Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Bwe Mumanya Ebintu Bino, Muba Basanyufu Bwe Mubikola”

“Bwe Mumanya Ebintu Bino, Muba Basanyufu Bwe Mubikola”

“Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.”​—YOK. 4:34.

ENNYIMBA: 80, 35

1. Omwoyo gw’ensi ogw’okwerowoozaako guyinza kutukolako ki?

LWAKI si kyangu kukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda? Ensonga emu eri nti kyetaagisa obwetoowaze okukola ekituufu. Mu nnaku zino “ez’enkomerero” si kyangu kusigala nga tuli beetoowaze kubanga abantu abasinga obungi leero ‘beeyagala bokka, baagala nnyo ssente, beepanka, ba malala, era tebeefuga.’ (2 Tim. 3:1-3) Abaweereza ba Yakuwa tukimanyi nti kikyamu okweyisa mu ngeri eyo, naye oluusi bwe tulaba ng’abantu abeeyisa mu ngeri eyo balinga abali obulungi tuyinza okubakwatirwa ensaalwa. (Zab. 37:1; 73:3) Omukristaayo ayinza okutandika okwebuuza: ‘Waliwo omuganyulo gwonna oguli mu kukulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebyange? Bwe nneetwala “okuba owa wansi,” abantu tebaalekere awo kunzisaamu kitiibwa?’ (Luk. 9:48) Bwe tukkiriza omwoyo gw’ensi ogw’okwerowoozaako okututwaliriza, kisobola okwonoona enkolagana gye tulina ne bakkiriza bannaffe era kiba kizibu abalala okukimanya nti tuli Bakristaayo. Naye bwe twekenneenya ebikwata ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abassaawo ekyokulabirako ekirungi era ne tufuba okubakoppa, tujja kuganyulwa nnyo.

2. Okwekenneenya ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda abeesigwa kituganyula kitya?

2 Bwe tuba ab’okukoppa abaweereza ba Yakuwa abeesigwa tulina okwekenneenya ebyo bye baakola ne bibaviiramu ebirungi. Baasobola batya okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda, okusiimibwa mu maaso ge, n’okutuukiriza ebyo by’ayagala? Bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku byokulabirako byabwe kinyweza okukkiriza kwaffe.

EBITUYAMBA OKUSIGALA NGA TULINA OKUKKIRIZA OKUNYWEVU

3, 4. (a) Yakuwa atuyigiriza atya? (b) Lwaki okufuna obufunyi okumanya si kye kyokka ekituyamba okuba n’okukkiriza okunywevu?

3 Yakuwa atuwa ebyo bye twetaaga okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe. Tufuna okubuulirirwa n’okutendekebwa okulungi okuyitira mu Bayibuli, ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, omukutu gwaffe ogwa Intaneeti, ttivi yaffe, n’enkuŋŋaana zaffe ennene n’entono. Naye okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 4:34, okufuna obufunyi okumanya si kye kyokka ekituyamba okuba n’okukkiriza okunywevu. Kiki ekirala ekyetaagisa? Yesu yagamba nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.”

4 Eri Yesu okukola Katonda by’ayagala kyalinga emmere. Mu ngeri ki? Ng’emmere ennungi bw’esobozesa emibiri gyaffe okuba emiramu obulungi n’okuba n’amaanyi, okukola Katonda by’ayagala kituzzaamu amaanyi era kinyweza okukkiriza kwaffe. Mirundi emeka gy’ogenze okubuulira nga teweewulira bulungi naye n’okomawo ng’ozziddwamu amaanyi?

5. Birungi ki ebiva mu kwoleka amagezi?

5 Amagezi kwe kukolera ku bulagirizi bwa Katonda. (Zab. 107:43) Abo abooleka amagezi ago baganyulwa nnyo. Bayibuli egamba nti: “Tewali kintu ky’oyinza kwegomba ekiyinza okugenkana. . . . Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagafuna, era abo abaganywererako bajja kuyitibwa basanyufu.” (Nge. 3:13-18) Yesu yagamba nti: “Bwe mumanya ebintu bino, muba basanyufu bwe mubikola.” (Yok. 13:17) Abayigirizwa ba Yesu bandisigadde nga basanyufu bwe bandyeyongedde okukolera ku ebyo bye yabayigiriza. Baalina okubikolerako obulamu bwabwe bwonna.

