Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Ani Ali ku Ludda lwa Yakuwa?”

“Ani Ali ku Ludda lwa Yakuwa?”

“Otyanga Yakuwa Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza era ye gw’obanga onywererako.”​—MA. 10:20.

ENNYIMBA: 28, 32

1, 2. (a) Lwaki kya magezi okuba ku ludda lwa Yakuwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

KYA magezi okunywerera ku Yakuwa. Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi, okuba ow’amagezi, era y’asingayo okuba n’okwagala! Kya lwatu nti ffenna twandyagadde okuba ku ludda lwe. (Zab. 96:4-6) Naye abamu ku abo abaali basinza Yakuwa ekyo baalemererwa okukikola.

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba abantu abamu abaali bagamba nti baali ku ludda lwa Yakuwa naye nga mu kiseera kye kimu bakola ebintu ebimunyiiza. Ebyo bye tugenda okulaba ku bantu abo bijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.

YAKUWA AKEBERA MUTIMA

3. Lwaki Yakuwa yabuulirira Kayini, era yamugamba ki?

3 Lowooza ku Kayini. Kayini yali tasinza bakatonda balala, naye Yakuwa teyasiima kusinza kwe. Lwaki? Kubanga omutima gwe gwalimu ebirowoozo ebibi. (1 Yok. 3:12) Yakuwa yayogera ne Kayini n’amugamba nti: “Bw’onookyusa n’okola ebirungi toddemu n’osiimibwa? Naye bw’otookyuse kukola birungi, ekibi kibwamye ku luggi, era ojja kufugibwa okwegomba kwakyo; naye onoosobola okukiwangula?” (Lub. 4:6, 7) Mu ngeri endala Yakuwa yali ng’agamba Kayini nti, “Bwe weenenya n’obeera ku ludda lwange, nange nja kuba ku ludda lwo.”

4. Wadde nga Kayini yafuna akakisa okudda ku ludda lwa Yakuwa, kiki kye yakola?

4 Yakuwa yandizzeemu okusiima Kayini singa Kayini yakyusa endowooza ye. Naye Kayini teyawuliriza Yakuwa. Endowooza enkyamu gye yalina n’okwegomba okubi kwe yalina byamuleetera okukola ekibi. (Yak. 1:14, 15) Kayini bwe yali akyali muvubuka ayinza okuba nga teyakirowoozaako nti ekiseera kyandituuse n’ajeemera Yakuwa. Naye ekiseera kyatuuka Kayini n’akola ekintu kye yali tasuubira. Yajeemera Katonda era n’atta muganda we!

5. Ndowooza ki eziyinza okutuleetera obutasiimibwa mu maaso ga Yakuwa?

5 Okufaananako Kayini, Omukristaayo leero ayinza okuba ng’atambulira mu kkubo ekkyamu wadde ng’agamba nti asinza Yakuwa. (Yud. 11) Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okuba ng’alowooza ku bintu eby’obugwenyufu, nga mu mutima gwe alulunkanira ebintu, oba ng’alina obukyayi eri Mukristaayo munne. (1 Yok. 2:15-17; 3:15) Endowooza ng’ezo zisobola okuleetera omuntu okukola ekibi. Omuntu ayinza okuba n’endowooza ezo naye nga yeenyigira mu kubuulira era nga tayosa kubeerawo mu nkuŋŋaana. Abantu abalala bayinza okuba nga tebakimanyi nti alina endowooza ezo era nga tebamanyi nneeyisa ye, naye Yakuwa alaba byonna era omutima gwaffe bwe guba nga tegumwemaliddeeko, akimanya.​—Soma Yeremiya 17:9, 10.

6. Bwe tukiraga nti tuli ku ludda lwa Yakuwa, Yakuwa atuyamba atya okuwangula endowooza enkyamu ze tuba nazo?

6 Wadde kiri kityo, Yakuwa tayanguwa kutuleka. Omuntu bw’atandika okuva ku Yakuwa, Yakuwa amugamba nti: ‘Komawo gye ndi, nange nja kukomawo gy’oli.’ (Mal. 3:7) Ne bwe tuba nga tulina obunafu obutali bumu, Yakuwa aba ayagala tubulwanyise. (Is. 55:7) Bwe tufuba okubulwanyisa, Yakuwa akiraga nti ali ku ludda lwaffe ng’atuwa obuyambi n’amaanyi bye twetaaga okusobola ‘okuwangula’ endowooza embi gye tuba nayo.​—Lub. 4:7.

