebuuza ebbanga lye bandimaze nga balindirira Yakuwa. (Is. 6:11; Kaab. 1:2) Mu Zabbuli 13, Kabaka Dawudi naye yeebuuza ekiseera kye yandimaze ng’alindirira Yakuwa. (Zab. 13:1, 2) Ne Mukama waffe Yesu Kristo yeebuuza ekiseera kye yandimaze ng’agumiikiriza abantu abatalina kukkiriza. (Mat. 17:17) Naffe oluusi tuyinza okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo.

2 Kiki ekiyinza okutuleetera okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo? Oboolyawo tuyinza okuba nga tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Oba tuyinza okuba nga twolekagana n’ebizibu ebijjawo mu myaka gy’obukadde, nga tulina obulwadde obw’amaanyi, oba nga twolekagana n’ebizibu ebirala ebiriwo mu nnaku zino ez’enkomerero. (2 Tim. 3:1) Oba tuyinza okuba nga tuli bennyamivu olw’empisa embi ez’abantu abatwetoolodde. Ka tube nga twolekagana na mbeera ki, nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti n’abaweereza ba Katonda ab’edda beebuuza ekiseera kye bandimaze nga bagumiikiriza embeera enzibu, era Yakuwa teyabanenya olw’okwebuuza ekibuuzo ekyo.

3. Kiki ekiyinza okutuyamba nga twolekagana n’embeera enzibu?

3 Naye kiki ekiyinza okutuyamba nga twolekagana n’embeera enzibu? Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Mugumiikirize okutuuka ku kubeerawo kwa Mukama waffe.” (Yak. 5:7) Ffenna twetaaga okuba abagumiikiriza. Naye obugumiikiriza kye ki?

OBUGUMIIKIRIZA KYE KI?

4, 5. (a) Obugumiikiriza butusobozesa kwoleka ngeri ki endala? (b) Kyakulabirako ki Yakobo kye yawa ekiraga ekintu ekimu ekizingirwa mu kwoleka obugumiikiriza? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

4 Okusinziira ku Bayibuli, obugumiikiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Awatali buyambi bwa Katonda, abantu abatatuukiridde tebasobola kwoleka bugumiikiriza ku kigero Katonda ky’ayagala. Obugumiikiriza kirabo okuva eri Katonda era engeri emu gye tulagamu nti twagala Katonda kwe kuba abagumiikiriza. Bwe tuba abagumiikiriza era kiba kiraga nti twagala bantu bannaffe. Obutaba bagumiikiriza kitulemesa okwoleka okwagala okwa nnamaddala, naye obugumiikiriza butuyamba okukwoleka. (1 Kol. 13:4; Bag. 5:22) Obugumiikiriza butuyamba okwoleka n’engeri endala ennungi. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba abagumiikiriza kitusobozesa okugumira embeera enzibu ate nga mu kiseera kye kimu tuli basanyufu. (Bak. 1:11; Yak. 1:3, 4) Obugumiikiriza era butuyamba obutawoolera ggwanga n’okusigala nga tunyweredde ku kituufu, ka tube nga twolekagana na mbeera ki. Bayibuli etukubiriza okubeera abeetegefu okulindirira Yakuwa. Ekyo tukirabira mu bigambo ebiri mu Yakobo 5:7, 8. (Soma.)

5 Lwaki tusaanidde okulindirira Yakuwa? Yakobo yageraageranya embeera yaffe ku y’omulimi. Wadde ng’omulimu akola n’amaanyi okusiga ensigo, taba na buyinza ku mbeera ya budde oba ku sipiidi ebimera kwe bikulira. Tasobola kwanguyaako kiseera kya makungula. Aba akimanyi nti alina okulindirira n’obugumiikiriza “ebibala ebirungi eby’ensi.” Naffe waliwo ebintu bye tutalinaako buyinza nga tulindirira Yakuwa okutuukiriza ebisuubizo bye. (Mak. 13:32, 33; Bik. 1:7) Okufaananako omulimi, tulina okulindirira n’obugumiikiriza.