6. Lwaki tulina okweyongera okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli?

6 Ne leero tulina okweyongera okukolera ku ebyo bye tumanyi nti bituufu. Ng’ekyokulabirako, makanika ayinza okuba ng’alina eby’okukozesa era ng’amanyi n’eky’okukola. Naye ebintu ebyo tebisobola kumugasa singa tabikozesa. Bw’aba nga yakanikako emabega era n’afuna n’obumanyirivu, alina okusigala ng’akanika okusobola okusigala nga mukugu era ng’akola bulungi emirimu gye. Mu ngeri y’emu, naffe bwe twali twakayiga amazima, twafuna essanyu mu kukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Naye okusobola okusigala nga tuli basanyufu tulina okweyongera okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa buli lunaku.

7. Bwe tuba ab’okwoleka amagezi, kiki kye tusaanidde okukola nga tusomye ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli?

7 Tugenda kulabayo ezimu ku mbeera mwe kiyinza okutubeerera ekizibu okusigala nga tuli beetoowaze, era tugenda kulaba engeri abaweereza ba Yakuwa abeesigwa gye beeyisaamu nga bali mu mbeera ng’ezo. Okusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo, tetulina kukoma bukomi ku kusoma ne tumanya ebibakwatako. Naye era tulina okubifumiitirizaako ne tulaba engeri gye tusobola okubikolerako era ne tubikolerako.

TEWEETWALA KUBA WA WAGGULU KU BALALA

8, 9. Ebyo ebiri mu Ebikolwa 14:8-15 biraga bitya nti omutume Pawulo yali mwetoowaze? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

8 Katonda ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Otwala otya abantu aba buli ngeri abatannayiga mazima? Omutume Pawulo yagendanga mu makuŋŋaaniro ng’anoonya Abayudaaya abaali balina kye bamanyi ku Katonda. Naye teyabuuliranga Bayudaaya bokka. Yabuuliranga n’abantu abalala. Naye oluusi engeri abo abaali basinza bakatonda abalala gye beeyisangamu ng’ababuulidde yali esobola okukifuula ekizibu gy’ali okusigala nga mwetoowaze.

9 Ng’ekyokulabirako, ku lugendo lwa Pawulo olw’obuminsani olwasooka, abantu b’omu Lukawoniya baatwala Pawulo ne Balunabba okuba bakatonda baabwe, Zewu ne Kerume. Ekyo kyaleetera Pawulo ne Balunabba okwetwala ng’ab’ekitalo? Baakitwala nti ekyo kyandibayambye obutayigganyizibwa nga bwe baali bayigganyiziddwa mu bibuga ebibiri bye baali basembyeyo okugendamu? Baakitwala nti ettutumu lye baali bafunye lyandibayambye okubunyisa amawulire amalungi? Nedda! Pawulo ne Balunabba baayuza ebyambalo byabwe, era ne bagamba abantu nti: “Lwaki mukola ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe.”​—Bik. 14:8-15.

10. Lwaki Pawulo ne Balunabba tebeetwala nti baali ba waggulu ku bantu b’omu Lukawoniya?

10 Mu kugamba nti nabo baali bantu abatatuukiridde, Pawulo ne Balunabba baali tebategeeza nti engeri gye baali basinzaamu y’emu n’eyo abantu abo abakaafiiri gye baali basinzaamu. Pawulo ne Balunabba baali baminsani abaali balondeddwa Katonda. (Bik. 13:2) Ate era bombi baali baafukibwako omwoyo omutukuvu era nga balina essuubi ery’ekitalo. Wadde kyali kityo, Pawulo ne Balunabba baali bakimanyi nti abantu b’omu Lukawoniya bwe bandiwulirizza amawulire amalungi nabo bandifunye enkizo ezo.

11. Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze nga Pawulo nga tubuulira?