“TEMULIMBIBWANGA”

7. Sulemaani yafiirwa atya enkolagana ye ne Yakuwa?

7 Tulina bingi bye tuyinza okuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Kabaka Sulemaani. Bwe yali akyali muvubuka, Sulemaani yanoonyanga obulagirizi bwa Yakuwa. Katonda yamuwa amagezi mangi era n’amukwasa n’obuvunaanyizibwa obw’okuzimba yeekaalu amatiribona mu Yerusaalemi. Naye Sulemaani yafiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. (1 Bassek. 3:12; 11:1, 2) Mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, yali yagaana kabaka ‘okuwasa abakazi abangi, omutima gwe guleme okukyuka.’ (Ma. 17:17) Sulemaani yajeemera etteeka eryo n’awasa abakazi 700. Okwo yagattako abazaana 300. (1 Bassek. 11:3) Bangi ku bakazi be tebaali Bayisirayiri era baasinzanga bakatonda ab’obulimba. N’olwekyo, Sulemaani yajeemera n’etteeka lya Katonda eryali ligaana Abayisirayiri okuwasa abakazi ab’amawanga amalala.​—Ma. 7:3, 4.

8. Sulemaani yanyiiza atya Yakuwa?

8 Mpolampola okwagala Sulemaani kwe yalina eri amateeka ga Yakuwa kwakendeera, ne kimuviirako okukola ebibi eby’amaanyi. Sulemaani yazimbira bakatonda ab’obulimba, Asutoleesi ne Kemosi, ebyoto era ne yeegatta ku bakazi be mu kusinza bakatonda abo. Ebyoto ebyo Sulemaani yabizimba ku lusozi olwali mu maaso ga Yerusaalemi gye yali azimbye yeekaalu ya Yakuwa! (1 Bassek. 11:5-8; 2 Bassek. 23:13) Oboolyawo Sulemaani yeerimbalimba ng’alowooza nti singa yeeyongera okuwaayo ssaddaaka ku yeekaalu ya Yakuwa, Yakuwa yandibuusizza amaaso ebibi bye ebyo.

9. Biki ebyava mu bujeemu bwa Sulemaani?

9 Naye Yakuwa tabuusa maaso bibi. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yasunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwali guvudde ku Yakuwa . . . , eyamulabikira emirundi ebiri, era eyali yamulabula obutasinza bakatonda balala. Naye teyakola ekyo Yakuwa kye yali amulagidde.” N’ekyavaamu, Yakuwa yalekera awo okusiima Sulemaani n’okumuyamba. Bakabaka abaddira Sulemaani mu bigere tebaasobola kufuga Isirayiri ng’eri bumu era baafuna ebizibu bingi okumala emyaka mingi.​—1 Bassek. 11:9-13.

10. Kiki ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa?

10 Nga bwe kyali ku Sulemaani, ekimu ku bintu ebisinga okuleetera abantu okufiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa kwe kukola omukwano n’abo abatategeera oba abatassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. Abamu bayinza okuba nga bali mu kibiina naye nga banafu mu by’omwoyo. Abalala bayinza okuba ab’eŋŋanda zaffe, baliraanwa baffe, bakozi bannaffe, oba bayizi bannaffe abatasinza Yakuwa. Mikwano gyaffe egy’oku lusegere bwe baba nga tebassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa, ekiseera bwe kigenda kiyitawo, bayinza okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Katonda.

Mikwano gyo bakola ki ku nkolagana yo ne Yakuwa? (Laba akatundu 11)

11. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya emikwano gye tusaanidde okwekutulako?

11 Soma 1 Abakkolinso 15:33. Abantu abasinga balina engeri ennungi, era bangi abatali mu kibiina kya Yakuwa tebeenyigira mu bibi eby’amaanyi. Oyinza okuba ng’olinayo abantu ng’abo b’omanyi. Naye ekyo kibafuula okuba emikwano emirungi? Weebuuze: Okufuula abantu abo mikwano gyange kinaakwata kitya ku nkolagana yange ne Yakuwa? Banannyamba okwongera okuginyweza? Kiki ekiri mu mitima gyabwe? Ng’ekyokulabirako, basinga kwogera ku misono gya ngoye, ssente, ebintu ebiri ku mulembe, eby’okwesanyusaamu, oba okwenoonyeza eby’obugagga? Batera okwogera obubi ku balala oba okwogera ebigambo eby’obuwemu? Yesu yagamba nti: “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Mat. 12:34) Bw’okiraba nti mikwano gyo giyinza okukuviirako okufiirwa enkolagana yo ne Yakuwa, kendeeza ku biseera by’omala nabo oba beekutulireko ddala.​—Nge. 13:20.

