Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnazaalibwa mu Bwavu Naye Kati Ndi Mugagga

Nnazaalibwa mu Bwavu Naye Kati Ndi Mugagga

Nnazaalibwa mu kabuga akayitibwa Liberty mu ssaza ly’e Indiana mu Amerika. Twali tubeera mu kayumba ak’embaawo nga ka kisenge kimu. Baatuzaala abaana musanvu era nze nnali ow’okuna.

Akayumba ak’embaawo mwe nnazaalibwa

MU MYAKA gye nnamala mu ssomero, tewaaliwo nnyo nkyukakyuka. Mu ssomero mwe nnasomera, abaana be nnatandika nabo okusoma ekibiina ekisooka era be bamu be nnamala nabo okusoma. Mu butuufu, mu kabuga kaffe kumpi buli muntu yali amanyi erinnya lya munne.

Nze omu ku baana omusanvu bazadde bange be baazaala, era nnayiga bingi ebikwata ku kulima nga nkyali muvubuka

Akabuga Liberty kaali keetooloddwa faamu, era kasooli ye yasinganga okulimibwa ku faamu ezo. We banzaalira, taata yali akola ku emu ku faamu ezo. Bwe nnali omutiini, nnayiga okuvuga tulakita era nnayiga n’ebintu ebirala bingi ebikwata ku kulima.

Taata we yanzaalira yali akuze. Yalina emyaka 56 ate nga maama alina emyaka 35. Taata yali musajja mutono, nga mulamu bulungi, era ng’alina amaanyi. Yali ayagala nnyo okukola era naffe yatuyigiriza okuba abakozi. Teyafunanga ssente nnyingi, naye yasobolanga okutufunira aw’okusula, eby’okwambala, n’eby’okulya, era yatuwanga obudde. Taata we yafiira yalina emyaka 93, ate ye maama we yafiira yalina emyaka 86. Naye bombi tebaali baweereza ba Yakuwa. Ku baganda bange, omu yekka ye yafuuka omuweereza wa Yakuwa era abadde aweereza ng’omukadde okuva mu 1972.

EMYAKA GYANGE EGY’OBUTO

Maama yali ayagala nnyo eddiini. Yatutwalanga mu kkanisa buli lwa Ssande. Nnasooka okuwulira ekigambo Tiriniti nga nnina emyaka 12. Nnabuuza maama nti: “Yesu ayinza atya okuba nga ye Mwana ate nga mu kiseera kye kimu ye Taata?” Maama yanziramu nti: “Mwana wange, ekyo tekitegeerekeka. Tetulina kukitegeera.” Mu butuufu nga bwe yagamba, kyali tekitegeerekeka. Wadde kyali kityo, bwe nnali wa myaka nga 14, bambatiriza mu kagga akamu ak’omu kitundu kyaffe, era bannyinyika emirundi esatu okutuukana n’obusatu obwogerwako mu njigiriza ya Tiriniti!

1952—Nga nnina emyaka 17, nga sinnayingizibwa mu magye

Bwe nnali nsoma siniya, nnalina mukwano gwange eyali omukubi w’ebikonde, era yankubiriza okuyingira mu muzannyo gw’ebikonde. Nnatandika okutendekebwa era nneegatta ku ttiimu y’ebikonde eyitibwa Golden Gloves. Saali mukubi wa bikonde mulungi era oluvannyuma lw’ekiseera kitono nnabivaamu. Oluvannyuma, nnayingizibwa mu ggye ly’Amerika era ne bansindika mu Bugirimaani. Bwe nnali eyo, bakama bange bansindika mu ttendekero erimu ery’abajaasi nga balowooza nti nnalina ekitonde eky’okukulembera abalala. Baali baagala nneemalire ku mulimu gw’amagye. Kyokka saalina kiruubirirwa kya kubeera mu magye bbanga ddene, era oluvannyuma lw’emyaka ebiri nnagavaamu mu 1956. Naye waayita ekiseera kitono ne nnyingira eggye eddala ery’enjawulo ennyo.

