Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mmanyi nti Alizuukira”

“Mmanyi nti Alizuukira”

“Mukwano gwaffe yeebase, naye ŋŋendayo okumuzuukusa.”​—YOK. 11:11.

ENNYIMBA: 142, 129

1. Maliza yali mukakafu ku ki? (Laba ekifaananyi waggulu.)

MALIZA, mukwano gwa Yesu era omuyigirizwa we, yali mu nnaku ey’amaanyi. Laazaalo, mwannyina, yali afudde. Waliwo ekintu kyonna ekyali kiyinza okukendeeza ku nnaku gye yalina? Yee. Yesu yamugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Wadde ng’ekyo kiyinza okuba nga tekyamalirawo ddala nnaku gye yalina, Maliza yakkiriza Yesu kye yamugamba. Yagamba Yesu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” (Yok. 11:20-24) Maliza yali mukakafu nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso. Naye oluvannyuma Yesu yakola ekyamagero. Yazuukiza Laazaalo ku lunaku olwo lwennyini.

2. Essuubi ery’okuzuukira likuganyula litya leero?

2 Tetusaanidde kulowooza nti Yesu oba Kitaawe naffe bajja kutukolera ekyamagero ng’ekyo mu kiseera kino. Naye okufaananako Maliza, oli mukakafu nti omuntu wo gw’oyagala ajja kuzuukira? Ayinza okuba munno mu bufumbo, maama wo, taata wo, jjajjaawo, oba omwana wo eyakufaako. Oteekwa okuba nga weesunga okugwa omuntu oyo mu kifuba, okunyumyako naye, n’okusekerako awamu naye. Okufaananako Maliza, waliwo ensonga kw’oyinza okusinziira okugamba nti, ‘Mmanyi nti omuntu wange ajja kuzuukira.’ Kikulu buli omu ku ffe okufumiitiriza ku nsonga lwaki twandibadde bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira.

3, 4. Ebyamagero Yesu bye yali akoze biyinza kuba nga byanyweza bitya okukkiriza kwa Maliza?

3 Okuva bwe kiri nti Maliza yali abeera kumpi ne Yerusaalemi, kiyinzika okuba nti teyalaba Yesu ng’azuukiza mutabani wa nnamwandu okumpi n’ekibuga Nayini mu Ggaliraaya. Naye ayinza okuba nga yawulira ku kyamagero ekyo. Era ayinza okuba nga yawulira ne ku kyamagero Yesu kye yakola bwe yazuukiza muwala wa Yayiro. Abo abaali ewa Yayiro “baali bamanyi nti [muwala we] yali afudde.” Wadde kyali kityo, Yesu yakwata omukono gw’omuwala oyo n’agamba nti: ‘Muwala, situka!’ Era amangu ago omuwala oyo yasituka. (Luk. 7:11-17; 8:41, 42, 49-55) Maliza ne muganda we Maliyamu baali bakimanyi nti Yesu asobola okuwonya abalwadde. N’olwekyo, baagamba nti singa Yesu yaliwo, Laazaalo teyandifudde. Naye kati okuva bwe kiri nti mukwano gwa Yesu oyo yali afudde, ssuubi ki lye baalina? Maliza yalina essuubi nti Laazaalo yandizuukidde mu biseera eby’omu maaso, ku “lunaku olw’enkomerero.” Lwaki yali mukakafu ku ekyo? Era lwaki wandibadde mukakafu nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso, era nti abantu bo be bamu ku abo abajja okuzuukira?

4 Waliwo ensonga ez’amaanyi ze tusinziirako okuba abakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira. Nga twetegereza ezimu ku zo, ojja kulaba ebintu ebimu ebiri mu Kigambo kya Katonda by’obadde tokwataganya na kuzuukira.

EBINTU EBYALIWO EBITUWA ESSUUBI!

5. Kiki ekyayamba Maliza okuba omukakafu nti Laazaalo yandizuukidde?

5 Weetegereze nti Maliza teyagamba nti: ‘Nsuubira nti mwannyinaze ayinza okuzuukira.’ Wabula yagamba nti: ‘Mmanyi nti mwannyinaze alizuukira.’ Maliza yali mukakafu nti mwannyina yandizuukidde olw’ebyamagero bye yali awuliddeko nga ne Yesu tannatandika buweereza bwe obw’oku nsi. Ebyamagero ebyo ateekwa okuba nga yabiwulirako ng’akyali muvubuka nga byogerwako awaka era nga bisomebwako mu kkuŋŋaaniro. Waliwo okuzuukira kwa mirundi esatu okwogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya kw’ayinza okuba nga yawulirako.

