Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omanyi Yakuwa nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu Bwe Baali Bamumanyi?

Omanyi Yakuwa nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu Bwe Baali Bamumanyi?

“Abantu ababi tebategeera bwenkanya, naye abo abanoonya Yakuwa basobola okutegeera ebintu byonna.”​—NGE. 28:5.

ENNYIMBA: 126, 150

1-3. (a) Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda mu nnaku zino ez’enkomerero? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

NG’ENKOMERERO egenda esembera, abantu ababi beeyongera ‘okumeruka ng’omuddo.’ (Zab. 92:7) N’olwekyo tekitwewuunyisa nti emitindo gy’empisa gyeyongedde okusereba. Kati olwo ffe tuyinza tutya ‘okuba abaana abato eri ebikolwa ebibi, naye ne tubeera bakulu mu kutegeera’?​—1 Kol. 14:20.

2 Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo bino ebiri mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino: “Abo abanoonya Yakuwa basobola okutegeera ebintu byonna,” kwe kugamba, ebintu byonna ebyetaagisa okusobola okumusanyusa. (Nge. 28:5) Ensonga eyo era eyogerwako mu Engero 2:7, 9, awagamba nti Yakuwa “aterekera abagolokofu amagezi.” N’ekivaamu abagolokofu baba basobola “okutegeera eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya, enkola yonna ey’ebintu ebirungi.”

3 Nuuwa, Danyeri, ne Yobu baafuna amagezi ago. (Ezk. 14:14) Bwe kityo bwe kiri n’eri abantu ba Katonda leero. Ate ggwe? ‘Otegeera ebintu byonna’ ebyetaagisa okusobola okusanyusa Yakuwa? Okusobola okubitegeera, olina okuba n’okumanya okutuufu okukwata ku Katonda. Kati ka tulabe (1) engeri Nuuwa, Danyeri, ne Yobu gye baamanyamu Katonda, (2) engeri okumanya okwo gye kwabaganyulamu, ne (3) engeri gye tuyinza okuba n’okukkiriza ng’okwabwe.

NUUWA YATAMBULA NE KATONDA MU NSI ENNYONOONEFU

4. Nuuwa yamanya atya ebikwata ku Yakuwa, era okumanya okwo kwamuyamba kutya?

4 Engeri Nuuwa gye yamanyamu Yakuwa. Okuva edda n’edda, abantu abeesigwa babadde bayiga ebikwata ku Katonda mu ngeri enkulu ssatu: nga batunuulira obutonde, nga bayigira ku bantu abalala abatya Katonda, era nga balowooza ku miganyulo gye bafunye mu kukolera ku misingi gya Katonda egy’obutuukirivu. (Is. 48:18) Okwetegereza obutonde kiteekwa okuba nga kyayamba Nuuwa okukiraba nti ddala Katonda gy’ali, era kiteekwa okuba nga kyamuyamba okumanya engeri ze, gamba nga “amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe.” (Bar. 1:20) Ekyo kyaleetera Nuuwa okukkiririza mu Katonda n’okuba n’okukkiriza okunywevu.

5. Nuuwa yamanya atya ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eri abantu?

5 Okukkiriza “kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira.” (Bar. 10:17) Nuuwa yawulira atya ebikwata ku Yakuwa? Ateekwa okuba nga yabiwulira okuva ku b’eŋŋanda ze. Mu bano mwe mwali kitaawe, Lameka, omusajja eyalina okukkiriza era eyazaalibwa nga Adamu akyaliwo. (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.) Era ayinza okuba nga yabiwulira okuva ku jjajjaawe Mesuseera; ne jjajjaawe Yaledi eyabeerawoko mu kiseera kye kimu ne Nuuwa okumala emyaka 366. * (Luk. 3:36, 37) Oboolyawo abasajja abo awamu ne bakyala baabwe baayamba Nuuwa okumanya ebikwata ku kutondebwa kw’omuntu, ekigendererwa kya Katonda eky’abantu abatuukirivu okujjula ku nsi, n’ebikwata ku bujeemu obwaliwo mu Edeni era nga ne Nuuwa yali alabako n’agage ebizibu ebyava mu bujeemu obwo. (Lub. 1:28; 3:16-19, 24) K’abe nga yamanya atya ebikwata ku Katonda, ebyo Nuuwa bye yayiga byamukwatako nnyo ne bimuleetera okuweereza Katonda.​—Lub. 6:9.

