Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 9

Okwagala n’Obwenkanya mu Isirayiri ey’Edda

Okwagala n’Obwenkanya mu Isirayiri ey’Edda

“Ayagala obutuukirivu n’obwenkanya. Ensi ejjudde okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka.”​—ZAB. 33:5.

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe

OMULAMWA *

1-2. (a) Kiki ffenna kye twagala? (b) Tuyinza kuba bakakafu ku ki?

FFENNA twagala okwagalibwa. Era ffenna twagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Bwe batatulaga kwagala oba bwe batuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya, tuyinza okuwulira nga tetulina mugaso era tuyinza okuggwamu essuubi.

2 Yakuwa akimanyi nti twagala okwagalibwa era nti twagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. (Zab. 33:5) Katonda waffe atwagala era ayagala tuyisibwe mu ngeri ey’obwenkanya. Ekyo kyeyolekera mu Mateeka ge yawa eggwanga lya Isirayiri okuyitira mu Musa. Bw’oba ng’owulira bubi olw’obutalagibwa kwagala oba olw’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, fumiitiriza ku ngeri amateeka ga Musa * gye galagamu nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be.

3. (a) Nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 13:8-10, kiki kye tuyiga bwe twekenneenya Amateeka ga Musa? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Bwe twekenneenya ebyo ebiri mu Mateeka ga Musa kituyamba okukiraba nti Yakuwa ayagala nnyo abantu be era abafaako. (Soma Abaruumi 13:8-10.) Mu kitundu kino tugenda kulaba agamu ku mateeka agaaweebwa eggwanga lya Isirayiri era tuddemu ebibuuzo bino: Lwaki tuyinza okugamba nti Amateeka ago gaali geesigamiziddwa ku kwagala? Lwaki tuyinza okugamba nti Amateeka ago gaakubiriza abantu okuba abenkanya? Abo abaali batwala obukulembeze baalina kukozesanga batya Amateeka? Era okusingira ddala baani Amateeka be gaakuuma? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bitubudaabuda, bituwa essuubi, era bituyamba okwongera okusemberera Kitaffe atwagala ennyo.​—Bik. 17:27; Bar. 15:4.

AMATEEKA GAALI GEESIGAMIZIDDWA KU KWAGALA

4. (a) Lwaki tusobola okugamba nti Amateeka ga Musa gaali geesigamiziddwa ku kwagala? (b) Nga bwe kiragibwa mu Matayo 22:36-40, biragiro ki ebibiri Yesu bye yayogerako?

4 Tusobola okugamba nti Amateeka ga Musa gaali geesigamiziddwa ku kwagala kubanga ebintu byonna Yakuwa by’akola abikola lwa kwagala. (1 Yok. 4:8) Amateeka gonna agali mu Mateeka ga Musa Yakuwa yageesigamya ku biragiro bino ebibiri: Yagala Katonda era yagala muntu munno. (Leev. 19:18; Ma. 6:5; soma Matayo 22:36-40.) N’olwekyo, buli limu ku mateeka agasukka mu 600 agali mu Mateeka ga Musa lirina kye lituyigiriza ku kwagala kwa Yakuwa. Ka tulabeyo ebyokulabirako.

5-6. Kiki Yakuwa ky’ayagala abafumbo bakole, era kiki Yakuwa ky’alaba? Waayo ekyokulabirako.

5 Beera mwesigwa eri munno mu bufumbo era labirira abaana bo. Yakuwa ayagala omwami n’omukyala okwagalana ennyo obulamu bwabwe bwonna. (Lub. 2:24; Mat. 19:3-6) Obwenzi kye kimu ku bikolwa ebibi ennyo ebitooleka kwagala omuntu by’ayinza okukola munne. Tekyewuunyisa nti etteeka ery’omusanvu mu Mateeka Ekkumi ligamba nti: “Toyendanga.” (Ma. 5:18) Omuntu ayenda aba ayonoonye “mu maaso ga Katonda” era aba ayisizza bubi nnyo munne mu bufumbo. (Lub. 39:7-9) Omuntu bw’ayenda, munne mu bufumbo afuna obulumi obw’amaanyi ennyo, era obulumi obwo ayinza okuba nabwo okumala emyaka mingi.