6. Kiki kye tuyigira ku nnabbi Mikka?

6 Embeera gye tulimu leero efaananako n’eyo eyaliwo mu kiseera kya nnabbi Mikka. Mikka yaliwo mu kiseera kya Kabaka Akazi eyali omubi, era mu kiseera ekyo abantu baali bakola ebibi ebya buli ngeri. Mu butuufu, abantu baali ‘bakugu mu kukola ebintu ebibi.’ (Soma Mikka 7:1-3.) Mikka yakiraba nti yali tasobola kukyusa mbeera eyo. Kiki kye yakola? Yagamba nti: “Naye nze Yakuwa gwe nnaatunuuliranga. Nnaalindiriranga n’obugumiikiriza Katonda ow’obulokozi bwange. Katonda wange ajja kumpulira.” (Mik. 7:7) Okufaananako Mikka, naffe tulina okulindirira Yakuwa.

7. Lwaki okulindirira obulindirizi Yakuwa tekimala?

7 Bwe tuba ab’okukoppa Mikka, tujja kuba beetegefu okulindirira Yakuwa. Embeera yaffe eyawukana ku y’omuntu ali mu kkomera alindirira okuwanikibwa ku kalabba. Alindirira naye aba teyeesunga bijja mu maaso. Obutafaananako musibe oyo, ffe tulindirira Yakuwa nga tukimanyi nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye atuwe obulamu obutaggwaawo mu kiseera ekituufu! N’olwekyo, ‘tugumira byonna era tugumiikiriza n’essanyu.’ (Bak. 1:11, 12) Bwe tulindirira nga twemulugunya nti Yakuwa aluddewo okutuukiriza bye yasuubiza, ekyo kinyiiza Yakuwa.​—Bak. 3:12.

BAALI BAGUMIIKIRIZA

8. Nga tulaba ebikwata ku baweereza ba Yakuwa ab’edda, kiki kye tusaanidde okufumiitirizaako?

8 Bwe tufumiitiriza ku byokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa ab’edda abaalindirira Yakuwa n’obugumiikiriza kijja kutuyamba okuba abeetegefu okulindirira Yakuwa. (Bar. 15:4) Nga tulaba ebikwata ku baweereza ba Yakuwa abo, kikulu okufumiitiriza ku bbanga lye baamala nga balindirira Yakuwa, ensonga lwaki baamulindirira, n’emikisa gye baafuna mu kwoleka obugumiikiriza.

Ibulayimu yalindirira okumala emyaka mingi nga bazzukulu be Esawu ne Yakobo tebannazaalibwa (Laba akatundu 9, 10)

9, 10. Ibulayimu ne Saala baamala bbanga ki nga balindirira Yakuwa?

9 Lowooza ku Ibulayimu ne Saala. Be bamu ku ‘abo abaafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.’ Ebyawandiikibwa bigamba nti “Ibulayimu bwe yamala okwoleka obugumiikiriza” Yakuwa yamusuubiza nti yali agenda kumuwa emikisa era nti yali agenda kwaza ezzadde lye. (Beb. 6:12, 15) Lwaki Ibulayimu yali yeetaaga okuba omugumiikiriza? Waali wagenda kuyita ekiseera kiwanvu ng’ekyo Yakuwa kye yamusuubiza tekinnatuukirira. Endagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu yatandika okukola nga Nisaani 14, 1943 E.E.T. Olwo lwe lunaku Ibulayimu ne Saala awamu n’ab’omu maka gaabwe lwe baasomoka Omugga Fulaati ne bayingira mu Nsi Ensuubize. Oluvannyuma lw’ekyo, Ibulayimu yalina okulindirira emyaka 25 okuyitawo mutabani we Isaaka n’alyoka azaalibwa mu 1918 E.E.T., era yalina okulindirira emyaka emirala 60 bazzukulu be Esawu ne Yakobo ne balyoka bazaalibwa mu 1858 E.E.T.​—Beb. 11:9.

10 Ttaka lyenkana wa Ibulayimu lye yafuna? Bayibuli egamba nti: “[Yakuwa] teyamuwaamu kya busika kyonna wadde w’asobola okussa ekigere; naye yamusuubiza okugimuwa ebeere yiye n’oluvannyuma agiwe ezzadde lye eryandizzeewo, wadde nga yali tannazaala mwana.” (Bik. 7:5) Waamala kuyitawo emyaka 430 oluvannyuma lwa Ibulayimu okusomoka Omugga Fulaati, bazzukulu be ne balyoka bafuulibwa eggwanga eryali ligenda okuweebwa ensi Yakuwa gye yali asuubizza Ibulayimu.​—Kuv. 12:40-42; Bag. 3:17.

