Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwolesebwa Zekkaliya Kwe Yafuna Kukukwatako Kutya?

Okwolesebwa Zekkaliya Kwe Yafuna Kukukwatako Kutya?

“Mudde gye ndi, . . . nange nja kudda gye muli.”—ZEK. 1:3.

ENNYIMBA: 89, 86

1-3. (a) Abantu ba Yakuwa baali mu mbeera ki Zekkaliya we yatandikira okuweereza nga nnabbi? (b) Lwaki Yakuwa yagamba abantu be okudda gy’ali?

OMUZINGO ogubuuka, omukazi atudde mu ddebe, n’abakazi babiri ababuuka mu bbanga nga balina ebiwaawaatiro ebiringa ebya kalooli. Ebyo bye bimu ku biri mu kwolesebwa okusangibwa mu kitabo kya Zekkaliya. (Zek. 5:1, 7-9) Lwaki Yakuwa yawa nnabbi Zekkaliya okwolesebwa okwo? Abayisirayiri baali mu mbeera ki mu kiseera ekyo? Okwolesebwa okwo kutukwatako kutya leero?

2 Omwaka gwa 537 E.E.T. gwali gwa ssanyu nnyo eri abantu ba Yakuwa. Mu mwaka ogwo baateebwa okuva mu buwambe e Babulooni gye baali bamaze emyaka 70. Olw’essanyu lye baalina, baatandikirawo okukola omulimu ogw’okuzzaawo okusinza okw’amazima mu Yerusaalemi. Mu mwaka gwa 536 E.E.T., omusingi gwa yeekaalu gwazimbibwa. Mu kiseera ekyo abantu ‘baaleekaana nnyo era amaloboozi gaabwe gaawulirwa wala nnyo.’ (Ezer. 3:10-13) Kyokka waayita akaseera katono omulimu gwabwe ogw’okuzimba ne gutandika okuziyizibwa. Okuyigganyizibwa kwe baafuna kwabamalamu amaanyi ne balekera awo okuzimba yeekaalu ne badda mu kuyooyoota amayumba gaabwe n’okulima ennimiro zaabwe. Waayita emyaka kkumi na mukaaga ng’omulimu gw’okuzimba yeekaalu ya Yakuwa gukyayimiridde. Abantu ba Yakuwa baali beetaaga okujjukizibwa nti baalina okudda eri Yakuwa era balekere awo okukulembeza ebyabwe. Yakuwa yali ayagala badde gy’ali baddemu okumuweereza n’omutima gwabwe gwonna.

3 Okusobola okuyamba abantu be okujjukira ensonga lwaki yali abanunudde mu Babulooni, Yakuwa yabatumira nnabbi Zekkaliya mu mwaka gwa 520 E.E.T. Erinnya Zekkaliya eritegeeza nti “Yakuwa Ajjukidde,” lisobola okuba nga lyabaleetera okujjukira ekintu ekikulu ennyo. Wadde nga baali beerabidde engeri Yakuwa gye yali abanunuddemu, ye Yakuwa yali akyabajjukira. (Soma Zekkaliya 1:3, 4.) Yakuwa yabakakasa nti yandibayambye okuzzaawo okusinza okw’amazima, naye era n’akiraga nti baalina okumuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Kati ka tulabe engeri okwolesebwa okw’omukaaga n’okw’omusanvu Zekkaliya kwe yafuna gye kwakwata ku Bayisirayiri n’ebyo bye tuyigira ku kwolesebwa okwo.

KATONDA ABONEREZA ABABBI

4. Kiki Zekkaliya kye yalaba mu kwolesebwa okw’omukaaga, era okuba nti omuzingo gwali guwandiikiddwako ku njuyi zombi kiraga ki? (Laba ekifaananyi 1 ku lupapula 21.)

4 Essuula ey’okutaano ey’ekitabo kya Zekkaliya etandika n’okwolesebwa okwewuunyisa. (Soma Zekkaliya 5:1, 2.) Zekkaliya alaba omuzingo ogwa mita nga mwenda obuwanvu ne mita nga nnya n’ekitundu obugazi nga gubuuka mu bbanga! Omuzingo ogwo gwanjuluziddwa gusobole okusomebwa era ku njuyi zaagwo zombi kuliko obubaka obw’omusango. (Zek. 5:3) Emizingo gyawandiikibwangako ludda lumu, naye okuba nti omuzingo ogwo gwali guwandiikiddwako ku njuyi zaagwo zombi kiraga nti obubaka obwaliko bwali bukulu nnyo.