1954-1956—Nnamala emyaka ebiri mu ggye ly’Amerika

NTANDIKA OBULAMU OBULALA

Mu kiseera ekyo nnali nneenyumiririza nnyo mu kuba omusajja. Ebyo bye nnalabanga mu firimu ne mu mbeera eza bulijjo byandeetera okuba n’endowooza enkyamu ku ngeri omusajja gy’alina okuba. Okusinziira ku ndowooza yange, abasajja ababuulizi b’enjiri tebaali basajja ba nnamaddala. Naye nnatandika okuyiga ebintu ebyakyusa obulamu bwange. Lumu bwe nnali nvuga emmotoka yange nga mpita mu kabuga kaffe, abawala babiri bannyimiriza. Abawala abo nnali mbamanyi: baali bannyina b’omusajja eyawasa mwannyinaze omukulu. Abawala abo baali Bajulirwa ba Yakuwa. Baali bampaako magazini ya Watchtower ne Awake! naye Watchtower teyanyanguyira kutegeera. Kyokka ku luno bampita okubaawo mu lukuŋŋaana olw’okusoma ekitabo, olwali lubeera awaka waabwe. Nnabagamba nti nnali nja kukirowoozaako. Baŋŋamba nga bwe bamwenya nti: “Tusuubize nti ojja kujja?” Nnabasuubiza nti: “Nja kujja.”

Nnejjusa okuba nti nnali mbasuubizza okugenda, naye nnali sikyasobola kukikyusa. Bwe kityo, ku olwo akawungeezi nnagenda mu lukuŋŋaana. Abaana be baasinga okunneewuunyisa. Baali bamanyi ebintu bingi mu Bayibuli! Wadde nga nnamala ekiseera kiwanvu nga ŋŋenda ne maama okusaba buli lwa Ssande, nnali mmanyi bitono nnyo mu Bayibuli. Kyokka kati nnali mmaliridde okuyiga ebisingawo. Nnakkiriza okuyiga Bayibuli. Mu kiseera kitono nnayiga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Emyaka mingi emabega, nnali nnabuuza maama ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa era n’anziramu nti, “Balina omusajja omukadde gwe basinza ayitibwa Yakuwa.” Kyokka kati nnali ntandise okuzibuka amaaso!

Nnakulaakulana mangu olw’okuba nnali nkirabye nti nnali nzudde amazima. Nga wayise emyezi mwenda bukya nsisinkana abawala bali, nnabatizibwa mu Maaki 1957. Endowooza yange yakyuka nnyo. Bwe nfumiitiriza ku ndowooza gye nnalina ku ngeri omusajja yennyini bw’alina okuba, ndi musanyufu nnyo okuba nti nnayiga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Yesu yali musajja atuukiridde. Yalina amaanyi mangi ne kiba nti tewali musajja n’omu yali asobola kumuwunyamu. Naye Yesu teyalwananga, wabula “yakkiriza okubonyaabonyezebwa,” nga bwe kyali kiraguddwa. (Is. 53:2, 7) Nnayiga nti omugoberezi wa Yesu ow’amazima “alina okuba omukkakkamu eri bonna.”​—2 Tim. 2:24.

Nnatandika okuweereza nga payoniya mu 1958. Naye nnalina okulekera awo okuweereza nga payoniya okumala ekiseera kitono. Lwaki? Nnali nsazeewo okuwasa. Nnali ŋŋenda kuwasa Gloria, omu ku bawala bali ababiri abampita okugenda mu lukuŋŋaana! Sejjusangako kumuwasa. Mu kiseera ekyo Gloria yali ng’ejjinja ery’omuwendo, era ne leero bw’atyo bw’ali. Gye ndi, wa muwendo nnyo n’okusinga alimansi. Kati Gloria k’ababuulireko katono ebimukwatako:

“Baatuzaala abaana 17. Maama wange yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa. Yafa nga ndi wa myaka 14. Bwe yafa, taata yatandika okuyiga Bayibuli. Olw’okuba kati maama yali takyaliwo, taata yagenda n’abaako enteekateeka gy’akola n’omukulu w’essomero. Muganda wange omukulu yali anaatera okumaliriza siniya, era taata yasaba omukulu w’essomero atukkirize nze ne mukulu wange oyo okugendanga ku ssomero mu mpalo. Omu ku ffe bwe yagendanga ku ssomero, ng’omulala asigala awaka okulabirira baganda baffe abato n’okufumba emmere, taata w’akomerawo okuva okukola asange ng’eyidde. Omukulu w’essomero yakkiriza, era twakola tutyo okutuusa mukulu wange bwe yamaliriza okusoma siniya. Amaka g’Abajulirwa ba Yakuwa ga mirundi ebiri gaasoma naffe Bayibuli era 11 ku ffe abaana twafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. Nnanyumirwanga nnyo omulimu gw’okubuulira wadde nga nnalina ensonyi nnyingi. Naye Sam annyambye okwaŋŋanga ekizibu ekyo.”

