Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Emirembe gya Katonda Gisingira Wala Okutegeera Kwonna’

‘Emirembe gya Katonda Gisingira Wala Okutegeera Kwonna’

“Emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe.”​—BAF. 4:7.

ENNYIMBA: 112, 58

1, 2. Biki ebyaliwo mu Firipi ebyaviirako Pawulo ne Siira okusibibwa mu kkomera? (Laba ekifaananyi waggulu.)

EKIRO mu matumbi budde, abaminsani babiri, Pawulo ne Siira, baali mu kkomera ery’omunda mu kibuga Firipi. Ebigere byabwe byali biteekeddwa mu nvuba era emigongo gyali gibaluma olw’emiggo gye baali babakubye. (Bik. 16:23, 24) Embeera yali ekyuse mu bwangu! Ekibinja ky’abantu kyali kibakutte ne kibawalaawala ne kibatwala mu katale okuwozesebwa ab’obuyinza. Abantu baayuza ebyambalo byabwe era ne babakuba emiggo. (Bik. 16:16-22) Ekyo tekyali kya bwenkanya kubanga Pawulo yalina okusooka okuwozesebwa obulungi nga tannaweebwa kibonerezo, olw’okuba yalina obutuuze bwa Rooma. *

2 Pawulo bwe yali mu kkomera ng’enzikiza ekutte, ayinza okuba nga yafumiitiriza ku bintu ebyali bibaddewo mu lunaku. Ayinza okuba nga yalowooza ku bantu b’omu Firipi. Obutafaananako bibuga ebirala Pawulo bye yali agenzeemu, ekibuga Firipi tekyalimu kkuŋŋaaniro lya Bayudaaya. Abayudaaya mu kibuga ekyo bwe baabanga baagala okusinza baakuŋŋaaniranga wabweru w’ekibuga ku mabbali g’omugga. (Bik. 16:13, 14) Kyandiba nti mu Firipi temwalimu basajja Bayudaaya bawera kkumi, nga guno gwe muwendo ogwali gwetaagisa okutandikawo ekkuŋŋaaniro? Abantu b’omu Firipi baali beenyumiririza nnyo mu kuba n’obutuuze bwa Rooma. (Bik. 16:21) Oboolyawo ekyo kye kyabaleetera okulowooza nti Pawulo ne Siira abaali Abayudaaya tebaalina butuuze bwa Rooma. K’ebe ndowooza ki abantu b’omu Firipi gye baalina, Pawulo ne Siira baabasibira bwereere.

3. Lwaki Pawulo ayinza okuba nga yasoberwa ng’asibiddwa; naye ndowooza ki gye yalina?

3 Oboolyawo Pawulo yali alowooza ne ku ebyo ebyali bibaddewo emyezi mitono emabega bwe yali emitala w’Ennyanja Aegean, mu Asiya Omutono. Bwe yali ali eyo, emirundi egiwerako omwoyo omutukuvu gwamugaana okubuulira mu bitundu ebimu. Omwoyo omutukuvu gwalinga ogumusindiikiriza okugenda mu kitundu ekirala. (Bik. 16:6, 7) Naye wa gye gwali gwagala agende? Pawulo yafuna okwolesebwa ng’ali mu Tulowa. Mu kwolesebwa okwo yagambibwa nti: “Jjangu e Masedoniya.” Bwe yamanya ekyo Yakuwa kye yali ayagala, Pawulo yasitukiramu n’agenda e Masedoniya. (Soma Ebikolwa 16:8-10.) Naye kiki ekyaddirira? Bwe yali yaakatuuka e Masedoniya, Pawulo yasibibwa mu kkomera! Lwaki Yakuwa yakkiriza Pawulo okusibibwa mu kkomera? Yandimazeemu bbanga ki? Wadde nga Pawulo ayinza okuba nga yali yeebuuza ebibuuzo ebyo, teyakkiriza mbeera eyo kunafuya kukkiriza kwe oba okumumalako essanyu. Pawulo ne Siira baatandika ‘okusaba n’okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda.’ (Bik. 16:25) Katonda yabawa emirembe mu mutima.

