Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Singa omusajja n’omukazi abatali bafumbo basula bokka mu nnyumba y’emu nga tewaliwo nsonga ya maanyi ebaviiriddeko okukola ekyo, buba bukakafu obulaga nti bakoze ekibi eky’amaanyi ekyetaagisa akakiiko akalamuzi okuteekebwawo?

Yee, abantu abo okusula awamu awatali nsonga kisobola okutwalibwa ng’obukakafu obulaga nti beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. N’olwekyo akakiiko akalamuzi kaba kalina okussibwawo okutunula mu nsonga eyo.—1 Kol. 6:18.

Akakiiko k’abakadde keetegereza embeera ebaddewo ne kasalawo obanga kyetaagisa okussaawo akakiiko akalamuzi. Ng’ekyokulabirako: Omusajja oyo n’omukazi oyo boogerezeganya? Emabegako baawabulwako ku ngeri gye beeyisaamu? Kiki ekyabaviiriddeko okusula awamu? Baasoose kukola nteekateeka okusula awamu? Baabadde basobola okufuna awalala omu ku bo we yandibadde asula, oba waliwo ekyaguddewo kye baabadde batasuubira ne bawalirizibwa okusula mu kifo kye kimu? (Mub. 9:11) Buli omu yeebase wa? Okuva bwe kiri nti embeera zaawukana, wayinza okubaawo n’ensonga endala abakadde ze basaanidde okulowoozaako.

Oluvannyuma lw’okwekenneenya ensonga, akakiiko k’abakadde kayinza okusalawo obanga kyetaagisa okussaawo akakiiko akalamuzi.