Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 12

Faayo ku Nneewulira y’Abalala

Faayo ku Nneewulira y’Abalala

“Buli omu alumirirwe munne.”​—1 PEET. 3:8.

OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi

OMULAMWA *

1. Okusinziira ku 1 Peetero 3:8, lwaki twagala okubeera n’abantu abatufaako era abafaayo ku nneewulira zaffe?

TWAGALA okubeera n’abantu abatufaako era abafaayo ku nneewulira zaffe. Abantu ng’abo bafuba okwessa mu bigere byaffe, kwe kugamba, bagezaako okutegeera kye tulowooza n’engeri gye twewuliramu. Bategeera obwetaavu bwaffe ne batuyamba, oluusi nga tetunnaba na kubasaba kutuyamba. Tusiima nnyo abantu ‘abatulumirirwa.’ *​—Soma 1 Peetero 3:8.

2. Lwaki kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okusobola okulumirirwa abalala?

2 Ffenna Abakristaayo twagala okuba nga tulumirirwa abalala oba nga tufaayo ku nneewulira yaabwe. Naye ekyo oluusi kiyinza obutatwanguyira. Lwaki? Ensonga emu eri nti, tetutuukiridde. (Bar. 3:23) Olw’okuba tetutuukiridde emirundi mingi tuba twagala kwefaako ffekka, era kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okufaayo ku balala. Abamu ku ffe tekitwanguyira kulumirirwa balala olw’engeri gye twakuzibwamu, oba olw’embeera ze twayitamu. Ate era enneeyisa y’abantu abatwetoolodde nayo eyinza okukifuula ekizibu gye tuli okulumirirwa abalala. Mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu bangi tebafaayo ku nneewulira z’abalala. Mu kifo ky’ekyo, “beeyagala bokka.” (2 Tim. 3:1, 2) Kiki ekiyinza okutuyamba okuvuunuka ebintu ebyo ne tuba nga tufaayo ku balala?

3. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abantu abafaayo ku balala? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Ekimu ku bintu ebiyinza okutuyamba okweyongera okufaayo ku balala kwe kukoppa Yakuwa, n’Omwana we Yesu Kristo. Yakuwa ye Katonda ow’okwagala era assaawo ekyokulabirako ekirungi mu kufaayo ku balala. (1 Yok. 4:8) Yesu yakoppa engeri za Kitaawe. (Yok. 14:9) Bwe yali ku nsi yakiraga nti asaasira abalala, bw’atyo n’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Mu kitundu kino, tugenda kusooka tulabe engeri Yakuwa ne Yesu gye bafaayo ku nneewulira z’abalala. Oluvannyuma tugenda kulaba engeri gye tuyinza okubakoppamu.

YAKUWA AFAAYO KU BALALA

4. Ebigambo ebiri mu Isaaya 63:7-9 biraga bitya nti Yakuwa afaayo nnyo ku nneewulira z’abaweereza be?

4 Bayibuli eraga nti Yakuwa afaayo ku nneewulira z’abaweereza be. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yawuliramu ng’Abayisirayiri ab’edda babonaabona. Bayibuli egamba nti: “Mu kubonaabona kwabwe kwonna yalumwanga.” (Soma Isaaya 63:7-9.) Ate era okuyitira mu nnabbi Zekkaliya, Yakuwa yakiraga nti abantu be bwe bayisibwa obubi, naye kimukwatako. Yakuwa yagamba abaweereza be nti: “Buli abakwatako mmwe aba akutte ku mmunye y’eriiso lyange.” (Zek. 2:8) Mazima ddala Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be!

Yakuwa yasaasira Abayisirayiri n’abanunula mu buddu e Misiri (Laba akatundu 5)

5. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gye yabaako ky’akolawo okuyamba abaweereza be abaali babonaabona.

5 Yakuwa takoma ku kusaasira busaasizi baweereza be ababonaabona. Abaako ky’akolawo okubayamba. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baali babonaabonera mu buddu e Misiri, Yakuwa yamanya obulumi bwe baali bayitamu n’ateekateeka okubaako ky’akolawo okubayamba. Yakuwa yagamba Musa nti: “Mazima ddala ndabye okubonaabona kw’abantu bange . . . , era mpulidde okukaaba kwabwe . . . mmanyi bulungi obulumi bwe balimu. Ŋŋenda kukka mbanunule mu mukono gw’Abamisiri.” (Kuv. 3:7, 8) Olw’okuba Yakuwa yali asaasira abantu be, yabanunula mu buddu. Nga wayise emyaka mingi ng’Abayisirayiri bali mu Nsi Ensuubize, baalumbibwa abalabe baabwe. Yakuwa yakolawo ki? “Yabasaasiranga bwe yawuliranga okusinda kwabwe olw’abo abaabanga bababonyaabonya n’abo abaabanga babakijjanya.” Yakuwa yali alumirirwa abantu be era ekyo kyamuleetera okubayamba. Yatuma abalamuzi okulokola Abayisirayiri mu mukono gw’abalabe baabwe.​—Balam. 2:16, 18.

6. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gye yafaayo ku nneewulira y’omuweereza we wadde nga teyali nnuŋŋamu.

6 Yakuwa afaayo ku nneewulira z’abantu be ne bwe kiba nti oluusi bafunye endowooza etali nnuŋŋamu. Lowooza ku Yona. Katonda yatuma Yona okugenda okulangirira obubaka obw’omusango gwe yali asalidde abantu b’omu Nineeve. Abantu b’omu Nineeve bwe beenenya, Yakuwa yasalawo obutabazikiriza. Naye ekyo Yona tekyamusanyusa. “Yasunguwala nnyo” olw’okuba ekyo kye yali alangiridde tekyatuukirira. Naye Yakuwa yali mugumiikiriza gy’ali n’amuyamba okukyusa endowooza ye. (Yon. 3:10–4:11) Oluvannyuma Yona yategeera ekyo Yakuwa kye yamuyigiriza era Yakuwa yamukozesa okuwandiika ebyo ebiri mu kitabo kya Yona tusobole okubiganyulwamu.​—Bar. 15:4. *

7. Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abantu be etulaga ki?

7 Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abantu be eraga nti Yakuwa alumirirwa abaweereza be. Amanyi obulumi n’okubonaabona bye tuyitamu kinnoomu. Yakuwa “amanyi emitima gy’abantu.” (2 Byom. 6:30) Ategeera bulungi ebirowoozo byaffe, enneewulira zaffe, n’obusobozi bwaffe we bukoma. ‘Tayinza kutuleka kukemebwa kusukka ku kye tuyinza okugumira.’ (1 Kol. 10:13) Ekyo nga kituzzaamu nnyo amaanyi!

YESU AFAAYO KU BALALA

8-10. Bintu ki ebiyinza okuba nga byayamba Yesu okuba omuntu afaayo ku balala?

8 Yesu bwe yali ku nsi, yakiraga nti afaayo nnyo ku balala. Waliwo ebintu bisatu ebiyinza okuba nga byamuleetera okufaayo ku balala. Ekisooka, nga bwe kyayogeddwako waggulu, Yesu yayoleka engeri za Kitaawe. Okufaananako Kitaawe, Yesu ayagala nnyo abantu. Wadde nga Yesu yasanyukira nnyo ebintu byonna Yakuwa bye yatonda okuyitira mu ye, ‘okusingira ddala Yesu yayagala nnyo abaana b’abantu.’ (Nge. 8:31) Okwagala kwaleetera Yesu okufaayo ku nneewulira z’abalala.

9 Eky’okubiri, okufaananako Yakuwa, Yesu naye yali asobola okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu. Yali asobola okumanya ebiruubirirwa by’omuntu n’enneewulira ye. (Mat. 9:4; Yok. 13:10, 11) N’olwekyo Yesu bwe yamanyanga nti abantu balina ennaku ku mutima, yabalumirirwanga era n’ababudaabuda.​—Is. 61:1, 2; Luk. 4:17-21.

10 Eky’okusatu, Yesu yayolekaganako n’ebimu ku bizibu abantu bye boolekagana nabyo. Ng’ekyokulabirako, kirabika amaka Yesu ge yakuliramu gaali maavu. Mu kukolera awamu ne Yusufu, kitaawe eyamukuza, Yesu yayiga okukola emirimu egy’amaanyi. (Mat. 13:55; Mak. 6:3) Kirabika Yusufu yafa nga Yesu tannamalako buweereza bwe obw’oku nsi. N’olwekyo, kirabika Yesu yayitako mu bulumi obw’okufiirwa omuntu we. Ate era Yesu yali amanyi kye kitegeeza okubeera mu maka ng’abamu balina enzikiriza za njawulo. (Yok. 7:5) Embeera ezo awamu n’endala ziyinza okuba nga zaayamba Yesu okutegeera ebizibu abantu bye bayitamu awamu n’enneewulira zaabwe.

Yesu asaasira omusajja omuggavu w’amatu n’amuggya mu kibiina ky’abantu n’amuzza ebbali n’amuwonya (Laba akatundu 11)

11. Okusingira ddala kiki ekyalaga nti Yesu afaayo nnyo ku bantu? Nnyonnyola. (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

11 Okusingira ddala ebyamagero Yesu bye yakola byalaga nti afaayo nnyo ku balala. Teyakolanga byamagero kutuukiriza butuukiriza luwalo. Yesu ‘yakwatirwanga ekisa’ abo abaabanga babonaabona. (Mat. 20:29-34; Mak. 1:40-42) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nneewulira Yesu gye yalina bwe yaggya omusajja mu kibiina ky’abantu n’amuzza ebbali n’amuggula amatu oba bwe yazuukiza omwana omu yekka owa nnamwandu. (Mak. 7:32-35; Luk. 7:12-15) Yesu yalumirirwa abantu abo era bw’atyo n’abayamba.

12. Ebyo ebiri mu Yokaana 11:32-35 biraga bitya nti Yesu yalumirirwa Maliza ne Maliyamu?

12 Yesu yalaga nti yali alumirirwa Maliza ne Maliyamu. Bwe yalaba ennaku gye baalimu olw’okufiirwa mwannyinaabwe Laazaalo, ‘Yesu yakulukusa amaziga.’ (Soma Yokaana 11:32-35.) Ekyamukaabya si kwe kuba nti yali afiiriddwa mukwano gwe ow’okulusegere. Yali akimanyi nti yali agenda kuzuukiza Laazaalo. Yesu yakaaba olw’okuba yategeera ennaku mikwano gye abo gye baalina olw’okufiirwa mwannyinaabwe era yakwatibwako nnyo.

13. Lwaki kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yesu afaayo ku bantu?

13 Kituganyula nnyo bwe twekenneenya engeri Yesu gye yafangayo ku balala. Kyo kituufu nti ffe tetutuukiridde nga ye. Naye tumwagala olw’engeri gye yayisangamu abalala. (1 Peet. 1:8) Kituzzaamu amaanyi okukimanya nti kati afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Mu kiseera ekitali kya wala ajja kuggyawo okubonaabona kwonna. Olw’okuba Yesu yaliko wano ku nsi ng’omuntu, amanyi bulungi embeera abantu gye bayitamu era ajja kusobolera ddala okuggyawo obulumi n’okubonaabona ebivudde mu bufuzi bwa Sitaani. Mazima ddala twesiimye nnyo okuba nti tulina Omufuzi ‘atulumirirwa mu bunafu bwaffe.’​—Beb. 2:17, 18; 4:15, 16.

KOPPA YAKUWA NE YESU

14. Nga bwe tukubirizibwa mu Abeefeso 5:1, 2, okwekenneenya ekyokulabirako kya Yakuwa ne Yesu kituleetera kukola ki?

14 Bwe twekenneenya ekyokulabirako Yakuwa ne Yesu kye bassaawo, kituleetera okweyongera okufaayo ku balala. (Soma Abeefeso 5:1, 2.) Kyo kituufu nti ffe tetusobola kumanya kiri mu mitima gy’abantu. Wadde kiri kityo, tusobola okugezaako okutegeera enneewulira zaabwe awamu n’ebyetaago byabwe. (2 Kol. 11:29) Obutafaananako abantu mu nsi abeefaako bokka, ffe tusaanidde okufuba ‘obutafaayo ku byaffe byokka, naye tufeeyo ne ku by’abalala.’​—Baf. 2:4.

(Laba akatundu 15-19) *

15. Okusingira ddala baani abasaanidde okulumirirwa abalala?

15 Okusingira ddala abakadde mu kibiina basaanidde okukiraga nti balumirirwa abalala. Bakimanyi nti bavunaanyizibwa eri Yakuwa ku ngeri gye bayisaamu endiga ze. (Beb. 13:17) Abakadde okusobola okuyamba bakkiriza bannaabwe balina okuba nga babalumirirwa. Abakadde bayinza batya okukiraga nti balumirirwa abalala?

16. Kiki omukadde afaayo ku balala ky’akola, era lwaki ekyo kikulu?

16 Omukadde afaayo ku balala awaayo ebiseera okubeerako awamu ne bakkiriza banne. Ababuuza ebibuuzo era n’abawuliriza bulungi. Ekyo kikulu nnyo nnaddala singa omu ku bakkiriza banne ayagala okumweyabiza naye ng’azibuwalirwa okufuna ebigambo by’asobola okukozesa okwogera ekimuli ku mutima. (Nge. 20:5) Omukadde bw’awa bakkiriza banne ebiseera, kibaviirako okumwesiga n’okumwagala ennyo.​—Bik. 20:37.

17. Kiki ab’oluganda bangi ne bannyinaffe kye basinga okusiima ku bakadde? Waayo ekyokulabirako.

17 Ab’oluganda ne bannyinnaffe bangi bagamba nti ekintu kye basinga okusiima ku bakadde mu kibiina kwe kuba nti bafaayo ku balala. Lwaki? Mwannyinaffe ayitibwa Adelaide agamba nti: “Olw’okuba balaga nti batufaako, kikifuula kyangu okwogera nabo. Osobola okukitegeera nti bakulumirirwa olw’engeri gye bakuwulirizaamu ng’oliko ky’obagamba.” Ow’oluganda eyasiima ennyo engeri omukadde omu gye yamuyisaamu agamba nti: “Nnalaba omukadde ng’azze amaziga mu maaso bwe yafumiitiriza ku mbeera yange. Ekyo sirikyerabira obulamu bwange bwonna.”​—Bar. 12:15.

18. Tuyinza tutya okukiraga nti tufaayo ku balala?

18 Kya lwatu nti abakadde bokka si be balina okufaayo ku balala. Ffenna tusobola okwoleka engeri eyo. Tuyinza kugyoleka tutya? Gezaako okutegeera ebyo ab’awaka ne bakkiriza banno bye bayitamu. Faayo ku batiini abali mu kibiina kyo, abalwadde, bannamukadde, awamu n’abo abafiiriddwako abantu baabwe. Babuuze omanye embeera yaabwe. Wuliriza bulungi nga baliko bye bakubuulira. Ka bakirabe nti otegeera embeera gye bayitamu. Beera mwetegefu okubayamba mu ngeri yonna gy’oba osobodde. Bwe tukola bwe tutyo, tuba twoleka okwagala okwa nnamaddala mu bikolwa.​—1 Yok. 3:18.

19. Lwaki tetusaanidde kuba bakakanyavu nga tugezaako okuyamba abalala?

19 Tetusaanidde kuba bakakanyavu nga tugezaako okuyamba abalala. Lwaki? Kubanga abantu beeyisa mu ngeri ya njawulo nga boolekagana n’ebizibu. Abamu baba baagala okwogera ku kizibu kyabwe ate abalala baba tebaagala. N’olwekyo wadde nga tuba twagala okubayamba, tusaanidde okwewala okubabuuza ebibuuzo ebiyinza okubakaluubirira okuddamu. (1 Bas. 4:11) Abamu ne bwe baba nga beetegefu okutubuulira ebizibu byabwe, tuyinza okukiraba nti engeri gye tutunuuliramu ebintu ya njawulo ku ngeri gye babitunuuliramu. Naye tusaanidde okukimanya nti bwe batyo bwe beewulira. Twagala okuba abangu okuwuliriza naye tulwengawo okwogera.​—Mat. 7:1; Yak. 1:19.

20. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Ng’oggyeeko okufaayo ku balala mu kibiina, twagala okwoleka engeri eyo ne mu buweereza bwaffe. Tuyinza tutya okukiraga nti tufaayo ku balala nga tubuulira? Ensonga eyo tujja kugiraba mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

^ lup. 5 Yakuwa ne Yesu bafaayo ku nneewulira z’abalala. Mu kitundu kino tugenda kulaba kye tuyinza okubayigirako. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okufaayo ku nneewulira z’abalala n’engeri gye tuyinza okukikolamu.

^ lup. 1 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: ‘Okulumirirwa abalala’ kitegeeza okufuba okutegeera enneewulira y’abalala ne tuwulira nga bo. (Bar. 12:15) Mu kitundu kino ebigambo ‘okulumirirwa abalala’ ne ‘okufaayo ku balala’ bitegeeza ekintu kye kimu.

^ lup. 6 Yakuwa yafaayo ne ku baweereza be abalala abeesigwa abaalina ennaku ku mutima oba abaali baweddemu amaanyi. Lowooza ku ebyo ebyogerwa ku Kaana (1 Sam. 1:10-20), Eriya (1 Bassek. 19:1-18), ne Ebedumereki (Yer. 38:7-13; 39:15-18).

^ lup. 65 EBIFAANANYI: Enkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka zituwa akakisa okufaayo ku balala. Tulaba (1) omukadde ng’ayogerako n’omubuulizi omuto awamu ne maama we, (2) taata omu ne muwala we nga bayambako mwannyinaffe akaddiye okugenda ku mmotoka, (3) abakadde babiri nga bawuliriza bulungi mwannyinaffe ng’aliko by’abagamba.