Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Manya Omulabe Wo

Manya Omulabe Wo

Tumanyi enkwe [za Sitaani].”​—2 KOL. 2:11.

ENNYIMBA: 150, 32

1. Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeema, kiki Yakuwa kye yamanyisa ekikwata ku mulabe waffe?

ADAMU yali akimanyi nti emisota tegyogera. N’olwekyo, ayinza okuba nga yakimanya nti ekitonde eky’omwoyo kye kyali kyogedde ne Kaawa okuyitira mu musota. (Lub. 3:1-6) Adamu ne Kaawa baali tebalina kye bamanyi ku kitonde ekyo. Wadde kyali kityo, Adamu yasalawo mu bugenderevu okujeemera Kitaawe ow’omu ggulu ne yeegatta ku kitonde ekyo mu kuziyiza ekigendererwa kya Katonda. (1 Tim. 2:14) Amangu ddala Yakuwa yatandika okumanyisa abantu ebikwata ku mulabe oyo eyabuzaabuza Adamu ne Kaawa, era n’asuubiza nti ekiseera kyandituuse omulabe oyo n’azikirizibwa. Kyokka era Yakuwa yakiraga nti ekitonde ekyo eky’omwoyo ekyayogera okuyitira mu musota kyandimaze ebbanga nga kiyigganya abo abaagala Katonda.​—Lub. 3:15.

2, 3. Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaviirako Sitaani obutayogerwako nnyo nga Masiya tannajja?

2 Mu magezi ge amangi, Yakuwa yasalawo obutatubuulira linnya lya malayika oyo eyamujeemera. * Ate era waayita emyaka 2,500 oluvannyuma lw’obujeemu obwaliwo mu Edeni, Katonda n’alyoka atutegeeza erinnya erinnyonnyola engeri z’ekitonde ekyo eky’omwoyo ekyamujeemera. (Yob. 1:6) Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebitabo bisatu byokka bye birimu ekigambo Sitaani ekitegeeza “Omuziyiza” era ebitabo ebyo bye bino: 1 Ebyomumirembe, Yobu, ne Zekkaliya. Lwaki bitono nnyo ebyayogerwa ku mulabe waffe oyo nga Masiya tannajja?

3 Bintu bitono nnyo ebikwata ku Sitaani, Yakuwa bye yaluŋŋamya okuwandiikibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ekyo kyali kityo kubanga ekigendererwa ky’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya kyali kya kumanyisa bantu ebikwata ku Masiya basobole okumugoberera ng’azze. (Luk. 24:44; Bag. 3:24) Masiya bwe yamala okujja, Yakuwa yamukozesa awamu n’abayigirizwa be okubikkula bingi ebikwata ku Sitaani ne bamalayika abaamwegattako. * Ekyo kituukirawo kubanga Yakuwa ajja kukozesa Yesu n’abo abagenda okufuga naye okuzikiriza Sitaani n’abagoberezi be.​—Bar. 16:20; Kub. 17:14; 20:10.

4. Lwaki tetusaanidde kutya Sitaani?

4 Omutume Peetero yayita Sitaani Omulyolyomi “empologoma ewuluguma,” ate ye Yokaana yayita Sitaani “omusota” era “ogusota.” (1 Peet. 5:8; Kub. 12:9) Naye ekyo tekisaanidde kutuleetera kutya Mulyolyomi kubanga amaanyi ge galiko ekkomo. (Soma Yakobo 4:7.) Tulina obuyambi bwa Yakuwa, obwa Yesu, n’obwa bamalayika abeesigwa. Basobola okutuyamba okuziyiza omulabe waffe oyo. Wadde kiri kityo, twetaaga okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: Sitaani alina buyinza bwenkana wa? Sitaani agezaako atya okuleetera abalala okukola by’ayagla? Era biki Sitaani by’atasobola kukola? Nga tulaba eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, tujja kulaba kye bituyigiriza.

OBUYINZA BWA SITAANI BWENKANA WA?

5, 6. Lwaki gavumenti z’abantu tezisobola kuleetawo nkyukakyuka abantu ze basinga okwetaaga?

5 Bamalayika abawerako beegatta ku Sitaani ne bajeemera Katonda. Amataba bwe gaali tegannajja, Sitaani yasendasenda abamu ku bamalayika okwegatta n’abawala b’abantu. Ekyo Bayibuli ekyogerako mu ngeri ey’akabonero ng’eraga nti ogusota gwawalula kimu kya kusatu eky’emmunyeenye ne gugwa nazo ku nsi. (Lub. 6:1-4; Yud. 6; Kub. 12:3, 4) Bamalayika abo bwe baajeemera Katonda, bessa wansi w’obuyinza bwa Sitaani. Kyokka abajeemu abo buli omu tali ku lulwe ng’amala geekolera nga bw’ayagala. Ng’agezaako okukoppa enteekateeka y’Obwakabaka bwa Katonda, Sitaani yassaawo enteekateeka ye ey’obufuzi, era ye kabaka waayo. Yafuula badayimooni abafuzi, n’abawa obuyinza ku gavumenti z’ensi.​—Bef. 6:12.

6 Okuyitira mu nteekateeka eyo, Sitaani alina obuyinza ku gavumenti z’abantu zonna. Ekyo kyeyoleka kaati Sitaani bwe yalaga Yesu “obwakabaka bwonna obw’omu nsi” era n’amugamba nti: “Nja kukuwa obuyinza ku bwakabaka buno bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwampeebwa, era mbuwa oyo yenna gwe mba njagadde.” (Luk. 4:5, 6) Wadde nga Sitaani alina obuyinza ku gavumenti z’ensi, gavumenti nnyingi zirina ebintu ebirungi bye zikolera abantu baazo. Ate n’abamu ku bafuzi baba baagala okuyamba abantu mu bwesimbu. Wadde kiri kityo, teri gavumenti ya bantu n’emu oba muntu yenna asobola okuleetawo enkyukakyuka abantu ze basinga okwetaaga.​—Zab. 146:3, 4; Kub. 12:12.

7. Ng’oggyeeko okukozesa gavumenti, Sitaani akozesa atya eddiini ez’obulimba n’enteekateeka y’eby’obusuubuzi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 22.)

7 Ng’oggyeeko gavumenti z’abantu, Sitaani ne badayimooni era bakozesa eddiini ez’obulimba n’enteekateeka y’eby’obusuubuzi okubuzaabuza “ensi yonna.” (Kub. 12:9) Okuyitira mu madiini ag’obulimba, Sitaani abunyisa ebintu eby’obulimba ku Yakuwa. Ate era Sitaani afuba nnyo okulaba ng’abantu bangi nnyo tebamanya linnya lya Katonda. (Yer. 23:26, 27) N’ekivuddemu, abantu abamu abeesimbu abalowooza nti basinza Katonda basinza badayimooni. (1 Kol. 10:20; 2 Kol. 11:13-15) Sitaani era abunyisa obulimba okuyitira mu nteekateeka y’eby’obusuubuzi. Ng’ekyokulabirako, ensi ya Sitaani etumbula endowooza egamba nti omuntu okusobola okuba omusanyufu alina okuba ne ssente nnyingi n’eby’obugagga bingi. (Nge. 18:11) Abo abakkiriza obulimba obwo obulamu bwabwe babumalira ku kuweereza “Byabugagga” so si Katonda. (Mat. 6:24) Ne bwe kiba nti edda baali baagala Katonda, okwagala kwe balina eri ebintu kufuuka kwa maanyi nnyo ne kiviirako okwagala kwe baalina eri Katonda okuggwaawo.​—Mat. 13:22; 1 Yok. 2:15, 16.

8, 9. (a) Bintu ki ebibiri bye tuyigira ku ebyo ebyogerwa ku Adamu ne Kaawa awamu ne bamalayika abajeemu? (b) Kituganyula kitya okukimanya nti Sitaani y’afuga ensi?

8 Waliwo ebintu bibiri bye tuyiga mu ebyo bye tusoma ku Adamu ne Kaawa awamu ne bamalayika abaajeemera Yakuwa. Ekisooka, waliwo enjuyi bbiri zokka ze tulina okulondako. Tulina okusalawo okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa oba okudda ku ludda lwa Sitaani. (Mat. 7:13) Eky’okubiri, abo abadda ku ludda lwa Sitaani emiganyulo gye bafuna gya kaseera buseera. Adamu ne Kaawa baafuna akakisa okwesalirawo ekirungi n’ekibi, ate ne badayimooni baafuna obuyinza obw’ekigero ku gavumenti z’abantu. (Lub. 3:22) Naye ebizibu ebiva mu kudda ku ludda lwa Sitaani bingi nnyo era emiganyulo egivaamu si gya nnamaddala.​—Yob. 21:7-17; Bag. 6:7, 8.

9 Kituganyula kitya okukimanya nti Sitaani y’afuga ensi? Kituyamba okumanya engeri gye tusaanidde okutwalamu ab’obuyinza era kitukubiriza okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira. Tukimanyi nti Yakuwa ayagala tugondere ab’obuyinza. (1 Peet. 2:17) Era atusuubira okugondera amateeka agassibwawo gavumenti z’abantu kasita gaba nga tegakontana na mitindo gye. (Bar. 13:1-4) Kyokka tetulina kubaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi oba okwagala omufuzi omu okusinga omulala. (Yok. 17:15, 16; 18:36) Ate era olw’okuba tukimanyi nti Sitaani tayagala bantu bamanye linnya lya Yakuwa era afuba okulisiiga enziro, ekyo kitukubiriza okweyongera okuyigiriza abalala amazima agakwata ku Katonda. Twenyumiririza nnyo mu kuyitibwa erinnya lya Katonda n’okulikozesa, era tukimanyi nti okwagala Katonda kya muganyulo nnyo okusinga okwagala ssente n’ebintu.​—Is. 43:10; 1 Tim. 6:6-10.

SITAANI AGEZAAKO ATYA OKULEETERA ABALALA OKUKOLA BY’AYAGLA?

10-12. (a) Bintu ki ebisikiriza Sitaani by’ayinza okuba nga yakozesa okusendasenda bamalayika? (b) Okuba nti bamalayika bangi badda ku ludda lwa Sitaani kituyigiriza ki?

10 Sitaani akozesa ebintu ebitali bimu okutwaliriza abalala. Ng’ekyokulabirako, akozesa ebintu ebisikiriza okuleetera abalala okukola by’ayagala oba abatiisatiisa bakole by’ayagala.

11 Weetegereze engeri gye yakozesaamu ekintu ekisikiriza okukwasa bamalayika abawerako. Bwe yali tannabasendasenda kudda ku ludda lwe, ayinza okuba nga yamala ebbanga ng’abeetegereza. Bamalayika abamu baatwalirizibwa ne beegatta n’abaana b’abantu ne bazaala abaana abatali ba bulijjo abaali abawagguufu era abakambwe ennyo. (Lub. 6:1-4) Ng’oggyeeko okubasendasenda okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, Sitaani era ayinza okuba nga yasuubiza bamalayika abo nti bwe bandimwegasseeko, bandibadde n’obuyinza ku bantu. Sitaani ayinza okuba nga yali ayagala okugootaanya enteekateeka y’okujja ‘kw’ezzadde ly’omukazi’ eryasuubizibwa. (Lub. 3:15) Ka kibe ki Sitaani kye yali ayagala, Yakuwa teyamukkiriza kutuukiriza bigendererwa bye. Yakuwa yaleeta Amataba agaagootaanya enteekateeka ya Sitaani ne badayimooni be.

Sitaani akozesa ebintu ebisikiriza, omuli eby’obugwenyufu, amalala, n’eby’obusamize (Laba akatundu 12, 13)

12 Ekyo kituyigiriza ki? Bulijjo tusaanidde okukijjukiranga nti eby’obugwenyufu n’amalala butego obusikiriza Sitaani bw’akozesa okukwasa bangi. Okumala emyaka bukadde na bukadde, bamalayika abeegatta ku Sitaani baali baweerereza mu maaso ga Katonda. Kyokka wadde nga baali mu mbeera eyo ennungi ennyo, bangi bakkiriza okwegomba okubi okukula mu mitima gyabwe. Mu ngeri y’emu, naffe tuyinza okuba nga tuweerezza Yakuwa okumala emyaka mingi mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye. Kyokka wadde nga tubadde mu mbeera eyo ennungi ey’eby’omwoyo okumala emyaka mingi, okwegomba okubi kusobola okukula mu mitima gyaffe. (1 Kol. 10:12) N’olwekyo, kikulu bulijjo okukebera emitima gyaffe, tweggyemu ebirowoozo eby’obugwenyufu n’amalala!​—Bag. 5:26; soma Abakkolosaayi 3:5.

13. Kintu ki ekirala ekisikiriza Sitaani ky’akozesa era tuyinza tutya okukyewala?

13 Ekintu ekirala ekisikiriza Sitaani ky’akozesa kwe kuleetera abantu okwagala okumanya ebikwata ku by’obusamize. Leero Sitaani atumbula eby’obusamize okuyitira mu madiini ag’obulimba ne mu by’okwesanyusaamu. Mu firimu nnyingi, mu mizannyo gya kompyuta, ne mu by’okwesanyusaamu ebirala, eby’obusamize biragibwa ng’ebirungi. Tuyinza tutya okwewala okugwa mu katego ako? Tetusaanidde kusuubira nti ekibiina kya Yakuwa kijja kutuwa olukalala lw’eby’okwesanyusaamu ebisaana n’ebitasaana. Buli omu ku ffe asaanidde okutendeka omuntu we ow’omunda amuyambe okusalawo ng’asinziira ku mitindo gya Katonda. (Beb. 5:14) Ate era tusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi singa okwagala kwe tulina eri Katonda ‘tekuba kwa bunnanfuusi.’ (Bar. 12:9) Tusaanidde okwebuuza: ‘Eby’okwesanyusaamu bye nnondawo bindeetera okuba munnanfuusi? Singa abayizi bange aba Bayibuli oba abantu be nnina okuddiŋŋana balaba eby’okwesanyusaamu bye nnondawo, ddala basobola okugamba nti nkolera ku ebyo bye mbayigiriza?’ Bwe tukolera ku ebyo bye tuyigiriza abalala, kijja kutwanguyira okwewala okugwa mu butego bwa Sitaani.​—1 Yok. 3:18.

Sitaani agezaako okututiisatiisa ng’aleetera gavumenti okutuwera, bayizi bannaffe okutupikiriza, n’ab’eŋŋanda baffe okutuyigganya (Laba akatundu 14)

14. Sitaani ayinza atya okugezaako okututiisatiisa, era tuyinza tutya okwaŋŋanga embeera eyo?

14 Ng’oggyeeko okukozesa ebintu ebisikiriza, Sitaani era agezaako okututiisatiisa tuve ku Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuleetera gavumenti okuwera omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Oba ayinza okuleetera bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe okutujerega olw’okukolera ku mitindo gya Bayibuli egy’empisa. (1 Peet. 4:4) Ayinza n’okuleetera ab’eŋŋanda zaffe okugezaako okutulemesa okugenda mu nkuŋŋaana. (Mat. 10:36) Tuyinza tutya okwaŋŋanga embeera ng’ezo? Ekisooka, tulina okusuubira obulumbaganyi bwa Sitaani obwo. (Kub. 2:10; 12:17) Eky’okubiri, tusaanidde okumanya ensonga enkulu eviirako Sitaani okutulumba. Sitaani agamba nti tuweereza Yakuwa ng’embeera nnyangu gye tuli naye nti singa tufuna ebizibu tulekera awo okumuweereza. (Yob. 1:9-11; 2:4, 5) Eky’okusatu, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okuziyiza Sitaani. Yakuwa tasobola kutwabulira.​—Beb. 13:5.

BIKI SITAANI BY’ATASOBOLA KUKOLA?

15. Sitaani asobola okutuwaliriza okukola kye tutaagala? Nnyonnyola.

15 Sitaani tasobola kuwaliriza bantu kukola kintu kye bataagala kukola. (Yak. 1:14) Mu butamanya, abantu bangi bakola ebyo Sitaani by’ayagala. Naye bwe bamala okuyiga amazima, buli omu yeesalirawo ani gw’anaaweereza. (Bik. 3:17; 17:30) Bwe tumalirira okukola Katonda by’ayagala, tewali Sitaani ky’ayinza kukola kutulemesa kuba beesigwa eri Yakuwa.​—Yob. 2:3; 27:5.

16, 17. (a) Kintu ki ekirala Sitaani ne badayimooni kye batasobola kukola? (b) Lwaki tetusaanidde kutya kusaba mu ddoboozi eriwulikika?

16 Waliwo n’ebintu ebirala Sitaani ne badayimooni bye batasobola kukola. Ng’ekyokulabirako, tewali wonna Bayibuli w’eragira nti basobola okumanya ekyo ekiri ku mutima oba mu birowoozo by’omuntu. Bayibuli eraga nti Yakuwa ne Yesu bokka be balina obusobozi obwo. (1 Sam. 16:7; Mak. 2:8) Kati olwo twanditidde okwogera oba okusaba mu ddoboozi eriwulikika nga tulowooza nti Sitaani ne badayimooni be bajja kutuwulira basinziire ku ebyo bye twogedde okutulwanyisa? Nedda. Lwaki? Tetutya kukola bintu birungi mu buweereza bwaffe eri Yakuwa nga tugamba nti Sitaani ajja kutulaba. Mu ngeri y’emu tetusaanidde kutya kusaba mu ddoboozi eriwulikika nga tugamba nti Sitaani ajja kutuwulira. Mu butuufu, Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abaweereza ba Katonda abaasaba mu ddoboozi eriwulikika era tewali kiraga nti baali batya Omulyolyomi okubawulira. (1 Bassek. 8:22, 23; Yok. 11:41, 42; Bik. 4:23, 24) Bwe tufuba okwogera n’okukola ebyo ebituukana n’ebyo Katonda by’ayagala, tuba bakakafu nti Katonda tajja kukkiriza Sitaani kututuusaako bulabe bwa lubeerera.​—Soma Zabbuli 34:7.

17 Tusaanidde okumanya omulabe waffe, naye tetusaanidde kumutya. Wadde nga tetutuukiridde, Yakuwa asobola okutuyamba okuwangula Sitaani. (1 Yok. 2:14) Bwe tuziyiza Omulyolyomi, ajja kutudduka. (Yak. 4:7; 1 Peet. 5:9) Okusingira ddala, Sitaani ayagala okulumba abavubuka. Biki bye bayinza okukola okusobola okulwanyisa Omulyolyomi? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.

^ lup. 2 Bayibuli eyogera ku mannya ga bamalayika abamu. (Balam. 13:18; Dan. 8:16; Luk. 1:19; Kub. 12:7) Okuva bwe kiri nti Yakuwa yawa buli mmunyeenye erinnya (Zab. 147:4), ne bamalayika bonna bateekwa okuba nga balina amannya, nga muno mw’otwalidde n’oyo eyafuuka Sitaani.

^ lup. 3 Ekigambo Sitaani kirabika emirundi 18 gyokka mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ate kirabika emirungi egisukka mu 30 mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani.