Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6

Kuuma Obugolokofu Bwo!

Kuuma Obugolokofu Bwo!

“Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!”​—YOB. 27:5.

OLUYIMBA 34 Okutambulira mu Bugolokofu

OMULAMWA *

1. Abajulirwa ba Yakuwa abasatu aboogeddwako mu katundu baasigala batya nga beesigwa eri Yakuwa?

LOWOOZA ku mbeera zino esatu. (1) Lumu omuwala Omujulirwa wa Yakuwa bw’aba ku ssomero, omusomesa mu kibiina kye alagira abayizi bonna okwenyigira mu mukolo ogumu. Omuwala oyo akimanyi nti omukolo ogwo tegusanyusa Katonda, bwe kityo agaana okugwenyigiramu. (2) Omuvubuka omulala ow’ensonyi bw’aba abuulira nnyumba ku nnyumba akimanyaako nti ennyumba gy’agenda okuddako okubuulira we wabeera muyizi munne atera okujerega Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde kiri kityo, omuvubuka oyo agenda ku nnyumba eyo n’akonkona ku luggi. (3) Ow’oluganda omu akola nnyo okusobola okulabirira ab’omu maka ge, naye lumu mukama we ku mulimu amugamba okukola ekintu ekitali kya bwesigwa oba ekitakkirizibwa mu mateeka. Wadde ng’akimanyi nti ayinza okufiirwa omulimu gwe, ow’oluganda oyo annyonnyola mukama we nti alina okuba omwesigwa n’okugondera amateeka kubanga ekyo Katonda kye yeetaagisa abaweereza be.​—Bar. 13:1-4; Beb. 13:18.

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino, era lwaki?

2 Ngeri ki z’olaba mu b’oluganda abo abasatu? Oyinza okuba ng’okiraba nti bavumu era nti beesigwa. Naye bonna booleka engeri emu enkulu ennyo, nga buno bwe bugolokofu. Buli omu ku bo mwesigwa eri Yakuwa era agaana okumenya amateeka ga Katonda. Obugolokofu bwe bubaleetera okweyisa bwe batyo. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa asanyukira buli omu ku b’oluganda abo olw’okwoleka engeri eyo. Naffe twagala okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. N’olwekyo, mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Obugolokofu kye ki? Lwaki tusaanidde okukuuma obugolokofu? Era tuyinza tutya okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu mu nnaku zino enzibu?

OBUGOLOKOFU KYE KI?

3. (a) Abaweereza ba Katonda booleka batya obugolokofu? (b) Byakulabirako ki ebisobola okutuyamba okumanya amakulu g’ekigambo “obugolokofu”?

3 Abaweereza ba Katonda booleka batya obugolokofu? Babwoleka nga baagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna era nga bamwemalirako, ne kiba nti bakulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe. Lowooza ku ngeri ekigambo obugolokofu gye kikozesebwamu mu Bayibuli. Mu Bayibuli, ekigambo “obugolokofu” kiyinza okutegeeza ekintu ekijjuvu, ekiramu obulungi, oba ekiramba. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri baawangayo eri Yakuwa ssaddaaka z’ensolo era okusinziira ku Mateeka ensolo ezo zaalina okuba nga nnamu bulungi. * (Leev. 22:21, 22) Abantu ba Katonda baali tebakkirizibwa kuwaayo nsolo ebulako wadde okugulu okumu, okutu, oba eriiso; era baali tebakkirizibwa kuwaayo nsolo ndwadde. Yakuwa yali abeetaagisa okuwaayo ensolo ennamu obulungi era nga nnamba. (Mal. 1:6-9) Kyangu okulaba ensonga lwaki Yakuwa ayagala okumuwa ekintu ekiramu obulungi era ekitalina kikibulako. Bwe tuba tulina ekintu kye tugula, ka kibe kibala, kitabo, oba ekintu ekirala kyonna, tetwagala ekyo ekirimu ebituli oba ekirina ekikibulako. Twagala ekintu nga kiri mu bulambalamba bwakyo era nga kiri mu mbeera nnungi. Ne Yakuwa bw’atyo bw’awulira bwe kituuka ku kwagala kwe tulina gy’ali ne ku kuba abeesigwa gy’ali. Okwagala kwaffe n’obwesigwa bwaffe birina okuba nga bijjuvu nga tebibulako.

