Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaaso Go Gatunudde Wa?

Amaaso Go Gatunudde Wa?

“Nnyimusa amaaso gange ne ntunula gy’oli, ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.”​—Zab. 123:1.

ENNYIMBA: 143, 124

1, 2. Okutunuulira Yakuwa kitegeeza ki?

TULI mu ‘biseera ebizibu ennyo’ era obulamu bugenda kweyongera okukaluba okutuusa ensi empya lw’ennejja, Katonda aleete emirembe ku nsi. (2 Tim. 3:1) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ani gwe ntunuulira okunnyamba?’ Kyangu okuddamu nti “Yakuwa,” era ekyo kye ky’okuddamu ekisingayo obulungi.

2 Okutunuulira Yakuwa kitegeeza ki? Era tuyinza tutya okukakasa nti amaaso gaffe tetugajja ku Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi? Ebyasa bingi emabega, omuwandiisi wa Zabbuli yakiraga nti kikulu okutunuulira Yakuwa okutuyamba nga tufunye ebizibu. (Soma Zabbuli 123:1-4.) Okutunuulira Yakuwa yakugeraageranya ku ngeri omuweereza gy’atunuuliramu mukama we. Kiki omuwandiisi wa Zabbuli kye yali ategeeza? Ng’oggyeeko okutunuulira mukama we okumuwa emmere n’obukuumi, omuweereza era atunuunira mukama we okusobola okumanya biki by’ayagala, asobole okubikola. Mu ngeri y’emu, buli lunaku tulina okunoonyereza mu Kigambo kya Katonda tusobole okumanya Yakuwa by’ayagala era tubikole. Bwe tukola tutyo, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutulaga ekisa mu kiseera we twetaagira obuyambi.​—Bef. 5:17.

3. Kiki ekiyinza okutuleetera okuggya amaaso gaffe ku Yakuwa?

3 Wadde nga tukimanyi nti kikulu okukuumira amaaso gaffe ku Yakuwa, oluusi tuyinza okuwugulibwa. Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Maliza mukwano gwa Yesu. Maliza ‘yatwalirizibwa eby’okukola ebingi bye yalina.’ (Luk. 10:40-42) Bwe kiba nti omukyala ng’oyo omwesigwa yawugulibwa nga ne Yesu waali amukyalidde, naffe bwe tuteegendereza tusobola okuwugulibwa. Kati olwo biki ebiyinza okutuleetera okuggya amaaso gaffe ku Yakuwa? Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri enneeyisa y’abalala gy’eyinza okutuwugula. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukuumira amaaso gaffe ku Yakuwa.

OMUSAJJA OMWESIGWA AFIIRWA ENKIZO

4. Lwaki kiyinza okutwewuunyisa nti Musa yafiirwa enkizo ey’okuyingira mu Nsi Ensuubize?

4 Musa yakuumiranga amaaso ge ku Yakuwa okumuwa obulagirizi. Bayibuli egamba nti Musa “yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.” (Soma Abebbulaniya 11:24-27.) Era Bayibuli egamba nti “mu Isirayiri tewabangawo nate nnabbi alinga Musa, Yakuwa gwe yali amanyi maaso ku maaso.” (Ma. 34:10) Wadde nga Musa yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, yafiirwa enkizo ey’okuyingira mu Nsi Ensuubize. (Kubal. 20:12) Kiki ekyaleetera Musa okufiirwa enkizo eyo?

5-7. Kizibu ki ekyajjawo ng’Abayisirayiri baakava e Misiri, era Musa yakwata atya embeera?

5 Nga tewannayita na myezi ebiri bukya Abayisirayiri bava e Misiri, wajjawo ekizibu eky’amaanyi nga tebannaba na kutuuka ku Lusozi Sinaayi. Abantu baatandika okwemulugunya olw’obutaba na mazzi. Beemulugunyiza Musa, Musa n’atuuka n’okukaabirira Yakuwa nti: “Abantu bano mbakolere ki? Banaatera okunkuba amayinja!” (Kuv. 17:4) Yakuwa yawa Musa obulagirizi obwali butegeerekeka obulungi. Yamugamba addire omuggo gwe akube ku lwazi mu Kolebu, amazzi gaveemu. Bayibuli egamba nti: “Musa n’akola bw’atyo ng’abakadde ba Isirayiri balaba.” Abayisirayiri baafuna amazzi agabamala era ekizibu ekyo ne kigonjoolwa.​—Kuv. 17:5, 6.