6. Kyamagero ki Eriya kye yakola, era ekyo kyakwata kitya ku Maliza?

6 Okuzuukira okusooka okwogerwako mu Bayibuli kwaliwo mu kiseera Katonda we yaweera nnabbi Eriya amaanyi okukola ebyamagero. Mu kabuga Zalefaasi, ak’omu Foyiniikiya akaali ku mwalo, waaliyo nnamwandu omwavu eyasembeza nnabbi Eriya. Mu ngeri ey’ekyamagero, Katonda yaleetera obuwunga n’amafuta nnamwandu bye yalina obutaggwaamu, bwe kityo nnamwandu ne mutabani we ne batafa njala. (1 Bassek. 17:8-16) Naye oluvannyuma, mutabani wa nnamwandu yalwala n’afa. Kyokka Eriya yamuyamba. Eriya yakwata ku mulambo gw’omwana n’asaba ng’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wange, nkwegayiridde, omwana k’addemu obulamu.” Yakuwa yawulira Eriya, omwana n’alamuka. (Soma 1 Bassekabaka 17:17-24.) Kya lwatu nti Maliza yali yawulirako ku kuzuukira okwo.

7, 8. (a) Kiki Erisa kye yakolera omukazi ow’e Sunemu? (b) Ekyamagero Erisa kye yakola kitukakasa ki ku Yakuwa?

7 Okuzuukira okw’okubiri okwogerwako mu Bayibuli kwakolebwa Erisa, oyo eyaddira nnabbi Eriya mu bigere. Omukazi omu Omuyisirayiri eyali abeera mu Sunemu yasembeza Erisa. Okuyitira mu nnabbi Erisa, Katonda yasobozesa omukazi oyo eyali omugumba awamu n’omwami we eyali akaddiye okuzaala omwana ow’obulenzi. Nga wayise emyaka, omwana oyo yafa. Lowooza ku nnyiike omukazi oyo gye yafuna. Omukazi oyo yasaba mwami we amukkirize okubaako gy’agenda era yatindigga olugendo lwa mayiro 19 n’agenda eri Erisa ku Lusozi Kalumeeri. Nnabbi Erisa yagamba omuweereza we Gekazi abakulemberemu agende e Sunemu. Naye Gekazi bwe yatuukayo, teyasobola kuzuukiza mwana oyo. Oluvannyuma omukyala oyo yatuuka awaka ng’ali wamu ne Erisa.​—2 Bassek. 4:8-31.

8 Erisa yagenda awaali omulambo n’asaba Yakuwa. Mu ngeri ey’ekyamagero, omwana yazuukira era Erisa n’amukwasa nnyina era nnyina yasanyuka nnyo! (Soma 2 Bassekabaka 4:32-37.) Omukyala oyo ayinza okuba nga yajjukira ebigambo Kaana eyali omugumba bye yayogera ng’atutte Samwiri okuweereza ku weema. Kaana yagamba nti: “Yakuwa . . . aserengesa emagombe, era azuukiza.” (1 Sam. 2:6) Yakuwa bwe yazuukiza omulenzi oyo ow’omu Sunemu, yakiraga nti alina obusobozi obw’okuzuukiza omuntu aba afudde.

9. Yogera ku ngeri ekyamagero eky’okusatu gye kyazingiramu Erisa.

9 Naye ekyo si kye kyamagero ekyasembayo okukolebwa nga kizingiramu Erisa. Erisa yali aweerezza nga nnabbi okumala emyaka egisukka mu 50, naye oluvannyuma ‘n’alwala obulwadde obwamuviirako okufa.’ Nga wayise ekiseera, ng’amagumba ga Erisa gokka ge gasigadde mu ntaana mwe baamuteeka, waliwo abazigu abaalumba ekitundu. Abayisirayiri abaali bagenda okuziika omusajja eyali afudde bwe baalengera ekibinja ky’abazigu nga kijja, baasuula omulambo gw’omusajja mu ntaana omwali amagumba ga Erisa. Bayibuli egamba nti: “Omulambo gw’omusajja bwe gwakoona ku magumba ga Erisa, omusajja n’alamuka n’ayimirira.” (2 Bassek. 13:14, 20, 21) Lowooza ku ngeri ebyawandiikibwa ebyogera ku byamagero ebyo eby’okuzuukira gye byakwata ku Maliza! Tewali kubuusabuusa nti Katonda alina amaanyi okuzuukiza abafu. Ebyawandiikibwa ebyo ebyogera ku kuzuukira bikuyigiriza ki? Bisaanidde okukuleetera okukiraba nti amaanyi ga Yakuwa tegaliiko kkomo.

EBYALIWO MU KYASA EKYASOOKA

10. Kiki Peetero kye yakola nga Doluka afudde?

10 N’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byogera ku byamagero eby’okuzuukira Yakuwa bye yasobozesa abaweereza be okukola. Ng’ekyokulabirako, Yesu yazuukiza omuntu okumpi n’ekibuga Nayini era n’azuukiza ne muwala wa Yayiro. Omutume Peetero yazuukiza omukazi Omukristaayo ayitibwa Doluka (Tabbiisa). Peetero yagenda mu nnyumba omwali omulambo gwa Doluka era n’asembera awaali omulambo n’asaba. Oluvannyuma yagamba nti: “Tabbiisa, yimuka!” Amangu ago Doluka yalamuka era Peetero n’amukwasa bakkiriza banne nga mulamu. Ekyamagero ekyo kyakwata nnyo ku bantu ne kiviirako ‘bangi okukkiriza Mukama waffe.’ Baali basobola okuwa obujulirwa ku Yesu era n’okukakasa abantu nti ddala Yakuwa asobola okuzuukiza abafu.​—Bik. 9:36-42.

11. Kiki omusawo Lukka kye yayogerako ekyatuuka ku muvubuka omu, era ebyo ebyaliwo byakwata bitya ku baaliwo?

11 Waliwo n’ekyamagero ekirala ekikwata ku kuzuukira ekyalabibwa abantu abangi. Lumu omutume Pawulo yali mu lukuŋŋaana olwali mu kisenge ekya waggulu mu Tulowa. Pawulo yayogera okutuusiza ddala mu ttumbi. Waaliwo omuvubuka ayitibwa Yutuko eyali atudde mu ddirisa ng’awuliriza. Naye yatandika okusumagira era n’awanuka ku mwaliiro ogw’okusatu n’agwa wansi. Oboolyawo Lukka eyali omusawo ye yasooka okumutuukako n’amukebera era n’akakasa nti yali tazirise buzirisi, wabula yali afudde! Pawulo yakka wansi n’awambaatira omulambo era n’agamba abaaliwo nti: “Mulamu.” Ng’abaaliwo bateeka okuba nga baakwatibwako nnyo! Oluvannyuma lw’okulaba ekyamagero ekyo eky’okuzuukira abaaliwo ‘baasanyuka nnyo.’​—Bik. 20:7-12.

ESSUUBI EKKAKAFU

12, 13. Okusinziira ku kuzuukira okwogerwako mu Bayibuli kwe tulabye, bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

12 Ebyawandiikibwa bye tulabye ebyogera ku byamagero eby’okuzuukira bisaanidde okukuleetera okuba n’essuubi ekkakafu nga Maliza lye yalina. Bisaanidde okukukakasa nti Katonda, Ensibuko y’Obulamu, asobola okuzuukiza omuntu aba afudde. Naye weetegereze nti mu biseera ebyo Katonda we yakolera ebyamagero eby’okuzuukiza, waabangawo omuweereza we omwesigwa gwe yabanga akozesa gamba nga Eriya, Yesu, oba Peetero. Naye ate abantu abaafa mu biseera ebirala? Bwe kiba nti waliwo ebiseera Katonda mw’atakoledde byamagero bya kuzuukiza, kiba kituufu okusuubira nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso? Tusobola okwogera nga Maliza eyagamba nti: “Mmanyi nti [mwannyinaze] alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero”? Lwaki Maliza yali mukakafu nti wajja kubaawo okuzuukira, era lwaki naffe tusaanidde okuba abakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira?

13 Mu Bayibuli mulimu ebyawandiikibwa ebiwerako ebiraga nti abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baali bakimanyi nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso. Ka tulabeyo ebimu ku byo.

14. Bye tusoma ku Ibulayimu bituyigiriza ki ku kuzuukira?

14 Lowooza ku ekyo Katonda kye yagamba Ibulayimu. Yakuwa yamugamba nti: “Twala omwana wo, omwana wo omu yekka Isaaka gw’oyagala ennyo, . . . omuweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa.” (Lub. 22:2) Lowooza ku ngeri Ibulayimu gye yawuliramu nga Yakuwa amulagidde okukola ekintu ekyo. Yakuwa yali asuubizza nti okuyitira mu zadde lya Ibulayimu, amawanga gonna gandiweereddwa omukisa. (Lub. 13:14-16; 18:18; Bar. 4:17, 18) Era Yakuwa yagamba nti omukisa ogwo gwandiyitidde “mu Isaaka.” (Lub. 21:12) Naye ekyo kyandibaddewo kitya nga Ibulayimu awaddeyo Isaaka nga ssaddaaka? Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti Ibulayimu yali mukakafu nti Katonda yali asobola okuzuukiza Isaaka. (Soma Abebbulaniya 11:17-19.) Bayibuli tegamba nti Ibulayimu yalowooza nti bwe yandikoze ekyo Katonda kye yali amugambye okukola, Isaaka yandizuukidde oluvannyuma lw’essaawa ntono, oba oluvannyuma lw’olunaku lumu, oba oluvannyuma lwa wiiki. Ibulayimu yali tasobola kumanya ddi Yakuwa lwe yandizuukizza mutabani we. Naye yali mukakafu nti Yakuwa yandizuukizza Isaaka.

