Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ETTEREKERO LYAFFE

Emboozi za Bonna Zaayamba mu Kubunyisa Amawulire Amalungi mu Ireland

Emboozi za Bonna Zaayamba mu Kubunyisa Amawulire Amalungi mu Ireland

ERYATO bwe lyali linaatera okugoba ku mwalo gw’e Belfast Lough, abasaabaze abatono abaaliko baalengera ensozi ezirabika obulungi enjuba ze yali ekubyemu. Obudde bwali bwa ku makya mu Maayi 1910. Omu ku basaabaze abo, Charles T. Russell, ogwo gwe gwali omulundi gwe ogw’okutaano okugenda mu Ireland. Okumpi awo ku mwalo waaliwo emmeeri bbiri ennene ezaali zizimbibwa, emu yali eyitibwa Titanic ate ng’endala eyitibwa Olympic. * Era ku mwalo ogwo kwaliko Abayizi ba Bayibuli abawerako abaali balindiridde Ow’oluganda Russell.

Emyaka 20 emabega, Ow’oluganda Russell, eyali abeera mu Amerika yali yasalawo okutandika okugenda ne mu nsi endala okubunyisa amawulire amalungi. Yatandikira mu Ireland, mu Jjulaayi 1891. Ng’ali ku mmeeri eyali eyitibwa City of Chicago, Russell yalengera omwalo gw’e Queenstown, era ekyo kiteekwa okuba nga kyamujjukiza ebyo bazadde be bye baayogeranga ku nsi ya Ireland gye baava. Russell ne banne bwe baali bayita mu bubuga ne mu byalo ebitali bimu, baakiraba nti ennimiro “zaali zituuse okukungulwa.”

Ow’oluganda Russell yagenda mu Ireland emirundi musanvu. Abantu baakwatibwako nnyo ku mulundi gwe yasooka okugenda mu Ireland ne kiba nti bwe yaddayo ku mirundi emirala, bangi baakuŋŋananga okumuwuliriza. We yaddirayo, ku mulundi ogw’okubiri, mu Maayi 1903, enkuŋŋaana ze yabanga agenda okukuba mu Belfast ne Dublin zaalangibwanga mu mpapula z’amawulire. Russell yagamba nti “abantu bassaayo nnyo omwoyo” ku mboozi gye yawa eyalina omutwe “Ekisuubizo Ekinywezebwa endagaano.” Emboozi eyo yali ekwata ku kukkiriza kwa Ibulayimu n’emikisa abantu gye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso.

Olw’okuba abantu bangi mu Ireland baali baagala nnyo okuwulira amawulire amalungi, Russell bwe yali ku lugendo lwe olw’okusatu olw’omu Bulaaya, yasalawo okugendako ne mu Ireland. Bwe yatuuka ku mwalo gw’e Belfast ku makya mu Apuli 1908 ab’oluganda bataano be baaliwo okumwaniriza. Abantu nga 300 be baaliwo akawungeezi k’olunaku olwo okuwuliriza emboozi eyalina omutwe ogugamba nti “Okugwa kw’Obwakabaka bwa Sitaani.” Mu bantu abo mwalimu omusajja eyagezaako okuwakanya ebyo Russell bye yali ayogera, naye n’amusirisa mu bwangu ng’akozesa Ebyawandiikibwa. Mu Dublin, omusajja omu eyali ayitibwa O’Connor eyali omuwandiisi w’ekibiina kya YMCA, yajja ku lukuŋŋaana Russell lwe yali akubye n’agezaako okuleetera abantu abaali basoba 1,000 abaaliwo obutawuliriza bayizi ba Bayibuli. Biki ebyaddirira?