4. (a) Lwaki omuntu atatuukiridde asobola okuba omugolokofu? (b) Okusinziira ku Zabbuli 103:12-14, Yakuwa atumanyiiko ki?

4 Oluusi n’oluusi tukola ensobi era ekyo kiyinza okutuleetera okuwulira nti tuli boonoonyi nnyo. Naye tulina kuba nga tutuukiridde okusobola okuba abagolokofu? Nedda. Lowooza ku nsonga bbiri lwaki ekyo si bwe kiri. Esooka, Yakuwa tatunoonyaamu nsobi. Bayibuli egamba nti: “Ai Ya, singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira?” (Zab. 130:3) Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde era nti tuli boonoonyi, era mwetegefu okutusonyiwa. (Zab. 86:5) Ey’okubiri, Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe we bukoma era tatusuubira kukola kisukka ku busobozi bwaffe. (Soma Zabbuli 103:12-14.) Kati olwo tuyinza tutya okuba abajjuvu, era abatalina kitubulako mu maaso ge?

5. Lwaki abaweereza ba Yakuwa balina okuba n’okwagala okusobola okuba abagolokofu?

5 Ekintu ekikulu ekisobola okuyamba abaweereza ba Yakuwa okuba abagolokofu kwe kwagala. Okwagala kwe tulina eri Katonda kulina okuba nga buli kiseera kujjuvu nga tekulina kikubulako. Okwagala kwe tulina eri Katonda bwe kusigala nga kujjuvu ne bwe tuba nga tugezesebwa, awo tuba bagolokofu. (1 Byom. 28:9; Mat. 22:37) Ddamu olowooze ku Bajulirwa ba Yakuwa abasatu aboogeddwako ku ntandikwa. Lwaki beeyisa bwe batyo? Omuwala oyo tayagala kusanyukirako wamu ne banne ku ssomero, omuvubuka oyo ayagala okujeregebwa muyizi munne ng’agenze ewaabwe okumubuulira, oba ow’oluganda oyo ayagala okufiirwa omulimu gwe? Kya lwatu nedda. Naye bakimanyi nti Yakuwa alina emitindo egy’obutuukirivu, era bamalirivu okukola ekyo ekisanyusa Kitaabwe ow’omu ggulu. Okwagala kwe balina eri Yakuwa kubaleetera okumukulembeza mu ebyo bye basalawo. Mu ngeri eyo bakyoleka nti bagolokofu.

ENSONGA LWAKI TWETAAGA OKUBA ABAGOLOKOFU

6. (a) Lwaki buli omu ku ffe yeetaaga okuba omugolokofu? (b) Adamu ne Kaawa baalemererwa batya okuba abagolokofu?

6 Lwaki buli omu ku ffe yeetaaga okuba omugolokofu? Kubanga Sitaani yasoomooza Yakuwa era naffe kinnoomu atusoomooza. Malayika oyo omujeemu yafuuka Sitaani, oba “Omuziyiza,” mu lusuku Edeni. Yasiiga enziro erinnya lya Yakuwa eddungi bwe yagamba nti Yakuwa Mufuzi mubi, yeefaako yekka, era nti si mwesigwa. Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa ne badda ku ludda lwa Sitaani. (Lub. 3:1-6) Obulamu obulungi bwe baalimu mu Edeni bwandibasobozesezza okwongera okunyweza okwagala kwe baalina eri Yakuwa. Naye mu kiseera Sitaani we yabagezeseza, okwagala kwe baalina eri Yakuwa tekwali kujjuvu, kwali kubulako. Oluvannyuma wajjawo ensonga eno endala: Wandibaddewo omuntu yenna eyandisobodde okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa Katonda olw’okuba amwagala? Mu ngeri endala, abantu basobola okusigala nga bagolokofu? Ekibuuzo ekyo kyajjawo mu kiseera kya Yobu.

