Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 13

Faayo ku Balala ng’Obuulira

Faayo ku Balala ng’Obuulira

“N’abasaasira . . . N’atandika okubayigiriza ebintu bingi.”​—MAK. 6:34.

OLUYIMBA 70 Noonya Abagwanira

OMULAMWA *

1. Ekimu ku bintu ebikwata ku Yesu ekitusanyusa ennyo kye kiruwa? Nnyonnyola.

YESU ategeera bulungi ebizibu abantu abatatuukiridde bye bayitamu. Bwe yali ku nsi Yesu ‘yasanyukira wamu n’abo abasanyuka era yakaabira wamu n’abo abakaaba.’ (Bar. 12:15) Ng’ekyokulabirako, abayigirizwa be 70 bwe baakomawo nga basanyufu nga bava okubuulira, Yesu ‘yajjula essanyu n’omwoyo omutukuvu.’ (Luk. 10:17-21) Ate ku mulundi omulala bwe yalaba ennaku abantu gye baalina nga Laazaalo afudde, Yesu ‘yasinda era n’anyolwa nnyo.’​—Yok. 11:33.

2. Kiki ekyaleetera Yesu okufaayo ku bantu?

2 Kiki ekyaleetera Yesu, omusajja atuukiridde, okulaga abantu abatatuukiridde ekisa n’obusaasizi? Ekisooka, Yesu yali ayagala nnyo abantu. Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, Yesu ‘okusingira ddala yayagala nnyo abaana b’abantu.’ (Nge. 8:31) Okwagala kwe yalina eri abantu kwamuleetera okutegeera obulungi engeri abantu gye balowoozaamu. Omutume Yokaana yagamba nti: “[Yesu] yali amanyi ekiri mu mutima gw’omuntu.” (Yok. 2:25) Yesu yali afaayo nnyo ku balala. Abantu baakiraba nti Yesu yali abafaako era ekyo kyabaleetera okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Gye tukoma okukiraga nti tufaayo ku balala gye tujja okukoma okuyamba abalala okuyiga amazima.​—2 Tim. 4:5.

3-4. (a) Bwe tuba nga tufaayo ku balala, omulimu gwaffe ogw’okubuulira tunaagutwala tutya? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Omutume Pawulo yali akimanyi nti alina okubuulira, era naffe tukimanyi nti tulina okubuulira. (1 Kol. 9:16) Naye bwe tuba tufaayo ku balala, tetujja kubuulira kutuusa butuusa luwalo. Tujja kubuulira olw’okuba twagala okuyamba abantu. Tukimanyi nti “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Bwe tuba n’endowooza eyo ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira, tujja kweyongera okugunyumirwa.

4 Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukiraga nti tufaayo ku balala nga tubuulira. Naye tugenda kusooka tulabe kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yafangayo ku bantu. Oluvannyuma tujja kulaba ebintu bina bye tuyinza okumukoppako.​—1 Peet. 2:21.

YESU YAKIRAGA NTI AFAAYO KU BANTU BWE YALI ABUULIRA

Okulumirirwa abalala kyaleetera Yesu okubuulira abantu obubaka obubudaabuda (Laba akatundu 5-6)

5-6. (a) Baani Yesu be yalumirirwa? (b) Lwaki Yesu yasaasira abantu be yali abuulira, nga bwe kyali kyalagibwa mu Isaaya 61:1, 2?

5 Lowooza ku ngeri Yesu gye yakiragamu nti alumirirwa abalala. Lumu Yesu n’abayigirizwa be baali bakooye nnyo nga bava okubuulira. Baali tebafunye ‘wadde ekiseera okulya emmere.’ Bwe kityo, Yesu yatwala abayigirizwa be “mu kifo etaali bantu” basobole okuwummulamu. Naye abantu badduka ne basookayo Yesu n’abayigirizwa be gye baali bagenda. Yesu bwe yatuukayo n’abalaba abantu abo, yawulira atya era kiki kye yakolawo? ‘Yabasaasira * kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.’​—Mak. 6:30-34.

6 Lwaki Yesu yasaasira abantu abo? Yagamba nti “baali ng’endiga ezitalina musumba.” Yesu ayinza okuba nga yalaba nti abamu ku bantu abo baali baavu era nga bakola ekiseera kiwanvu okusobola okulabirira ab’omu maka gaabwe. Abalala bayinza okuba nga baalina ennaku olw’okufiirwa abantu baabwe. Bwe kiba kityo, Yesu yali ategeera embeera yaabwe. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yesu kennyini ayinza okuba nga yayolekaganako n’ebimu ku bizibu ebyo. Yesu yali afaayo ku balala, era ekyo kyamuleetera okubabuulira obubaka obubudaabuda.​—Soma Isaaya 61:1, 2.

