Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 10

Kiki Ekiŋŋaana Okubatizibwa?

Kiki Ekiŋŋaana Okubatizibwa?

“Firipo n’omulaawe ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza.”​—BIK. 8:38.

OLUYIMBA 52 Okwewaayo okw’Ekikristaayo

OMULAMWA *

1. Biki Adamu ne Kaawa bye baafiirwa, era kiki ekyava mu kusalawo kwabwe?

OLOWOOZA ani asaanidde okututeerawo emitindo egikwata ku kirungi n’ekibi? Adamu ne Kaawa bwe baalya ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi, baakiraga nti baali tebeesiga Yakuwa n’emitindo gye. Baasalawo okweteerawo emitindo egyabwe ku bwabwe egikwata ku kirungi n’ekibi. (Lub. 3:22) Naye lowooza ku ebyo bye baafiirwa. Baafiirwa enkolagana gye baalina ne Yakuwa. Era baafiirwa enkizo ey’okubeerawo emirembe gyonna. Ate era baasikiza abaana baabwe ekibi n’okufa. (Bar. 5:12) Ekyo Adamu ne Kaawa kye baasalawo kyavaamu okubonaabona kungi.

Omwesiyopiya omulaawe bwe yamala okutegeera Yesu, teyalonzalonza kubatizibwa (Laba akatundu 2-3)

2-3. (a) Kiki Omwesiyopiya omulaawe kye yakola nga Firipo amubuulidde? (b) Miganyulo ki gye tufuna bwe tubatizibwa, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Lowooza ku njawulo eriwo wakati w’engeri Adamu ne Kaawa gye beeyisaamu n’engeri Omwesiyopiya omulaawe gye yeeyisaamu nga Firipo amubuulidde. Omulaawe oyo yasiima nnyo ekyo Yakuwa ne Yesu kye baali bamukoledde ne kiba nti teyalonzalonza kubatizibwa. (Bik. 8:34-38) Bwe twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, ng’omulaawe oyo bwe yakola, kiba kiraga nti tusiima ebyo Yakuwa ne Yesu bye batukoledde. Ate era tuba tulaga nti twesiga Yakuwa era nti tukkiriza nti y’asaanidde okututeerawo emitindo egikwata ku kirungi n’ekibi.

3 Lowooza ku miganyulo gye tufuna mu kuweereza Yakuwa! Tuba n’essuubi ery’okufuna ebyo Adamu ne Kaawa bye baafiirwa, nga mw’otwalidde n’ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. Olw’okuba tukkiririza mu Yesu Kristo, Yakuwa atusonyiwa ensobi zaffe era atusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. (Mat. 20:28; Bik. 10:43) Ate era tufuuka ba mu maka ga Yakuwa era tuba n’essuubi ery’okuba n’obulamu obulungi mu biseera eby’omu maaso. (Yok. 10:14-16; Bar. 8:20, 21) Wadde ng’okuweereza Yakuwa kulimu emiganyulo mingi, abamu ku abo abayize ebikwata ku Yakuwa balonzalonza okukola ekyo Omwesiyopiya omulaawe kye yakola. Biki ebiyinza okuba nga bye bibalemesa okubatizibwa? Era bayinza batya okuvvuunuka ebintu ebyo?

EBINTU EBIREMESA ABAMU OKUBATIZIBWA

Ebimu ku bintu ebiremesa abamu okubatizibwa

Okwetya (Laba akatundu 4-5) *

4-5. Buzibu ki omuvubuka ayitibwa Avery n’omulala ayitibwa Hannah bwe baalina?

4 Okwetya. Bazadde ba Avery Bajulirwa ba Yakuwa. Taata we amanyiddwa ng’omuzadde omulungi era omukadde akola obulungi ennyo. Wadde kiri kityo, Avery yali atya okubatizibwa. Lwaki? Agamba nti: “Nnali ntya nti sijja kusobola kukola bintu bulungi nga taata bw’akola.” Ate era Avery yali atya nti yali tajja kusobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe baali bayinza okumuwa mu biseera eby’omu maaso. Yagamba nti: “Nnali ntya okunkwasa obuvunaanyizibwa obw’okukulemberamu abalala mu kusaba, okuwa emboozi, n’okukubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda okubuulira.”

5 Hannah, alina emyaka 18, naye yali yeetya nnyo. Yakuzibwa abazadde abaweereza Yakuwa. Wadde kyali kityo, yali alowooza nti ayinza obutasobola kunywerera ku mitindo gya Yakuwa. Lwaki? Hannah yali yeenyooma nnyo. Oluusi yawuliranga bubi nnyo n’atuuka n’okwetuusaako ebisago, ekintu ekyayongeranga ekizibu ku kizibu. Agamba nti: “Ekyo sirina gwe nnakibuulirangako, ka babe bazadde bange. Era nnali ndowooza nti Yakuwa yali tasobola kunsonyiwa olw’okwetuusangako ebisago.”

Emikwano (Laba akatundu 6) *

6. Kiki ekyali kiremesa Vanessa okubatizibwa?

6 Emikwano. Vanessa, alina emyaka 22, agamba nti: “Nnalina mukwano gwange ow’oku lusegere, era twali tumaze emyaka nga kkumi nga tuli ba mukwano.” Mukwano gwa Vanessa oyo yali tamuwagira kutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okubatizibwa. Ekyo kyayisa bubi Vanessa, era agamba nti, “Sanguyirwa kukola mikwano era nnali ntya nti bwe nnandirese mukwano gwange oyo, sandizzeemu kufuna wa mukwano mulala wa ku lusegere.”

Okutya Okukola Ensobi (Laba akatundu 7) *

7. Kiki omuwala ayitibwa Makayla kye yali atya, era lwaki?

7 Okutya okukola ensobi ey’amaanyi. Omuwala ayitibwa Makayla yalina emyaka etaano mwannyina we yagobebwa mu kibiina. Makayla bwe yagenda akula, yatandika okulaba obulumi obw’amaanyi bazadde be bwe baali bayitamu olw’enneeyisa ya mwannyina oyo. Makayla agamba nti: “Nnali ntya nti bwe nnandibatiziddwa, nnandikoze ensobi ne ngobebwa mu kibiina, nange ne ndeetera bazadde bange obulumi obw’amaanyi.”

Okutya Okuyigganyizibwa (Laba akatundu 8) *

8. Kiki omuvubuka ayitibwa Miles kye yali atya?

8 Okutya okuyigganyizibwa. Taata wa Miles ne muka taata we baweereza ba Yakuwa, naye ye maama we si muweereza wa Yakuwa. Miles agamba nti: “Nnabeera ne maama wange okumala emyaka 18, era nnali ntya okumugamba nti nnali njagala kubatizibwa. Nnali nnalaba engeri gye yeeyisaamu nga taata wange afuuse Omujulirwa wa Yakuwa. Nnatya nti yandinziguddeko olutalo.”

OYINZA OTYA OKUVVUUNUKA EBIKULEMESA?

9. Kiki ekiyinza okuvaamu bwe weeyongera okukimanya nti Yakuwa atwagala nnyo era nti mugumiikiriza?

9 Adamu ne Kaawa baasalawo obutaweereza Yakuwa olw’okuba tebaafuba kwongera ku kwagala kwe baalina gy’ali. Wadde kyali kityo, Yakuwa yabaleka okubaawo okumala ekiseera basobole okuzaala abaana era beesalirewo engeri y’okukuzaamu abaana baabwe. Naye ebyo ebyava mu kusalawo Adamu ne Kaawa kwe baakola ne bava ku Yakuwa byalaga nti kye baasalawo kyali kya busiru. Mutabani waabwe omukulu yatta muganda we ataalina musango, era omwoyo gw’okwerowoozaako n’ebikolwa eby’obukambwe byabuna mu bantu. (Lub. 4:8; 6:11-13) Naye Yakuwa yali amanyi bulungi engeri gye yandirokoddemu abaana ba Adamu ne Kaawa bonna abaagala okumuweereza. (Yok. 6:38-40, 57, 58) Bwe weeyongera okukimanya nti Yakuwa mugumiikiriza era nti atwagala nnyo, okwagala kw’olina gy’ali kujja kweyongera. Ojja kuba mumalirivu okwewala okukwata ekkubo Adamu ne Kaawa lye baakwata, osalewo okwewaayo eri Yakuwa.