4, 5. (a) Embeera yaffe eyinza etya okufaananako eya Pawulo? (b) Embeera ya Pawulo yakyuka etya mu ngeri gye yali tasuubira?

4 Okufaananako Pawulo, oboolyawo naawe waliwo ekiseera bwe wafuba okugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu naye ebintu ne bitagenda nga bwe wali osuubira. Oyinza okuba nga wafuna ebizibu oba ne weesanga mu mbeera ng’olina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwo. (Mub. 9:11) Bw’olowooza ku ebyo ebyaliwo mu kiseera ekyo oyinza okuba nga weebuuza ensonga lwaki Yakuwa yaleka ebizibu ebyo okukutuukako. Bwe kiba kityo, kiki ekiyinza okukuyamba okusigala nga weesiga Yakuwa? Lowooza ku ebyo ebyatuuka ku Pawulo ne Siira nga bali mu kkomera.

5 Pawulo ne Siira bwe baali bayimba ennyimba ezitendereza Katonda, waliwo ebintu ebyali bitasuubirwa ebyabaawo. Musisi ow’amaanyi yayita. Enzigi z’ekkomera zeggula. Enjegere zonna ezaali zisibye abasibe zaasumulukuka. Pawulo yagamba omukuumi w’ekkomera obutetta. Omukuumi w’ekkomero n’ab’omu maka ge bonna baabatizibwa. Obudde bwe bwakya, ab’obuyinza baatuma abasirikale okusumulula Pawulo ne Siira. Ab’obuyinza baagamba Pawulo ne Siira okuva mu kibuga. Bwe baakimanya nti Pawulo ne Siira baalina obutuuze bwa Rooma, baakiraba nti baali bakoze nsobi okubasiba, era bo bennyini bajja okuwerekerako Pawulo ne Siira bafulume ekibuga. Naye Pawulo ne Siira baasalawo okusooka okusiibula Lidiya, Omukristaayo omupya eyali yaakabatizibwa. Ate era baakozesa akakisa ako okunyweza ab’oluganda. (Bik. 16:26-40) Ng’ebintu byali bikyuse mangu!

‘GISINGIRA WALA OKUTEGEERA KWONNA’

6. Biki bye tugenda okwekenneenya?

6 Biki bye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Pawulo ne Siira? Yakuwa asobola okutuyamba mu ngeri gye tutasuubira, era eyo ye nsonga lwaki tetusaanidde kweraliikirira nga twolekagana n’ebizibu. Ekyo Pawulo naye yakiyiga, nga bwe kyeyolekera mu ebyo bye yawandiikira ab’oluganda mu Firipi ebikwata ku kweraliikirira n’emirembe gya Katonda. Ka tusooke twekenneenye ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abafiripi 4:6, 7. (Soma.) Era tujja kulabayo n’ebyokulabirako ebirala mu Bayibuli ebiraga nti oluusi Yakuwa atuyamba mu ngeri gye tutasuubira. Ate era tujja kulaba engeri “emirembe gya Katonda” gye gisobola okutuyamba okwesiga Yakuwa n’okwaŋŋanga ebizibu.

7. Pawulo bwe yawandiikira ab’oluganda mu Firipi ebbaluwa, kiki kye yali ayagala bayige, era kiki kye tuyinza okuyigira mu ebyo bye yabawandiikira?