6, 7. Essuubi lyanyweza litya okukkiriza kwa Nuuwa?

6 Okukkiriza kunywezebwa essuubi. Lowooza ku ngeri Nuuwa gye yawuliramu bwe yakitegeera nti erinnya lye eriyinza okuba nga litegeeza “Ekiwummulo; Okubudaabudibwa,” lyali liwa essuubi! (Lub. 5:29, obugambo obuli wansi.) Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, Lameka yagamba nti: “Ono [Nuuwa] y’alituleetera okubudaabudibwa . . . mu kutegana kw’emikono gyaffe okw’obulumi, olw’ettaka Yakuwa lye yakolimira.” Nuuwa yalina essuubi mu Katonda. Okufaananako Abbeeri ne Enoka abaamusookawo, naye yali akkiririza mu ‘zzadde’ eryandibetense omutwe gw’omusota.​—Lub. 3:15.

7 Wadde nga Nuuwa ayinza okuba nga yali tategeera kalonda yenna akwata ku bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15, ateekwa okuba nga yakiraba nti bwali buwa essuubi nti abantu bajja kununulibwa. Ate era obunnabbi obwo bukwatagana bulungi n’obunnabbi Enoka bwe yayogera, nabwo obwali bulaga omusango Katonda gwe yasalira ababi. (Yud. 14, 15) Obunnabbi bwa Enoka obujja okutuukirira mu bujjuvu ku Amagedoni, buteekwa okuba nga bwanyweza nnyo okukkiriza kwa Nuuwa era ne bumuwa essuubi!

8. Okumanya okutuufu okukwata ku Katonda kwakuuma kutya Nuuwa?

8 Engeri okumanya okutuufu okukwata ku Katonda gye kwayamba Nuuwa. Okumanya okutuufu kwayamba Nuuwa okufuna okukkiriza n’amagezi ebyamukuuma n’atatuusibwako kabi, nnaddala mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Nuuwa “yatambula ne Katonda ow’amazima,” teyatambula oba teyakolagana na bantu babi. Teyabuzaabuzibwa badayimooni abaali beeyambazza emibiri gy’abantu, nga bakola ebintu ebitali bya bulijjo, ne babuzaabuza abantu abataalina kukkiriza oboolyawo ne batuuka n’okubasinza. (Lub. 6:1-4, 9) Ate era Nuuwa yali akimanyi nti Katonda yalagira bantu okuzaala bajjuze ensi. (Lub. 1:27, 28) N’olwekyo, ateekwa okuba nga yali akimanyi nti bamalayika okweyambaza emibiri gy’abantu ne beegatta n’abakazi tekyali kya mu butonde era kyali kikyamu. Ekyo kyeyoleka kaati bamalayika abo n’abakazi be beegatta nabo bwe baazaala abaana abataali ba bulijjo. Oluvannyuma lw’ekiseera, Katonda yagamba Nuuwa nti yali agenda kuleeta Amataba ku nsi. Okukkiriza Nuuwa kwe yalina kwamuleetera okuzimba eryato, era ekyo kyamuyamba okuwonawo awamu n’ab’omu maka ge.​—Beb. 11:7.

9, 10. Tuyinza tutya okuba n’okukkiriza ng’okwa Nuuwa?

