Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwagala—Ngeri Nkulu Nnyo

Okwagala—Ngeri Nkulu Nnyo

NG’ALUŊŊAMIZIBWA Katonda, omutume Pawulo yamenya engeri mwenda omwoyo omutukuvu ze gusobozesa omuntu okwoleka. (Bag. 5:22, 23) Engeri ezo zonna awamu yaziyita ‘ekibala ky’omwoyo.’ * Omuntu bw’ayoleka ekibala ky’omwoyo kiba kiraga nti ayambadde “omuntu omuggya.” (Bak. 3:10) Ng’omuti ogulabirirwa obulungi bwe gubala ebibala, n’omuntu akulemberwa omwoyo omutukuvu ayoleka ekibala kyagwo mu bulamu bwe.​—Zab. 1:1-3.

Engeri eri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu Pawulo gye yasooka okwogerako kwe kwagala. Lwaki okwagala ngeri nkulu nnyo? Pawulo yagamba nti singa teyalina kwagala yandibadde ‘talina ky’agasa.’ (1 Kol. 13:2) Naye okwagala kye ki, era tuyinza tutya okukukulaakulanya n’okukwoleka?

ENGERI GYE TUYINZA OKWOLEKA OKWAGALA

Wadde nga tewali bigambo biyinza kukozesebwa kunnyonnyola mu bujjuvu makulu g’ekigambo “okwagala,” Bayibuli etubuulira engeri okwagala gye kwolekebwamu. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: ‘Okwagala kugumiikiriza, kusanyukira wamu n’amazima, kugumira ebintu byonna, kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna.’ Omuntu bw’aba n’okwagala, aba afaayo nnyo ku balala. Ate ku luuyi olulala, omuntu bw’aba ng’alina obuggya, ng’alina amalala, nga yeeyisa mu ngeri etasaana, nga yeefaako yekka, ng’asiba ekiruyi, era nga tasonyiwa, aba talina kwagala. Tetwandyagadde kwoleka ngeri ezo embi, wabula twandyagadde okwoleka okwagala kubanga “tekwenoonyeza byakwo.”​—1 Kol. 13:4-8.

YAKUWA NE YESU BOOLEKA OKWAGALA

Katonda ye nsibuko y’okwagala kubanga “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Emirimu gye gyonna n’ebintu byonna by’akola biraga nti alina okwagala. Ekintu Yakuwa kye yakola ekisingayo okwoleka okwagala, kwe kusindika Yesu okujja okutufiirira. Omutume Yokaana yagamba nti: “Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa gye tuli, Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye. Okwagala okwo kweyoleka bwe kuti: tekiri nti ffe twayagala Katonda, wabula Katonda ye yatwagala n’atuma Omwana we okuba ssaddaaka etangirira ebibi byaffe tusobole okutabagana ne Katonda.” (1 Yok. 4:9, 10) Olw’okuba Katonda yatulaga okwagala, tusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe era tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

Yesu yakyoleka nti ayagala nnyo abantu bwe yakkiriza okukola ebyo Yakuwa bye yali ayagala. Bayibuli egamba nti: “[Yesu] yagamba nti: ‘Laba! Nzize okukola by’oyagala.’ . . . Olw’ebyo Katonda ‘by’ayagala,’ tutukuziddwa okuyitira mu kuweebwayo kw’omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.” (Beb. 10:9, 10) Yesu yagamba nti: “Tewali alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.” (Yok. 15:13) Ffe abantu abatatuukiridde tusobola okukoppa Yakuwa ne Yesu mu kwoleka okwagala? Yee! Ka tulabe engeri gye tuyinza okubakoppa.

“MUTAMBULIRENGA MU KWAGALA”

Pawulo yawandiika nti: “Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa, era mutambulirenga mu kwagala nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe.” (Bef. 5:1, 2) Bwe twoleka okwagala mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe, tuba ‘tutambulira mu kwagala.’ Okwagala okwo tetukwoleka mu bigambo byokka wabula ne mu bikolwa. Yokaana yagamba nti: “Abaana abato, tulemenga okwagala mu bigambo oba mu lulimi, wabula mu bikolwa ne mu mazima.” (1 Yok. 3:18) Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga twagala Katonda ne baliraanwa baffe, tujja kufuba okubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka.’ (Mat. 24:14; Luk. 10:27) Ate era tulaga nti tulina okwagala bwe tuba abagumiikiriza, ab’ekisa era abasonyiwa abalala. Bayibuli egamba nti: “Nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”​—Bak. 3:13.

Naye okwagala kwe tulina okwoleka kulina okuba okwa nnamaddala. Ng’ekyokulabirako, abazadde abamu balowooza nti buli abaana lwe bakaaba ne babawa buli kimu kye baba baagala, baba babalaga okwagala. Naye omuzadde alaga omwana we okwagala okwa nnamaddala anywerera ku kituufu lwe kyetaagisa. Mu ngeri y’emu, olw’okuba Katonda okwagala, ‘akangavvula abo b’ayagala.’ (Beb. 12:6) Bwe tuba nga tutambulira mu kwagala, tetujja kulema kukangavvula balala bwe kiba kyetaagisa. (Nge. 3:11, 12) Kya lwatu nti bwe tuba tukangavvula abalala tusaanidde okukijjukira nti naffe tuli boonoonyi era nti oluusi tukola ebintu ebitooleka kwagala. N’olwekyo, ffenna tulina we twetaaga okulongoosaamu mu ngeri gye twolekamu okwagala. Kino tuyinza kukikola tutya? Ka tulabe ebintu bisatu bye tuyinza okukola.

OYINZA OTYA OKUKULAAKULANYA OKWAGALA?

