Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abantu Abagabi Baba Basanyufu

Abantu Abagabi Baba Basanyufu

“Okugaba kulimu essanyu.”​—BIK. 20:35.

ENNYIMBA: 76, 110

1. Obutonde bulaga butya nti Yakuwa mugabi?

WADDE nga Yakuwa yaliwo yekka nga tannatonda kintu kyonna, yali teyeerowoozaako yekka. Yatonda ebitonde mu ggulu ne ku nsi n’abiwa obulamu. Yakuwa, “Katonda omusanyufu,” ayagala okuwa abalala ebintu ebirungi. (1 Tim. 1:11; Yak. 1:17) Olw’okuba ayagala naffe tube basanyufu, atuyigiriza okuba abagabi.​—Bar. 1:20.

2, 3. (a) Lwaki okugaba kutuleetera essanyu? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye. (Lub. 1:27) Ekyo kiraga nti twatondebwa nga tusobola okwoleka engeri za Katonda. N’olwekyo bwe tuba ab’okufuna essanyu mu bulamu, tulina okukoppa Yakuwa nga tufaayo ku balala era nga tuba bagabi. (Baf. 2:3, 4; Yak. 1:5) Lwaki? Kubanga Yakuwa yatutonda nga tulina okuba abagabi. Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okuba abagabi nga Yakuwa.

3 Bayibuli etubuulira engeri gye tusobola okwolekamu omwoyo omugabi. Mu kitundu kino tugenda kulaba Bayibuli by’etuyigiriza ku kugaba. Tugenda kulaba n’engeri okuba abagabi gye kituviirako okusiimibwa Katonda era n’engeri okukulaakulanya omwoyo omugabi gye kituyamba okutuukiriza omulimu Katonda gwe yatuwa. Ate era tugenda kulaba engeri okugaba gye kutuleeteramu essanyu n’ensonga lwaki tusaanidde okweyongera okukulaakulanya omwoyo omugabi. 

ENGERI GYE TUYINZA OKUSIIMIBWA KATONDA

4, 5. Yakuwa ne Yesu batuteereddewo batya ekyokulabirako ekirungi mu kuba abagabi?

4 Olw’okuba Yakuwa ayagala abantu bamukoppe, kimusanyusa nnyo bwe tuba abagabi. (Bef. 5:1) Engeri gye twatondebwamu, n’ebintu ebirungi ebingi ebiri ku nsi, biraga nti Katonda ayagala tube basanyufu. (Zab. 104:24; 139:13-16) N’olwekyo bwe tukola ebintu ebisanyusa abalala, kimuweesa ekitiibwa.

5 Abakristaayo ab’amazima bafuba okukoppa Kristo, oyo eyassaawo ekyokulabirako ekituukiridde ku ngeri abantu gye basaanidde okwolekamu omwoyo omugabi. Yesu yagamba nti: “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Mat. 20:28) Bwe kityo, omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo nti: “Mubeerenga n’endowooza eno Kristo Yesu gye yalina . . . Yeggyako buli kye yalina n’aba ng’omuddu.” (Baf. 2:5, 7) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Waliwo engeri gye nnyinza okwongera okutambulira mu bigere bya Yesu?’​—Soma 1 Peetero 2:21.

6. Kiki Yesu kye yatuyigiriza mu lugero olukwata ku Musamaliya Omulungi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)

6 Bwe tuba ab’okusiimibwa Yakuwa, tulina okukoppa ekyokulabirako kye n’ekya Kristo, nga tufaayo ku balala era nga tunoonya engeri ey’okubayambamu. Yesu yakyoleka bulungi mu lugero olukwata ku Musamaliya omulungi nti asuubira abagoberezi be okubaako bye beefiiriza okuyamba abalala, ne bwe baba nga si ba ggwanga lyabwe. (Soma Lukka 10:29-37.) Ojjukira ekibuuzo ekyaviirako Yesu okugera olugero olukwata ku Musamaliya Omulungi? Omuyudaaya omu yamubuuza nti: “Muliraanwa wange y’ani?” Ebyo Yesu bye yaddamu omusajja oyo biraga nti bwe tuba ab’okusiimibwa mu maaso ga Katonda tulina okuba abagabi ng’Omusamaliya oyo.

7. Kakwate ki akaliwo wakati w’okugaba n’ensonga Sitaani gye yaleetawo mu lusuku Edeni?

7 Waliwo ensonga nnyingi lwaki Abakristaayo basaanidde okuba abagabi. Ng’ekyokulabirako, okugaba kulina akakwate n’ensonga Sitaani gye yaleetawo mu lusuku Edeni. Mu ngeri ki? Sitaani yagamba nti Adamu ne Kaawa awamu n’abantu bonna bandibadde bulungi singa beefaako bokka era singa bakulembeza ebyabwe mu kifo ky’okugondera Katonda. Kaawa yeerowoozaako yekka bwe yayagala okuba nga Katonda. Adamu naye yeefaako yekka bwe yasalawo okusanyusa mukyala we mu kifo ky’okusanyusa Katonda. (Lub. 3:4-6) Ebyo ebyava mu ebyo bye baasalawo tubiraba. Okwerowoozaako ffekka tekivaamu ssanyu wabula kivaamu bizibu. Bwe tuba abagabi tuba tukiraga nti tukkiriza nti engeri Katonda gy’akolamu ebintu y’esingayo obulungi.