Ka tugezeeko okukuba akafaananyi ku ebyo ebyaliwo ku olwo. Omusajja omu ayagala okumanya amazima agali mu Bayibuli asalawo okujja ku lukuŋŋaana okuwuliriza emboozi ya bonna gye baalanze mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa The Irish Times. Kata omusajja oyo abulwe aw’okutuula mu kisenge ekikubyeko abantu. Omusajja oyo assaayo nnyo omwoyo ng’omwogezi alina ekirevu ekyeru n’ekkooti empanvu ayogera eri abantu. Omwogezi awa emboozi nga bw’atambulatambula ku siteegi era ng’akozesa ebitundu bye eby’omubiri era ng’annyonnyola bulungi Ebyawandiikibwa, bw’atyo n’ayamba omusajja oyo okumanya amazima agali mu Bayibuli. Wadde nga tewaliiwo byuma bya maloboozi, bonna abaliwo bawulira bulungi omwogezi by’ayogera era bassaayo omwoyo okumala essaawa emu n’ekitundu. Ekitundu eky’okubuuza ebibuuzo n’okuddamu bwe kituuka, O’Connor ne banne batandika okuwakanya omwogezi naye n’akozesa Bayibuli okubaddamu. Abantu baleekaana era ne bakuba mu ngalo ng’addamu ebibuuzo by’abamuwakanya. Abantu bwe bakkakkana, omusajja oli atuukirira ab’oluganda ng’ayagala okumanya ebisingawo. Okusinziira ku ebyo abaaliwo bye bagamba, bangi abaayiga amazima mu ngeri eyo.

Mu Maayi 1909 Ow’oluganda Russell yalinnya emmeeri eyitibwa Mauretania okuva mu New York okugenda mu Ireland omulundi ogw’okuna, era ku olwo yagenda n’Ow’oluganda Huntsinger eyali omuwandiisi, asobole okumukozesa nga bali ku lugendo okuwandiika ebyo ebyali bigenda okufulumira mu Watch Tower. Abantu 450 be baaliwo mu Belfast okuwuliriza emboozi y’Ow’oluganda Russell era 100 ku bo baayimirira buyimirizi nga tebalina we batuula.

Ow’oluganda C. T. Russell ng’ali ku mmeeri Lusitania

Olugendo lwe olw’okutaano olwogerwako ku ntandikwa y’ekitundu kino nalwo lwali ng’eŋŋendo ezaasooka. Oluvannyuma lw’emboozi Russell gye yawa mu Dublin, munnaddiini omu omututumufu eyaleetebwa O’Connor yabuuza Russell ebibuuzo naye n’amuddamu ng’akozesa Ebyawandiikibwa, era ekyo kyasanyusa nnyo abaaliwo. Ku lunaku olwaddako Russell ne banne baalinnya eryato eritwala amabaluwa eyali lidduka ku sipiidi ne bagenda e Liverpool oluvannyuma ne balinnya eryato eriyitibwa Lusitania ne baddayo mu New York. *

Olupapula lw’amawulire oluyitibwa The Irish Times, nga lulanga emboozi ya bonna nga Maayi 20, 1910

Emboozi Ow’oluganda Russell ze yawa mu 1911 ku lugendo lwe olw’omukaaga n’olw’omusanvu nazo zaasooka kulangirirwa. Mu ttoggo w’omwaka ogwo, Abayizi ba Bayibuli 20 abaali mu Belfast baategeka olukuŋŋaana olwaliko abantu 2,000, ne bawuliriza emboozi eyalina omutwe “Oluvannyuma lwa bino.” Bwe baali mu Dublin, O’Connor era yajja ne munnaddiini omulala eyabuuza ebibuuzo n’addibwamu, ekyo ne kisanyusa nnyo abantu. Mu ddumbi w’omwaka ogwo, Abayizi ba Bayibuli baakyalira obubuga obulala era abantu bangi baakuŋŋaana okubawuliriza. O’Connor ne banne abalala 100 era baagezaako okukyankalanya olukuŋŋaana olwali e Dublin naye abantu ne babalemesa.

Wadde ng’Ow’oluganda Russell yatwalanga obukulembeze mu kuwa emboozi mu kiseera ekyo, yali akimanyi nti “tewali muntu yeemalirira,” kubanga “omulimu guno si gwa bantu, wabula gwa Katonda.” Emboozi ezaalangibwanga zaayamba abantu bangi okuyiga amazima. Biki ebyavaamu? Emboozi ezo zaayamba mu kubunyisa amawulire amalungi, era ebibiina ebitali bimu byatandikibwawo mu Ireland.​—Okuva mu tterekero lyaffe mu Bungereza.

^ lup. 3 Mu myaka ebiri gyokka emmeeri Titanic yabbira.

^ lup. 9 Lusitania yakubwa bbomu okumpi n’olubalama lw’ebukiikaddyo bwa Ireland mu Maayi 1915.