Abakristaayo basaanidde okwewala okubba okw’engeri yonna (Laba akatundu 5-7)

5, 6. Yakuwa atwala atya obubbi obw’engeri yonna?

5 Soma Zekkaliya 5:3, 4Wadde ng’abantu bonna bavunaanyizibwa mu maaso ga Katonda olw’enneeyisa yaabwe, abo abayitibwa erinnya lye bavunaanyizibwa n’okusingawo. Abo abaagala Katonda bakimanyi nti okubba okw’engeri yonna ‘kuvumaganya erinnya lya Katonda waabwe.’ (Nge. 30:8, 9) K’ebe nsonga ki eba ereetedde omuntu okubba oba k’abe ng’ali mu mbeera ki, omuntu abba, akulembeza bintu okusinga Katonda. Era erinnya lya Katonda n’amateeka ge aba tabitwala nga kikulu.

6 Weetegereze nti Zekkaliya 5:3, 4 walaga nti ‘ekikolimo kyandiyingidde mu nnyumba y’omubbi ne kibeera omwo era ne kigisaanyaawo.’ Ekyo kiraga nti omusango Yakuwa gw’aba asaze tewali kiyinza kuguziyiza. Omubbi ne bw’akweka ab’obuyinza, bakama be ku mulimu, abakadde, oba bazadde be ekyo ky’aba akoze, tasobola kukikweka Katonda. Katonda ajja kukakasa nti obubbi obw’engeri yonna bwanikibwa. (Beb. 4:13) Mu butuufu kitusanyusa nnyo okubeera awamu n’abantu abafuba okuba abeesigwa “mu bintu byonna”!—Beb. 13:18.

7. Tuyinza tutya okwewala okutuukibwako ekikolimo ekiri ku muzingo ogubuuka mu bbanga?

7 Okubba okwa buli ngeri kunyiiza Yakuwa. Tugitwala nga nkizo ya maanyi okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa, era tufuba okweyisa mu ngeri ataleeta kivume ku linnya lye. Ekyo kijja kutuyamba obutabonerezebwa wamu n’abo abamenya amateeka ga Katonda mu bugenderevu.

OKUTUUKIRIZA OBWEYAMO BWAFFE“BULI LUNAKU”

8-10. (a) Ekirayiro kye ki? (b) Kirayiro ki Kabaka Zeddeekiya kye yalemererwa okutuukiriza?

8 Obubaka obuli ku muzingo ogubuuka mu bbanga era bukwata ne ku abo ‘abalayira eby’obulimba mu linnya lya Katonda.’ (Zek. 5:4) Ekirayiro kye ki? Bye bigambo by’oyogera okukakasa nti by’oyogedde bya mazima oba bye bigambo by’oyogera ng’osuubiza nti ojja kukola ekintu oba nti tojja kukikola.

9 Okulayira mu linnya lya Yakuwa tekisaanidde kutwalibwa ng’ekintu eky’olusaago. Lowooza ku ekyo Zeddeekiya, kabaka eyasembayo okufugira mu Yerusaalemi kye yakola. Zeddeekiya yalayira mu linnya lya Yakuwa nti yandigondedde kabaka w’e Babulooni, naye teyakolera ku ekyo kye yalayira. N’ekyavaamu, Yakuwa yamusalira omusango n’agamba nti: “Nga bwe ndi omulamu, . . . [Zeddeekiya] ajja kufiira e Babulooni mu nsi kabaka eyamussa ku ntebe y’obwakabaka gy’abeera, nnannyini kirayiro ky’anyoomye, era nnannyini ndagaano gy’amenye.”—Ezk. 17:16.

10 Kabaka Zeddeekiya yali avunaanyizibwa mu maaso ga Katonda okutuukiriza ekyo kye yali yeeyamye mu linnya lya Katonda. (2 Byom. 36:13) Kyokka teyatuukiriza kye yasuubiza, wabula yasaba Misiri emuyambe okwekutula ku Babulooni naye ekyo tekyamuyamba.—Ezk. 17:11-15, 17, 18.