KOLA OMULIMU KATONDA GWE YAWA ABANTU BE

8. Lwaki Adamu ne Kaawa bandirowoozezza ku balala?

8 Katonda yawa Adamu ne Kaawa ebiragiro ebyandibaleetedde okulowooza ku balala wadde nga baali bokka mu lusuku Edeni. Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa omukisa n’abagamba bazaale bajjuze ensi era babeere n’obuyinza ku yo. (Lub. 1:28) Ng’Omutonzi bwe yali ayagaliza ebitonde bye okuba ebisanyufu, ne bazadde baffe abaasooka nabo bandibadde baagaliza abaana baabwe abaali batannazaalibwa okuba abasanyufu. Katonda yali asuubira nti Adamu ne Kaawa awamu n’abaana baabwe bandikoledde wamu okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda.

9. Lwaki abantu bandifunye essanyu mu kukola omulimu ogw’okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda?

9 Abantu abatuukiridde okusobola okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda baalina okukolera awamu ne Katonda okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye bwe batyo ne bayingira mu kiwummulo kye. (Beb. 4:11) Lowooza ku ssanyu lye bandifunye mu mulimu ogwo! Yakuwa yandibawadde emikisa mingi olw’obuteerowoozaako bokka n’olw’okufaayo ku balala.

10, 11. Tuyinza tutya okutuukiriza omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa?

10 Leero, Yakuwa awadde abantu be omulimu ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Okusobola okutuukiriza omulimu ogwo, tulina okuba nga tufaayo ku balala. Okusobola okweyongera okukola omulimu ogwo, tulina okuba nga twagala Katonda ne bantu bannaffe.

11 Mu kyasa ekyasooka, Pawulo yagamba nti ye ne banne baali ‘bakolera wamu ne Katonda’ kubanga baali babuulira era nga bayigiriza abantu amazima. (1 Kol. 3:6, 9) Leero naffe tusobola okukolera awamu ne Katonda nga tuwaayo ebiseera byaffe, ebintu byaffe, n’amaanyi gaffe okusobola okuwagira omulimu ogw’okubuulira. Eyo nga nkizo ya maanyi!

Ekimu ku bintu ebisingayo okuleeta essanyu kwe kuyamba abantu ab’emitima emirungi okuyiga amazima (Laba akatundu 12)

12, 13. Birungi ki ebiva mu kufuula abantu abayigirizwa?

12 Bwe tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa tufuna essanyu lingi. Bangi abayigirizza abantu Bayibuli ne bakulaakulana bagamba nti ekyo kye kimu ku bintu ebisingayo okuleeta essanyu. Kireeta essanyu lingi okulaba abantu nga bakwatibwako olw’ebyo bye bayiga, nga beeyongera okunywera mu kukkiriza, nga bakola enkyukakyuka, era nga batandika okubuulirako abalala ku ebyo bye bayiga. Yesu naye yafuna essanyu lingi abayigirizwa be 70 be yasindika okubuulira bwe ‘baakomawo nga basanyufu’ olw’ebirungi bye baali bafunye mu kubuulira.​—Luk. 10:17-21.

13 Ababuulizi bangi okwetooloola ensi bafuna essanyu lingi bwe balaba engeri amawulire amalungi gye gakyusaamu obulamu bw’abantu. Lowooza ku mwannyinaffe Anna, ali obwannamunigina, eyagenda okuweereza mu kitundu ekimu ekiri mu Bulaaya awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. * Agamba nti: “Eno kyangu okufuna abayizi ba Bayibuli era ekyo kinsanyusa nnyo. Nnyumirwa nnyo obuweereza bwange. Bwe nkomawo awaka, ebirowoozo sibimalira ku bintu ebinkwatako. Ndowooza ku abo be njigiriza Bayibuli, ebizibu bye balina, n’ebibeeraliikiriza. Ndowooza ku ngeri gye nsobola okubazzaamu amaanyi n’engeri gye nnyinza okubayambamu. Nneeyongedde okukiraba nti ‘okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.’”​—Bik. 20:35.

Bwe tufuba okutuuka ku buli nnyumba eri mu kitundu kyaffe, tuwa abantu akakisa okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka (Laba akatundu 14)

14. Oyinza otya okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira abantu ne bwe baba nga tebawuliriza?

14 Bwe tuwa abantu akakisa okuwulira amawulire amalungi ne bwe baba nga tebagakkirizza, kituleetera essanyu. Omulimu gwe tukola leero gufaananako ogwa nnabbi Ezeekyeri, Yakuwa gwe yagamba nti: “Ojja kubabuulira ebigambo byange, ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize.” (Ezk. 2:7; Is. 43:10) Wadde ng’abamu tebakkiriza bubaka bwaffe, ye Yakuwa asiima kye tukola. (Soma Abebbulaniya 6:10.) Omubuulizi omu yayoleka endowooza ennuŋŋamu bwe yali ayogera ku buweereza bwe. Yagamba nti: “Ffe tusize, ne tufukirira, era tusuubira nti Yakuwa ajja kukuza ensigo ezo.”​—1 Kol. 3:6.