Nze ne Gloria twafumbiriganwa mu Febwali 1959. Twanyumirwa nnyo okuweerereza awamu nga bapayoniya. Mu Jjulaayi w’omwaka ogwo, twasaba okugenda okuweereza ku Beseri kubanga twali twagala nnyo okuweereza ku kitebe ekikulu. Ow’oluganda Simon Kraker ye yatubuuza ebibuuzo. Yatugamba nti ku Beseri baali tebakkirizaayo bafumbo. Twasigala twagala okuweereza ku Beseri naye waali wagenda kuyitawo emyaka mingi nnyo nga tetunnayitibwa!

Twawandiikira ekitebe kyaffe ekikulu nga tusaba okusindikibwa awali obwetaavu obusingako. Baatugamba tugende tuweereze mu Pine Bluff mu Arkansas. Mu kiseera ekyo mu Pine Bluff waaliyo ebibiina bibiri byokka, ng’ekimu kya bazungu ate ng’ekirala kya baddugavu. Baatusindika okuweereza mu kibiina ky’abaddugavu ekyalimu ababuulizi nga 14 bokka.

OKWAŊŊANGA EKIZIBU KY’OBUSOSOZE

Oyinza okuba nga weebuuza ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa abazungu baali tebakuŋŋaana wamu na baddugavu. Eky’okuddamu kiri nti ekyo tewaaliwo kya kukikolera mu kiseera ekyo. Amateeka agaali gateereddwawo ab’obuyinza gaali tegakkiriza baddugavu kukuŋŋaana wamu na bazungu, ate era singa baakuŋŋananga wamu baali basobola okutuusibwako obulabe. Mu bitundu bingi, ab’oluganda baatyanga nti singa abaddugavu n’abazungu bakuŋŋaana wamu, kyandiviiriddeko Ebizimbe byabwe by’Obwakabaka okusaanyizibwawo. Era ekyo kyaliwo mu bitundu ebimu. Abajulirwa ba Yakuwa abaddugavu bwe baabuuliranga mu kitundu omuli abazungu, baasibibwanga era oluusi baakubibwanga. N’olwekyo, okusobola okukola omulimu gw’okubuulira, twagondera amateeka nga tulina essuubi nti ekiseera kyandituuse ebintu ne bikyuka.

Okubuulira tekwali kwangu. Bwe twabanga tubuulira mu kitundu ky’abaddugavu, oluusi twesanganga tukonkonye ku nju y’abazungu. Twabanga tulina okusalawo mu bwangu obanga tunaabaako kye tubabuulira okuva mu Bayibuli oba okubeetondera ne tweyongerayo. Bwe kityo bwe kyabanga mu bitundu ebimu mu biseera ebyo.

Twalina okukola ennyo okusobola okweyimirizaawo nga tuweereza nga bapayoniya. Emirimu egisinga obungi gye twakolanga, baatusasulanga ddoola satu olunaku. Gloria yakolanga emirimu egitali gimu mu maka g’abantu. Mu maka agamu banzikiriza okumuyambangako asobole okumala amangu. Ab’omu maka ago baatuwanga ekyemisana. Nze ne Gloria twamalanga kukirya ne tulyoka tugenda. Waliwo amaka Gloria ge yagololeranga engoye buli wiiki, ate nze ne nkola mu luggya era ne njoza n’amadirisa ne nkola n’obulimulimu obulala obwabangawo. Mu maka agamu ag’abazungu twayozanga amadirisa, nga Gloria ayoza ali munda ate nga nze njoza ndi wabweru. Twamalanga olunaku lulamba nga tugooza era baatuwanga eky’emisana. Gloria yaliiranga munda mu nnyumba naye nga tatuula wamu na ba waka, ate nze nnaliiranga mu ggalagi. Naye ekyo saakifangako. Emmere yabanga ewooma nnyo. Ab’omu maka ago tebaali bantu babi. Tebaatukkirizanga kutuula nabo kubanga eyo ye nkola eyaliwo mu kiseera ekyo. Nzijukira lumu twagenda ku ssundiro ly’amafuta. Bwe twamala okunywa amafuta, nnasaba eyali atuwadde amafuta Gloria akozese ku kaabuyonjo yaabwe. Yantunuulira nga musunguwavu n’aŋŋamba nti, “Nsibe.”