7. Tuyinza tutya okukoppa Yesu?

7 Kiki kye tuyigira ku Yesu? Okufaananako Yesu, naffe twetooloddwa abantu abali “ng’endiga ezitalina musumba.” Boolekagana n’ebizibu bingi. Tulina kye beetaaga, nga buno bwe bubaka bw’Obwakabaka. (Kub. 14:6) N’olwekyo, okufaananako Mukama waffe, tubuulira amawulire amalungi olw’okuba ‘tusaasira abanaku n’abaavu.’ (Zab. 72:13) Tulumirirwa abantu era twagala okubaako kye tukolawo okubayamba.

ENGERI GYE TUYINZA OKUKIRAGA NTI TULUMIRIRWA ABALALA

Faayo ku byetaago by’abantu kinnoomu (Laba akatundu 8-9)

8. Emu ku ngeri gye tulagamu nti tulumirirwa abalala y’eruwa? Waayo ekyokulabirako.

8 Kiki ekisobola okutuleetera okulumirirwa abantu be tubuulira? Tusaanidde okwessa mu bigere byabwe era tubayise nga naffe bwe twandyagadde okuyisibwa nga tuli mu mbeera gye balimu. * (Mat. 7:12) Ka tulabe ebintu bina bye tuyinza okukola. Ekisooka, tusaanidde okulowooza ku byetaago by’abantu kinnoomu. Bwe tuba tubuulira tuba ng’omusawo. Omusawo omulungi afaayo ku byetaago by’abalwadde kinnoomu. Abuuza omulwadde ebibuuzo era n’amuwuliriza bulungi ng’annyonnyola obulwadde obumuluma oba obubonero bw’obulwadde obumuluma. Mu kifo ky’okuwa omulwadde eddagala lyonna ly’asanze, omusawo oyo ayinza okuleka ekiseera ne kiyitawo nga bwe yeetegereza obubonero bw’obulwadde, n’asobola okuwa omulwadde eddagala ettuufu. Mu ngeri y’emu, tetusaanidde kukozesa nnyanjula y’emu ku buli muntu gwe tusanga nga tubuulira. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okulowooza ku mbeera z’abantu kinnoomu awamu n’endowooza zaabwe.

9. Kiki kye tutasaanidde kulowooza? Nnyonnyola.

9 Bw’osanga omuntu ng’obuulira, tolowooza nti omanyi embeera gy’ayitamu oba nti omanyi by’akkiririzaamu n’ensonga lwaki abikkiririzaamu. (Nge. 18:13) Mu kifo ky’ekyo, kozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi osobole okumanya omuntu oyo ne by’akkiririzaamu. (Nge. 20:5) Bwe kiba nga tekirina buzibu mu buwangwa bwammwe, oyinza okumubuuza ebikwata ku mulimu gwe, ku maka ge, by’ayiseemu mu bulamu, n’endowooza gy’alina ku bintu ebitali bimu. Bwe tubuuza abantu ebibuuzo, mu ngeri endala, tuba ng’ababagamba okutubuulira ensonga lwaki beetaaga amawulire amalungi. Ekyo bwe tukimanya, tuba tusobola okulaga nti tubafaako nga tubawa obuyambi bwennyini bwe beetaaga nga Yesu bwe yakola.​—Geraageranya 1 Abakkolinso 9:19-23.

Lowooza ku mbeera omuntu gw’ogenda okubuulira gy’ayinza okuba ng’ayitamu (Laba akatundu 10-11)

10-11. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 4:7, 8, kiki ekirala kye tusobola okukola okulaga nti tulumirirwa abalala? Waayo ekyokulabirako.

10 Eky’okubiri, gezaako okulowooza ku ebyo bye bayitamu mu bulamu. Ekyo kisobola okukuyamba okutegeera embeera gye bayitamu, kubanga naffe tetutuukiridde era tufuna ebizibu abantu abalala bonna bye bafuna. (1 Kol. 10:13) Tumanyi nti obulamu mu nsi eno si bwangu. Yakuwa y’atuyamba okugumira ebizibu bye tufuna. (Soma 2 Abakkolinso 4:7, 8.) Naye lowooza ku bantu aboolekagana n’ebizibu ebiri mu nsi kyokka nga tebamanyi Yakuwa. Okufaananako Yesu, naffe tubasaasira, era ekyo kituleetera okubabuulira “amawulire amalungi ag’ekintu ekisingako obulungi.”​—Is. 52:7.

11 Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Sergey. Bwe yali tannayiga mazima, Sergey yalina ensonyi era nga musirise. Tekyamwanguyiranga kwogera na balala. Naye ekiseera kyatuuka n’akkiriza okuyiga Bayibuli. Sergey agamba nti: “Bwe nnagenda njiga Bayibuli, nnakiraba nti Abakristaayo balina okubuulirako abalala bye bayiga. Nnali ndowooza nti nze ekyo sisobola kukikola.” Naye Sergey yalowooza ku bantu abatannayiga mazima, era n’akiraba nti obulamu bwabwe buteekwa okuba nga buzibu nnyo olw’obutamanya Yakuwa. Agamba nti: “Ebintu ebipya bye nnali njiga byandeetera essanyu lingi n’emirembe. Nnakiraba nti n’abalala beetaaga okuyiga ku mazima ago.” Sergey bwe yeeyongera okulumirirwa abalala, yafuna obuvumu okubuulira. Agamba nti: “Nneewuunya okukiraba nti okubuulira abalala ku mazima agali mu Bayibuli kyannyamba okuggwaamu okutya. Ate era okubuulira abalala kyanyweza okukkiriza kwange.” *

Abamu kiyinza okubatwalira ekiseera okukulaakulana mu by’omwoyo (Laba akatundu 12-13)

12-13. Lwaki tusaanidde okuba abagumiikiriza eri abo be tuyigiriza? Waayo ekyokulabirako.

12 Eky’okusatu, ba mugumiikiriza eri abo b’oyigiriza. Kijjukire nti abantu abo bayinza okuba nga baali tebawulirangako agamu ku mazima agali mu Bayibuli ge tumanyi obulungi. Ate bangi ku bo baba baagala nnyo amadiini gaabwe. Bayinza okuba nga bawulira nti amadiini gaabwe gabagatta wamu n’ab’omu maka gaabwe, ab’eŋŋanda zaabwe, n’abantu mu kitundu mwe babeera. Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo?

13 Lowooza ku kyokulabirako kino: Kiki ekikolebwa singa wabaawo olutindo olukadde era olwonoonese olwetaaga okuggibwawo bazimbe olulala? Emirundi mingi, olutindo olupya luzimbibwa ng’eno abantu bwe bakyakozesa olutindo olukadde. Olutindo olupya bwe luggwa okuzimbibwa, olwo nno olutindo olukadde luggibwawo. Mu ngeri y’emu, nga tetunnagamba bantu kulekayo nzikiriza zaabwe enkadde ze baagala ennyo, tulina okusooka okubayamba okutegeera n’okwagala amazima agali mu Bayibuli amapya gye bali. Kati olwo baba basobola okulekayo enzikiriza zaabwe enkyamu. Kiyinza okutwala ekiseera ekiwerako okuyamba abantu okukola enkyukakyuka.​—Bar. 12:2.

14-15. Tuyinza tutya okuyamba abantu abamanyi ekitono oba abatalina kye bamanyi ku kisuubizo kya Katonda eky’abantu okubeera ku nsi emirembe gyonna? Waayo ekyokulabirako.

14 Bwe tuba abagumiikiriza eri abantu be tubuulira, tetujja kubasuubira kutegeererawo oba kukkiririzaawo mazima agali mu Bayibuli ku mulundi gwe tusooka okugababuulira. Bwe tuba tubafaako, tujja kubayamba okufumiitiriza ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza okumala ekiseera. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye tuyinza okuyambamu omuntu okutegeera nti abantu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Abantu bangi bamanyi kitono nnyo oba tebalina kye bamanyi ku njigiriza eyo. Bayinza okuba nga bakkiriza nti omuntu bw’afa, tasobola kuddamu kuba mulamu. Oba bayinza okuba nga bakkiriza nti abantu bonna abalungi bagenda mu ggulu. Tuyinza tutya okubayamba?

15 Ow’oluganda omu akola bw’ati: Asooka n’asomera omuntu Olubereberye 1:28 oluvannyuma n’amubuuza wa Katonda we yali ayagala abantu babeere era yali ayagala babeere mu mbeera ki. Abantu abasinga obungi baddamu nti, “Ku nsi, nga bali mu mbeera ennungi.” Oluvannyuma ow’oluganda oyo asoma Isaaya 55:11 n’abuuza omuntu obanga ekigendererwa kya Katonda ekyo kyakyuka. Emirundi mingi abantu baddamu nti nedda. Oluvannyuma ow’oluganda asoma Zabbuli 37:10, 11 n’abuuza omuntu nti, ‘Abantu banaaba mu bulamu bwa ngeri ki mu biseera eby’omu maaso?’ Ng’akozesa Bayibuli mu ngeri eyo, ow’oluganda oyo ayambye abantu abawerako okutegeera nti Katonda akyayagala abantu abalungi okubeera mu nsi ennungi emirembe gyonna.

Ekintu ekirabika ng’ekitono, gamba ng’okuwandiikira omuntu akabaluwa akazzaamu amaanyi, kiyinza okuvaamu ebirungi (Laba akatundu 16-17)

16-17. Okusinziira ku bigambo ebiri mu Engero 3:27, ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti tufaayo ku bantu bye biruwa? Waayo ekyokulabirako.

16 Eky’okuna, lowooza ku by’osobola okukola okulaga abantu nti obafaako. Ng’ekyokulabirako, kyandiba nti tugenze ew’omuntu mu kiseera ekitali kirungi? Tuyinza okumwetondera ne tumugamba nti tujja kudda mu kiseera ekirala. Ate watya singa omuntu gwe tubuulira aba alina akalimu akatono ke yeetaaga okumuyambako? Oba watya singa omuntu tasobola kuva waka ate ng’alina ebintu bye yeetaaga ku dduuka? Mu mbeera ng’ezo, tusobola okuyamba omuntu oyo.​—Soma Engero 3:27.

17 Mwannyinaffe omu yafuna ebirungi mu kintu kye yakola ekirabika ng’ekitono. Yalumirirwa ab’omu maka agamu abaali bafiiriddwa omwana n’abaako akabaluwa ke yabawandiikira. Ebbaluwa eyo yalimu ebyawandiikibwa ebibudaabuda. Ab’omu maka ago baakwatibwako batya? Maama w’omwana eyali afudde yawandiikira mwannyinaffe oyo ebbaluwa n’amugamba nti: “Jjo nnabadde mpulira bubi nnyo. Ebbaluwa yo yatukutteko nnyo. Simanyi bigambo bye nnyinza kukozesa kukwebaza olw’engeri ebbaluwa yo gye yatugumizzaamu. Ebbaluwa yo nnyinza okuba nga nnagisomye emirungi nga 20 jjo. Nneewuunyizza engeri ebbaluwa eyo gye yatukutteko ennyo. Tukwebaza okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe.” Bwe twessa mu bigere by’abo ababonaabona era ne tubaako kye tukolawo okubayamba, ebivaamu biba birungi.

TOSUUBIRA KUKOLA KISUKKA KU BUSOBOZI BWO

18. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 3:6, 7, ndowooza ki ennuŋŋamu gye tusaanidde okuba nayo?

18 Kya lwatu nti tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gwe tukola ogw’okubuulira. Tusobola okubaako kye tukolawo okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Katonda, naye ekisinga obukulu mu kuyamba omuntu okufuuka omuweereza wa Katonda si ffe tukikola. (Soma 1 Abakkolinso 3:6, 7.) Yakuwa y’aleeta abantu gy’ali. (Yok. 6:44) Omuntu okukkiriza amazima oba obutagakkiriza kisinziira ku mbeera y’omutima gwe. (Mat. 13:4-8) Kijjukire nti abantu abasinga obungi tebakkiriza bubaka Yesu bwe yabuulira wadde nga Yesu ye muyigiriza asingayo eyali abadde ku nsi! N’olwekyo tetusaanidde kuggwaamu maanyi singa abantu abasinga obungi be tufuba okuyamba tebawuliriza bubaka bwaffe.

19. Birungi ki ebiva mu kufaayo ku abalala mu buweereza bwaffe?

19 Bwe tufaayo ku balala tujja kufuna ebirungi mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Tujja kunyumirwa okubuulira. Tujja kufuna essanyu eriva mu kugaba. Ate era tujja kukifuula kyangu eri abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’ okukkiriza amawulire amalungi. (Bik. 13:48) N’olwekyo, “buli lwe tuba tufunye akakisa, ka tukolerenga bonna ebirungi.” (Bag. 6:10) Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna essanyu eriva mu kuweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa.​—Mat. 5:16.

OLUYIMBA 64 Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu

^ lup. 5 Bwe tufaayo ku balala, kisobola okutuyamba okwongera okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira era kisobola okuleetera abantu okwagala okutuwuliriza. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo bye tuyigira ku Yesu n’ebintu bina bye tusobola okukola okulaga nti tufaayo ku bantu be tubuulira.

^ lup. 5 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekigambo okusaasira ekikozeseddwa wano kitegeeza okulumirirwa omuntu abonaabona oba ayisiddwa obubi. Enneewulira eyo eyinza okuleetera omuntu okukola kyonna ekisoboka okuyamba abalala.

^ lup. 8 Laba ekitundu “Bw’Oba Obuulira, Fuba Okuyisa Abalala nga Bwe Wandyagadde Bakuyise” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 15, 2014.

^ lup. 11 Laba Watchtower eya Agusito 1, 2011, lup. 21-22.