Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amazima Tegaleeta ‘Mirembe Wabula Kitala’

Amazima Tegaleeta ‘Mirembe Wabula Kitala’

“Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe wabula ekitala.”—MAT. 10:34.

ENNYIMBA: 123, 128

1, 2. (a) Mirembe ki gye tulina leero? (b) Lwaki tetusobola kuba mu mirembe mu bujjuvu leero? (Laba ekifaananyi waggulu.)

FFENNA twagala okubeera mu mirembe nga tetulina bitweraliikiriza. Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa Katonda atuwa “emirembe” egituyamba obuteeraliikirira! (Baf. 4:6, 7) Ate era olw’okuba twewaayo eri Yakuwa, tuli mu “mirembe ne Katonda,” kwe kugamba, tulina enkolagana ennungi naye.—Bar. 5:1.

2 Kyokka ekiseera kya Katonda okutuwa emirembe mu bujjuvu tekinnatuuka. Olw’okuba tuli mu nnaku ez’enkomerero, waliwo ebizibu bingi ebisobola okutuleetera okweraliikirira era twetooloddwa abantu abakambwe. (2 Tim. 3:1-4) Ate era tulina okulwanyisa Sitaani n’enjigiriza ze ez’obulimba. (2 Kol. 10:4, 5) Kyokka okusingira ddala ekintu ekiyinza okutumalako emirembe be b’eŋŋanda zaffe abatali baweereza ba Yakuwa. Abamu ku bo bayinza okuvumirira enzikiriza yaffe, okugamba nti tuleetawo enjawukana mu maka, oba okututiisatiisa nti bajja kutwabulira singa tetulekera awo kusinza Yakuwa. Twanditutte tutya okuyigganyizibwa okuva mu b’eŋŋanda zaffe? Tuyinza tutya okukwaŋŋanga?

TWANDITUTTE TUTYA OKUYIGGANYIZIBWA OKUVA MU B’EŊŊANDA ZAFFE?

3, 4. (a) Enjigiriza za Yesu zandireseewo mbeera ki mu bantu? (b) Okusingira ddala ddi lwe kyandibadde ekizibu okugoberera Yesu?

3 Yesu yali akimanyi nti enjigiriza ze zandireeseewo enjawukana mu bantu era nti abagoberezi be kyandibadde kibeetaagisa okuba abavumu okusobola okusigala nga bamugoberera nga bayigganyizibwa. Okuyigganyizibwa okwo kwandikutte ku nkolagana eriwo wakati w’ab’eŋŋanda. Yesu yagamba nti: “Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. Nnajja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we. Mu butuufu, abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.”—Mat. 10:34-36.

4 Yesu bwe yagamba nti “Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe,” yali ayagala abamu ku baali bamuwuliriza balowooze ku kusoomooza kwe bandifunye nga bafuuse abagoberezi be. Obubaka bwe bwandireeseewo enjawukana mu bantu. Kyo kituufu nti ekigendererwa kya Yesu kyali kya kuyigiriza bantu amazima agava eri Katonda, so si kuleetawo njawukana mu bantu. (Yok. 18:37) Wadde kiri kityo, wandibaddewo okusoomooza okw’amaanyi ng’abantu abamu bakkiriza amazima kyokka nga mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe bagaanye okugakkiriza.

5. Kizibu ki abagoberezi ba Yesu kye bafunye, naye baganyuddwa batya?

5 Yesu yakiraga nti ekimu ku bizibu abagoberezi be kye bandifunye kwe kuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe. (Mat. 10:38) Bangi ku bayigirizwa ba Yesu bajeregebwa era baboolebwa ab’eŋnanda zaabwe. Wadde kiri kityo, bafunye emikisa mingi nnyo.—Soma Makko 10:29, 30.

6. Kiki kye tusaanidde okujjukira singa ab’eŋŋanda zaffe bagezaako okutulemesa okusinza Yakuwa?

6 Ab’eŋŋanda zaffe ne bwe baba bagezaako okutulemesa okuweereza Yakuwa, tusaanidde okweyongera okubaagala. Kyokka Katonda ne Yesu be tulina okusinga okwagala. (Mat. 10:37) Tusaanidde okukijjukira nti Sitaani ayagala okukozesa okwagala kwe tulina eri ab’eŋŋanda zaffe okutuleetera okuva ku Yakuwa. Kati ka tulabeyo embeera ezisobola okuleetawo okusoomooza wakati waffe n’ab’eŋŋanda zaffe, n’engeri gye tuyinza okuzaŋŋanga.