6 Bayibuli era egamba nti ekifo ekyo Musa yakituuma “Masa era Meriba olw’okuyomba kw’Abayisirayiri era n’olw’okuba baagezesa Yakuwa nga bagamba nti: ‘Yakuwa ali wakati mu ffe oba nedda?’” (Kuv. 17:7) Amannya ago gaali gatuukirawo kubanga gategeeza “Okugezesa” ne “Okuyomba.”

7 Yakuwa yatwala atya ebyo ebyaliwo e Meriba? Yakuwa teyakitwala nti Abayisirayiri abo baali bajeemedde Musa yekka, wabula yakitwala nti naye kennyini baali bamujeemedde. (Soma Zabbuli 95:8, 9.) Ekyo Abayisirayiri kye baakola kyali kibi nnyo. Ku mulundi ogwo, Musa yasalawo mu ngeri ey’amagezi n’atunuulira Yakuwa era n’akolera ku bulagirizi bwe.

8. Kizibu ki ekyajjawo ng’emyaka 40 Abayisirayiri gye baamala mu ddungu ginaatera okuggwaako?

8 Naye kiki ekyaliwo embeera efaananako bw’etyo bwe yajjawo nga wayise emyaka 40? Abayisirayiri era baatuuka mu kifo ekiyitibwa Meriba. Naye Meriba ono si ye Meriba gwe tusoose okwogerako, kubanga Meriba ono yali kumpi ne Kadesi, ku njegoyego y’Ensi Ensuubize. * Abayisirayiri baddamu okwemulugunya olw’obutaba na mazzi. (Kubal. 20:1-5) Naye ku luno Musa ebintu tebyamugendera bulungi.

9. Bulagirizi ki Yakuwa bwe yawa Musa, naye Musa yakola ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12.)

9 Musa yeeyisa atya ku luno? Yaddamu okutunuulira Yakuwa okumuwa obulagirizi. Naye ku mulundi guno Yakuwa teyamugamba kukuba lwazi. Yakuwa yagamba Musa akwate omuggo gwe, akuŋŋaanyize abantu mu maaso g’olwazi, ayogere eri olwazi. (Kubal. 20:6-8) Kyokka Musa teyayogera eri olwazi, wabula mu busungu yagamba abantu nti: “Muwulire mmwe abajeemu! Mu lwazi luno mwe tunaabaggira amazzi?” Oluvannyuma yakuba olwazi, si mulundi gumu gwokka, wabula ebiri.​—Kubal. 20:10, 11.

10. Ekyo Musa kye yakola kyayisa kitya Yakuwa?

10 Yakuwa yasunguwalira Musa. (Ma. 1:37; 3:26) Lwaki? Waliwo ebintu ebitali bimu ebiyinza okuba nga byaleetera Yakuwa okusunguwala. Nga bwe tulabye waggulu, Yakuwa ayinza okuba nga yasunguwala olw’okuba Musa teyakolera ku bulagirizi obupya bwe yali amuwadde.

11. Lwaki Musa okukuba ku lwazi kiyinza okuba nga kyaleetera Abayisirayiri okulowooza nti Yakuwa si ye yali akoze ekyamagero eky’okuggya amazzi mu lwazi?

11 Waliwo n’ensonga endala eyinza okuba nga yaleetera Yakuwa okusunguwala. Enjazi eziri mu Meriba asooka ŋŋumu nnyo. N’olwekyo, omuntu ne bw’akuba atya enjazi ezo, tewali ayinza kuzisuubira kuvaamu mazzi. Kyokka enjazi eziri mu Meriba ow’okubiri za njawulo; si ŋŋumu era zimementuka mangu olw’ennoni ezirimu. Olw’okuba enjazi ezo si ŋŋumu amazzi gaziyitamu ne galegama wansi. Kyandiba nti Musa bwe yakuba olwazi olwo emirundi ebiri, kyaleetera abantu okulowooza nti amazzi agaaluvaamu geego agaali galegamye so si nti Yakuwa ye yagaleeta mu ngeri ey’ekyamagero? * Tetumanyi.

ENGERI MUSA GYE YAJEEMA

12. Nsonga ki endala eyinza okuba nga yaleetera Yakuwa okusunguwalira Musa ne Alooni?

12 Waliwo n’ensonga endala eyinza okuba nga yaviirako Yakuwa okusunguwalira Musa ne Alooni. Weetegereze nti Musa yagamba abantu nti: “Mu lwazi luno mwe tunaabaggira amazzi?” Mu kugamba nti “mwe tunaabaggira,” Musa ayinza okuba nga yali ategeeza ye ne Alooni. Ebigambo bya Musa ebyo byalaga nti teyassa kitiibwa mu Yakuwa eyakola ekyamagero ekyo. Zabbuli 106:32, 33 wagamba nti: “Baamunyiiriza ku mazzi g’e Meriba, ne baleetera Musa emitawaana. Baamusunguwaza, n’ayogera nga tasoose kulowooza.” * (Kubal. 27:14) Musa teyawa Yakuwa kitiibwa kye yali agwanidde okuweebwa. Bwe yali ayogera eri Musa ne Alooni, Yakuwa yagamba nti: “Mmwembi mwajeemera ekiragiro kyange.” (Kubal. 20:24) Mazima ddala ekyo kyali kibi kya maanyi!

13. Lwaki ekibonerezo Yakuwa kye yasalira Musa kyali kituukirawo?

13 Okuva bwe kiri nti Yakuwa yali akwasizza Musa ne Alooni obuvunaanyizibwa obw’okukulembera abantu be, Musa ne Alooni baali bavunaanyizibwa nnyo mu maaso ge. (Luk. 12:48) Emabegako, Yakuwa yali yasalira Abayisirayiri bonna okuva ku myaka 20 n’okudda waggulu ekibonerezo eky’obutayingira mu nsi ya Kanani olw’okumujeemera. (Kubal. 14:26-30, 34) N’olwekyo kyali kituukirawo era kyali kya bwenkanya Yakuwa okusalira Musa ekibonerezo kye kimu olw’okumujeemera. Okufaananako abajeemu abo, ne Musa teyakkirizibwa kuyingira mu Nsi Ensuubize.

OBUZIBU KWE BWAVA

14, 15. Kiki ekyaleetera Musa okujeema?

14 Kiki ekyaviirako Musa okujeemera Yakuwa? Ddamu weetegereze Zabbuli 106:32, 33. Wagamba nti: “Baamunyiiriza [Yakuwa] ku mazzi g’e Meriba, ne baleetera Musa emitawaana. Baamusunguwaza [Musa], n’ayogera nga tasoose kulowooza.” Wadde ng’Abayisirayiri baajeemera Yakuwa, Musa ye yasunguwala. Obuteefuga bwaleetera Musa okwogera nga talowoozezza ku binaavaamu.

15 Musa yakkiriza enneeyisa y’abalala okumuwugula n’aggya amaaso ku Yakuwa. Embeera eyasooka Musa yagikwata bulungi. (Kuv. 7:6) Naye kiyinzika okuba nti oluvannyuma lw’okukolagana n’Abayisirayiri abajeemu okumala ebbanga ddene, Musa yakoowa era ne yeetamwa. Kyandiba nti ebirowoozo Musa yali abimalidde ku nneewulira ye mu kifo ky’okulowooza ku ngeri gye yali ayinza okugulumizaamu Yakuwa?

16. Lwaki tusaanidde okulowooza ku nsobi Musa gye yakola?

16 Bwe kiba nti ekintu ng’ekyo kyatuuka ku nnabbi Musa eyali omwesigwa, naffe kisobola okututuukako. Okufaananako Musa, naffe tunaatera okuyingira mu nsi empya Yakuwa gye yasuubiza. (2 Peet. 3:13) Tewali n’omu ku ffe ayagala kusubwa kugiyingiramu. Naye okusobola okuyingira mu nsi empya, tulina okukuumira amaaso gaffe ku Yakuwa, nga bulijjo tufuba okukola by’ayagala. (1 Yok. 2:17) Biki bye tuyigira ku nsobi Musa gye yakola?

WEEWALE OKUWUGULIBWA ENNEEYISA Y’ABALALA

17. Kiki ekiyinza okutuyamba obutawugulibwa bintu binyiiza?

17 Tokkiriza bintu binyiiza kukuwugula. Ne bwe twolekagana n’ekizibu kye kimu enfunda n’enfunda, “ka tuleme kulekera awo kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.” (Bag. 6:9; 2 Bas. 3:13) Enfunda n’enfunda bwe twolekagana n’ebintu ebitunyiiza oba abalala bwe bakola ebintu ebitunyiiza, tufuba okufuga olulimi lwaffe oba obusungu? (Nge. 10:19; 17:27; Mat. 5:22) Abalala bwe batunyiiza, tusaanidde okuleka “Katonda y’aba ayoleka obusungu bwe.” (Soma Abaruumi 12:17-21.) Bwe tukuumira amaaso gaffe ku Yakuwa, tujja kulaga nti tumussaamu ekitiibwa nga tumuleka y’aba ayoleka obusungu bwe. Tujja kumulindirira n’obugumiikiriza abeeko ky’akolawo bw’akiraba nga kyetaagisa. Ekyo bwe tutakikola ne tusalawo okwekolera ku nsonga, kiyinza okulaga nti tetuwadde Yakuwa kitiibwa.

18. Bwe kituuka ku kukolera ku bulagirizi, kiki kye tusaanidde okujjukira?

18 Fuba okukolera ku bulagirizi obupya obuba buweereddwa. Tukolera ku bulagirizi obupya Yakuwa bw’aba atuwadde? Tetusaanidde kumala gakola bintu mu ngeri y’emu olw’okuba bwe tutyo bwe tubaddenga tubikola emabega. Wabula tusaanidde okwanguwa okukolera ku bulagirizi bwonna obupya Yakuwa bw’aba atuwadde okuyitira mu kibiina kye. (Beb. 13:17) Ate era tulina okwegendereza tuleme ‘kusukka bintu ebyawandiikibwa.’ (1 Kol. 4:6) Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukuumira amaaso gaffe ku Yakuwa.

Kiki kye tuyigira ku ngeri Musa gye yeeyisaamu ng’abalala bakoze ensobi? (Laba akatundu 19)

19. Tuyinza tutya okwewala okukkiriza ensobi z’abalala okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa?

19 Tokkiriza nsobi z’abalala kukuleetera kwonoona nkolagana yo ne Yakuwa. Bwe tukuumira amaaso gaffe ku Yakuwa, tetujja kukkiriza nneeyisa y’abalala kutumalako ssanyu oba kwonoona nkolagana yaffe naye. Kino kikulu nnyo naddala bwe tuba nga tulina obuvunaanyizibwa mu kibiina kya Yakuwa. Kya lwatu nti buli omu ku ffe alina ‘okukolerera obulokozi bwe ng’atya era ng’akankana.’ (Baf. 2:12) Naye gye tukoma okuba n’obuvunaanyizibwa, gye tukoma okuvunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa. (Luk. 12:48) Kyokka bwe tuba nga ddala twagala Yakuwa, tetujja kukkiriza kintu kyonna kutwesittaza oba kutwawula ku kwagala kwe.​—Zab. 119:165; Bar. 8:37-39.

20. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

20 Mu biseera bino ebizibu ennyo, ka bulijjo tutunuulirenga Oyo “atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu,” tusobole okumanya by’ayagala. Tetukkirizanga nneeyisa y’abalala kwonoona nkolagana yaffe ne Yakuwa. Ekyo ekyatuuka ku Musa kitulaga obukulu bw’ensonga eyo. Mu kifo ky’okusunguwala ekisukkiridde ng’abalala bakoze ensobi, ka tubeere bamalirivu ‘okutunuulira Yakuwa Katonda waffe okutuusa lw’anaatulaga ekisa.’​—Zab. 123:1, 2.

^ lup. 8 Ekifo kino eky’e Meriba kyali kya njawulo ku kifo ky’e Meriba ekyali okumpi ne Lefidimu. Obutafaananako Meriba asooka, Meriba ow’okubiri akwataganyizibwa na Kadesi, so si Masa. Naye ebifo ebyo byombi byayitibwa Meriba olw’okuba Abayisirayiri baayomberayo.​—Laba Mmaapu mu Ebyongerezeddwako B3 mu Enkyusa ey’Ensi Empya.

^ lup. 11 Ng’ayogera ku ekyo ekyaliwo e Meriba, Profesa John A. Beck agamba nti: “Okusinziira ku kitabo ekimu ekyogera ku byafaayo by’Abayudaaya, abo abaali bawakanya Musa baagamba nti: ‘Musa amanyi bulungi enkula y’olwazi luno! Ddala bw’aba ayagala okutukakasa nti akola eby’amagero, k’atuggire amazzi mu lwazi luno olulala.’” Kya lwati nti ebyo bigambibwa bugambibwa.

^ lup. 12 Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Okitobba 15, 1987.