6 Yakuwa alaba engeri buli omu ku bafumbo gy’ayisaamu munne. Yalagira abasajja Abayisirayiri okuyisa obulungi bakyala baabwe. Omusajja eyalinga akwata Amateeka yabanga ayagala mukazi we era teyagattululwanga naye olw’obusonga obutaliimu. (Ma. 24:1-4; Mat. 19:3, 8) Naye singa waabangawo ekizibu eky’amaanyi n’agattululwa ne mukazi we, yalinanga okumuwa ebbaluwa eraga nti bagattuluddwa. Ebbaluwa eyo yayambanga omukazi oyo obutavunaanibwa musango gwa bugwenyufu. Okugatta ku ekyo, omusajja bwe yabanga tannawa mukazi we bbaluwa ey’okugattululwa, kirabika yalinanga okusooka okwebuuza ku bakadde b’ekibuga. Mu ngeri eyo, abakadde b’ekibuga baabanga basobola okugezaako okubayamba obutaggattululwa. Omusajja Omuyisirayiri bwe yagattululwanga ne mukazi we ng’asinziira ku busongasonga, Yakuwa teyamuziyizanga. Wadde kyali kityo, yalabanga ennaku omukazi oyo gye yayitangamu n’amaziga ge yakaabanga era yamulumirirwanga.​—Mal. 2:13-16.

(Yakuwa yali ayagala abazadde bakuze bulungi abaana baabwe era babayigirize kiyambe abaana okuwulira nti balina obukuumi Laba akatundu 7-8) *

7-8. (a) Kiki Yakuwa kye yalagira abazadde okukola? (Laba ekifaananyi ku ddiba.) (b) Era biki bye tuyiga?

7 Amateeka era galaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku mbeera y’abaana. Yakuwa yalagira abazadde okulabirira abaana baabwe mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Abazadde baalina okukozesa buli kakisa ke bafuna okuyamba abaana baabwe okutegeera n’okwagala Amateeka ga Yakuwa n’okuyiga okumwagala. (Ma. 6:6-9; 7:13) Emu ku nsonga lwaki Yakuwa yabonereza Abayisirayiri eri nti baakola ebintu ebibi ennyo abamu ku baana baabwe. (Yer. 7:31, 33) Abazadde tebaalina kutwala baana baabwe ng’ekintu kye baali basobola okulagajjalira oba okuyisa obubi, wabula baalina kubatwala ng’eky’obusika, ekirabo eky’omuwendo okuva eri Yakuwa.​—Zab. 127:3.

8 Eby’okuyiga: Yakuwa yeetegereza engeri buli omu ku bafumbo gy’ayisaamu munne. Yeetaagisa abazadde okwagala abaana baabwe era bavunaanyizibwa gy’ali ku ngeri gye bayisaamu abaana baabwe.

9-11. Lwaki Yakuwa yawa etteeka erigaana abantu okwegomba?

9 Teweegombanga. Etteeka erisembayo mu Mateeka Ekkumi lyali ligaana Abayisirayiri okwegomba ebintu eby’abalala. (Ma. 5:21; Bar. 7:7) Mu kuwa Abayisirayiri etteeka eryo, Yakuwa yalina ekintu ekikulu kye yali abayigiriza. Baalina okukuuma omutima gwabwe, kwe kugamba, ebirowoozo byabwe n’enneewulira zaabwe. Yakuwa akimanyi nti omuntu okukola ekintu ekibi asooka kufuna birowoozo bibi n’okwegomba okubi. (Nge. 4:23) Singa Omuyisirayiri yakkirizanga okwegomba okubi okukula mu mutima gwe, kyabanga kisobola okumuviirako okukola abalala ebintu ebibi. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yagwa mu mutego ogwo. Dawudi yali muntu mulungi. Naye lumu yeegomba mukazi w’omusajja omulala. Okwegomba okwo kwamuviirako okukola ekibi. (Yak. 1:14, 15) Dawudi yayenda, yagezaako okulimbalimba bba w’omukazi oyo, era oluvannyuma yakola enteekateeka omusajja oyo n’attibwa.​—2 Sam. 11:2-4; 12:7-11.

10 Omuyisirayiri bwe yeegombanga ekintu kya munne, Yakuwa yakimanyanga kubanga Yakuwa asobola okumanya ebiba mu mutima gw’omuntu. (1 Byom. 28:9) Etteeka erikwata ku kwegomba lyayamba abantu ba Katonda okukimanya nti baalina okwewala ebirowoozo ebyali biyinza okubaviirako okukola ebintu ebibi. Mazima ddala Yakuwa Katonda wa magezi era alina okwagala.