EBIKOLWA EBY’EKISA BYE TUTAYINZA KWERABIRA

Ku luuyi olulala, twanyumirwa nnyo okubeera awamu ne baganda baffe era twanyumirwa nnyo omulimu gw’okubuulira! Bwe twali twakatuuka mu Pine Bluff, twasooka kubeera n’ow’oluganda eyali omuweereza w’ekibiina mu kiseera ekyo. Mukyala we teyali mukkiriza era Gloria yatandika okumuyigiriza Bayibuli. Ate nze nnatandika okuyiga ne muwala waabwe awamu n’omwami we. Mukyala w’ow’oluganda oyo awamu ne muwala waabwe oyo baasalawo okuweereza Yakuwa era ne babatizibwa.

Twalina mikwano gyaffe ne mu kibiina eky’abazungu. Oluusi baatuyitanga okuliirako awamu nabo ekijjulo, naye baatuyitanga kiro abantu baleme okutulaba. Mu kiseera ekyo ekibiina ekyali kiyitibwa Ku Klux Klan (KKK), ekyali kitumbula obusosoze mu langi n’ebikolwa eby’obukambwe kyali kya maanyi nnyo. Lumu ekiro nnalaba omusajja eyali atudde ku lubalaza lw’ennyumba ye ng’ayambadde ekyambalo ab’ekibiina kya KKK kye baayambalanga. Naye ab’oluganda tebaatyanga kulaga balala kisa wadde nga waabangawo abantu ng’abo. Lumu twali twetaaga ssente okugenda ku lukuŋŋaana olunene, era ow’oluganda omu n’akkiriza okugula emmotoka yaffe enkadde tusobole okufuna ssente ezo. Kyokka lumu nga wayise omwezi gumu, bwe twakomawo awaka nga tuva okubuulira era nga tukooye, twasanga ekintu ekyatwewuunyisa. Emmotoka yaffe yali esimbye mu maaso g’ennyumba yaffe! Ku ddirisa ly’emmotoka baali bataddeko akabaluwa akaali kagamba nti: “Mbaddizza emmotoka yammwe. Ngibawadde ng’ekirabo. Nze muganda wammwe.”

Waliwo ekikola ekirala eky’ekisa kye sisobola kwerabira. Mu 1962, nnayitibwa mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka eryali ligenda okubeera mu South Lansing, New York. Ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina, abalabirizi b’ebitundu, n’abalabirizi ba disitulikiti baali bagenda kutendekebwa okumala omwezi mulamba. Naye we bampitira, saalina mulimu era twali bubi mu by’enfuna. Kyokka mu kiseera ekyo nnali nkoze yintaviyu mu kampuni y’amasimu ey’omu Pine Bluff. Bwe bandimpadde omulimu, nze nnandibadde omuddugavu eyandisoose okukola mu kampuni eyo. Era nnali ndi awo nga bampadde omulimu. Kati kiki kye nnandikoze? Saalina ssente za kugenda mu New York. Nnalowooza nnyo ku ky’okukkiriza omulimu ogwo, nsazeemu eby’okugenda mu ssomero. Mu butuufu, nnali nteekateeka kuwandiika bbaluwa okutegeeza ab’oluganda nti nnali sigenda kugenda mu ssomero eryo ne wabaawo ekintu kye siryerabira.

