Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weeyongere Okukula mu by’Omwoyo!

Weeyongere Okukula mu by’Omwoyo!

“Mutambulirenga mu mwoyo.”​—BAG. 5:16.

ENNYIMBA: 22, 75

1, 2. Kiki ow’oluganda omu kye yazuula ekyali kimubulako, era kiki kye yakolawo?

ROBERT yabatizibwa nga mutiini, naye amazima yali tagatwala ng’ekikulu. Agamba nti: “Nnali sirina kikyamu kye nkola, naye byonna bye nnakolanga mu kuweereza Yakuwa nnali mbikola kutuukiriza butuukiriza luwalo. Nnali ndabika ng’omuntu omunywevu mu by’omwoyo, nga mbeerawo mu nkuŋŋaana zonna era ng’oluusi n’oluusi mpeereza nga payoniya omuwagizi. Naye waliwo ekyali kimbulako.”

2 Robert yali tamanyi kyali kimubulako okutuusa lwe yawasa. Ye ne mukyala we baafunangayo akadde ne beebuuza ebibuuzo ebikwata ku bintu ebiri mu Bayibuli. Olw’okuba mukyala we yali munywevu mu by’omwoyo teyafunanga buzibu kuddamu bibuuzo ebyo, naye ye Robert emirundi mingi teyamanyanga kya kuddamu era yawuliranga obuswavu. Agamba nti: “Nnali ng’atalina kye mmanyi. Era muli nnagamba nti, ‘Bwe mba ow’okukulembera mukyala wange mu by’omwoyo, nnina okubaako kye nkolawo.’” Robert alina kye yakolawo. Agamba nti: “Nnafuba okwesomesa Bayibuli n’okunoonyereza era mpolampola nnatandika okutegeera obulungi amazima. N’ekisinga obukulu, enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongera okunywera.”

3. (a) Kiki kye tuyigira ku Robert? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Waliwo kye tuyinza okuyigira ku Robert. Tuyinza okuba nga tulina ebintu bye tumanyi mu Bayibuli era nga tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa; naye ebintu ebyo ku bwabyo tebitufuula kuba bantu ba bya mwoyo. Oba tuyinza okuba nga tulina we tutuuse mu by’omwoyo, naye bwe twekebera tuyinza okukiraba nti waliwo we twetaaga okulongoosaamu okusobola okwongera okuba abantu ab’eby’omwoyo. (Baf. 3:16) Okusobola okutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okwongera okukula mu by’omwoyo, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: (1) Kiki ekinaatuyamba okumanya we tutuuse mu by’omwoyo? (2) Tuyinza tutya okweyongera okunywera mu by’omwoyo? (3) Okuba abanywevu mu by’omwoyo kiyinza kitya okutuyamba mu bulamu bwaffe obwa bulijjo?

OKWEKEBERA

4. Okubuulirira okuli mu Abeefeso 4:23, 24 kukwata ku baani?

4 Bwe twafuuka abaweereza ba Yakuwa, waliwo enkyukakyuka ze twakola. Enkyukakyuka ezo zaakwata ku mbeera z’obulamu bwaffe zonna. Naye ne bwe twamala okubatizibwa twali tukyalina okwongera okukola enkyukakyuka. Bayibuli egamba nti: ‘Mweyongere okufuulibwa abaggya mu ndowooza yammwe.’ (Bef. 4:23, 24) Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna twetaaga okweyongera okukola enkyukakyuka. N’abo abamaze ebbanga eddene nga baweereza Yakuwa, balina okufuba okweyongera okusigala nga banywevu mu by’omwoyo.​—Baf. 3:12, 13.

5. Bibuuzo ki ebisobola okutuyamba okwekebera?

5 Okusobola okwongera okunywera n’okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo tulina okwekebera mu bwesimbu. Ka tube bato oba bakulu ffenna tusaanidde okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Nkiraba nti waliwo enkyukakyuka ze nkoze eziraga nti ŋŋenda nneeyongera okufuuka omuntu ow’eby’omwoyo? Nfubye okukoppa Kristo? Endowooza gye nnina ku nkuŋŋaana n’engeri gye nneeyisaamu nga nzize mu nkuŋŋaana ekiraga nti nkuze mu by’omwoyo? Emboozi ze nnyumya ziraga nti kiki kye nsinga okwagala? Engeri gye nneesomesaamu, gye nnyambalamu, ne gye ntwalamu okuwabula kwe bampa eraga nti ndi muntu wa ngeri ki? Nneeyisa ntya nga njolekaganye n’ebikemo? Nfubye okukula ne mba nga sikoma ku kumanya bumanya njigiriza zisookerwako?’ (Bef. 4:13) Bwe tufumiitiriza ku ngeri gye tuddamu ebibuuzo ebyo kituyamba okumanya wa we tutuuse mu kukula mu by’omwoyo.