9 Engeri gye tuyinza okuba n’okukkiriza ng’okwa Nuuwa. Tulina okunyiikirira okwesomesa Ekigambo kya Katonda, okufumiitiriza ku bye tusoma, era n’okukolera ku ebyo bye tuyiga. (1 Peet. 1:13-15) Okukkiriza n’amagezi agava eri Katonda bye tufuna bijja kutukuuma tuleme kugwa mu nkwe za Sitaani era tuleme kutwalirizibwa mwoyo gwa nsi omubi. (2 Kol. 2:11) Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okwagala ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu. Guleetera abantu okumalira ebirowoozo byabwe ku kwegomba kw’omubiri. (1 Yok. 2:15, 16) Era gusobola n’okuleetera abantu abanafu mu by’omwoyo okubuusa amaaso obukakafu obulaga nti olunaku lwa Yakuwa lunaatera okutuuka. Weetegereze nti Yesu bwe yali ageraageranya ekiseera kya Nuuwa ku kiseera kyaffe, essira teyalissa ku bikolwa eby’obukambwe n’obugwenyufu, wabula yalissa ku kabi akali mu butafaayo ku bintu eby’omwoyo.​—Soma Matayo 24:36-39.

10 Weebuuze: ‘Engeri gye ntambuzaamu obulamu bwange eraga nti ddala mmanyi Yakuwa? Okukkiriza kwe nnina kunkubiriza okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu n’okufuba okugibuulirako abalala?’ Ebyo by’oddamu mu bibuuzo ebyo bijja kulaga nti ‘otambula ne Katonda’ oba nedda.

DANYERI YAYOLEKA AMAGEZI NG’ALI MU BABULOONI MU BANTU ABAKAAFIIRI

11. (a) Okuba nti Danyeri yali ayagala nnyo Katonda nga muvubuka kituyigiriza ki ku bazadde be? (b) Ngeri ki Danyeri ze yayoleka z’oyagala okukoppa?

11 Engeri Danyeri gye yamanyamu Yakuwa. Bazadde ba Danyeri bateekwa okuba nga baafuba okumuyigiriza okwagala Yakuwa n’Ekigambo kye. Danyeri yayagala Yakuwa n’Ekigambo kye obulamu bwe bwonna. Ne bwe yali ng’akaddiye, yeeyongera okwesomesa Ebyawandiikibwa. (Dan. 9:1, 2) Essaala ya Danyeri esangibwa mu Danyeri 9:3-19, ekiraga bulungi nti yali amanyi bulungi ebikwata ku Yakuwa n’engeri gye yakolaganamu n’Abayisirayiri. Lwaki tofunayo akadde n’osoma essaala eyo era n’ogifumiitirizaako, olabe ky’ekuyigiriza ku Danyeri?

12-14. (a) Danyeri yayoleka atya amagezi agava eri Katonda? (b) Mikisa ki Danyeri gye yafuna olw’okunywerera ku Katonda?

12 Engeri okumanya okutuufu okukwata ku Katonda gye kwayamba Danyeri. Tekyali kyangu eri Omuyudaaya omwesigwa okubeera mu Babulooni ekibuga ekyali kijjudde abantu abakaafiiri. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Abayudaaya nti: “Mukolerere emirembe gy’ekibuga mwe nnabawaŋŋangusiza.” (Yer. 29:7) Kyokka era Yakuwa yali ayagala bamwemalireko. (Kuv. 34:14) Kiki ekyayamba Danyeri obutagwa lubege? Amagezi agava eri Katonda gaamuyamba okutegeera wa we yalina okukoma mu kugondera ab’obuyinza. Nga wayise emyaka mingi, Yesu yayigiriza abantu omusingi ogukwata ku kugondera ab’obuyinza.​—Luk. 20:25.

13 Lowooza ku ekyo Danyeri kye yakola ab’obuyinza bwe baayisa ekiragiro ekigaana omuntu okusaba katonda yenna oba omuntu yenna okuggyako kabaka okumala ennaku 30. (Soma Danyeri 6:7-10.) Danyeri yali asobola okwekwasa nti, ‘Ennaku 30 si nnyingi!’ Naye teyakkiriza kiragiro ekyo ab’obuyinza kye baayisa kumuleetera kumenya misingi egy’omu Byawandiikibwa. Danyeri yali asobola okwegendereza n’asaba nga tewali n’omu amulaba. Naye yali akimanyi nti abantu baali bamanyi bulungi enkola ye ey’okusaba Katonda buli lunaku. N’olwekyo, wadde nga kyali kissa obulamu bwe mu kabi, Danyeri yeewala okukola ekintu kyonna ekyali kisobola okuleetera abantu okulowooza nti yali yekkiriranyizza.

14 Yakuwa yawa Danyeri emikisa olw’okwoleka obuvumu n’asalawo okumunywererako. Yakuwa yamukuuma mu ngeri ey’ekyamagero n’atafa. Mu butuufu ebyavaamu byali birungi nnyo kubanga erinnya lya Yakuwa lyamanyibwa mu bitundu by’obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi ebisingayo okuba ewala!​—Dan. 6:25-27.

15. Tuyinza tutya okuba n’okukkiriza ng’okwa Danyeri?

15 Engeri gye tuyinza okuba n’okukkiriza ng’okwa Danyeri. Okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu, tetusaanidde kukoma bukomi ku kusoma Kigambo kya Katonda naye tulina n’okufuba okutegeera “amakulu” g’ebyo bye tusoma. (Mat. 13:23) Okumanya emisingi gya Bayibuli kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa. N’olwekyo tulina okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Ate era kikulu okunyiikirira okusaba, naddala bwe tuba nga twolekagana n’embeera enzibu. Bwe tusaba Yakuwa okutuwa amagezi n’amaanyi era ne tumwesiga, ajja kubituwa.​—Yak. 1:5.

YOBU YAKOLERA KU MITINDO GYA KATONDA MU MBEERA ENNUNGI N’EMBI

16, 17. Yobu yamanya atya ebikwata ku Katonda?

16 Engeri Yobu gye yamanyamu Yakuwa. Yobu teyali Muyisirayiri. Naye yalina oluganda olw’ewala ku Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, ate nga Yakuwa yali amanyisizza abasajja abo ebimukwatako n’ebikwata ku kigendererwa kye eri abantu. Yobu alina bingi bye yayiga ebikwata ku mazima ago ag’omuwendo ennyo, naye Bayibuli tetubuulira butereevu ngeri gye yabiyigamu. (Yob. 23:12) Yobu yagamba Yakuwa nti: “Amatu gange gaawulira ebikukwatako.” (Yob. 42:5) Ate era Yakuwa yagamba nti ebyo Yobu bye yamwogerako byali bituufu.​—Yob. 42:7, 8.

Okukkiriza kwaffe kusobola okunywera bwe tulaba engeri za Katonda ezeeyolekera mu bitonde (Laba akatundu 17)

17 Yobu era yayiga bingi ebikwata ku Yakuwa nga yeetegereza obutonde. (Yob. 12:7-9, 13) Oluvannyuma Yakuwa ne Eriku baayogera ku bintu ebimu ebikwata ku butonde okuyamba Yobu okukimanya nti Yakuwa wa waggulu nnyo ku bantu. (Yob. 37:14; 38:1-4) Ebigambo bya Yakuwa byakwata nnyo ku Yobu n’agamba Katonda nti: “Kaakano mmanyi ng’osobola okukola ebintu byonna, era nga buli ky’olowooza okukola tekiyinza kukulema. . . . Nneenenya mu nfuufu n’evvu.”​—Yob. 42:2, 6.

18, 19. Yobu yakiraga atya nti yali amanyi Yakuwa?

18 Engeri okumanya okutuufu okukwata ku Katonda gye kwayamba Yobu. Yobu yali ategeera bulungi emitindo gya Katonda. Yali amanyi bulungi Yakuwa era yakolera ku kumanya okwo. Lowooza ku kino: Yobu yali akimanyi nti yali tasobola kugamba nti ayagala Katonda ate nga mu kiseera kye kimu ayisa bubi bantu banne. (Yob. 6:14) Teyeetwala kuba wa waggulu ku balala. Mu kifo ky’ekyo yali afaayo ku bantu bonna ka babe baavu oba bagagga. Yagamba nti: “Eyantonda mu lubuto lwa mmange nabo si ye yabatonda?” (Yob. 31:13-22) Kyeyoleka lwatu nti eby’obugagga tebyamuleetera kufuna malala na kunyooma balala. Yobu nga yali wa njawulo nnyo ku bantu abagagga abasinga obungi leero!