Lumu ku makya ennyo, mwannyinaffe omu mu kibiina kyaffe eyalina omwami ataali mukkiriza yakonkona ku luggi lwaffe n’ankwasa ebbaasa. Ebbaasa eyo yalimu ssente. Mwannyinaffe oyo n’abaana be baazuukukanga ku makya ne bagenda ne bakola mu nnimiro ya ppamba basobole okunfunira ssente ez’okugenda mu New York. Mwannyinaffe oyo yaŋŋamba nti, “Genda mu ssomero oyige bingi, okomewo otuyigirize!” Oluvannyuma nnayogerako n’abakulu ba kampuni y’essimu eyo ne mbabuuza oba nga nnali nsobola okutandika okukola oluvannyuma lwa wiiki ttaano. Banziramu nti, “Ekyo tekisoboka!” Naye saafaayo. Nnali mmaze okusalawo eky’okukola. Ndi musanyufu okuba nti saakola mulimu ogwo!

Gloria ayogera bw’ati ku kiseera kye twamala mu Pine Bluff: “Nnanyumirwa nnyo okubuulira mu kitundu ekyo! Nnalina abayizi ba Bayibuli abaali wakati wa 15 na 20. Twabuuliranga nnyumba ku nnyumba ku makya ate olw’eggulo ne tugenda mu bayizi ba Bayibuli. Oluusi twayigirizanga abantu Bayibuli okutuukira ddala ku ssaawa 5 ez’ekiro. Twanyumirwa nnyo obuweereza! Twali tetulaba kiyinza kutuggya mu kitundu ekyo. Ekituufu kiri nti nnali saagala batukyuse tutandike okukola ogw’okukyalira ebibiina. Naye ye Yakuwa yalina nteekateeka ndala.”

OMULIMU GW’OKUKYALIRA EBIBIINA

Bwe twali tuweereza nga bapayoniya aba bulijjo mu Pine Bluff, twasaba okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Twali tusuubira nti bajja kutulonda kubanga omulabirizi wa disitulikiti yali ayagala tugende tuyambe ekibiina ekimu mu Texas, era ng’ayagala tugendeyo nga payoniya ab’enjawulo. Ekyo twali tukyesunga nnyo. Naye twalindirira batuddemu, kyokka nga buli lwe tugenda okukebera mu kasanduuko kaffe aka posita tusanga keereere. Oluvannyuma baatuddamu naye nga batulonze kukola mulimu gwa kukyalira bibiina! Ekyo kyaliwo mu Jjanwali 1965. Mu kiseera ekyo n’Ow’oluganda Leon Weaver, kati aweereza ng’omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi lya Amerika, we yalondebwa okuba omulabirizi akyalira ebibiina.

Eky’okuba omulabirizi akyalira ebibiina kyantiisaamuko. Omwaka nga gumu emabega, Ow’oluganda James A. Thompson, Jr., eyali omulabirizi wa disitulikiti, yali yeekenneenya ebisaanyizo byange. Yambuulira ebintu ebimu bye nnalina okutereeza era n’ayogera ne ku bintu ebirala omulabirizi akyalira ebibiina omulungi by’alina okuba nabyo. Mu kiseera kitono nga ntandise okukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina nnakiraba nti amagezi ge yampa nnali ngetaaga. Bwe nnalondebwa okuba omulabirizi akyalira ebibiina, Ow’oluganda Thompson ye mulabirizi wa disitulikiti gwe nnasooka okutambula naye. Ow’oluganda oyo nnamuyigirako ebintu bingi.

Nsiima nnyo obuyambi bwe nnafuna okuva mu b’oluganda abakulu mu by’omwoyo

Mu biseera ebyo, abalabirizi abakyalira ebibiina baafunanga okutendekebwa kutono. Nnamala wiiki emu nga nneetegereza omulabirizi ng’akyalira ekibiina ekimu era naye n’amala wiiki eyaddako ng’anneetegereza nga nkyalidde ekibiina ekirala. Yampabula mu bintu ebitali bimu era n’ampa obulagirizi. Awo okutendekebwa we kwakoma. Nzijukira nnagamba Gloria nti, “Naye ddala kati amaze?” Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera nnayiga ekintu ekirala ekikulu. Bulijjo wabaawo ab’oluganda abalungi abasobola okukuyamba singa obakkiriza okukuyamba. Nsiima nnyo obuyambi bwe nnafuna okuva eri ab’oluganda abaalina obumanyirivu, gamba nga J. R. Brown, mu kiseera ekyo eyali akola ng’omulabirizi akyalira ebibiina, ne Fred Rusk eyali aweereza ku Beseri.

Mu kiseera ekyo obusosoze mu langi bwali bungi nnyo. Lumu ab’ekibiina kya KKK baayisa ekivvulu mu kibuga ekimu gye nnali nkyadde mu Tennessee. Ate nzijukira ku mulundi omulala bwe twali tubuulira, twawummulako okufuna ak’okulya mu kafo akamu akaliirwamu. Bwe nnali ŋŋenda mu buyigo bw’abasajja, nnalaba omusajja omuzungu eyali atunuza obukambwe era eyalina tatu ez’abasosoze ba langi ng’ajja angoberera. Naye ow’oluganda omuzungu eyali omunene okunsinga n’okusinga omusajja oyo naye yajja n’atugoberera era n’ambuuza nti: “Ow’oluganda Herd, oli bulungi?” Omusajja oyo yakyusa mangu n’agenda nga takozesezza buyigo. Emyaka bwe gizze giyitawo, nkirabye nti enjawulo mu langi si y’eviirako obusosoze wabula ekibi kya Adamu ffenna kye twasikira. Ate era nkiyize nti ow’oluganda aba wa luganda k’abe wa langi ki era bwe kiba kyetaagisa akufiiririra.

KATI NDI MUGAGGA

Twamala emyaka 33 nga tukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina, era 21 ku gyo nnagimala nga nkola ng’omulabirizi wa disitulikiti. Twanyumirwa nnyo emyaka egyo era twafuna emikisa mingi. Naye waliwo omukisa omulala ogwali gutulindiridde. Mu Agusito 1997 ekintu kye twali twagala ennyo twakituukako. Twayitibwa okuweereza ku Beseri y’omu Amerika, nga wayise emyaka 38 bukya tusaba okugenda okuweerezaayo. Omwezi ogwaddako, twatandika okuweereza ku Beseri. Nnali ndowooza nti ab’oluganda ku Beseri baali baagala mbayambeko okumala akaseera katono, naye si bwe kyali.

We nnawasiza Gloria, yali ng’ejjinja ery’omuwendo, era ne leero bw’atyo bw’ali

Nnasooka kukola mu Kitongole ky’Obuweereza. Nnayiga bingi nga nkola mu kitongole ekyo. Ab’oluganda abakola mu kitongole ekyo baddamu ebibuuzo bingi ebitali byangu ebibuuzibwa obukiiko bw’abakadde n’abalabirizi abakyalira ebibiina. Ab’oluganda abo baali bagumiikiriza nga bantendeka era bannyamba nnyo. Kyokka era mpulira nti singa baddamu okunteeka mu kitongole ekyo, mba nkyalina bingi bye nnina okuyiga.

Nze ne Gloria tunyumirwa nnyo okuweereza ku Beseri. Ebaddenga mpisa yaffe okuzuukuka ku makya ennyo, era ekyo kyetaagisa nnyo ku Beseri. Nga wayise omwaka nga gumu, nnatandika okuweereza ng’omuyambi ku Kakiiko k’Obuweereza akakolera wansi w’Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Era mu 1999, nnalondebwa okuba ku Kakiiko Akafuzi. Njize ebintu bingi nga mpeereza ku Kakiiko Akafuzi, era ekintu ekisinga obukulu kye njize kiri nti Yesu, so si muntu yenna, ye mukulembeze w’ekibiina Ekikristaayo.

Okuva mu 1999, mbadde mpeereza ku Kakiiko Akafuzi

Bwe ndowooza ku bulamu bwange, oluusi mpulira nga nnabbi Amosi. Yakuwa yalaba omusumba oyo eyali omwavu era eyakolanga omulimu ogwali gutwalibwa okuba ogwa wansi ogw’okusalira emisukamooli, egyaliibwanga abantu abaavu. Katonda yalonda Amosi okuba nnabbi, obuweereza obwamufuula okuba omugagga mu by’omwoyo. (Am. 7:14, 15, obugambo obuli wansi.) Mu ngeri y’emu, nange Yakuwa yandaba wadde nga nnali mwana w’omulimu omwavu eyali abeera mu kabuga Liberty mu Indiana, era ampadde emikisa mingi nnyo gye sisobola na kuttottola kumalayo! (Nge. 10:22) Wadde nga nnazaalibwa mu bwavu, mpulira nga kati ndi mugagga nnyo mu by’omwoyo!