6. Kiki ekirala ekisobola okutuyamba okumanya embeera yaffe ey’eby’omwoyo?

6 Okusobola okumanya embeera yaffe ey’eby’omwoyo, oluusi tuyinza okwetaaga abalala okutuyamba. Omutume Pawulo yagamba nti omuntu ow’omubiri aba takimanyi nti engeri gye yeeyisaamu tesanyusa Katonda. Naye omuntu ow’omwoyo aba amanyi endowooza Katonda gy’alina ku bintu ebitali bimu era aba amanyi nti ekkubo ly’omuntu ow’omubiri kkyamu. (1 Kol. 2:14-16; 3:1-3) Abakadde abalina endowooza ya Kristo batera okulaba amangu obubonero obulaga nti omuntu alina endowooza enkyamu. Singa abakadde batugamba okubaako we tutereeza, tufuba okukolera ku bye batugamba? Bwe tukolera ku bye batugamba, kiba kiraga nti twagala okwongera okukula mu by’omwoyo.​—Mub. 7:5, 9.

FUBA OKUKULA MU BY’OMWOYO

7. Lwaki okumanya ebyo ebiri mu Bayibuli si kye kyokka ekifuula omuntu okuba ow’eby’omwoyo?

7 Ate era kikulu okukijjukira nti omuntu okuba ng’amanyi ebyo ebiri mu Bayibuli si kye kyokka ekimufuula okuba ow’eby’omwoyo. Kabaka Sulemaani yali amanyi bingi ebikwata ku Yakuwa. Ebimu ku bintu bye yayogera byawandiikibwa mu Bayibuli. Naye yalemererwa okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. (1 Bassek. 4:29, 30; 11:4-6) N’olwekyo, ng’oggyeeko okumanya ebyo ebiri mu Bayibuli, kiki ekirala kye tulina okukola? Tulina okweyongera okukula mu by’omwoyo. (Bak. 2:6, 7) Ekyo tukikola tutya?

8, 9. (a) Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo? (b) Twandibadde na kigendererwa ki nga tusaba era nga tufumiitiriza? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)

8 Pawulo yakubiriza Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ‘okufuba okukula’ mu by’omwoyo. (Beb. 6:1) Biki ebiyinza okutuyamba leero okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okwo? Ekimu ku bintu bye tuyinza okukola kwe kusoma akatabo Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda.” Okusoma akatabo ako n’okamalako kikuyamba okumanya engeri gy’oyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwo. Bw’oba nga wasoma akatabo ako n’okamalako, osobola okusoma ebitabo ebirala ebisobola okukuyamba okunywerera mu kukkiriza? (Bak. 1:23) Ofuba okufumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’osoma?

9 Bwe tuba tusoma era nga tufumiitiriza twandibadde n’ekigendererwa eky’okwagala okusanyusa Yakuwa n’okugondera amateeka ge. (Zab. 40:8; 119:97) Ate era tusaanidde okufuba okwewala okukola ekintu kyonna ekisobola okutulemesa okukula mu by’omwoyo.​—Tit. 2:11, 12.

10. Kiki abavubuka kye basaanidde okukola okusobola okuba abanywevu mu by’omwoyo?

10 Bw’oba oli muvubuka, olina ebiruubirirwa eby’omwoyo bye weeteereddewo? Ku nkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu, ow’oluganda omu aweereza ku Beseri atera okwogerako n’abo ababa bagenda okubatizibwa nga programu tennatandika. Bangi ku abo ababa bagenda okubatizibwa baba bavubuka. Ow’oluganda oyo ababuuza ebiruubirirwa bye baba beeteereddewo. Ebyo abavubuka bangi bye baddamu biraga nti bamanyi bulungi ebintu bye baagala okukola mu buweereza bwa Yakuwa, nga mu bino mwe muli okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, oba okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako. Naye abavubuka abamu baba tebalina kiruubirirwa kyonna kye beetereddewo. Ekyo kyandiba nga kiraga nti muli bawulira nti tebeetaaga kuba na kiruubirirwa kyonna kya bya mwoyo? Bw’oba oli muvubuka, weebuuze: ‘Nneenyigira mu bintu eby’omwoyo olw’okuba ekyo bazadde bange kye bansuubiramu? Nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda?’ Kya lwatu nti abavubuka bokka si be balina okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo. Okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo ffenna kituyamba okwongera okuba abanywevu mu by’omwoyo.​—Mub. 12:1, 13.