7 Kya lwatu nti ab’oluganda mu Firipi bwe baasoma ebbaluwa Pawulo gye yabawandiikira bajjukira ebyo ebyali bimutuuseeko era n’engeri Yakuwa gye yali amuyambyemu mu ngeri gye baali batasuubira. Kiki Pawulo kye yali ayagala bayige? Yali ayagala bakimanye nti tebasaanidde kweraliikirira. Yabagamba basabenga era ekyo bwe bandikikoze bandifunye emirembe gya Katonda. Yabagamba nti ‘emirembe gya Katonda gisingira wala okutegeera kwonna.’ Kiki kye yali ategeeza? Abavvuunuzi abamu ebigambo ebyo babivvuunula bwe bati: “emirembe gya Katonda gisingira wala ebirooto byaffe byonna” oba nti “gisingira wala enteekateeka z’abantu zonna.” Mu ngeri endala Pawulo yali agamba nti “emirembe gya Katonda” gisukkulumye okutegeera kwaffe. N’olwekyo, wadde ng’oluusi bwe tuba n’ebizibu tuyinza okulaba ng’abatuuse ku kisenge, Yakuwa ye aba amanyi ekiba kirina okukolebwa era asobola okukola ekyo ekitasuubirwa.​—Soma 2 Peetero 2:9.

8, 9. (a) Wadde nga Pawulo yafuna ebizibu mu Firipi, birungi ki ebyavaamu? (b) Lwaki ab’oluganda mu Firipi baali basobola okukkiriza ebigambo bya Pawulo?

8 Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira ab’oluganda mu Firipi eteekwa okuba nga yabazzaamu amaanyi bwe baalowooza ku ebyo Yakuwa bye yali abakoledde mu myaka kkumi egyali giyiseewo bukya Pawulo ne Siira basumululwa mu kkomera. Wadde nga Yakuwa yali akkirizza ebintu ebibi okutuuka ku Pawulo ne Siira, ebyo ebyabatuukako byayamba nnyo “mu kulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka.” (Baf. 1:7) Oluvannyuma lw’ebyo ebyaliwo, ab’obuyinza baalina okwegendereza ennyo nga tebannabaako kye bakola ku kibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandiikibwawo mu Firipi. Oboolyawo olw’okuba Pawulo yagamba abo abaamukwata nti yalina obutuuze bwa Rooma, ye nsonga lwaki Lukka omu ku abo be yatambulanga nabo yasobola okusigala mu Firipi nga Pawulo ne Siira bagenze. Bwe kityo, Lukka yali asobola okweyongera okuyamba Abakristaayo abapya abaali mu Firipi.

9 Ab’oluganda mu Firipi bwe baasoma ebbaluwa ya Pawulo, baali bakimanyi nti Pawulo yali ayogera ku kintu kye yali amanyi obulungi. Pawulo yali ayise mu bizibu eby’amaanyi ennyo. Wadde kyali kityo, yakiraga nti yalina “emirembe gya Katonda.” Mu butuufu, Pawulo we yawandiikira ab’oluganda mu Firipi ebbaluwa eyo, yali asibiddwa mu Rooma. Naye ne mbeera eyo, Pawulo yakiraga nti yalina “emirembe gya Katonda.”​—Baf. 1:12-14; 4:7, 11, 22.

“TEMWERALIIKIRIRANGA KINTU KYONNA”

10, 11. Bwe tufuna ebitweraliikiriza kiki kye tusaanidde okukola, era kiki kye tusaanidde okusuubira?

10 Kiki ekiyinza okutuyamba obuteeraliikirira kintu kyonna n’okufuna “emirembe gya Katonda”? Ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abafiripi biraga nti okusaba kusobola okutuyamba. N’olwekyo, bwe tufuna ebitweraliikiriza tusaanide okusaba Yakuwa. (Soma 1 Peetero 5:6, 7.) Saba Yakuwa ng’oli mukakafu nti akufaako. Jjukiranga ebirungi Yakuwa by’akukoledde era ‘omwebazenga.’ Bwe tukimanya nti Yakuwa “asobola okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza,” kinyweza okukkiriza kwaffe.​—Bef. 3:20.