ENGERI GYE TUYINZA OKUBA ABASANYUFU

15. Abantu bangi beeyisa batya nga twolese omwoyo omugabi, naye engeri gye beeyisaamu yandituleetedde okulekera awo okugaba?

15 Yesu ayagala tufune essanyu eriva mu kugaba. Yagamba nti: “Mugabenga, nammwe abantu balibagabira. Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, era ekijjudde ne kibooga. Kubanga ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nabo kye balikozesa okubapimira.” (Luk. 6:38) Kyo kituufu nti bangi tebajja kusiima mwoyo mugabi gw’oyoleka. Naye abamu bwe balaba ng’oyoleka omwoyo ogwo kiyinza okubakwatako nabo ne batandika okuba abagabi. N’olwekyo, weeyongere okuba omugabi ne bwe kiba nti abalala balabika ng’abatasiima by’okola. Oyinza obutamanya birungi binaava mu kikolwa ekimu ky’okoze ekyoleka omwoyo omugabi.

16. Kiki ekyanditukubirizza okugaba?

16 Omuntu omugabi tagaba olw’okwagala naye bamugabire. Yesu yagamba nti: “Bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, abalema, n’abazibe b’amaaso; era oliba musanyufu, kubanga tewali kye balikusasula.” (Luk. 14:13, 14) Era Bayibuli egamba nti: “Omuntu omugabi ajja kuweebwa emikisa.” Era egamba nti: “Alina essanyu oyo afaayo ku munaku.” (Nge. 22:9; Zab. 41:1) Mu butuufu tufuna essanyu lingi bwe tuyamba abalala.

17. Biki bye tuyinza okugabira abalala ne tufuna essanyu?

17 Pawulo bwe yajuliza ebigambo Yesu bye yayogera nti “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa,” yali tategeeza kugabira bantu bintu bikalu byokka. Tusobola n’okugaba nga tuzzaamu abantu amaanyi, nga tubawa obulagirizi, era nga tubayamba we beetaaga obuyambi. (Bik. 20:31-35) Mu bye yayogera ne bye yakola, Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka omwoyo omugabi, kwe kugamba, nga tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okuyamba abalala, nga tubawuliriza, era nga tubalaga okwagala.

18. Kiki abanoonyereza bangi kye bazudde ku kugaba?

18 Abanoonyereza ku mbeera z’abantu nabo bakizudde nti okugaba kuleetera abantu essanyu. Bagamba nti, ‘abantu bwe bakolera abalala ebirungi kibongerako essanyu.’ Abanoonyereza abo era bagamba nti, okuyamba abalala ‘kiyamba omuntu okuba n’ekigendererwa mu bulamu kubanga kye kimu ku byetaago abantu bye balina.’ N’olwekyo, abawi b’amagezi bakubiriza abantu abaagala okuba abalamu obulungi era abasanyufu, okukola nga bannakyewa emirimu egiganyula abalala. Ekyo kye bazudde tekitwewuunyisa kubanga Omutonzi waffe Yakuwa yakiraga dda mu Bayibuli nti okugaba kuleeta essanyu.​—2 Tim. 3:16, 17.

WEEYONGERA OKUKULAAKULANYA OMWOYO OMUGABI

19, 20. Lwaki oyagala okuba omugabi?

19 Tekiba kyangu kwoleka mwoyo mugabi nga twetooloddwa abantu abeefaako bokka. Naye Yesu yagamba nti amateeka agasinga obukulu kwe kwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’amaanyi gaffe gonna, n’okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala. (Mak. 12:28-31) Nga bwe tulabye mu kitundu kino, abo abaagala Yakuwa bamukoppa. Yakuwa ne Yesu bagabi era baagala naffe tube bagabi kubanga ekyo kijja kutuleetera essanyu. Bwe tufuba okwoleka omwoyo omugabi nga tuweereza Katonda era nga tukolagana ne bantu bannaffe, tuweesa Yakuwa ekitiibwa, kituganyula, era kiganyula n’abalala.

20 Tewali kubuusabuusa nti ofuba okubaako by’okolera abalala naddala bakkiriza banno. (Bag. 6:10) Bwe weeyongera okukola bw’otyo, abalala bajja kukwagala era bajja kukusiima era ekyo kijja kukuleetera essanyu. Engero 11:25 wagamba nti: “Omugabi ajja kugaggawala, na buli azzaamu abalala amaanyi ajja kuzzibwamu amaanyi.” Kya lwatu nti waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okugabiramu abalala n’okubalaga ekisa, era ebivaamu biba birungi. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ezimu ku ngeri ezo.

^ lup. 13 Erinnya likyusiddwa.