NGA MUNNO MU BUFUMBOTASINZA YAKUWA

7. Abo abalina bannaabwe mu bufumbo abatali bakkiriza basaanidde kutunuulira batya embeera gye balimu?

7 Bayibuli egamba nti abo abayingira obufumbo “bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe.” (1 Kol. 7:28) Munno mu bufumbo bw’aba nga tasinza Yakuwa, okubonaabona okwo kuyinza okuba okungi n’okusingawo. Wadde kiri kityo, embeera gy’olimu osaanidde okugitunuulira nga Yakuwa bw’agitunuulira. Okuba nti munno tasinza Yakuwa, tekyandikuleetedde kwawukana oba okugattululwa naye. (1 Kol. 7:12-16) Wadde ng’omwami atali mukkiriza tatwala bukulembeze mu by’omwoyo, alina okussibwamu ekitiibwa kubanga gwe mutwe gw’amaka. Mu ngeri y’emu, omukazi atali mukkiriza, omwami we omukkiriza asaanidde okumulaga okwagala n’okumufaako.—Bef. 5:22, 23, 28, 29.

8. Bibuuzo ki by’oyinza okwebuuza singa munno mu bufumbo akuteerawo amateeka ku ngeri gy’oweerezaamu Yakuwa?

8 Watya singa munno mu bufumbo akussaako amateeka ku ngeri gy’oweerezaamu Yakuwa? Ng’ekyokulabirako, omwami wa mwannyinaffe omu yamuwa ennaku mu wiiki z’alina okugenda okubuulira. Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, weebuuze: ‘Ddala munnange aŋŋamba kulekera awo kusinza Yakuwa? Bwe kiba nti si bwe kiri, nsobola okukola nga bw’aŋŋambye?’ Obutaba mukakanyavu kisobola okukuyamba okwewala okuleetawo obukuubagano mu maka go.—Baf. 4:5.

9. Abakristaayo bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe okussa ekitiibwa mu muzadde waabwe atali mukkiriza?

9 Si kyangu kutendeka baana, nnaddala nga munno mu bufumbo si mukkiriza. Ng’ekyokulabirako, osaanidde okuyigiriza abaana bo okugondera ekiragiro kya Katonda kino: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Bef. 6:1-3) Naye watya singa munno mu bufumbo takolera ku mitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa? Gwe ssaawo ekyokulabirako ekirungi ng’omussaamu ekitiibwa. Essira lisse ku ngeri ze ennungi era musiime. Weewale okwogera obubi ku munno mu maaso g’abaana bammwe. Mu kifo ky’ekyo, yamba abaana bo okukiraba nti buli muntu yeesalirawo okusinza Yakuwa oba obutamusinza. Empisa z’abaana bo ennungi zisobola okuleetera munno mu bufumbo okwagala okusinza Yakuwa.

Kozesa buli kakisa k’ofuna okuyigiriza abaana bo amazima agali mu Bayibuli (Laba akatundu 10)

10. Abazadde Abakristaayo bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe amazima nga munnaabwe mu bufumbo si mukkiriza?

10 Ebiseera ebimu munno atali mukkiriza ayinza okwagala abaana bammwe beenyigire mu mikolo egy’ekikaafiiri oba bayigirizibwe enjigiriza z’amadiini ag’obulimba. Abaami abamu bayinza okugaana bakyala baabwe Abakristaayo okuyigiriza abaana baabwe Bayibuli. Mu mbeera ng’eyo, omukyala Omukristaayo akola kyonna ekisoboka okuyigiriza abaana be amazima agali mu Bayibuli. (Bik. 16:1; 2 Tim. 3:14, 15) Ng’ekyokulabirako, omwami w’omukyala Omujulirwa wa Yakuwa ayinza okumugaana okuyigiriza abaana baabwe abato Bayibuli oba okubatwala mu nkuŋŋaana. Wadde nga tajeemera kiragiro kya mwami we ekyo, asobola okweyongera okukozesa akakisa konna k’afuna okuyamba abaana be okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okubayamba okuba n’empisa ennungi. (Bik. 4:19, 20) Kya lwatu nti ku nkomerero ya byonna, abaana be balina okwesalirawo obanga banaasinza Yakuwa oba nedda.—Ma. 30:19, 20. *

AB’EŊŊANDA ABATAAGALAOWEEREZE YAKUWA

11. Kiki ekiyinza okuleetawo obuzibu wakati wo n’ab’eŋŋanda zo abatali Bajulirwa ba Yakuwa?

11 Kiyinzika okuba nti waayita ekiseera nga tonnategeeza ba ŋŋanda zo nti okuŋŋaana wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye okukkiriza kwo bwe kweyongera okunywera, wakiraba nti walina okubategeeza ku nzikiriza yo. (Mak. 8:38) Bwe kiba nti ekyo kyaleetera ab’eŋŋanda zo abatali Bajulirwa ba Yakuwa okutandika okukuyigganya, laba by’oyinza okukola okukendeeza ku kuyigganyizibwa okwo era n’osigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa.

12. Kiki ekiyinza okuleetera ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza okutuziyiza, era kiki ekisobola okutuyamba obutabanyiigira?

12 Weeteeke mu bigere by’ab’eŋŋanda zo. Wadde ng’okuyiga amazima agali mu Bayibuli kyakuleetera essanyu lingi, ab’eŋŋanda zo bayinza okuba nga balowooza nti wabuzaabuzibwa oba nti wayingira akadiinidiini. Olw’okuba tuba tetukyakuliza wamu nabo ennaku ze batwala ng’enkulu, bayinza okukitwala nti tetukyabaagala. Bayinza n’okulowooza nti obulamu bwaffe buli mu kabi. Tusaanidde okweteeka mu bigere byabwe era ne tufuba okubawuliriza obulungi tumanye ebibeeraliikiriza. (Nge. 20:5) Omutume Pawulo yafuba okutegeera “abantu aba buli ngeri” asobole okubabuulira amawulire amalungi, era naffe ekyo kisobola okutuyamba.—1 Kol. 9:19-23.

13. Tusaanidde kwogera tutya n’ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza?

13 Yogera nabo mu ngeri ey’obukkakkamu. Bayibuli egamba nti: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa.” (Bak. 4:6) Tusaanidde okusaba Yakuwa okutuwa omwoyo gwe omutukuvu tusobole okwoleka ekibala kyagwo nga twogera n’ab’eŋŋanda zaffe. Tetusaanidde kudda awo kuwakanya buli njigiriza yaabwe enkyamu. Bwe boogera oba bwe bakola ebintu ebitulumya, tusaanidde okukoppa abatume. Pawulo yawandiika nti: “Bwe batuvuma, ffe tubaagaliza mikisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza; bwe twogerwako obubi, ffe twogera na kisa.”—1 Kol. 4:12, 13.

14. Birungi ki ebivaamu singa tweyongera okweyisa obulungi?

14 Weeyongere okweyisa obulungi. Wadde ng’okwogera obulungi n’ab’eŋŋanda zaffe kirungi, empisa zaffe ennungi zisobola okubakwatako ennyo n’okusingawo. (Soma 1 Peetero 3:1, 2, 16.) Engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe esaanidde okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa baba n’amaka agalimu essanyu, balabirira bulungi abaana baabwe, balina empisa ennungi, era nti obulamu bwabwe bulina ekigendererwa. Ne bwe kiba nti ab’eŋŋanda zaffe tebakkirizza mazima, kituleetera essanyu okukimanya nti bwe tusigala nga tuli beesigwa, tusanyusa Yakuwa.

15. Tuyinza tutya okwetegekera embeera eziyinza okuleetawo obukuubagano?

15 Lowooza ku ebyo ebiyinza okubaawo. Lowooza ku mbeera eziyinza okuvaako obuzibu n’engeri gy’oneeyisaamu. (Nge. 12:16, 23) Mwannyinaffe ow’omu Australia yagamba nti: “Ssezaala wange yali tayagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa. Bwe twabanga tugenda okumukyalira, nze n’omwami wange twasookanga ne tusaba Yakuwa atuyambe obutamuddamu bubi ng’ayogedde naffe bubi. Twalowoozanga ne ku bye tunaanyumya naye okukakasa nti tebyandireeseewo bukuubagano. Okuva bwe kiri nti buli lwe twamalanga ekiseera ekiwanvu naye yatandikanga okukaayana ku by’eddiini, twakendeeza ku budde bwe twamalanga nga tumukyalidde.”