11 Nga bwe kyali eri Pawulo ne Siira, naffe Yakuwa ayinza okutuyamba mu ngeri gye tutasuubira. Ayinza obutatukolera kintu kiwuniikiriza, naye ekyo kyonna ky’aba atukoledde ky’ekyo kye tuba twetaaga. (1 Kol. 10:13) Kyokka ekyo tekitegeeza nti bwe tusaba Yakuwa atuyambe tulina kutuula butuuzi ne tutabaako kye tukolawo kugonjoola kizibu. Tulina okukolera ku kusaba kwaffe. (Bar. 12:11) Bwe tukolera ku kusaba kwaffe kiba kiraga nti kye tusaba tukitegeeza, era Yakuwa awa omukisa okufuba kwaffe. Naye era tulina okukijjukira nti Yakuwa takugirwa ebyo bye tuba tumusabye, entegeka zaffe, oba bye tusuubira. Oluusi atuwa ebisukka ne ku ebyo bye tusuubira. Ka tulabeyo ebyokulabirako ebirala okuva mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa asobola okutukolera bye tuba tutasuubira.

YAKUWA BYE YAKOLA EBYALI BITASUUBIRWA

12. (a) Kiki Kabaka Keezeekiya kye yakola ng’alumbiddwa Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli? (b) Engeri Yakuwa gye yayambamu Keezeekiya etuyigiriza ki?

12 Mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga nti Yakuwa akola ebitasuubirwa. Kabaka Keezeekiya yafugira mu kiseera Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli we yalumbira Yuda n’awamba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe okuggyako Yerusaalemi. (2 Bassek. 18:1-3, 13) Oluvannyuma Sennakeribu yasalawo okulumba Yerusaalemi. Kiki Kabaka Keezeekiya kye yakola? Yasaba Yakuwa amuyambe era n’agamba ne nnabbi Isaaya amuwe ku magezi. (2 Bassek. 19:5, 15-20) Era Keezeekiya yakiraga nti teyali mukakanyavu bwe yasasula omusolo Sennakeribu gwe yali amusabye. (2 Bassek. 18:14, 15) Ate era Keezeekiya yakola ebintu ebyandiyambye abantu mu kiseera Abaasuli kye bandimaze nga bazingizza Yerusaalemi. (2 Byom. 32:2-4) Naye yavvuunuka atya embeera eyo eyali enzibu ennyo? Yakuwa yatuma malayika we n’atta abasirikale ba Sennakeribu 185,000 mu kiro kimu. Ekyo ne Keezeekiya yali takisuubira!​—2 Bassek. 19:35.

Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Yusufu?​—Lub. 41:42 (Laba akatundu 13)

13. (a) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Yusufu? (b) Kiki ekyaliwo mu bulamu bwa Saala ekyali kitasuubirwa?

13 Kati ate lowooza ku Yusufu, mutabani wa Yakobo. Yusufu bwe yali mu kkomera, olowooza yakirowoozaako nti ekiseera kyandituuse n’aba nga yaddirira Falaawo mu buyinza era nti Yakuwa yandimukozesezza okuwonya ab’eŋŋanda ze enjala? (Lub. 40:15; 41:39-43; 50:20) Ekyo Yakuwa kye yakola, Yusufu yali takisuubira. Ate lowooza ne ku Saala, jjajja wa Yusufu. Olowooza Saala eyali akaddiye yakirowoozaako nti Yakuwa yandimusobozesezza okuzaala omwana owuwe ku bubwe, so si okufuna mwana eyali azaaliddwa omuzaana we? Saala okuzaala Isaaka yali takisuubira.​—Lub. 21:1-3, 6, 7.