Ekisooka, saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukusobozese okwoleka okwagala. Yesu yagamba nti Yakuwa awa “omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Luk. 11:13) Bwe tusaba Yakuwa omwoyo gwe omutukuvu era ne tufuba ‘okutambulira mu mwoyo,’ kijja kutusobozesa okwoleka okwagala mu byonna bye tukola. (Bag. 5:16) Ng’ekyokulabirako, bw’oba oli mukadde mu kibiina, oyinza okusaba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okubuulirira abalala mu ngeri ey’okwagala. Oba bw’oba oli muzadde, oyinza okusaba Yakuwa akuwe omwoyo omutukuvu gukuyambe okukangavvula abaana bo mu ngeri ey’okwagala so si mu busungu.

Eky’okubiri, lowooza ku ngeri Yesu gye yayolekamu okwagala ne bwe yabanga tayisiddwa bulungi. (1 Peet. 2:21, 23) Kikulu nnyo okufumiitiriza ku ky’okulabirako kya Yesu nnaddala bwe waba nga waliwo atunyiizizza oba atuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya. Bwe tuba mu mbeera eyo tusaanidde okwebuuza nti, ‘Kiki Yesu kye yandikoze?’ Okufumiitiriza ku kibuuzo ekyo kyayamba mwannyinaffe ayitibwa Leigh okusalawo obulungi. Agamba nti: “Lumu mukozi munnange omu yaweereza bakozi bannange abalala obubaka n’anjogerako bubi era n’ayogera bubi ne ku ngeri gye nnali nkolamu emirimu gyange. Ekyo kyannuma nnyo. Naye nneebuuza nti, ‘Nnyinza ntya okukoppa Yesu mu ngeri gye nnaakwatamu embeera eno?’ Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ekyo Yesu kye yandikoze, ensonga nnasalawo okugibuusa amaaso. Oluvannyuma nnakitegeera nti mukozi munnange oyo yalina obulwadde obw’amaanyi era yali mweraliikirivu. Nnakiraba nti oboolyawo embeera eyo ye yali emuviiriddeko okunjogerako obubi. Okufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yalagamu okwagala ne bwe yabanga ayisiddwa bubi kyannyamba okulaga mukozi munnange okwagala.” Bwe tukoppa Yesu kituyamba okweyisa mu ngeri eyoleka okwagala.

Eky’okusatu, kulaakulanya okwagala okuzingiramu okwefiiriza, era nga kuno kwe kwagala okwawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:34, 35) Ebyawandiikibwa bitukubiriza okubeera “n’endowooza” nga Yesu gye yalina. Yesu bwe yava mu ggulu, “yeggyako buli kye yalina” era ‘yatuuka n’okufa’ ku lwaffe. (Baf. 2:5-8) Bwe tukoppa engeri Yesu gye yayolekamu okwagala ng’okwo, tujja kuba n’endowooza ng’eyiye, era ekyo kijja kutuviirako okukulembeza eby’abalala so si ebyaffe. Miganyulo ki emirala egiva mu kukulaakulanya okwagala?

EMIGANYULO EGIVA MU KULAGA OKWAGALA

Waliwo emiganyulo mingi egiva mu kulaga abalala okwagala. Ka tulabeyo ebiri:

Tuganyulwa tutya bwe twoleka okwagala?

  • OLUGANDA OLW’ENSI YONNA: Olw’okuba twagalana, tukimanyi nti ka kibe kibiina ki oba nsi ki gye tuba tugenzeemu, baganda baffe bajja kutwaniriza n’essanyu. Nga nkizo ya maanyi okubeera ‘ne baganda baffe mu nsi yonna’ abatwagala! (1 Peet. 5:9) Tewali walala we tuyinza kusanga kwagala ng’okwo, okuggyako mu bantu ba Yakuwa.

  • EMIREMBE: ‘Okuzibiikiriza’ bannaffe kitusobozesa okubeera obumu ‘mu mirembe egitugatta.’ (Bef. 4:2, 3) Bwe tuba mu nkuŋŋaana ennene n’entono tuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe. Kyewunyisa nnyo okuba nti tuli mu mirembe mu nsi eno eyeeyawuddeyawudde. (Zab. 119:165; Is. 54:13) Bwe tufuba okubeera mu mirembe n’abalala tuba tukiraga nti tubaagala, era kisanyusa Yakuwa.​—Zab. 133:1-3; Mat. 5:9.

“OKWAGALA KUZIMBA”

Pawulo yagamba nti: “Okwagala kuzimba.” (1 Kol. 8:1) Okwagala kuzimba kutya? Mu Abakkolinso Ekisooka essuula 13, Pawulo yannyonnyola engeri okwagala gye kuzimbamu. Yakiraga nti okwagala kunoonya ebigasa abalala. (1 Kol. 10:24; 13:5) Ate era olw’okuba okwagala kufaayo ku balala, kugumiikiriza, era kwa kisa, kuviirako ab’omu maka okubeera ab’omukwano n’ekibiina okuba obumu.​—Bak. 3:14.

Okwagala kwe tulina eri Katonda kwe kusingayo okuba okw’omuwendo era kwe kusingayo okuzimba. Okwagala okwo kusobozesa abantu abaakulira mu mbeera ez’enjawulo, aba langi ez’enjawulo, era aboogera ennimi ez’enjawulo, okuweereza Yakuwa nga bali bumu era nga basanyufu. (Zef. 3:9) Ka tubeere bamalirivu okwoleka bulijjo okwagala mu bulamu bwaffe.

^ lup. 2 Kino kye kitundu ekisooka ku bitundu omwenda ebigenda okwogera ku ngeri zonna eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu.