Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ani gw’Oyagala Akumanye?

Ani gw’Oyagala Akumanye?

“Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.”​—BEB. 6:10.

ENNYIMBA: 39, 30

1. Kiki ffenna kye twagala, era ekyo kizingiramu ki?

WANDIWULIDDE otya singa omuntu gw’omanyi era gw’ossaamu ekitiibwa yeerabira erinnya lyo, oba n’akiraga nti takumanyi na kukumanya? Kya lwatu nti ekyo kikumalamu nnyo amaanyi. Lwaki? Kubanga kya mu butonde ffenna okwagala okumanyibwa abalala. Twagala bamanye ekyo kye tuli n’ebirungi bye tuba tukoze.​—Kubal. 11:16; Yob. 31:6.

2, 3. Kiki ekiyinza okutuleetera okuba n’endowooza etali nnuŋŋamu ku kumanyibwa abalala? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, bwe tuteegendereza, tusobola okugwa olubege mu nsonga ey’okwagala okumanyibwa abalala. Ensi ya Sitaani eyinza okutuleetera okwagala ettutumu n’okwagala okutwalibwa ng’abeekitalo. Endowooza ng’eyo esobola okutuleetera obutawa Yakuwa Katonda kitiibwa ky’agwanidde kuweebwa era eyinza okutulemesa okumusinza mu ngeri gy’agwanidde okusinzibwa.​—Kub. 4:11.

3 Mu kiseera kya Yesu, abakulu b’eddiini abamu baalina endowooza enkyamu ku kwagala okumanyibwa abalala. Yesu yalabula abagoberezi be nti: “Mwegendereze abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde amaganduula, abaagala okulamusibwa mu butale n’okutuula mu bifo eby’omu maaso [“ebisinga obulungi,” obugambo obuli wansi.] mu makuŋŋaaniro, abaagala ebifo ebisingayo okuba eby’ekitiibwa ku bijjulo.” Era yagamba nti: “Abo bajja kuweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.” (Luk. 20:46, 47) Ku luuyi olulala, Yesu yasiima nnamwandu omwavu eyawaayo obusente obutono wadde ng’ekyo kye yakola abalala bayinza okuba nga tebaakitwala nga kikulu. (Luk. 21:1-4) Endowooza Yesu gye yalina ku kumanyibwa abalala yali ya njawulo nnyo ku y’abalala. Ekitundu kino kijja kutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku nsonga eyo; endowooza Yakuwa gy’ayagala tube nayo.

OYO GWE TWANDISINZE OKWAGALA ATUMANYE

4. Okusingira ddala ani gwe twandyagadde atumanye, era lwaki?

4 Okusingira ddala ani gwe twandyagadde atumanye? Leero abantu bangi baagala okumanyibwa olw’obuyigirize bwe balina, olwa bizineesi ze baddukanya, oba olw’ebitone bye balina, gamba nga mu kuyimba. Mu kifo ky’okwagala okumanyibwa mu ngeri eyo, omutume Pawulo yatulaga oyo gwe twandisinze okwagala atumanye. Yagamba nti: “Kaakano nga bwe mumanyi Katonda, oba kaakano nga Katonda bw’abamanyi, kijja kitya okuba nti muddayo nate eri ebintu ebisookerwako ebinafu era ebitalina mugaso, ne mwagala okuddamu okubeera abaddu baabyo?” (Bag. 4:9) Nga nkizo ya maanyi okumanyibwa Katonda Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Katonda ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Obulamu bwaffe tebuba na makulu bwe tutaba na nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa.​—Mub. 12:13, 14.

5. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okumanyibwa Yakuwa?

5 Musa yamanyibwa Yakuwa. Bwe yeegayirira Yakuwa amuyambe okwongera okumanya amakubo ge, Yakuwa yamuddamu nti: “Na kino ky’osabye nja kukikola olw’okuba osiimibwa mu maaso gange era nkumanyi erinnya.” (Kuv. 33:12-17) Naffe tusobola okufuna emikisa mingi Yakuwa bw’atumanya kinnoomu. Naye kiki kye tusaanidde okukola okusobola okumanyibwa Yakuwa? Tusaanidde okumwagala n’okwewaayo gy’ali.​—Soma 1 Abakkolinso 8:3.

6, 7. Kiki ekiyinza okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa?

6 Kyokka tulina okufuba okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okufaananako Abakristaayo abaali mu Ggalatiya, Pawulo be yawandiikira ebbaluwa, naffe tusaanidde okwewala okuba abaddu b’ebintu by’ensi eno ‘ebisookerwako ebinafu era ebitalina mugaso,’ nga muno mwe muli okwagala okufuna ettutumu. (Bag. 4:9b) Abakristaayo abo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali baakulaakulana ne batuuka okumanyibwa Katonda. Naye Pawulo yagamba nti ab’oluganda abo baali ‘bazzeeyo nate’ ku bintu ebitalina mugaso. Mu ngeri endala Pawulo yalinga abagamba nti: “Oluvannyuma lw’okutuuka ku ssa lino, musobola mutya okuddamu okuba abaddu b’ebintu bye mwaleka eby’ekisirusiru era ebitalina mugaso?”

7 Ekyo naffe kisobola okututuukako? Yee. Okufaananako Pawulo, bwe twali twakamanya Yakuwa, tuyinza okuba nga twerekereza ebintu ebitali bimu mu nsi ya Sitaani. (Soma Abafiripi 3:7, 8.) Tuyinza okuba nga twagaana okufuna obuyigirize obwa waggulu, okukuzibwa ku mulimu, oba okukola ebintu ebyanditusobozesezza okufuna ssente ennyingi. Ate era oboolyawo twandibadde bagagga nnyo oba batutumufu olw’ebitone bye tulina mu kuyimba oba mu by’emizannyo. Naye ebintu ebyo byonna twabyerekereza. (Beb. 11:24-27) Nga tekiba kya magezi kati okutandika okulowooza nti twakola nsobi okusalawo mu ngeri ng’eyo ey’amagezi! Endowooza ng’eyo eyinza okutuleetera okuddamu okunoonya ebintu by’ensi eno bye twamala edda okukakasa nti ‘binafu era nti tebirina mugaso.’ *

BA MUMALIRIVU OKUMANYIBWA YAKUWA

8. Lwaki twandimaliridde okumanyibwa Yakuwa?

8 Lwaki twandimaliridde okumanyibwa Yakuwa, so si ensi? Tusaanidde okujjukira ebintu bibiri ebikulu. Ekisooka, bulijjo Yakuwa asiima abo abamuweereza n’obwesigwa. (Soma Abebbulaniya 6:10; 11:6) Buli omu ku baweereza be amutwala nga wa muwendo era akitwala nga si kya butuukirivu okwerabira abo abamuweereza n’obwesigwa. Yakuwa “amanyi ababe.” (2 Tim. 2:19) Yakuwa “amanyi ekkubo ly’abatuukirivu” era amanyi okubanunula mu kugezesebwa.​—Zab. 1:6; 2 Peet. 2:9.

9. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri Yakuwa gye yakiragamu nti amanyi abantu be.

9 Waliwo ebiseera Yakuwa lw’akiraze mu ngeri ewuniikiriza nti amanyi abantu be. (2 Byom. 20:20, 29) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be ku Nnyanja Emmyufu bwe baali bawonderwa eggye lya Falaawo ery’amaanyi. (Kuv. 14:21-30; Zab. 106:9-11) Yakuwa yanunula abantu be mu ngeri ey’ekyamagero ne kiba nti n’oluvannyuma lw’emyaka 40, abantu mu nsi ezeetooloddewo baali bakyayogera ku kintu ekyo. (Yos. 2:9-11) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okulowooza ku ngeri Yakuwa gye yayolekamu okwagala kwe n’amaanyi ge mu mbeera ng’ezo, naddala mu kiseera kino nga tunaatera okulumbibwa Googi ow’e Magoogi! (Ezk. 38:8-12) Mu kiseera ekyo tujja kusanyuka nnyo okuba nti twasalawo okumanyibwa Katonda so si nsi.

10. Kintu ki ekirala kye tusaanidde okujjukira?

10 Ekintu eky’okubiri kye tusaanidde okujjukira kye kino: Yakuwa asobola okutusiima mu ngeri gye tutasuubira. Bayibuli eraga nti abo abakola ebirungi olw’okwagala okulabibwa abantu tebajja kufuna mpeera okuva eri Yakuwa. Lwaki? Bwe basiimibwa abantu, baba bamaze okufuna empeera yaabwe mu bujjuvu. (Soma Matayo 6:1-5.) Kyokka Yesu yagamba nti Kitaawe “alaba mu kyama” abo abakolera abalala ebirungi wadde ng’abalala tebabalaba. Ebintu ebirungi bye bakola abiraba era abawa empeera. Kyokka oluusi Yakuwa atuwa empeera mu ngeri gye tutasuubira. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.

OMUWALA EYALI TAMANYIDDWA YASIIMIBWA MU NGERI GYE YALI TASUUBIRA

11. Yakuwa yakiraga atya nti yali amanyi Maliyamu?

11 Ekiseera bwe kyatuuka Omwana wa Katonda okuzaalibwa ku nsi, Yakuwa yalonda Maliyamu, omuwala embeerera era eyali tamanyiddwa, okuba maama w’Omwana oyo. Maliyamu yali abeera mu kabuga akatono akayitibwa Nazaaleesi akaali ewala okuva e Yerusaalemi awaali yeekaalu amatiribona. (Soma Lukka 1:26-33.) Lwaki Yakuwa yawa Maliyamu enkizo eyo? Malayika Gabulyeri yagamba Maliyamu nti yali ‘asiimibwa mu maaso ga Katonda.’ Ebigambo Maliyamu bye yayogera ng’ali ne Erizabeesi byalaga nti yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (Luk. 1:46-55) Yakuwa yali yeetegereza Maliyamu, era yamuwa enkizo eyo gye yali tasuubira olw’okuba Maliyamu yali mwesigwa gy’ali.

12, 13. Yesu yaweebwa atya ekitiibwa nga yaakazaalibwa n’oluvannyuma nga Maliyamu amututte ku yeekaalu nga wayiseewo ennaku 40?

12 Maliyamu bwe yali yaakazaala Yesu, enkizo ey’okumanya ekyo ekyali kibaddewo Yakuwa teyagiwa bakungu oba bafuzi abaali mu Yerusaalemi oba mu Besirekemu. Mu kifo ky’ekyo, bamalayika baalabikira basumba abaali balunda endiga ku ttale ebweru wa Besirekemu. (Luk. 2:8-14) Abasumba abo baagenda ne balaba omwana eyali yaakazaalibwa. (Luk. 2:15-17) Maliyamu ne Yusufu bateekwa okuba nga beewuunya nnyo okulaba engeri Yesu gye yaweebwamu ekitiibwa mu ngeri eyo. Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu n’engeri Sitaani gy’akolamu ebintu. Sitaani bwe yasindika abalaguzisa emmunyeenye okugenda okulaba Yesu ne bazadde be, bantu bangi mu Yerusaalemi baamanya ku kuzaalibwa kwa Yesu era ekyo kyavaamu emitawaana. (Mat. 2:3) Okumala gabunyisa amawulire ago buli wamu kyaviirako abaana bangi abatalina musango okuttibwa.​—Mat. 2:16.

13 Nga wayise ennaku 40 nga Yesu amaze okuzaalibwa, Maliyamu yalina okuwaayo ekiweebwayo eri Yakuwa ku yeekaalu mu Yerusaalemi, ekyali mayiro nga mukaaga okuva e Besirekemu. (Luk. 2:22-24) Maliyamu bwe yali ne Yusufu nga batwala Yesu ku yeekaalu, ayinza okuba nga yali yeebuuza obanga kabona eyali aweereza ku olwo yandibaddeko ekintu eky’enjawulo ky’akola okulaga nti Yesu yandibadde n’obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu kiseera eky’omu maaso. Ekyo waliwo abaakiraga, naye oboolyawo Maliyamu si be yali asuubira. Yakuwa yakozesa omusajja ‘omutuukirivu era eyali atya Katonda’ ayitibwa Simiyoni, awamu ne nnamwandu ow’emyaka 84 ayitibwa Ana okulaga nti omwana oyo ye yandibadde Masiya oba Kristo eyasuubizibwa.​—Luk. 2:25-38.

14. Mikisa ki Yakuwa gye yawa Maliyamu?

14 Ate ye Maliyamu? Yakuwa yeeyongera okuwa Maliyamu emikisa olw’okulabirira n’okukuza Yesu? Yee. Ebyo Maliyamu bye yakola ne bye yayogera Katonda yabiwandiisa mu Bayibuli. Kiyinzika okuba nti Maliyamu yali tasobola kutambula na Yesu mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu Yesu kye yamala ng’aweereza ku nsi. Oboolyawo olw’okuba Maliyamu yali nnamwandu, kyali kimwetaagisa okusigala e Nazaaleesi. Wadde nga teyasobola kutambulanga na Yesu, Maliyamu yaliwo nga Yesu afa. (Yok. 19:26) Ate era Maliyamu yali wamu n’abayigirizwa abalala mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekooti lunaatera okutuuka, omwoyo omutukuvu lwe gwafukibwa ku bayigirizwa ba Yesu. (Bik. 1:13, 14) Maliyamu ayinza okuba nga yali omu ku abo abaafukibwako omwoyo omutukuvu ku olwo. Bwe kiba kityo, kiba kitegeeza nti yafuna enkizo ey’okubeera awamu ne Yesu mu ggulu emirembe n’emirembe. Mazima ddala Yakuwa yawa Maliyamu empeera olw’obwesigwa bwe!

YAKUWA YAKIRAGA NTI AMANYI OMWANA WE

15. Yesu bwe yali ku nsi, Yakuwa yakiraga atya nti amusiima?

15 Yesu teyanoonya kuweebwa bitiibwa bakulu ba ddiini na bannabyabufuzi abaaliwo mu kiseera kye. Naye Yesu kiteekwa okuba nga kyamuzzaamu nnyo amaanyi Yakuwa bwe yayogera obutereevu okuva mu ggulu ku mirundi esatu egy’enjawulo n’akiraga nti amumanyi era nti amusiima. Yesu bwe yali yaakamala okubatizibwa mu Mugga Yoludaani, Yakuwa yagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Mat. 3:17) Kirabika ku olwo, Yokaana ye muntu omulala yekka eyawulira ebigambo ebyo. Ate ng’ebula omwaka nga gumu Yesu attibwe, basatu ku batume be baawulira Yakuwa ng’ayogera bw’ati ku Yesu: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima. Mumuwulire.” (Mat. 17:5) Ate era ng’ebula ennaku ntono Yesu attibwe, Yakuwa yayogera n’Omwana we ng’ayima mu ggulu.​—Yok. 12:28.

Kiki ky’oyigira ku ngeri Yakuwa gye yalagamu nti amanyi Omwana we? (Laba akatundu 15-17)

16, 17. Yakuwa yasiima atya Yesu mu ngeri Yesu gye yali tasuubira?

16 Wadde nga Yesu yali akimanyi nti yali agenda kuttibwa mu ngeri eswaza, yasaba nti ekyo Yakuwa ky’ayagala kye kiba kikolebwa so si ye kye yali ayagala. (Mat. 26:39, 42) Yesu “yagumira omuti ogw’okubonaabona, okuswala n’atakutwala ng’ekikulu.” Teyanoonya bitiibwa bya nsi, wabula yanoonya ekitiibwa ekiva eri Katonda. (Beb. 12:2) Yakuwa yawa atya Yesu ekitiibwa?

17 Yesu bwe yali ku nsi, yasaba Kitaawe addemu okumuwa ekitiibwa kye yalina ng’ali mu ggulu. (Yok. 17:5) Tewali kiraga nti Yesu yali asuubira okuweebwa ekitiibwa ekisingako ku ekyo kye yalina mu kusooka. Tuyinza okugamba nti Yesu yali tasuubira “kukuzibwa” ng’azzeeyo mu ggulu. Naye kiki Yakuwa kye yakola? Yawa Yesu empeera gye yali tasuubira bwe yamuzuukiza “n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo,” era n’amuwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa, obulamu Yakuwa bwe yali tawangako kitonde kirala kyonna! * (Baf. 2:9; 1 Tim. 6:16) Yakuwa yakiraga nti asiima Yesu olw’obwesigwa bwe!

18. Kiki ekinaatuyamba okwewala okunoonya ebitiibwa by’ens?

18 Kiki ekinaatuyamba okwewala okunoonya ebitiibwa by’ensi? Kijjukire nti bulijjo Yakuwa awa abaweereza be abeesigwa empeera era nti emirundi mingi abawa empeera mu ngeri gye baba batasuubira. Naffe mu biseera eby’omu maaso Yakuwa ayinza okutuwa empeera gye tubadde tutasuubira. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okuba abagumiikiriza nga twolekagana n’ebizibu ebiri mu nsi ya Sitaani eno embi, nga bulijjo tukijjukira nti ensi awamu n’ebitiibwa byonna by’eyinza okutuwa bigenda kuggwaawo. (1 Yok. 2:17) Kitaffe Yakuwa ‘mutuukirivu, tasobola kwerabira mulimu gwaffe n’okwagala kwe tulaga erinnya lye.’ (Beb. 6:10) Yakuwa ajja kutuwa empeera, oboolyawo ne mu ngeri gye tutasuubira!

^ lup. 7 Mu nkyusa za Bayibuli endala ebigambo “ebitalina mugaso” bivvuunulwa nga “ebitaliimu nsa,” “ebiwowongole,” “emiwulenge,” oba “ebinakuwaza.”

^ lup. 17 Ekyo Yesu ayinza okuba nga yali takisuubira kubanga obulamu obutasobola kuzikirizibwa tebwogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.