YAKUWA AYAGALA ABANTU OKUMWEMALIRAKO

12. (a) Kiki Yakuwa kye yategeeza Abayisirayiri nga wayise ekiseera kitono nga bavudde e Misiri? (b) Abayisirayiri baayogera ki nga Yakuwa abalaze nti ayagala okumwemalirako?

12 Waliwo ne kye tuyinza okuyigira ku ekyo ekyaliwo nga waakayita ekiseera kitono ng’Abayisirayiri bavudde e Misiri. Abantu baakuŋŋaanira mu maaso g’Olusozi Sinaayi. Nga bali awo, Yakuwa yeeyoleka gye bali mu ngeri eyeewuunyisa. Ekire ekikutte kyalabika ku lusozi. Yakuwa yaleetera eggulu okubwatuka n’okumyansa, omukka gwanyooka, era eddoboozi eriringa ery’ekkondeere lyavuga. (Kuv. 19:16-19) Ku olwo Yakuwa yategeeza Abayisirayiri nti ye ‘Katonda ayagala abantu okumwemalirako.’ Yabakakasa nti yali ajja kuba mwesigwa eri abo abamwagala era abakwata ebiragiro bye. (Soma Okuva 20:1-6.) Mu ngeri endala Yakuwa yagamba abantu be nti, “Bwe munaaba ku ludda lwange, nange nja kuba ku ludda lwammwe.” Wandikoze ki nga Yakuwa Katonda akusuubizza ekintu ng’ekyo? Kya lwatu nti wandikoze ekyo Abayisirayiri kye baakola. “Baddiramu wamu nti: ‘Ebigambo byonna Yakuwa by’ayogedde tuli beetegefu okubikola.’” (Kuv. 24:3) Kyokka nga wayise ekiseera kitono, waliwo ekintu ekyaliwo ekyagezesa obwesigwa bw’Abayisirayiri.

13. Mbeera ki eyagezesa obwesigwa bw’Abayisirayiri?

13 Abayisirayiri bwe baalaba ekire ekikutte, ebimyanso, era n’obubonero obulala Katonda bwe yakola , baatya nnyo. Baasaba Musa nti y’aba ayogera ne Yakuwa ku Lusozi Sinaayi oluvannyuma abatuuseeko obubaka. (Kuv. 20:18-21) Musa yagenda ku lusozi n’amalayo ekiseera kiwanvu. Okuva bwe kiri nti kati Musa teyali nabo, ddala Abayisirayiri baali baabuliddwa mu ddungu? Kirabika okukkiriza kw’Abayisirayiri abo kwali kwesigamye nnyo ku kubeerawo kwa Musa. Baatandika okweraliikirira era ne bagamba Alooni nti: ‘Tukolere katonda anaatukulemberamu, kubanga tetumanyi kituuse ku musajja ono Musa, eyatuggya mu nsi ya Misiri.’​—Kuv. 32:1, 2.

14. Abayisirayiri beerimbalimba batya, era ekyo kye baakola kyakwata kitya ku Yakuwa?

14 Abantu baali bakimanyi nti okusinza ebifaananyi kyali kibi kya maanyi mu maaso ga Yakuwa. (Kuv. 20:3-5) Naye baatandika okusinza ennyana eya zzaabu! Wadde nga kyali kyeraga lwatu nti baali bajeemedde Yakuwa, Abayisirayiri beerimbalimba nga balowooza nti baali bakyali ku ludda lwa Yakuwa. Alooni yatuuka n’okuyita omukolo ogwo ogw’okusinza ennyana, “embaga ya Yakuwa”! Yakuwa yawulira atya? Yawulira ng’aliiriddwamu olukwe. Yagamba Musa nti abantu baali “beeyonoonye” era nti baali ‘bavudde mu kkubo lye yali abalagidde okutambuliramu.’ Yakuwa yasunguwala nnyo n’ayagala n’okusaanyaawo eggwanga lya Isirayiri eryali lyakatandikibwawo.​—Kuv. 32:5-10.

15, 16. Musa ne Alooni baakiraga batya nti baali ku ludda lwa Yakuwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 17.)

15 Yakuwa yasalawo obutasaanyaawo Bayisirayiri. Ekikolwa kye ekyo eky’obusaasizi kyawa abaweereza be abeesigwa akakisa okulaga nti baali ku ludda lwe. (Kuv. 32:14) Oluvannyuma lw’okulaba abantu nga baleekaana, nga bayimba, era nga bazinira mu maaso g’ekifaananyi ky’ennyana, Musa yakwata ekifaananyi ekyo n’akibetenta. Oluvannyuma yagamba nti: “Ani ali ku ludda lwa Yakuwa? Ajje gye ndi! Awo Abaleevi bonna ne bakuŋŋaanira we yali.”​—Kuv. 32:17-20, 26.

16 Wadde nga Alooni yeenyigira mu kukola ekifaananyi ky’ennyana, yeenenya era ye awamu n’Abaleevi abalala baasalawo okudda ku ludda lwa Yakuwa. Ng’oggyeeko okuba nti abasajja abo badda ku ludda lwa Yakuwa era beeyawula ku bantu abajeemu. Ekyo kyali kya magezi kubanga ku olwo abantu nkumi na nkumi baafiirwa obulamu bwabwe olw’okusinza ekifaananyi. Naye abo abaali ku ludda lwa Yakuwa baawonawo era Yakuwa n’abasuubiza okubawa omukisa.​—Kuv. 32:27-29.

17. Ebyo Pawulo bye yayogera ebikwata ku nnyana Abayisirayiri gye baasinza bituyigiriza ki?

17 Ng’ayogera ku ebyo ebyaliwo ng’Abayisirayiri basinzizza ennyana, Pawulo yagamba nti: “Ebintu bino byafuuka byakulabirako gye tuli, tulemenga . . . [kusinza] bifaananyi ng’abamu ku bo bwe baakola. Byawandiikibwa okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. N’olwekyo, alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.” (1 Kol. 10:6, 7, 11, 12) Nga Pawulo bwe yalaga, n’abaweereza ba Yakuwa ab’amazima, bwe bateegendereza basobola okwenyigira mu bikolwa ebikyamu. Abo abakola ebikolwa ebikyamu bayinza okulowooza nti bakyalina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Naye omuntu okwagala obwagazi okuba mukwano gwa Yakuwa oba okugamba nti mwesigwa gy’ali tekitegeeza nti asiimibwa mu maaso ga Yakuwa.​—1 Kol. 10:1-5.

18. Kiki ekiyinza okuleetera omuntu okuva ku Yakuwa, era biki ebivaamu?

18 Ng’Abayisirayiri bwe baatandika okweraliikirira nga Musa aluddeyo ku Lusozi Sinaayi, ne leero Omukristaayo ayinza okutandika okweraliikirira ng’alaba nti olunaku lwa Yakuwa n’ensi empya biruddewo okutuuka. Ayinza okutandika okulowooza nti ebintu ebyo bikyali wala nnyo oba nti biyinza n’obutabaawo. Endowooza ng’eyo eyinza okumuleetera okukulembeza ebibye mu kifo ky’okukulembeza Yakuwa by’ayagala. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ayinza okuva ku Yakuwa n’atandika okukola ebibi bye yali talowoozanganako nti asobola okubikola.

19. Kiki kye tusaanidde okujjukiranga, era lwaki?

19 Bulijjo tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ayagala tumugondere n’omutima gwaffe gwonna era tumwemalireko. (Kuv. 20:5) Buli lwe tukola ekintu Yakuwa ky’atayagala, tuba tukola Sitaani ky’ayagala era ebivaamu tebiba birungi. Bwe kityo Pawulo yatugamba nti: “Temuyinza kunywa ku kikopo kya Yakuwa ne ku kikopo kya badayimooni; temuyinza kulya ku ‘mmeeza ya Yakuwa’ ne ku mmeeza ya badayimooni.”​—1 Kol. 10:21.

NYWERERA KU YAKUWA!

20. Yakuwa ayinza atya okutuyamba nga tukoze ensobi?

20 Ebyo bye tusoma ku Kayini, Sulemaani, n’Abayisirayiri abaali ku Lusozi Sinaayi birina kye bifaanaganya. Abantu abo bonna baalina akakisa ‘okwenenya n’okukyusa’ amakubo gaabwe. (Bik. 3:19) Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa tayanguwa kuleka muntu aba akutte ekkubo ekkyamu. Yakuwa yasonyiwa Alooni. Leero Yakuwa atulabula ng’ayitira mu Bayibuli, mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, ne mu Bakristaayo bannaffe. Bwe tukolera ku kulabula okwo, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutusaasira.

21. Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola nga waliwo ekintu ekigezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa?

21 Yakuwa alina ensonga lwaki atulaga ekisa kye eky’ensusso. (2 Kol. 6:1) Ekisa kye eky’ensusso kituyamba “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi.” (Soma Tito 2:11-14.) Nga tukyali “mu nteekateeka y’ebintu eno,” tujja kwolekagana n’ebintu ebigezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okunywerera ku ludda lwa Yakuwa kubanga ‘Yakuwa Katonda waffe gwe tulina okuweereza era gwe tulina okunywererako’!—Ma. 10:20.