7. Okusinziira ku Yobu 1:8-11, Yakuwa yali atwala atya obugolokofu bwa Yobu, ate ye Sitaani yali abutwala atya?

7 Yobu yaliwo mu kiseera Abayisirayiri we baabeerera e Misiri. Yobu yali mugolokofu nnyo. Okufaananako naffe, Yobu naye yali tatuukiridde era yakolanga ensobi. Naye Yakuwa yali ayagala nnyo Yobu olw’okuba Yobu yali mugolokofu. Kirabika mu kiseera ekyo, Sitaani yali yasoomooza dda Yakuwa ku bikwata ku bugolokofu bw’abantu. Bwe kityo Yakuwa yagamba Sitaani nti Yobu yali mugolokofu. Engeri Yobu gye yatambuzaamu obulamu bwe yakiraga nti Sitaani mulimba! Sitaani yasaba Yakuwa amukkirize okugezesa obugolokofu bwa Yobu. Yakuwa yali yeesiga mukwano gwe Yobu era yakkiriza Sitaani okumugezesa.​—Soma Yobu 1:8-11.

8. Sitaani yalumba atya Yobu?

8 Sitaani wa ttima era mussi. Yaggyako Yobu ebintu byonna bye yalina, n’atta abaweereza be, era n’ayonoona n’erinnya lye. Yalumba n’ab’omu maka ga Yobu n’atta abaana be ekkumi be yali ayagala ennyo. Ate era Sitaani yalwaza Yobu amayute agaluma ennyo agaabuna omubiri gwonna okuva ku mutwe okutuuka ku bigere. Mukyala wa Yobu ennaku yamuyitirirako n’atuuka n’okugamba Yobu akolimire Katonda afe. Wadde nga Yobu yatuuka n’okwagala okufa, yasigala ng’akuumye obugolokofu bwe. Oluvannyuma Sitaani yakozesa akakodyo akalala okulumba Yobu. Yakozesa abasajja basatu abaali mikwano gya Yobu. Abasajja abo baagenda ewa Yobu ne babeerayo okumala ennaku eziwera, naye tebaamubudaabuda. Mu kifo ky’ekyo baamunenya bunenya n’okumugamba ebigambo ebirumya. Baagamba nti Katonda ye yali amuleetedde ebizibu era nti obugolokofu bwe tebwali bukulu eri Katonda. Abasajja abo baatuuka n’okugamba nti Yobu yali musajja mubi era nti ebintu ebibi ebyamutuukako byali bimugwana!​—Yob. 1:13-22; 2:7-11; 15:4, 5; 22:3-6; 25:4-6.

9. Wadde nga Yobu yafuna ebizibu eby’amaanyi, kiki kye yagaana okukola?

9 Yobu yeeyisa atya ng’afunye ebizibu ebyo byonna? Yobu yali tatuukiridde. Yanenya mikwano gye egyo n’obukambwe era yayogera ebigambo oluvannyuma bye yakkiriza nti yabyogera talowoozezza. Yafaayo nnyo ku kulaga nti mutuukirivu okusinga okulaga nti Katonda mutuukirivu. (Yob. 6:3; 13:4, 5; 32:2; 34:5) Naye ne mu mbeera enzibu ennyo, Yobu yagaana okwegaana Yakuwa Katonda. Yagaana okukkiriza eby’obulimba banne abasatu bye baayogera. Yagamba nti: “Kikafuuwe nze okubayita abatuukirivu! Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!” (Yob. 27:5) Ebigambo ebyo biraga nti Yobu yali mumalirivu okukuuma obugolokofu bwe mu mbeera zonna. Yagaana okwekkiriranya; era naffe tusobola okukola kye kimu.

10. Okubuusabuusa Sitaani kwe yalina ku bugolokofu bwa Yobu kukukwatako kutya?

10 Okubuusabuusa Sitaani kwe yalina ku bugolokofu bwa Yobu kukukwatako kutya? Naawe Sitaani akwogerako ekintu kye kimu kye yayogera ku Yobu. Agamba nti Yakuwa tomwagala kuva ku mutima gwo, nti ojja kulekera awo okumuweereza okusobola okutaasa obulamu bwo, era nti obugolokofu bw’oyoleka si bwa nnamaddala! (Yob. 2:4, 5; Kub. 12:10) Ekyo kikuleetera kuwulira otya? Kiteekwa okuba nga kikuluma. Kyokka kikulu okukijjukira nti Yakuwa akwesiga ne kiba nti akkiriza Sitaani okugezesa obugolokofu bwo. Yakuwa mukakafu nti osobola okukuuma obugolokofu bwo, naawe n’okiraga nti Sitaani mulimba. Era Yakuwa asuubiza okukuyamba osobole okusigala ng’oli mugolokofu. (Beb. 13:6) Nga nkizo ya maanyi Omufuzi w’obutonde bwonna okutussaamu obwesige! Olaba ensonga lwaki kikulu nnyo okuba abagolokofu? Okuba abagolokofu kitusobozesa okulaga nti Sitaani bye yayogera bya bulimba, era kitusobozesa okutukuza erinnya lya Kitaffe eddungi n’okuwagira obufuzi bwe. Biki bye tuyinza okukola okusobola okukuuma obugolokofu bwaffe?