11. Lwaki Ibulayimu yali mwetegefu okulindirira Yakuwa, era mikisa ki gy’ajja okufuna olw’okwoleka obugumiikiriza?

11 Ibulayimu yali mwetegefu okulindirira Yakuwa olw’okuba yalina okukkiriza. (Soma Abebbulaniya 11:8-12.) Ibulayimu yalindirira n’essanyu wadde ng’ebimu ku ebyo Yakuwa bye yamusuubiza tebyatuukirira mu kiseera kye. Lowooza ku ssanyu Ibulayimu ly’alifuna ng’azuukiziddwa. Ajja kusanyuka nnyo okukimanya nti bingi ku ebyo ebimukwatako n’ebikwata ku bazzukulu be byawandiikibwa mu Bayibuli. * Era ajja kusanyuka okukimanya nti ezzadde eryasuubizibwa lyava mu lunyiriri lwe! Ibulayimu ajja kukiraba nti teyateganira bwereere kumala kiseera kiwanvu ng’alindirira.

12, 13. Lwaki Yusufu yalina okuba omugumiikiriza, era ndowooza ki ennungi gye yalina?

12 Yusufu, muzzukulu wa Ibulayimu, naye yalindirira Yakuwa. Yusufu yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Baganda be baamutunda mu buddu ng’alina emyaka nga 17. Oluvannyuma yasibibwako omusango ogw’okwagala okukwata muka mukama we era n’asibibwa mu kkomera. (Lub. 39:11-20; Zab. 105:17, 18) Ebintu eby’obutuukirivu Yusufu bye yali akola byalinga ebyali bimuviirako okufuna ebizibu. Naye oluvannyuma lw’emyaka 13 ebintu byakyuka mu bwangu. Yusufu yasumululwa mu kkomera n’aba nga y’addirira Falaawo mu buyinza.​—Lub. 41:14, 37-43; Bik. 7:9, 10.

13 Okubonaabona Yusufu kwe yayitamu kwamuleetera okunyiigira Yakuwa? Yalekera awo okwesiga Yakuwa? Nedda. Kiki ekyayamba Yusufu okulindirira Yakuwa? Yali yeesiga Yakuwa. Yalaba omukono gwa Yakuwa mu mbeera gye yali ayitamu. Ekyo kyeyolekera mu bigambo bino bye yagamba baganda be: “Temutya. Siyinza kwessa mu kifo kya Katonda. Newakubadde nga mmwe mwali mugenderedde kuntuusaako kabi, Katonda yayagala kiveemu ebirungi era awonye obulamu bw’abantu bangi nga bw’akola leero.” (Lub. 50:19, 20) Yusufu yakiraba nti teyateganira bwereere kulindirira Yakuwa.

14, 15. (a) Dawudi yayoleka atya obugumiikiriza? (b) Kiki ekyayamba Dawudi okuba omugumiikiriza?

14 Ne Kabaka Dawudi naye yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Wadde nga Yakuwa yamufukako amafuta ng’akyali muto n’amulonda okuba kabaka wa Isirayiri eyandizzeeko, Dawudi yalindirira emyaka 15 n’alyoka atandika okufuga abantu b’ekika kye. (2 Sam. 2:3, 4) Egimu ku myaka egyo yagimala ng’adduka Kabaka Sawulo eyali amunoonya okumutta. * Bwe kityo, Dawudi yafuuka mmomboze, ng’oluusi addukira mu nsi endala oba ng’asula mu mpuku mu ddungu. N’oluvannyuma lwa Sawulo okufiira mu lutalo, Dawudi yalindirira emyaka emirala musanvu n’alyoka afuulibwa kabaka w’eggwanga lya Isirayiri lyonna.​—2 Sam. 5:4, 5.

15 Lwaki Dawudi yali mwetegefu okulindirira Yakuwa? Dawudi yagamba nti: “Nneesiga okwagala kwo okutajjulukuka; omutima gwange gujja kusanyukira ebikolwa byo eby’obulokozi. Nja kuyimbira Yakuwa olw’okuba ankoledde ebirungi bingi.” (Zab. 13:5, 6) Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa ajja kumulaga okwagala okutajjulukuka. Yali akimanyi nti ekiseera kyandituuse Yakuwa n’amununula era yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yali amuyambyemu. Dawudi yakiraba nti kyali kya magezi okulindirira Yakuwa.

Yakuwa bw’atugamba okuba abagumiikiriza, aba tatugamba kukola kintu ye ky’atakola

16, 17. Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bataddewo batya ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kwoleka obugumiikiriza?

16 Yakuwa bw’atugamba okuba abagumiikiriza, aba tatugamba kukola kintu ye ky’atakola. Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obugumiikiriza. (Soma 2 Peetero 3:9.) Yakuwa amaze emyaka mingi nnyo ng’alindirira okutuusa ensonga enkulu ezaaleetebwawo mu lusuku Edeni lwe zinaagonjoolerwa ddala. Yakuwa “alindirira n’obugumiikiriza” ekiseera erinnya lye lwe lijja okutukuzibwa mu bujjuvu. Ekyo kijja kuviiramu abo ‘abalindirira’ Yakuwa emikisa mingi.​—Is. 30:18.

17 Ne Yesu naye ayolese obugumiikiriza. Wadde nga yakuuma obwesigwa bwe ng’ali wano ku nsi era n’awaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu yalindirira okutuusa mu mwaka gwa 1914 n’alyoka atandika okufuga nga Kabaka. (Bik. 2:33-35; Beb. 10:12, 13) Ate era ajja kulindirira okutuusa ku nkomerero y’Obufuzi Bwe obw’Emyaka Olukumi, abalabe be bonna balyoke basaanyizibwewo. (1 Kol. 15:25) Yesu ajja kuba alinze okumala ebbanga ddene, naye ebinaavaamu bijja kuba birungi nnyo.

KIKI EKINAATUYAMBA OKULINDIRIRA YAKUWA?

18, 19. Kiki ekinaatuyamba okuba abamalirivu okulindirira Yakuwa?

18 Mazima ddala ffenna kitwetaagisa okuba abagumiikiriza. Naye kiki ekinaatuyamba okuba abagumiikiriza? Tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe. Obugumiikiriza bwe bumu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bef. 3:16; 6:18; 1 Bas. 5:17-19) Tusaanidde okusaba Yakuwa Katonda atuyambe okuba abagumiikiriza.

19 Ate era tusaanidde okujjukira ekyo ekyayamba Ibulayimu, Yusufu, ne Dawudi okulindirira Yakuwa okutuukiriza ebisuubizo bye. Baalina okukkiriza okw’amaanyi era baali bakimanyi nti Yakuwa yeesigika. Ebirowoozo byabwe tebaabimalira ku mbeera gye baali bayitamu oba ku ebyo bo bye baali baagala. Bwe tulowooza ku mikisa gye baafuna olw’okubeera abagumiikiriza, naffe kisobola okutuyamba okuba abagumiikiriza.

20. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

20 N’olwekyo, wadde nga tufuna ebizibu ebitali bimu, tusaanidde okuba abamalirivu okulindirira Yakuwa. Kyo kituufu nti oluusi tuyinza okwebuuza ensonga lwaki Yakuwa aluddewo okubaako ky’akolawo. (Is. 6:11) Naye omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gusobola okutuyamba okuba n’endowooza ng’eya Yeremiya eyagamba nti: “Yakuwa gwe mugabo gwange, eyo ye nsonga lwaki nja kumulindirira n’obugumiikiriza.”​—Kung. 3:21, 24.

^ lup. 11 Mu kitabo ky’Olubereberye mulimu essuula 15 nnamba ezoogera ku Ibulayimu. Ate era n’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byogera ku Ibulayimu emirundi egisukka mu 70.

^ lup. 14 Wadde nga Yakuwa yalekera awo okukolagana ne Sawulo nga Sawulo yaakafugira emyaka ng’ebiri, Sawulo yalekebwa ku ntebe y’obwakabaka okumala emyaka egisukka mu 38, okutuusa lwe yafa.​—1 Sam. 13:1; Bik. 13:21.