11 Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze nga Pawulo? Tetusaanidde kulowooza nti omulimu gw’okubuulira gwe tukola oba ebintu ebirala byonna Yakuwa by’atusobozesa okutuukiriza bitufuula ba njawulo ku balala. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ntwala ntya abantu be mbuulira? Kyandiba nti mu butali bugenderevu waliwo abantu be nninako endowooza enkyamu olw’okuba abantu abasinga obungi mu kitundu babanyooma?’ Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi bafuba okunoonya abantu aba buli ngeri abali mu bitundu byabwe abayinza okukkiriza amawulire amalungi. Abamu bafuba n’okuyiga ennimi n’obuwangwa bw’abantu abanyoomebwa abalala. Abo abafuba okubuulira abantu ng’abo tebeetwala nti ba waggulu ku bantu abo. Bafuba okutegeera buli muntu basobole okumuyamba okuyiga amazima.

SABIRA ABALALA NG’OYOGERA AMANNYA GAABWE

12. Epafula yakiraga atya nti yali afaayo ku balala?

12 Engeri endala gye tulagamu obwetoowaze kwe kusabira bakkiriza bannaffe, abo “abaafuna okukkiriza okw’omuwendo omungi ng’okwaffe.” (2 Peet. 1:1) Epafula yasabiranga bakkiriza banne. Bayibuli emwogerako emirundi esatu gyokka era emwogererako mu bbaluwa za Pawulo. Pawulo bwe yali ng’asibiddwa mu nnyumba e Rooma, yawandiikira Abakristaayo abaali mu Kkolosaayi n’abagamba nti “bulijjo [Epafula] afuba nnyo okubasabira.” (Bak. 4:12) Epafula yali amanyi bulungi ab’oluganda era yabafangako nnyo. Embeera etaali nnyangu gye yalimu ng’asibiddwa awamu ne Pawulo teyamuleetera kulekera awo kufaayo ku byetaago by’abalala eby’omwoyo. (Fir. 23) Ekyo kiraga nti Epafula yali teyeefaako yekka. Okusabira bakkiriza bannaffe, oboolyawo nga twogera n’amannya gaabwe, kikulu nnyo.​—2 Kol. 1:11; Yak. 5:16.

13. Tuyinza tutya okukoppa Epafula nga tusaba?

13 Lowooza ku abo b’osobola okusabira ng’oyogera n’amannya gaabwe. Okufaananako Epafula, bangi ku bakkiriza bannaffe basabira abo abali mu bibiina byabwe oba ab’omu maka agatali gamu aboolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, abalina okusalawo ku nsonga ez’amaanyi, oba aboolekagana n’ebikemo. Bangi basabira bakkiriza bannaabwe be batamanyi naye ng’amannya gaabwe bagaggya ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. (Genda wansi wa NEWSROOM > LEGAL DEVELOPMENTS.) Era tusaanidde okusabira abo abafiiriddwa abantu baabwe, abo abagwiriddwako obutyabaga, abali mu bitundu omuli entalo, n’abo abalina ebizibu by’eby’enfuna. Waliwo bakkiriza bannaffe bangi be twetaaga okusabira. Bwe tubasabira, kiba kiraga nti tetufaayo ku byaffe byokka wabula nti tufaayo ne ku by’abalala. (Baf. 2:4) Yakuwa awulira essaala ng’ezo.

WULIRIZA ABALALA

14. Yakuwa ataddewo atya ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kuwuliriza abalala?

14 Engeri endala gye tulagamu nti tuli beetoowaze kwe kuwuliriza abalala. Yakobo 1:19 wagamba nti tulina okuba ‘abangu okuwuliriza.’ Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu nsonga eno. (Lub. 18:32; Yos. 10:14) Lowooza ku ekyo kye tuyigira ku ebyo ebiri mu Okuva 32:11-14. (Soma.) Wadde nga Yakuwa yali teyeetaaga Musa kumuwa magezi, yaleka Musa n’ayogera ebyo ebyamuli ku mutima. Kikwanguyira okuwuliriza omuntu gw’omanyi nti oluusi n’oluusi ayoleka endowooza etali nnuŋŋamu era n’okolera ku magezi g’aba akuwadde? Yakuwa awuliriza n’obugumiikiriza abantu abamusaba mu bwesimbu.

15. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu kuwa abalala ekitiibwa?

15 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Bwe kiba nti Yakuwa ayoleka obwetoowaze n’awuliriza abantu nga bwe yawuliriza Ibulayimu, Laakeeri, Musa, Yoswa, Manowa, Eriya, ne Keezeekiya, nange sandifubye okussa ekitiibwa mu bakkiriza bannange nga mbawuliriza era nga nkolera ku magezi amalungi ge baba bampadde? Waliwo omuntu mu kibiina oba ow’eŋŋanda zange gwe nneetaaga okuwa obudde? Kiki kye ŋŋenda okukolawo?’​—Lub. 30:6; Balam. 13:9; 1 Bassek. 17:22; 2 Byom. 30:20.

“OBOOLYAWO YAKUWA ANAALABA ENNAKU YANGE”

Dawudi yagamba nti: “Mumuleke!” Ggwe wandikoze ki? (Laba akatundu 16, 17)

16. Kabaka Dawudi yakola ki nga Simeeyi amuyisizza bubi?

16 Obwetoowaze era butusobozesa okwefuga nga waliwo atuyisizza obubi. (Bef. 4:2) Ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno kisangibwa mu 2 Samwiri 16:5-13. (Soma.) Simeeyi, eyalina oluganda ku Kabaka Sawulo, yavuma Dawudi n’abaweeza be era n’abakasukira amayinja wadde nga baali tebalina kye bamukoze. Dawudi yagumira embeera eyo wadde nga yali asobola okugikomya. Kiki ekyayamba Dawudi okwefuga? Ebyo ebiri mu Zabbuli ey’okusatu bituyamba okufuna eky’okuddamu.

17. Kiki ekyayamba Dawudi okwefuga, era tuyinza tutya okumukoppa?

17 Obugambo obuli waggulu ku Zabbuli 3 bulaga nti Dawudi yayiiya Zabbuli eyo “bwe yali adduka Abusaalomu mutabani we.” Ebigambo ebiri mu lunyiriri olusooka n’olw’okubiri bikwatagana bulungi n’ebyo ebyogerwako mu Samwiri Eky’Okubiri essuula 16. Zabbuli 3:4 walaga obwesige Dawudi bwe yalina bwe yagamba nti: “Nja kukoowoola Yakuwa, era ajja kunziramu ng’ayima ku lusozi lwe olutukuvu.” Naffe bwe wabaawo atuyisa obubi tusaanidde okusaba Yakuwa. Yakuwa ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okugumiikiriza. Oyinza okulowoozaayo embeera yonna eyinza okukwetaagisa okwefuga oba okusonyiwa omuntu akuyisa obubi nga tolina ky’omukoze? Weesiga Yakuwa nti alaba embeera enzibu gy’oyitamu era nti ajja kukuyamba era akuwe emikisa?

“AMAGEZI KYE KINTU EKISINGA OBUKULU”

18. Tunaaganyulwa tutya bwe tukolera ku bulagirizi Katonda bw’atuwa?

18 Bwe tukola ekyo kye tumanyi nti kituufu, muvaamu emikisa mingi. Tekyewuunyisa nti Engero 4:7 wagamba nti: “Amagezi kye kintu ekisinga obukulu”! Wadde ng’amagezi geesigamiziddwa ku kumanya, okuba ow’amagezi kisingawo ku kutegeera ebintu ebitali bimu. Kizingiramu ebintu bye tusalawo. N’enkuyege zooleka magezi. Zikozesa amagezi agaazitonderwamu ne zeeteekerateekera eby’okulya mu kiseera eky’omusana. (Nge. 30:24, 25) Kristo, ‘amagezi ga Katonda,’ bulijjo akola ebisanyusa Kitaawe. (1 Kol. 1:24; Yok. 8:29) Katonda ajja kutuwa emikisa singa naffe tufuba okusigala nga tuli beetoowaze, ne tukolera ku ekyo kye tumanyi nti kituufu. (Soma Matayo 7:21-23.) N’olwekyo, fuba okwoleka obwetoowaze. Ekyo bw’onookikola kijja kukubiriza n’abalala okwoleka obwetoowaze. Okuyiga okukolera ku ekyo kye tumanyi nti kituufu kitwala ekiseera era kyetaagisa obugumiikiriza, naye kyoleka obwetoowaze era kivaamu emikisa mingi kati n’emirembe gyonna.