Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obujulizi Obukakasa Obunnabbi Obwatuukirira

Obujulizi Obukakasa Obunnabbi Obwatuukirira

MU MASEKKATI G’EKIBUGA ROOMA MU YITALE, WALIYO EKIJJUKIZO EKISIKIRIZA ABALAMBUZI OKUVA MU BITUNDU BYONNA EBY’ENSI. KYAZIMBIBWA OKUJJUUKIRIRAKO EMPULA WA ROOMA EYALI AYITIBWA TITUS.

Ekijjukizo ekyo kiriko ebifaananyi bibiri ebinene ebiraga ekintu ekimanyiddwa ennyo ekyaliwo mu byafaayo. Kyokka abantu abasinga obungi tebamanyi nti kirina akakwate ne Bayibuli. Ekijjukizo kya Titus kiwa obukakafu ku bunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirizibwa.

EKIBUGA EKYASALIRWA OMUSANGO

Ku ntandikwa y’ekyasa ekyasooka, ettwale lya Rooma lyali liviira ddala e Bungereza n’e Gaul (kati Bufalansa) ne lituuka e Misiri, era ekitundu ekyo kyali kikulaakulanye nnyo era nga kirimu emirembe. Naye ekitundu kya Buyudaaya ekyali kyesudde kye kyali kibobbya Abaruumi omutwe, kubanga kyalimu obutabanguko bungi.

Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia of Ancient Rome kigamba nti: “Mu bitundu ebyali mu ttwale lya Rooma, bitono nnyo ebyalimu obukyayi obw’amaanyi ku njuyi zombi nga Buyudaaya. Abayudaaya baali tebaagalira ddala bagwira abaali babafuga ate nga tebassa kitiibwa mu bulombolombo bwabwe, ate Abaruumi baalaba ng’obujeemu bw’Abayudaaya tebwebeereka.” Abayudaaya bangi baali basuubira nti masiya yandibanunudde okuva mu bufuzi bw’Abaruumi abaali babajolonga, era n’azzaawo ekitiibwa kya Isirayiri nga bwe kyali edda. Kyokka mu mwaka gwa 33 E.E., Masiya, oba Yesu Kristo yagamba nti ekibuga Yerusaalemi kyali kijja kuzikirizibwa.

Yesu yagamba nti: “Ennaku zijja abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo eky’emiti emisongovu era ne bakwetooloola ne bakuzingiza ku buli luuyi. Balikuzikiriza ggwe n’abaana bo, era tebalikulekamu jjinja liri ku linnaalyo.”​—Lukka 19:43, 44.

Ebigambo bya Yesu ebyo biteekwa okuba nga byewuunyisa nnyo abayigirizwa be. Oluvannyuma lw’ennaku bbiri, abayigirizwa abo baatunuulira yeekaalu, omu ku bo n’agamba Yesu nti: “Omuyigiriza, laba! amayinja gano n’ebizimbe nga byewuunyisa!” Mu butuufu, kigambibwa nti amayinja agamu gaali gaweza ffuuti 36 obuwanvu, ffuuti 16 obugazi, ne ffuuti 10 obugulumivu! Naye Yesu yaddamu nti: “Ebintu ebyo bye mulaba, ennaku zijja ejjinja lwe litalisigala ku linnaalyo; gonna galisuulibwa wansi.”​—Makko 13:1; Lukka 21:6.

Yesu era yabagamba nti: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa amagye, awo mumanyanga nti okuzikirizibwa kwakyo kunaatera okutuuka. Abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi, abalikibaamu bakivangamu, n’abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu.” (Lukka 21:20, 21) Ebigambo bya Yesu ebyo byatuukirira?

EKIBUGA KIZIKIRIZIBWA

Waayitawo emyaka 33, era Abayudaaya baali bakyekokkola obufuzi bw’Abaruumi. Naye mu mwaka gwa 66 E.E., Omuruumi ayitibwa Gessius Florus, eyali afuga ekitundu kya Buyudaaya bwe yayingira mu yeekaalu n’aggyamu ssente ezaali ziterekebwa mu ggwanika, Abayudaaya baalaba nga kibayitiriddeko. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, abalwanyi Abayudaaya beeyiwa mu kibuga Yerusaalemi ne batta abasirikale Abaruumi abaali abakuumi, era ne balangirira obwetwaze okuva ku Rooma.

