Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda Anaatera Okuggyawo Okubonaabona Kwonna

Katonda Anaatera Okuggyawo Okubonaabona Kwonna

“Ai Yakuwa, ndituusa wa okukukoowoola onnyambe, naye n’otowuliriza? Ndituusa wa okukukoowoola otuwonye ebikolwa eby’obukambwe, naye n’otobaako ky’okolawo?” (Kaabakuuku 1:2, 3) Ebigambo ebyo byayogerwa nnabbi wa Katonda ayitibwa Kaabakuuku. Nnabbi oyo yali talina kukkiriza? Nedda. Katonda yagamba Kaabakuuku nti ekiseera kyandituuse okubonaabona kwonna ne kuggwaawo.​—Kaabakuuku 2:2, 3.

Bw’oba mu mbeera enzibu oba bw’olaba omuntu wo ng’abonaabona, oyinza okulowooza nti Katonda aluddewo nnyo okubaako ky’akolawo. Naye Bayibuli etugamba nti: “Yakuwa talwisa kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza, naye abagumiikiriza mmwe, kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.”​—2 Peetero 3:9.

KATONDA ANAGGYAWO DDI OKUBONAABONA?

Ekyo agenda kukikola mu kiseera ekitali kya wala! Yesu yayogera ku bintu ebyandibaddewo ng’enkomerero enaatera okutuuka. (Matayo 24:3-42) Ebintu Yesu bye yayogerako weebiri mu kiseera kino, era ekyo kiraga nti Katonda anaatera okuggyawo okubonaabona. *

Naye Katonda anaggyawo atya okubonaabona? Yesu bye yakola ng’akyali ku nsi byalaga nti Katonda alina amaanyi, era asobola okuggyawo okubonaabona kwonna. Ka tulabe ebimu ku bye yakola.

Obutyabaga: Yesu n’abatume be bwe baali mu lyato ku nnyanja y’e Ggaliraaya, omuyaga ogw’amaanyi gwajja, amayengo ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okubbira. Yesu yalaga nti ye ne Kitaawe balina obuyinza ku butonde. (Abakkolosaayi 1:15, 16) Yesu yagamba bugambi nti: “Sirika! Teeka!” era “Omuyaga ne gukkakkana, ennyanja n’eteeka.”​—Makko 4:35-39.

Endwadde: Yesu yawonya abalema, abazibe b’amaaso, abagwa ensimbu, abalwadde b’ebigenge, n’endwadde eza buli kika. ‘Yawonya bonna abaali balumizibwa.’​—Matayo 4:23, 24; 8:16; 11:2-5.

Ebbula ly’Emmere: Yesu bwe yali ku nsi, yakozesa amaanyi Katonda ge yamuwa okukola ekyamagero n’afunira abantu nkumi na nkumi emmere. Bayibuli eraga nti ekyo yakikola emirundi ebiri.​—Matayo 14:14-21; 15:32-38.

Okufa: Yesu yazuukiza abantu basatu, era omu ku bo yali amaze ennaku nnya ng’afudde. Ekyo kiraga nti Katonda asobola okuggyawo okufa.​—Makko 5:35-42; Lukka 7:11-16; Yokaana 11:3-44.

^ lup. 5 Okumanya ebisingawo ebikwata ku nkomerero, laba essuula 9 ey’akatabo, Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola okukafuna ku www.pr418.com/lg ku bwereere.