11 Eby’okuyiga: Yakuwa talaba ekyo kyokka kye tuli kungulu. Alaba n’ekyo kye tuli munda. (1 Sam. 16:7) Tewali birowoozo, nneewulira, oba kikolwa kisobola kumukwekebwa. Atunoonyaamu ebirungi era atuyamba okubikola. Naye ayagala tumanye era tweggyemu ebirowoozo ebibi nga tebinnaba kutuleetera kukola bintu bibi.​—2 Byom. 16:9; Mat. 5:27-30.

AMATEEKA GAAKUBIRIZA ABANTU OKUBA ABENKANYA

12. Kintu ki ekikkaatirizibwa mu Mateeka ga Musa?

12 Amateeka ga Musa era gakikkaatiriza nti Yakuwa ayagala obwenkanya. (Zab. 37:28; Is. 61:8) Yakuwa ateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku ngeri y’okuyisaamu abalala mu ngeri ey’obwenkanya. Abayisirayiri bwe baagonderanga Amateeka Yakuwa ge yabawa, baafunanga emikisa. Bwe baamenyanga amateeka ge ag’obwenkanya era ag’obutuukirivu, baafunanga ebizibu. Lowooza ku mateeka amalala abiri agali mu Mateeka Ekkumi.

13-14. Amateeka abiri agasooka mu Mateeka Ekkumi gaali geetaagisa ki Abayisirayiri, era okukwata amateeka ago kyandibaganyudde kitya?

13 Sinza Yakuwa yekka. Amateeka abiri agasooka mu Mateeka Ekkumi gaali geetaagisa Abayisirayiri okwemalira ku Yakuwa yekka era gaabagaana okusinza ebifaananyi. (Kuv. 20:3-6) Yakuwa si ye yali aganyulwa mu mateeka ago. Gaali gaganyula bantu be. Abantu be bwe baasigala nga beesigwa gy’ali, baabanga bulungi. Bwe baasinzanga bakatonda ab’amawanga amalala baabonaabonanga.

14 Lowooza ku Bakanani. Baasinzanga ebifaananyi ebitalina bulamu mu kifo ky’okusinza Katonda omulamu era ow’amazima. Ekyo kyabafeebya nnyo era kyabassa nnyo wansi. (Zab. 115:4-8) Mu kusinza kwabwe beenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu era baasaddaakanga abaana baabwe mu ngeri ey’obukambwe ennyo. Mu ngeri y’emu, Abayisirayiri bwe baalekangayo okugondera Amateeka ga Katonda ne basalawo okusinza ebifaananyi, beefeebyanga era baaleteranga ab’omu maka gaabwe obulumi. (2 Byom. 28:1-4) Abo abaali batwala obukulembeze baava ku mitindo gya Yakuwa egy’obwenkanya. Baakozesa bubi obuyinza bwabwe ne banyigiriza abantu abanafu n’abatalina mwasirizi. (Ezk. 34:1-4) Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti yali agenda kubonereza abo abaali bayisa obubi abakazi n’abaana abatalina mwasirizi. (Ma. 10:17, 18; 27:19) Naye abantu ba Yakuwa bwe baabanga abeesigwa gy’ali era ne bayisa bannaabwe mu ngeri ey’obwenkanya, Yakuwa yabawanga emikisa.​—1 Bassek. 10:4-9.

Yakuwa atwagala era bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya akiraba (Laba akatundu 15)

15. Biki bye tuyiga ku Yakuwa?

15 Eby’okuyiga: Yakuwa si gwe tusaanidde okunenya, abantu abagamba nti bamuweereza bwe basambajja emitindo gye ne bayisa bubi abalala. Naye Yakuwa atwagala, era bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya akiraba. Atulumirirwa n’okusinga maama bw’alumirirwa omwana we abonaabona. (Is. 49:15) Wadde ng’ayinza obutabaako ky’akolawo mu bwangu, mu kiseera kye ekituufu ajja kuvunaana abo bonna abayisa obubi abalala naye ne bateenenya.

AMATEEKA GAAKOZESEBWANGA GATYA?

16-18. Amateeka ga Musa gaali gakwata ku ki, era biki bye tuyiga?

16 Amateeka ga Musa gaali gakwata ku mbeera ezitali zimu ez’obulamu bw’Omuyisisrayiri, era eyo ye nsonga lwaki kyalinga kikulu nnyo abakadde okulamula abantu ba Yakuwa mu bwenkanya. Ng’oggyeeko okukola ku nsonga ezikwatagana n’okusinza, baakolanga ne ku misango egitali gimu awamu n’obukuubagano abantu bwe baabanga nabwo. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.

17 Omuyisirayiri bwe yattanga omuntu, tebaamalanga gamutta. Abakadde b’omu kibuga mwe yabeeranga baalinanga okusooka okunoonyereza nga tebannasalawo obanga yali agwanira ekibonerezo eky’okuttibwa. (Ma. 19:2-7, 11-13) Abakadde era baalamulanga emisango egikwata ku bulamu obwa bulijjo, gamba ng’obutakkaanya abantu bwe baabanga bafunye ku bwannannyini ku bintu ebitali bimu ne ku butakkaanya obwabangawo wakati w’abafumbo. (Kuv. 21:35; Ma. 22:13-19) Abakadde bwe baabeeranga abenkanya era nga n’Abayisirayiri bagondera Amateeka, buli omu yaganyulwanga era eggwanga lya Isirayiri lyaweesanga Yakuwa ekitiibwa.​—Leev. 20:7, 8; Is. 48:17, 18.

18 Eby’okuyiga: Yakuwa afaayo ku bintu byonna bye tukola mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Ayagala twoleke okwagala n’obwenkanya mu ngeri gye tukolaganamu n’abalala. Alaba bye twogera ne bye tukola, ne bwe tuba nga tuli ffekka awaka.​—Beb. 4:13.

19-21. (a) Abakadde n’abalamuzi baalina kuyisa batya abantu ba Katonda? (b) Amateeka ga Musa gaakuuma gatya abantu, era biki bye tuyiga?

19 Yakuwa yali tayagala bantu be boonoonebwe abantu b’amawanga agaali gabeetoolodde. Eyo ye nsonga lwaki yali yeetaagisa abakadde n’abalamuzi okukwasisa abantu bonna amateeka. Naye abo abaalamulanga abantu tebaalinanga kuba bakakanyavu oba okuyisa abantu mu ngeri ey’obukambwe. Mu kifo ky’ekyo, baalina okwagala obwenkanya.​—Ma. 1:13-17; 16:18-20.

20 Yakuwa asaasira abantu be era eyo ye nsonga lwaki yassaawo amateeka agandiyambye abantu obutayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ng’ekyokulabirako, Amateeka gaakifuula kizibu omuntu okumala gasibibwako omusango gw’atazza. Omuntu eyabanga avunaanibwa yalinanga eddembe okumanya oyo eyabanga amulumiriza. (Ma. 19:16-19; 25:1) Ate omuntu bwe yabanga tannasingisibwa musango, waalina okubaawo waakiri abajulizi babiri abamuwaako obujulizi. (Ma. 17:6; 19:15) Ate watya singa Omuyisirayiri yazzanga omusango naye ng’omuntu omu yekka y’amulabye? Yali tasaanidde kulowooza nti tajja kubonerezebwa olw’ekibi kye yabanga akoze. Yakuwa yabanga alabye ky’akoze. Ate era Yakuwa yawa bataata obuyinza mu maka, naye obuyinza obwo bwaliko ekkomo. Bwe waabangawo obutakkaanya mu maka, oluusi kyetaagisanga abakadde b’ekibuga okuyingizibwa mu nsonga okusalawo eky’enkomeredde.​—Ma. 21:18-21.

21 Eby’okuyiga: Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi; takola kintu kyonna kitali kya bwenkanya. (Zab. 9:7) Awa emikisa abo bonna abanywerera ku mitindo gye, era abonereza abo abakozesa obubi obuyinza bwabwe. (2 Sam. 22:21-23; Ezk. 9:9, 10) Abantu abamu bakola ebibi ne balabika ng’abasimattuse okubonerezebwa, naye mu kiseera kye ekituufu, Yakuwa ajja kukakasa nti babonerezebwa. (Nge. 28:13) Ate bwe bateenenya, mu kiseera ekitali kya wala bajja kukimanya nti “kya ntiisa nnyo okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.”​—Beb. 10:30, 31.

OKUSINGIRA DDALA BAANI AMATEEKA BE GAAKUUMANGA?

Abakadde bwe baabanga bagonjoola obutakkaanya wakati w’abantu, baalinanga okwoleka okwagala n’obwenkanya nga Yakuwa (Laba akatundu 22) *

22-24. (a) Okusingira ddala baani Amateeka be gaakuumanga, era ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa? (b) Kulabula ki okuli mu Okuva 22:22-24?

22 Okusingira ddala Amateeka gaakumanga abo abaabanga batasobola kwerwanirira, gamba nga bamulekwa, bannamwandu, n’abagwira. Yakuwa yalagira abalamuzi mu Isirayiri nti: “Tosalirizanga ng’osala omusango gw’omugwira oba ogw’omwana atalina kitaawe, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu okuba omusingo ng’oliko ky’omuwoze.” (Ma. 24:17) Yakuwa yafangayo nnyo ku banaku n’abatalina mwasirizi. Era yabonerezanga abo abaabayisanga obubi.​—Soma Okuva 22:22-24.

23 Amateeka era gaagaananga Abayisirayiri okwegatta n’omuntu yenna gwe baalinangako oluganda, bwe gatyo ne gabayamba obutagwagwawazibwa. (Leev. 18:6-30) Obutafaananako bantu ba mawanga agaali geetoolodde Isirayiri, abaali batalaba buzibu bwonna mu kukola ekintu ng’ekyo, abantu ba Yakuwa baalina okutunuulira ekikolwa ekyo nga Yakuwa bw’akitunuulira. Baalina okukitwala nga kya muzizo.

24 Eby’okuyiga: Yakuwa ayagala abo bonna abatwala obukulembeze okufaayo ku abo be balinako obuvunaanyizibwa. Yakuwa akyawa ebikolwa byonna eby’okugwagwawaza abalala era ayagala abantu be, naddala abo abatasobola kwerwanirira, babe nga bakuumibwa era nga bayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya.

AMATEEKA GAALI ‘KISIIKIRIZE KY’EBINTU EBIRUNGI EBYALI BIGENDA OKUJJA’

25-26. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti okwagala n’obwenkanya bitambulira wamu? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu ekinaddako?

25 Okwagala n’obwenkanya butambulira wamu. Ekimu tekisobola kubeerawo awatali kinnaakyo. Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atuyisa mu ngeri ey’obwenkanya, okwagala kwe tulina gy’ali kweyongera. Ate bwe tuba nga twagala Katonda era nga twagala emitindo gye egy’obutuukirivu, kituleetera okwagala abalala n’okubayisa mu ngeri ey’obwenkanya.

26 Amateeka ga Musa gaayamba Abayisirayiri okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Naye Amateeka gaggibwawo oluvannyuma lwa Yesu okugatuukiriza, era mu kifo ky’ago, ne waddawo ekintu ekisingako obulungi. (Bar. 10:4) Omutume Pawulo yagamba nti Amateeka gaali ‘kisiikirize ky’ebintu ebirungi ebigenda okujja.’ (Beb. 10:1) Ekitundu ekiddako mu bitundu bino ebina, kijja kwogera ku bimu ku bintu ebyo ebirungi, era kirage n’ensonga lwaki okwagala n’obwenkanya bikulu nnyo mu Kibiina Ekikristaayo.

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

^ lup. 5 Kino kye kitundu ekisooka mu bitundu ebina ebigenda okutuyamba okulaba ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atufaako. Ebitundu ebirala ebisatu bijja kufulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2019. Ebitundu ebyo bijja kuba n’emitwe gino, “Okwagala n’Obwenkanya mu Kibiina Ekikristaayo,” “Okwagala n’Obwenkanya mu nsi Ennyonoonefu,” ne “Okubudaabuda Abo Abaakabasanyizibwa.”

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Amateeka agasukka mu 600 Yakuwa ge yawa Abayisirayiri okuyitira mu Musa gayitibwa “Amateeka,” “Amateeka ga Musa,” oba “ebiragiro.” Ate era ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli (Olubereberye okutuuka ku Ekyamateeka) bitera okuyitibwa Amateeka. Ate oluusi ekigambo Amateeka kikozesebwa okutegeeza Ebyawandiikibwa byonna eby’Olwebbulaniya ebyaluŋŋamizibwa.

^ lup. 60 EKIFAANANYI: Maama Omuyisirayiri ne bawala be nga bateekateeka emmere ng’eno bwe banyumya. Ate emabega, taata atendeka mutabani we engeri y’okulabiriramu endiga.

^ lup. 64 EKIFAANANYI: Abakadde ku mulyango gw’ekibuga nga bayamba nnamwandu n’omwana we abayisiddwa obubi omusuubuzi.