15. Ssuubi ki Yobu lye yalina?

15 Omuweereza wa Yakuwa ow’edda ayitibwa Yobu naye yali akkiriza nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso. Yali akimanyi nti omuti bwe gutemebwa, gusobola okuloka. Naye ekyo si bwe kiri ku muntu. (Yob. 14:7-12; 19:25-27) Omuntu bw’afa, tasobola kwezuukiza n’addamu okuba omulamu. (2 Sam. 12:23; Zab. 89:48) Kyokka ekyo tekitegeeza nti Katonda tasobola kuzuukiza bafu. Mu butuufu, Yobu yali akkiriza nti bwe yandifudde Yakuwa yandimujjukidde n’amuzuukiza. (Soma Yobu 14:13-15.) Kyokka Yobu yali tasobola kumanya bbanga lyenkana wa eryandiyiseewo nga Katonda tannamuzuukizibwa. Wadde kyali kityo, yali mukakafu nti bwe yandifudde, Oyo eyawa abantu obulamu, yandisobodde okumujjukira era n’amuzuukiza.

16. Bigambo ki ebizzaamu amaanyi malayika bye yagamba Danyeri?

16 Danyeri ye muweereza wa Yakuwa omulala ayogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka mingi, era Yakuwa yamuyamba. Lumu malayika wa Yakuwa yagamba Danyeri, “omusajja ow’omuwendo ennyo” nti ‘abe n’emirembe era addemu amaanyi.’​—Dan. 9:22, 23; 10:11, 18, 19.

17, 18. Kiki Yakuwa kye yasuubiza Danyeri?

17 Danyeri yalina emyaka nga 100 era yali anaatera okufa. Ekyo ateekwa okuba nga yali akirowoozaako. Yandizzeemu okuba omulamu? Yee! Ku nkomerero y’ekitabo kya Danyeri, Yakuwa yamugamba nti: “Sigala ng’oli munywevu okutuuka ku nkomerero. Ojja kuwummula.” (Dan. 12:13) Danyeri yali akimanyi nti abafu baba magombe nga bawumudde, nga ‘tebalina nteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.’ Ne Danyeri yali anaatera okugenda emagombe. (Mub. 9:10) Naye eyo si ye yandibadde enkomerero ye. Yakuwa alina kye yamusuubiza.

18 Malayika yeeyongera n’agamba Danyeri nti: “Oliyimirira n’oweebwa omugabo gwo ennaku bwe ziriggwaako.” Yakuwa teyabuulira Danyeri bbanga lyenkana wa lye yandimaze emagombe. Danyeri yali agenda kutuuka ku nkomerero ye ng’afa era awummule. Naye okuva bwe kiri nti Yakuwa yamugamba nti ‘yandiyimiridde n’aweebwa omugabo gwe’ mu biseera eby’omu maaso, kyalaga nti yali ajja kuzuukira nga wayise ebbanga ddene oluvannyuma lw’okufa. Yandizuukidde ‘ng’ennaku ziweddeko.’ Enkyusa ya Jerusalem Bible yo egamba nti: “Oliyimirira n’oweebwa omugabo gwo ku nkomerero y’ebiseera.”

Okufaananako Maliza, osobola okuba omukakafu nti wajja kubaawo okuzuukira (Laba akatundu 19, 20)

19, 20. (a) Bye tuyize mu kitundu kino bituleetera bitya okuba abakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira? (b) Biki bye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

19 Mazima ddala Maliza yalina ensonga ez’amaanyi kwe yasinziira okukkiriza nti mwannyina eyali aweerezza Yakuwa n’obwesigwa yali ajja kuzuukira “mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” Ekyo Yakuwa kye yasuubiza Danyeri n’eky’okuba nti Maliza yali mukakafu nti wajja kubaawo okuzuukira kisaanidde okugumya ennyo Abakristaayo leero. Basaanidde okuba abakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira.

20 Mu kitundu kino tukirabye nti okuzuukira okwaliwo mu biseera eby’emabega kukakasa nti abafu basobola okuddamu okuba abalamu. Era abasajja n’abakazi abeesigwa ab’edda baali bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso. Naye waliwo obukakafu bwonna obulaga nti okuzuukira kusobola okubaawo nga wayise ekiseera kiwanvu oluvannyuma lw’okukusuubiza? Bwe kiba kityo, tuba tufunye ensonga endala etuleetera okuba abakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira. Naye okuzuukira kunaabaawo ddi? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.