11. (a) Okusobola okukula mu by’omwoyo, kiki kye tusaanidde okukola? (b) Muntu ki ayogerwako mu Bayibuli gwe tusaanidde okukoppa?

11 Bwe tulaba we twetaaga okulongoosaamu tulina okubaako kye tukolawo tusobole okwongera okukula mu by’omwoyo. Kikulu nnyo okubeera abantu ab’eby’omwoyo. Mu butuufu, okubeera abantu ab’eby’omwoyo nsonga ekwata ku bulamu bwaffe. (Bar. 8:6-8) Naye omuntu okuba omukulu mu by’omwoyo tekitegeeza nti aba atuukiridde. Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okutuyamba okukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa. Wadde kiri kityo, ffe ffennyini tulina okufuba ennyo. Bwe yali ayogera ku Lukka 13:24, Ow’oluganda John Barr, eyali aweereza ku Kakiiko Akafuzi, yagamba nti: “Bangi balemererwa okuba abantu ab’eby’omwoyo olw’okuba tebafuba kukula mu bya mwoyo.” Tusaanidde okuba nga Yakobo, ataalekayo kumeggana na Malayika okutuusa lwe yafuna omukisa. (Lub. 32:26-28) Wadde nga Bayibuli enyuma okusoma, tetusaanidde kugitwala ng’ekitabo ky’engero ekyawandiikibwa okuba nga kinyuma bunyumi okusoma. Bwe tuba tugisoma tulina okufuba okunoonya ebintu ebinaatuyamba okwongera okukula.

12, 13. (a) Kiki ekinaatuyamba okukolera ku Abaruumi 15:5? (b) Ekyokulabirako omutume Peetero kye yassaawo n’okubuulirira kwe yawa biyinza bitya okutuyamba? (c) Oyinza otya okwongera okukula mu by’omwoyo? (Laba akasanduuko “ By’Oyinza Okukola Okwongera Okukula mu by’Omwoyo.”)

12 Bwe tuba tufuba okukula mu by’omwoyo, omwoyo omutukuvu gutuyamba okukyusa endowooza yaffe. Mpolampola gutuyamba okuba n’endowooza ng’eya Kristo. (Bar. 15:5) Ate era gutuyamba okweggyamu okwegomba kw’omubiri ne tukulaakulanya engeri ezisanyusa Katonda. (Bag. 5:16, 22, 23) Bwe twesanga nga tutandise okumalira ebirowoozo byaffe ku kwefunira ebintu oba ku kwegomba kw’omubiri, tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Tusaanidde okweyongera okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okukyusa ebirowoozo byaffe tubisse ku bintu ebirungi. (Luk. 11:13) Lowooza ku mutume Peetero. Enfunda eziwerako teyeeyisa ng’omuntu ow’eby’omwoyo. (Mat. 16:22, 23; Luk. 22:34, 54-62; Bag. 2:11-14) Naye teyaggwaamu maanyi. Mpolampola Yakuwa yamuyamba okufuna endowooza ya Kristo. Naffe asobola okutuyamba.

13 Peetero yalaga ebintu bye tusaanidde okukola. (Soma 2 Peetero 1:5-8.) Bwe ‘tufuba ennyo’ okukulaakulanya engeri ng’okwefuga, obugumiikiriza, n’okwagala ab’oluganda, kituyamba okwongera okukula mu by’omwoyo. Buli lunaku tusaanidde okwebuuza nti, ‛Kiki kye nsaanidde okukolako olwa leero okusobola okwongera okukula mu by’omwoyo?’

OKUKOLERA KU MISINGI GYA BAYIBULI MU BULAMU BWAFFE

14. Okuba abantu abakulu mu by’omwoyo kinaakwata kitya ku bulamu bwaffe?

14 Okuba n’endowooza ng’eya Kristo kirina kye kikola ku ngeri gye twogeramu, gye tweyisaamu ku mulimu oba ku ssomero, ne ku ebyo bye tusalawo buli lunaku. Ebyo bye tusalawo biraga obanga tufuba okubeera abagoberezi ba Kristo. Bwe tuba abantu ab’eby’omwoyo, tetujja kukkiriza kintu kyonna kwonoona nkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu. Bwe twolekagana n’ebikemo, tetujja kutwalirizibwa kubanga tuba tulina endowooza ng’eya Kristo. Bwe tubaako ne kye tusalawo, tujja kwebuuza ebibuuzo nga bino: ‛Misingi ki egya Bayibuli eginannyamba okusalawo obulungi? Kiki Kristo kye yandikoze mu mbeera ng’eno? Ekyo kye ŋŋenda okusalawo kinaasanyusa Yakuwa?’ Tusaanidde okwemanyiiza okulowooza ku bibuuzo ng’ebyo. Kati ka tulabeyo ezimu ku mbeera ze twolekagana nazo mu bulamu era mu buli mbeera tujja kulaba omusingi gwa Bayibuli oguyinza okutuyamba okusalawo obulungi.