TUYINZA TUTYA OKUKUUMA OBUGOLOKOFU BWAFFE MU KISEERA KINO

11. Kiki kye tuyinza okuyigira ku Yobu?

11 Sitaani yeeyongeredde ddala okulumba abaweereza ba Katonda mu ‘nnaku zino ez’enkomerero.’ (2 Tim. 3:1) Mu biseera bino ebizibu, tuyinza tutya okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu bwaffe? Waliwo bye tuyinza okuyigira ku Yobu. Yobu yali yatandika dda okukuuma obugolokofu bwe nga tannaba na kugezesebwa. Lowooza ku bintu bisatu bye tuyinza okumuyigirako ebisobola okutuyamba okukuuma obugolokofu bwaffe.

Ebimu ku bintu ebisobola okutuyamba okukuuma obugolokofu bwaffe bye biruwa? (Laba akatundu 12) *

12. (a) Nga bwe kiragibwa mu Yobu 26:7, 8, 14, kiki ekyaleetera Yobu okwongera okussa ekitiibwa mu Yakuwa? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okwongera okukiraba nti Katonda wa buyinza?

12 Yobu yanyweza okwagala kwe yalina eri Yakuwa ng’afumiitiriza ku buyinza bwa Yakuwa. Yobu yawangayo ebiseera okufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa. (Soma Yobu 26:7, 8, 14.) Yawuniikirira bwe yafumiitiriza ku nsi, ku ggulu, ku bire, ne ku kubwatuka kw’eggulu. Yakiraba nti yali amanyi kitono nnyo ku bintu Yakuwa bye yatonda. Ate era ebigambo bya Yakuwa yali abitwala nga bya muwendo nnyo. Yobu yagamba nti: “Ebigambo bye mbyagadde nnyo.” (Yob. 23:12) Yobu yawuniikirira olw’ebintu Yakuwa bye yatonda era ekyo kyamuleetera okussa ekitiibwa mu Yakuwa. Yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu era yali ayagala okumusanyusa. Ekyo kyaleetera Yobu okuba omumalirivu okukuuma obugolokofu bwe. Naffe tusaanidde okukola nga Yobu. Tumanyi bingi ebikwata ku butonde okusinga abantu abaaliwo mu kiseera kya Yobu. Ate era tulina Bayibuli mu bulambalamba, etuyamba okumanya obulungi Yakuwa. Ebyo byonna bye tuyiga bisobola okutuyamba okukiraba nti Yakuwa wa buyinza. Okulaba obuyinza bwa Yakuwa n’okumussaamu ekitiibwa, kijja kutuleetera okumwagala n’okumugondera era kijja kutuleetera okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu.​—Yob. 28:28.

Okwewala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kituyamba okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu (Laba akatundu 13) *

13-14. (a) Nga bwe kiragibwa mu Yobu 31:1, Yobu yakiraga atya nti yali muwulize? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yobu?

13 Yobu yali muwulize eri Yakuwa mu buli kintu era ekyo kyamuyamba okukuuma obugolokofu bwe. Yobu yali akimanyi nti okusobola okukuuma obugolokofu kyali kimwetaagisa okuba omuwulize. Mu butuufu, buli lwe tugondera Yakuwa, kituleetera okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu bwaffe. Yobu yafuba okugondera Katonda mu bulamu bwe obwa bulijjo. Ng’ekyokulabirako, yeegenderezanga nnyo engeri gye yakolaganangamu n’abo be yali tafaanaganya nabo kikula. (Soma Yobu 31:1.) Ng’omusajja omufumbo, yali akimanyi nti kikyamu okwegwanyiza omukazi omulala yenna. Leero tuli mu nsi ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu. Okufaananako Yobu, naffe tuneewala okwegwanyiza omuntu yenna atali munnaffe mu bufumbo? Tuneewala okutunuulira ebifaananyi eby’obugwenyufu ebya buli ngeri? (Mat. 5:28) Bwe tufuba okwefuga buli lunaku, kijja kutuyamba okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu bwaffe.

Okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bintu kituyamba okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu (Laba akatundu 14) *

14 Ate era Yobu yagondera Yakuwa mu ngeri gye yali atwalamu eby’obugagga. Yobu yakiraba nti bwe yanditadde obwesige mu bintu bye yalina, yandibadde akoze ekibi ekyandibadde kimugwanyiza okubonerezebwa. (Yob. 31:24, 25, 28) Leero abantu baagala nnyo ebintu ne ssente. Bwe n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente n’ebintu, nga Bayibuli bw’etukubiriza, kijja kutuyamba okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu bwaffe.​—Nge. 30:8, 9; Mat. 6:19-21.

Okukuumira ebirowoozo byaffe ku ssuubi ery’ebiseera eby’omu maaso kituyamba okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu (Laba akatundu 15) *

15. (a) Kiki ekirala ekyayamba Yobu okukuuma obugolokofu bwe? (b) Okukuumira mu birowoozo empeera Yakuwa gy’ajja okutuwa kituyamba kitya?

15 Okussa ebirowoozo ku mpeera Katonda gye yandimuwadde, kyayamba Yobu okukuuma obugolokofu bwe. Yobu yali mukakafu nti obugolokofu bwe Katonda yali abutwala nga bukulu. (Yob. 31:6) Wadde nga yafuna ebigezo eby’amaanyi, yali mukakafu nti mu nkomerero Katonda yandimuwadde empeera. Ekyo kyamuyamba okuba omumalirivu okukuuma obugolokofu bwe. Yakuwa yasanyukira nnyo Yobu olw’okukuuma obugolokofu bwe ne kiba nti yamuwa empeera nnene ne bwe yali ng’akyali muntu atatuukiridde! (Yob. 42:12-17; Yak. 5:11) Ate era Yakuwa ajja kuwa Yobu empeera esingawo mu biseera eby’omu maaso. Naawe oli mukakafu nti bw’onookuuma obugolokofu bwo, Yakuwa ajja kukuwa empeera? Katonda waffe takyuka. (Mal. 3:6) Bwe tukijjukira nti obugolokofu bwaffe abutwala nga bwa muwendo, amaaso gaffe tujja kugakuumira ku mpeera gy’agenda okutuwa mu biseera eby’omu maaso.​—1 Bas. 5:8, 9.

16. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

16 N’olwekyo, ba mumalirivu okukuuma obugolokofu bwo! Oluusi oyinza okuwulira nti abantu abakwetoolodde tebafaayo ku kukuuma bugolokofu, naye toli wekka. Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi okwetooloola ensi abakuuma obugolokofu. Ate era bw’okuuma obugolokofu, ojja kwegatta ku baweereza ba Katonda bangi abaaliwo edda abaakuuma obugolokofu bwabwe ne bwe baali nga boolekaganye n’okufa. (Beb. 11:36-38; 12:1) Ka ffenna tube bamalirivu okukolera ku bigambo bya Yobu bino ebigamba nti: “Siryeggyako bugolokofu bwange!” Bwe tunaakuuma obugolokofu, kijja kuleetera Yakuwa okugulumizibwa emirembe n’emirembe!

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

^ lup. 5 Obugolokofu kye ki? Lwaki Yakuwa ayagala abaweereza be babe bagolokofu? Lwaki ffenna tusaanidde okuba abagolokofu? Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo. Era kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okuba abamalirivu okukuuma obugolokofu buli lunaku. Bwe tukuuma obugolokofu kituviiramu emikisa mingi.

^ lup. 3 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ennamu obulungi” ekikozesebwa ku nsolo kirina akakwate n’ekigambo “obugolokofu” ekikozesebwa ku bantu.

^ lup. 50 EKIFAANANYI: Yobu ng’ayigiriza abamu ku baana be ebintu ebyewuunyisa ebikwata ku bitonde bya Yakuwa.

^ lup. 52 EKIFAANANYI: Ow’oluganda agaana okwegatta ku bakozi banne mu kulaba ebifaananyi eby’obuseegu.

^ lup. 54 EKIFAANANYI: Ow’oluganda agaana okugula ttivi ennene gy’ateetaaga era etegya mu nfuna ye.

^ lup. 56 EKIFAANANYI: Ow’oluganda awaayo ebiseera okufumiitiriza ku nsi empya.