Oluvannyuma lw’emyezi ng’esatu, abasirikale Abaruumi abasukka mu 30,000, nga baduumirwa Cestius Gallus, baalumba Yerusaalemi okukomya obujeemu. Abaruumi baayingira mu kibuga ne bamenya bbugwe wa yeekaalu. Naye olw’ensonga etaategeerekeka, baava mu kibuga ne baddayo. Abayudaaya abaali beewaggudde baasanyuka nnyo era ne babawondera. Ekyo kyawa Abakristaayo akaagaanya okuva mu Yerusaalemi ne baddukira mu bitundu by’ensozi emitala w’Omugga Yoludaani, nga Yesu bwe yabagamba.​—Matayo 24:15, 16.

Oluvannyuma lw’omwaka gumu, Abaruumi baddamu okukola enteekateeka ey’okulumba Buyudaaya, nga baduumirwa munnamagye Vespasian ne mutabani we, Titus. Kyokka Empula Nero bwe yafa mu 68 E.E., Vespasian yaddayo e Rooma okufuga, omulimu n’agulekera mutabani we Titus, ng’ali wamu n’abasirikale nga 60,000.

Mu mwezi gwa Jjuuni, mu mwaka gwa 70 E.E, Titus yalagira abasirikale be bateme emiti gyonna egyali mu bitundu bya Buyudaaya eby’omu byalo, era emiti egyo baagikozesa okuzimba ekisenge ky’emiti emisongovu kya mayiro nnya n’ekitundu, okwetooloola Yerusaalemi. Omwezi gwa Ssebutemba we gwatuukira, baali bamaze okuwamba ekibuga Yerusaalemi n’okukyokya era n’okuzikiriza yeekaalu, nga Yesu bwe yagamba. (Lukka 19:43, 44) Kigambibwa nti “abantu abali wakati w’emitwalo abiri mu etaano n’emitwalo ataano be battibwa mu Yerusaalemi ne mu Isirayiri mwonna.”

EKIKUJJUKO EKY’AMAANYI

Mu mwaka gwa 71, Titus yaddayo mu Yitale, abantu bonna ab’omu kibuga Rooma ne bamwaniriza n’essanyu, era ekikujjuko ekyo kye kimu ku bikyasinze okuba eby’amaanyi mu by’afaayo by’ekibuga ekyo.

Abantu baawuniikirira olw’omunyago omungi ogwali gwolesebwa mu nguudo za Rooma. Baasanyuka nnyo nga balaba ebyombo ebyali biwambiddwa, n’abasirikale abaali boolesa bye baakola mu lutalo, era n’ebintu ebyaggibwa mu yeekaalu e Yerusaalemi.

Titus yasikira kitaawe Vespasian nga empula wa Rooma mu mwaka gwa 79. Naye Titus yafa oluvannyuma lw’emyaka ebiri gyokka. Muganda we eyali ayitibwa Domitian, yamusikira, era n’azimba ekijjukizo eky’okujjuukirirako Titus.

EKIJJUKIZO NGA BWE KIRI LEERO

The Arch of Titus in Rome today

Leero, Ekijjukizo kya Titus kisikiriza abalambuzi bangi abagenda e Rooma. Abamu bakitwala ng’omulimu ogwakolebwa abakugu, abalala bakitwala ng’ekintu ekiraga amaanyi g’obwakabaka bwa Rooma, ate abalala kibajjukiza ekibuga Yerusaalemi eky’edda ne yeekaalu ebyazikirizibwa.

Kyokka eri abasomi ba Bayibuli, Ekijjukizo kya Titus kirina amakulu agasingako n’awo. Ekijjukizo ekyo bujulizi obukakasa obunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirira, ekiraga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda.​—2 Peetero 1:19-21.