19 Yobu yeewalira ddala okusinza ebifaananyi. Yali akimanyi nti okusinza okw’obulimba oba okwesiga eby’obugagga kwandibadde kwegaana “Katonda ow’amazima ali mu ggulu.” (Soma Yobu 31:24-28.) Yali akimanyi nti obufumbo butukuvu era nti bulina kuba wakati wa musajja na mukazi. Yobu era yakola endagaano n’amaaso ge obutatunuulira mukazi yenna atali wuwe kumwegwanyiza. (Yob. 31:1) Kijjukire nti mu kiseera ekyo Yakuwa yali tagaana musajja kuwasa mukazi asukka mu omu. N’olwekyo Yobu yali asobola okusalawo okufuna omukazi omulala. * Naye Yobu yasalawo okugoberera enteekateeka y’obufumbo Yakuwa gye yassaawo mu lusuku Edeni, era ekyo n’akitwala ng’etteeka gy’ali. (Lub. 2:18, 24) Nga wayise emyaka nga 1,600, Yesu Kristo yalagira abagoberezi be okukolera ku mutindo ogwo gwe gumu bwe kituuka ku bufumbo ne ku kwegatta.​—Mat. 5:28; 19:4, 5.

20. Okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa n’emitindo gye kutuyamba kutya okulonda emikwano emirungi n’eby’okwesanyusaamu ebisaana?

20 Engeri gy’oyinza okuba n’okukkiriza ng’okwa Yobu. Tulina okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa n’okukolera ku kumanya okwo mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yagamba nti, Yakuwa “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe,” era Dawudi yakiraga nti kya kabi okukolagana ‘n’abantu balimba.’ (Soma Zabbuli 11:5; 26:4.) Ebyawandiikibwa ebyo bikuyamba bitya okumanya endowooza ya Katonda? Endowooza eyo yandikutte etya ku ebyo by’okulembeza mu bulamu, ku ngeri gy’okozesaamu Intaneeti, ku mikwano gy’olonda, ne ku ngeri gye weesanyusaamu? Engeri gy’oddamu ebibuuzo ebyo esobola okukuyamba okumanya oba nga ddala omanyi Yakuwa. Okusobola okusigala nga tetuliiko kya kunenyezebwa mu nsi eno embi, tulina okutendeka ‘obusobozi bwaffe obw’okutegeera’ tusobole okwawulawo ekituufu ku kikyamu, n’eky’amagezi ku kitali kya magezi.​—Beb. 5:14; Bef. 5:15.

21. Kiki ekinaatusobozesa “okutegeera ebintu byonna” bye twetaaga okusobola okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu?

21 Olw’okuba Nuuwa, Danyeri, ne Yobu baanoonya Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, baamuzuula. Yabayamba “okutegeera ebintu byonna” ebyetaagisa okusobola okumusanyusa. Bwe kityo bassaawo ekyokulabirako ekirungi, era obulamu bwabwe bwali bwa makulu. (Zab. 1:1-3) Weebuuze, ‘Mmanyi Yakuwa nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu bwe baali bamumanyi?’ Eky’essanyu kiri nti, olw’okuba okumanya kweyongedde nnyo, osobola okumanya Yakuwa n’okusinga bwe baali bamumanyi. (Nge. 4:18) N’olwekyo, fuba okumanya ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda, bifumiitirizeeko, era saba Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okusemberera kitaawo ow’omu ggulu, era ojja kusobola okweyisa mu ngeri ey’amagezi mu nsi eno embi.​—Nge. 2:4-7.

^ lup. 5 Enoka, jjajja wa Nuuwa naye “yatambulanga ne Katonda ow’amazima.” Kyokka yafa ng’ebula emyaka nga 69 Nuuwa azaalibwe.​—Lub. 5:23, 24.

^ lup. 19 Ne Nuuwa bw’atyo bwe yali. Yalina omukazi omu yekka, wadde ng’abantu baali baatandika dda okuwasa abakazi abasukka mu omu nga wayise ekiseera kitono bukya obujeemu obwali mu Edeni bubaawo.​—Lub. 4:19.