Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Katonda by’Ajja Okukola?

Biki Katonda by’Ajja Okukola?

Bw’ofuna ekizibu, ob’osuubira nti mukwano gwo ajja kubaako ky’akolawo okukuyamba. Ekyo kireetera abantu abamu okulowooza nti Katonda si mukwano gwabwe, kubanga balaba nti talina ky’akolawo kubayamba. Mu butuufu, Katonda alina ebintu by’akoze okutuganyula, era ajja kubaako ky’akolawo okuggyawo ebizibu n’okubonaabona ebiriwo leero. Biki Katonda by’ajja okukola?

AJJA OKUGGYAWO EBINTU EBIBI BYONNA

Katonda ajja kumalawo ebintu ebibi byonna ng’ajjawo ensibuko yaabyo. Bayibuli eraga ensibuko y’ebintu ebibi ng’egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) “Omubi” oyo Yesu yamuyita “omufuzi w’ensi eno,” Sitaani Omulyolyomi. (Yokaana 12:31) Olw’okuba Sitaani y’afuga ensi, eyo y’ensonga lwaki waliwo ebizibu bingi mu nsi. Biki Katonda by’ajja okukola?

Yakuwa Katonda anaatera okubaako ky’akolawo ng’ayitira mu mwana we Yesu Kristo “okuzikiriza oyo alina obusobozi obw’okuleetawo okufa, nga ye Mulyolyomi.” (Abebbulaniya 2:14; 1 Yokaana 3:8) Mu butuufu, Bayibuli eraga nti Sitaani kennyini akimanyi nti asigaza “akaseera katono” azikirizibwe. (Okubikkulirwa 12:12) Ate era, Katonda ajja kuggyawo abo bonna abakola ebintu ebibi.​—Zabbuli 37:9; Engero 2:22.

AJJA KUFUULA ENSI EKIFO EKIRABIKA OBULUNGI

Katonda bw’anaamala okuggyawo ebintu ebibi byonna ku nsi, ajja kubaako ky’akolawo okutuukiriza ekigendererwa kye eri abantu n’ensi. Biki bye tusuubira?

Emirembe n’obukuumi eby’olubeerera. “Abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”​—Zabbuli 37:11.

Emmere ennungi nnyingi. “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

Amayumba agalabika obulungi n’emirimu egimatiza. “Balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu. . . . Abalonde bange balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe.”​—Isaaya 65:21, 22.

Weesunga ebintu ebyo okubaawo? Binaatera okubaawo.

AJJA KUGGYAWO OBULWADDE N’OKUFA

Leero, buli muntu alwala era n’afa, naye ebyo binaatera okukoma. Katonda anaatera okusa mu nkola emiganyulo gya ssaddaaka ya Yesu, ‘buli muntu yenna akkiririza mu Yesu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.’ (Yokaana 3:16) Biki ebinaavaamu?

Obulwadde bujja kuggwaawo. “Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’ Abantu abalibeerayo baliba basonyiyiddwa ebyonoono byabwe.”​—Isaaya 33:24.

Okufa tekuliddamu kubaawo. “Alimirira ddala okufa emirembe gyonna, era Yakuwa Mukama Afuga Byonna alisangula amaziga mu maaso gonna.”​—Isaaya 25:8.

Abantu bajja kubeerawo emirembe gyonna. “Ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.”​—Abaruumi 6:23.

Abafu bajja kuddamu okuba abalamu. “Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Abo abaafa bajja kuganyulwa mu ssaddaaka ya Kristo nga bazuukizibwa.

Katonda anaatuukiriza atya ebyo byonna?

AJJA KUSSAWO GAVUMENTI ENNUNGI

Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi n’abantu ng’ayitira mu gavumenti ye ey’omu ggulu, era yalonda Yesu okuba omufuzi waayo. (Zabbuli 110:1, 2) Eyo ye gavumenti oba obwakabaka, Yesu bwe yagamba abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, . . . Obwakabaka bwo bujje.”​—Matayo 6:9, 10.

Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna era bumalewo okubonaabona kwonna okuli mu nsi. Obwakabaka buno, ye gavumenti esingayo okuba ennungi! Eyo y’ensonga lwaki Yesu bwe yali ku nsi yafuba okubuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” era yagamba n’abayigirizwa be okukola kye kimu.​—Matayo 4:23; 24:14.

Olw’okuba Yakuwa Katonda ayagala nnyo abantu, asuubizza okubakolera ebintu ebyo byonna. Ekyo tekikuleetera kwagala kumumanya era n’okumusemberera? Bw’onoosalawo okumumanya onooganyulwa otya? Ekitundu ekiddako kijja kunnyonnyola ensonga eyo.

BIKI KATONDA BY’AJJA OKUKOLA? Katonda ajja kuggyawo obulwadde n’okufa, abantu bonna bajja kuba bumu nga bafugibwa obwakabaka bwe, era ajja kufuula ensi ekifo ekirabika obulungi