16. Kiki ekiyinza okukuyamba ng’owulira bubi olw’ab’eŋŋanda zo obutaba basanyufu olw’okuba oweereze Yakuwa?

16 Kyo kituufu nti tosobola kwewalira ddala kufuna butakkaanya na ba ŋŋanda zo abatali bakkiriza. Oluusi ekyo kiyinza n’okukuleetera okuwulira obubi kubanga oba oyagala nnyo ab’eŋŋanda zo era nga bulijjo obadde ofuba okukola ebibasanyusa. Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, kakasa nti weeyongera okwagala Yakuwa okusinga ab’eŋŋanda zo. Bw’okola bw’otyo, kisobola okuyamba ab’eŋŋanda zo okukiraba nti okukolera ku misingi gya Bayibuli nsonga ya bulamu na kufa. Osaanidde okukijjukira nti tosobola kukaka balala kukkiriza mazima. Mu kifo ky’ekyo, baleke bakirabe nti okuweereza Yakuwa kirimu emiganyulo mingi. Olw’okuba Katonda waffe alina okwagala kungi, abawa eddembe nga naffe lye yatuwa okwesalirawo engeri gye baagala okutambuzaamu obulamu bwabwe.—Is. 48:17, 18.

OMU KU B’EŊŊANDA ZAFFEBW’ALEKA YAKUWA

17, 18. Kiki ekisobola okukuyamba ng’omu ku b’eŋŋanda zo avudde ku Yakuwa?

17 Kituluma nnyo okulaba ng’omu ku b’eŋŋanda zaffe agobeddwa mu kibiina kya Yakuwa oba ng’asazeewo okukivaamu. Kiki ekiyinza okukuyamba okwaŋŋanga embeera eyo?

18 Weeyongere okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. Weeyongere okunyweza okukkiriza kwo ng’osoma Bayibuli obutayosa, nga weeteekerateekera enkuŋŋaana era n’ozeenyigiramu, nga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira, era ng’osaba Yakuwa akuwe amaanyi osobole okugumiikiriza. (Yud. 20, 21) Naye watya singa owulira nti ebintu ebyo obikola kutuusa butuusa luwalo? Toggwaamu maanyi! Bwe weeyongera okukola ebintu ebyo kisobola okukuyamba okutereera. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku muwandiisi wa Zabbuli 73. Yali afunye endowooza embi era ng’asobeddwa nnyo. Naye yasobola okutereeza endowooza ye bwe yagenda mu kifo we baasinzizanga Yakuwa. (Zab. 73:16, 17) Bwe weeyongera okusinza Yakuwa, naawe kisobola okukuyamba.

19. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima okukangavvula okuva eri Yakuwa?

19 Kkiriza okukangavvula okuva eri Yakuwa. Wadde nga mu kusooka okukangavvula okuva eri Yakuwa kuyinza okuleeta ennaku, ebivaamu bisobola okuganyula bonna nga mwe muli n’omwonoonyi. (Soma Abebbulaniya 12:11.) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atulagira “obutakolagananga” na boonoonyi abateenenya. (1 Kol. 5:11-13) Wadde kiyinza okutuluma, tusaanidde okwewala okukolagana ekiteetaagisa n’ow’eŋŋanda zaffe eyagobebwa mu kibiina. Tusaanidde okwewala okumukubira essimu, okumuweereza mmesegi, oba okuwuliziganya naye nga tukozesa Intaneeti.

20. Tusaanidde kuba na ssuubi ki?

20 Sigala ng’olina essuubi. Okwagala “kusuubira ebintu byonna,” nga muno mwe muli n’okusuubira nti oboolyawo lumu omwonoonyi ajja kukomawo eri Yakuwa. (1 Kol. 13:7) Bw’okiraba nti waliwo ekiraga nti ow’eŋŋanda zo eyagobebwa mu kibiina ayagala okudda eri Yakuwa, oyinza okusaba Yakuwa amuyambe okufuna amaanyi ge yeetaaga okuva mu Byawandiikibwa asobole okudda eri Yakuwa.—Is. 44:22.

21. Kiki ky’osaanidde okukola ng’olina obutakkaanya n’ab’eŋŋanda zo olw’okuba oli mugoberezi wa Yesu?

21 Yesu yagamba nti singa twagala omuntu yenna okusinga ye, twandibadde tetumusaanira. Kyokka Yesu yali mukakafu nti abagoberezi be bandisobodde okumunywererako wadde nga bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe. Bwe kiba nti okugoberera Yesu kireeseewo “ekitala” wakati wo n’ab’eŋŋanda zo, weeyongere okusaba Yakuwa akuyambe okwaŋŋanga embeera eyo. (Is. 41:10, 13) Ba mukakafu nti Yakuwa ne Yesu basanyufu olw’okuba oli mwesigwa era nti bajja kukuwa empeera.

^ lup. 10 Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okutendekamu abaana mu maka ng’omu ku bafumbo si mukkiriza laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Agusito 15, 2002.