11, 12. (a) Bweyamo ki obusingayo obukulu? (b) Obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa bukwata butya ku bintu bye tukola buli lunaku?

11 Yakuwa era assaayo omwoyo ku bintu bye tusuubiza okukola era abitwala nga bikulu. Bwe tuba ab’okusiimibwa mu maaso ge, tulina okutuukiriza ebyo bye tusuubiza. (Zab. 76:11) Mu bintu byonna bye tweyama, obweyamo bwe tukola nga twewaayo eri Yakuwa bwe busingayo obukulu. Omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa, aba amusuubizza okumuweereza mu mbeera yonna.

12 Tuyinza tutya okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa? Engeri gye tweyisaamu nga tufunye ebigezo eby’amaanyi n’ebitali bya maanyi esaanidde okulaga nti tuli bamalirivu okutendereza Yakuwa “buli lunaku.” (Zab. 61:8) Ng’ekyokulabirako, singa mukozi munnaffe oba muyizi munnaffe gwe tutafaanaganya naye kikula atandika okuteekawo enkolagana etesaana wakati waffe naye, tunaakozesa akakisa ako okukiraga nti ‘tusanyukira amakubo ga Yakuwa’ ne twesamba omuntu oyo? (Nge. 23:26) Bwe kiba nti abantu be tubeera nabo awaka tebasinza Yakuwa, tunaasaba Yakuwa atuyambe okweyongera okwoleka engeri ez’Ekikristaayo wadde nga bo tebazooleka? Buli lunaku tusaba Yakuwa ne tumwebaza olw’okutwagala n’olw’okutuwa obulagirizi? Tufuba okusoma Bayibuli buli lunaku? Tusaanidde okukola ebintu ebyo kubanga bwe twali twewaayo eri Yakuwa twasuubiza okubikola. Bwe tubikola kiba kiraga nti tuli bawulize. Bwe tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kiba kiraga nti tumwagala era nti ddala twewaayo gy’ali. Okuweereza Yakuwa kisaanidde okuba ekitundu ky’obulamu bwaffe. Bwe tutuukiriza ebyo bye tweyama eri Yakuwa, kijja kutuviiramu emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso.—Ma. 10:12, 13.

13. Kiki kye tuyigira ku kwolesebwa okw’omukaaga Zekkaliya kwe yafuna?

13 Okwolesebwa okw’omukaaga Zekkaliya kwe yafuna kutuyambye okukiraba nti abo abaagala Yakuwa tebasaanidde kwenyigira mu bubbi obw’engeri yonna oba okulayira ne batatuukiriza. Era kutulaze nti wadde ng’Abayisirayiri baakola ensobi nnyingi, Yakuwa teyabaabulira. Yali ategeera embeera enzibu gye baalimu olw’okuba baali beetooloddwa abalabe bangi. Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye era naffe tusaanidde okutuukiriza ebyo bye tusuubiza. Yakuwa atuyamba okutuukiriza bye tusuubiza. Engeri emu gy’akikolamu kwe kutusuubiza nti mu kiseera ekitali kya wala agenda kuggyawo ebintu byonna ebibi ku nsi. Okwolesebwa okw’omusanvu Zekkaliya kwe yafuna kukakasa ekyo.

YAKUWA AGGYAWO ABABI

14, 15. (a) Kiki Zekkaliya ky’alaba mu kwolesebwa okw’omusanvu? (Laba ekifaananyi 2 ku lupapula 21.) (b) Omukazi ali munda mu ddebe ekiikirira ki, era lwaki asaanikiddwa mu ddebe?

14 Oluvannyuma lw’okulaba omuzingo ogubuuka, malayika agamba Zekkaliya atunule waggulu. Kiki ekiri mu kwolesebwa okw’omusanvu? Zekkaliya alaba ‘eddebe lya efa’ nga lifuluma. (Soma Zekkaliya 5:5-8.) Eddebe eryo liriko “ekisaanikira ekyetooloovu.” Bwe liggibwako ekisaanikira, Zekkaliya alaba omukazi alituddemu. Malayika agamba Zekkaliya nti omukazi atudde mu ddebe “akiikirira ebikolwa ebibi.” Lowooza ku ntiisa Zekkaliya gy’afuna ng’alaba omukazi oyo agezaako okuva mu ddebe! Malayika ayanguwa mangu n’amuzzaayo mu ddebe era n’alisaanikira. Okwolesebwa okwo kutegeeza ki?

15 Okwolesebwa okwo kulaga nti Yakuwa tasobola kukkiriza bikolwa bibi eby’engeri yonna kubeera mu bantu be. Akakasa nti abo ababikola bakolwako mu bwangu era ne baggibwawo. (1 Kol. 5:13) Kino tukirabira ku ky’okuba nti malayika ayanguwa okusaanikira eddebe lya efa.

Yakuwa yakakasa nti okusinza okw’amazima kusigala nga kuyonjo (Laba akatundu 16-18)

16. (a) Kiki ekyatuuka ku ddebe lya efa? (Laba ekifaananyi 3 ku lupapula 21.) (b) Abakazi abalina ebiwaawaatiro batwala wa eddebe lya efa?

16 Ekiddirira, Zekkaliya alaba abakazi babiri abalina ebiwaawaatiro ebiringa ebya kalooli nga babuuka mu bbanga. (Soma Zekkaliya 5:9-11.) Abakazi abo ba njawulo nnyo ku mukazi ali mu ddebe! Abakazi abo bajja ne basitula eddebe eririmu ebikolwa ebibi ne balitwala. Balitwala wa? Balitwala “mu nsi ya Sinaali,” oba mu Babulooni. Lwaki balitwala mu Babulooni?

17, 18. (a) Lwaki kituukirawo ebikolwa ebibi okutwalibwa mu Sinaali? (b) Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola bwe kituuka ku bikolwa ebibi?

17 Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera kya Zekkaliya bateekwa okuba nga baakiraba nti kyali kituukirawo ebikolwa ebibi okutwalibwa mu Sinaali. Zekkaliya ne Bayudaaya banne baali bakimanyi bulungi nti Babulooni kyali kibuga ekijjudde ebikolwa ebibi. Bwe baali mu buwambe e Babulooni, baalina okufuba ennyo obutoonoonebwa bikolwa bibi n’okusinza ebifaananyi ebyali bijjudde mu kibuga ekyo. Okwolesebwa okwo kwabakakasa nti Yakuwa yandikuumye okusinza okw’amazima nga kuyonjo era ekyo kiteekwa okuba nga kyabazzaamu nnyo amaanyi!

18 Kyokka ate era okwolesebwa okwo kuteekwa okuba nga kwaleetera Abayudaaya okukiraba nti baalina okukuuma okusinza okw’amazima nga kuyonjo. Ebikolwa ebibi tebirina kukkirizibwa kubeera mu bantu ba Yakuwa. Okuva bwe kiri nti Yakuwa yatuleeta mu kibiina kye ekiyonjo, tulina obuvunaanyizibwa obw’okukikuuma nga kiyonjo. Ofuba okukuuma ekibiina kya Yakuwa nga kiyonjo? Ebikolwa ebibi tebirina kifo mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo.

ABANTU ABAYONJO BAWEESAYAKUWA EKITIIBWA

19. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kutuyigiriza ki leero?

19 Okwolesebwa okw’omukaaga n’okw’omusanvu Zekkaliya kwe yafuna kulabula abo abakola ebikolwa ebibi nti Yakuwa tajja kugumiikiriza bikolwa byabwe ebyo. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa basaanidde okukyawa ebikolwa ebibi. Ate era okwolesebwa okwo kulaga nti bwe tufuba okusanyusa Yakuwa, tajja kutuleetako kikolimo ekireeta okufa, wabula ajja kutukuuma era ajja kutuwa emikisa. Wadde nga si kyangu okusigala nga tuli bayonjo mu nsi eno embi, Yakuwa ajja kutuyamba okusigala nga tuli bayonjo! Naye tuyinza tutya okuba abakakafu nti okusinza okw’amazima kujja kusigalawo? Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okukuuma ekibiina kye ng’ekibonyoobonyo ekinene kigenda kisembera? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.