14. Bwesige ki bwe tulina mu Yakuwa?

14 Kyo kituufu nti, nga tukyali mu nsi ya Sitaani eno, tetusuubira Yakuwa kuggyawo mu ngeri ey’ekyamagero ebizibu byonna bye twolekagana nabyo; era tetusaanidde kumusaba kutukolera byamagero mu kiseera kino. Naye tukimanyi nti Yakuwa Katonda gwe tusinza ye Katonda eyayamba abaweereza be mu biseera by’edda mu ngeri ey’ekyamagero. (Soma Isaaya 43:10-13.) Ekyo bwe tukimanya, kituyamba okumwesiga. Tuli bakakafu nti asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okukola by’ayagala. (2 Kol. 4:7-9) Biki bye tuyigira ku byokulabirako bye tulabye? Ng’ebyo ebyatuuka ku Keezeekiya, Yusufu, ne Saala bwe biraga, bwe tusigala nga tuli beesigwa, Yakuwa asobola okutuyamba okuvvuunuka ebizibu ebirabika ng’ebitasobola kuvaawo.

Yakuwa asobola okutuyamba okuvvuunuka ebizibu ebirabika ng’ebitasobola kuvaawo

15. Kiki ekinaatuyamba okuba ‘n’emirembe gya Katonda,’ era kiki ekitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda?

15 Tuyinza tutya okuba ‘n’emirembe gya Katonda’ nga twolekagana n’ebizibu? Tusobola okuba nagyo singa tubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda. Tusobola okuba n’enkolagana eyo “okuyitira mu Kristo Yesu,” eyawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka ku lwaffe. Ssaddaaka ya Yesu kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo Yakuwa kye yatuwa. Okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, Yakuwa asobola okutusonyiwa ebibi byaffe ekyo ne kitusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo n’okuba n’enkolagana ennungi naye.​—Yok. 14:6; Yak. 4:8; 1 Peet. 3:21.

GIJJA KUKUUMA EMITIMA GYAFFE N’EBIROWOOZO BYAFFE

16. Kiki ekibaawo bwe tufuna “emirembe gya Katonda”? Waayo ekyokulabirako.

16 Kiki ekibaawo bwe tufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna”? Bayibuli egamba nti emirembe gya Katonda ‘gikuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe okuyitira mu Kristo Yesu.’ (Baf. 4:7) Ekigambo ekyavvuunulwa “okukuuma” kyakozesebwanga bannamagye. Ekigambo ekyo kyakozesebwanga okutegeeza ekibinja ky’abasirikale ekyabanga kiweereddwa omulimu ogw’okukuuma ekibuga ekiriko bbugwe. Ekibuga kya Firipi nakyo kyaliko bbugwe. Abantu b’omu Firipi beebakanga bulungi ekiro nga tebalina kye beekengera kubanga waabangawo abasirikale abaakuumanga emiryango gy’ekibuga kyabwe. Mu ngeri y’emu, bwe tuba ‘n’emirembe gya Katonda,’ emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe biba biteefu. Tuba tukimanyi nti Yakuwa atufaako era atwagaliza birungi. (1 Peet. 5:10) Ekyo bwe tukimanya kituyamba obutaterebuka nga tufunye ebizibu oba nga twolekagana n’ebintu ebimalamu amaanyi.

17. Kiki ekinaatuyamba obutatya biseera bya mu maaso?

17 Mu kiseera ekitali kya wala wagenda kubaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawoko. (Mat. 24:21, 22) Wadde nga tetumanyidde ddala byonna binaatutuukako mu kiseera ekyo, tetusaanidde kutya. Wadde nga tetumanyi byonna Yakuwa by’anaakola mu kiseera ekyo, ye tumumanyi. Okusinziira ku ebyo by’azze akola, tukimanyi nti bulijjo Yakuwa atuukiriza ebigendererwa bye era oluusi abituukiriza mu ngeri eba tesuubirwa. Buli Yakuwa lw’atukolera ekintu mu ngeri gye tutasuubira tufuna ‘emirembe gye egisingira ewala okutegeera kwonna.’

^ lup. 1 Kirabika ne Siira yalina obutuuze bwa Rooma.​—Bik. 16:37.