15, 16. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri okuba n’endowooza ya Kristo gye kituyamba (a) nga tulonda ow’okufumbiriganwa naye. (b) nga tulonda emikwano.

15 Okulonda ow’okufumbiriganwa naye. Lowooza ku musingi oguli mu 2 Abakkolinso 6:14, 15. (Soma.) Ebigambo bya Pawulo biraga nti omuntu ow’eby’omwoyo tasobola kukwatagana bulungi na muntu wa mubiri. Omusingi ogwo gusobola gutya okuyamba omuntu ng’alonda ow’okufumbiriganwa naye?

16 Emikwano. Lowooza ku musingi oguli mu 1 Abakkolinso 15:33. (Soma.) Omuntu atya Katonda yeewala okukola omukwano n’abantu abayinza okwonoona enkolagana ye ne Katonda. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku musingi guno mu mbeera ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, guyinza gutya okukuyamba bwe kituuka ku kuwuliziganya n’abantu ku Intaneeti? Kiki kye wandikoze singa omuntu gw’otamanyi akugamba okuzannya naye omuzannyo ku Intaneeti?

Ebyo bye nsalawo binannyamba okukula mu by’omwoyo, okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, n’okuleetawo “emirembe”? (Laba akatundu 17)

17-19. Okuba omuntu ow’eby’omwoyo kisobola kitya okukuyamba (a) okwewala okuluubirira ebintu ebitagasa? (b) okweteerawo ebiruubirirwa? (c) ng’ofunye obutategeeragana?

17 Ebintu ebitulemesa okukula mu by’omwoyo. Ebigambo Pawulo bye yawandiikira Bakristaayo banne birimu okulabula. (Soma Abebbulaniya 6:1.) “Ebikolwa ebifu” bye tulina okwewala bye biruwa? Bye bintu ebitagasa era ebitatuyamba kukula mu by’omwoyo. Omusingi guno gusobola okutuyamba okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino: ‘Ekintu kino kingasa oba tekingasa? Nneenyigire mu bizineesi eno? Nneegatte ku bibiina by’abantu abaagala okuleetawo enkyukakyuka mu nsi?’

Ebyo bye nsalawo binannyamba okukula mu by’omwoyo, okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, n’okuleetawo “emirembe”? (Laba akatundu 18)

18 Ebiruubirirwa eby’omwoyo. Ebyo Yesu bye yayogera mu kubuulira kwe okw’oku Lusozi bituyamba nga tweteerawo ebiruubirirwa. (Mat. 6:33) Omuntu ow’eby’omwoyo yeeteerawo ebiruubirirwa ebimuyamba okunyweza enkolagana ye ne Katonda. Okukuumira omusingi ogwo mu birowoozo kituyamba okuddamu ebibuuzo nga bino: ‘Ŋŋende ku yunivasite? Nzikirize omulimu guno?’

Ebyo bye nsalawo binannyamba okukula mu by’omwoyo, okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, n’okuleetawo “emirembe”? (Laba akatundu 19)

19 Obutategeeragana. Okubuulirira omutume Pawulo kwe yawa Abakristaayo mu Rooma kuyinza kutya okutuyamba nga tufunye obutategeeragana n’abalala? (Bar. 12:18) Abagoberezi ba Kristo tufuba “okuba mu mirembe n’abantu bonna.” Tweyisa tutya nga tufunye obutategeeragana n’abalala? Kituzibuwalira okutabagana n’abalala, oba tufuba ‘okuleetawo emirembe’?​—Yak. 3:18.

20. Lwaki oli mumalirivu okwongera okukula mu by’omwoyo?

20 Ebyo bye bimu ku byokulabirako ebiraga engeri okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli gye kituyamba okusalawo mu ngeri eraga nti tuli bantu ba bya mwoyo. Okuba abantu ab’eby’omwoyo kituyamba okufuna essanyu mu bulamu. Robert, eyayogeddwako ku ntandikwa agamba nti: “Okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa kyannyamba okuba omwami era taata omulungi. Nneeyongera okufuna essanyu.” Naffe tusobola okufuna emiganyulo ng’egyo singa tufuba okukula mu by’omwoyo. Bwe tuba abantu abakulu mu by’omwoyo kituyamba okuba abasanyufu kati era kijja kutuyamba okufuna “obulamu obwa nnamaddala” obugenda okujja.​—1 Tim. 6:19.