Engeri gy’oyinza okuvvuunukamu ebikulemesa okubatizibwa

(Laba akatundu 9-10) *

10. Lwaki okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Zabbuli 19:7 kisobola okukuyamba okuweereza Yakuwa?

10 Weeyongere okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ojja kuggwaamu okutya okirabe nti osobola okumuweereza obulungi. Avery, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Okusoma n’okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Zabbuli 19:7 (Soma.) kyannyamba okuggwaamu okutya.” Avery bwe yalaba engeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ebigambo ebyo, okwagala kw’alina gy’ali kweyongera. Ng’oggyeeko okuba nti okwagala kusobozesa omuntu okuggwaamu okutya era kusobola okumuyamba okwewala okukola ebintu ebinyiiza Yakuwa era kumuleetera okwagala okumuweereza. Hannah, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Okwesomesa n’okusoma Bayibuli kyannyamba okukiraba nti bwe nkola ebintu ebirumya omubiri gwange mba nnumya ne Yakuwa.” (1 Peet. 5:7) Hannah yatandika okukolera ku ebyo bye yali ayiga mu Bayibuli. (Yak. 1:22) Biki ebyavaamu? Agamba nti: “Bwe nnalaba engeri okugondera Yakuwa gye kyali kiŋŋanyulamu, nneeyongera okumwagala. Kati ndi mukakafu nti bulijjo Yakuwa ajja kumpa obulagirizi mu kiseera we mbwetaagira.” Hannah yasobola okuvvuunuka omuze ogw’okwetuusaako ebisago. Yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa.

(Laba akatundu 11) *

11. Kiki Vanessa kye yakola okusobola okufuna emikwano emirungi, era kiki kye tumuyigirako?

11 Londa emikwano n’amagezi. Vanessa, eyayogeddwako waggulu, yakitegeera nti mukwano gwe yali amulemesa okuweereza Yakuwa. Bwe kityo yamwekutulako. Naye Vanessa yakola n’ekisingako awo. Yafuba okufuna emikwano emipya mu kibiina. Vanessa agamba nti ekyokulabirako Nuuwa n’ab’omu maka ge kye bassaawo kyamuyamba. Vanessa agamba nti: “Nuuwa n’ab’omu maka ge baali beetooloddwa abantu abaali bataagala Yakuwa, naye bo ng’ab’omu maka baali ba mukwano.” Vanessa bwe yamala okubatizibwa, yatandika okuweereza nga payoniya. Agamba nti: “Ekyo kinnyambye okukola emikwano emirungi mu kibiina kyange ne mu bibiina ebirala.” Naawe osobola okukola emikwano emirungi bw’ofuba okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu Yakuwa gwe yatuwa.​—Mat. 24:14.

(Laba akatundu 12-15) *

12. Kutya ki Adamu ne Kaawa kwe bataalina, era biki ebyavaamu?

12 Kulaakulanya okutya okulungi. Okutya okumu kulungi. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okutya okunyiiza Yakuwa. (Zab. 111:10) Singa Adamu ne Kaawa baalina okutya okw’engeri eyo, bandibadde tebajeemera Yakuwa. Naye baamujeemera. Bwe baamala okumujeemera, amaaso gaabwe gaazibuka, mu ngeri nti, kati baakitegeera bulungi nti baali bafuuse boonoonyi. Abaana bonna be bandizadde baali bagenda kusikira ekibi n’okufa. Olw’okuba kati baali balaba, oba nga bategedde embeera yaabwe, baakwatibwa ensonyi kubanga baali bwereere era beebikkako.​—Lub. 3:7, 21.

13-14. (a) Okusinziira ku 1 Peetero 3:21, lwaki tetusaanidde kutya kufa kisukkiridde? (b) Nsonga ki ezanditukubirizza okwagala Yakuwa?

13 Wadde nga tusaanidde okutya okunyiiza Yakuwa, tetusaanidde kutya kufa kisukkiridde. Yakuwa yatukolera enteekateeka okufuna obulamu obutaggwaawo. Bwe tukola ekibi naye ne twenenya mu bwesimbu, Yakuwa atusonyiwa olw’okuba tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu. Emu ku ngeri esingayo obukulu gye tulagamu nti tulina okukkiriza kwe kwewaayo eri Katonda era ne tubatizibwa.​—Soma 1 Peetero 3:21.

14 Tulina ensonga nnyingi ezituleetera okwagala Yakuwa. Ng’oggyeeko okuba nti atuwa ebintu ebirungi buli lunaku, era atuyigiriza amazima agamukwatako awamu n’ebigendererwa bye. (Yok. 8:31, 32) Atuwadde ekibiina Ekikristaayo okutuwa obulagirizi n’okutuyamba. Atuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo era atuwadde essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ennungi. (Zab. 68:19; Kub. 21:3, 4) Bwe tufumiitiriza ku bintu Yakuwa by’atukoledde ebiraga nti atwagala nnyo, kituleetera okwongera okumwagala. Era bwe twagala Yakuwa, kituyamba okuba n’okutya okulungi. Tuyiga okutya okunyiiza Katonda waffe gwe twagala ennyo.

15. Makayla yavvuunuka atya ekizibu ky’okutya okukola ensobi?

15 Makayla, eyayogeddwako waggulu, yavvuunuka ekizibu ky’okutya okukola ensobi bwe yakitegeera nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa. Agamba nti: “Nnakitegeera nti ffenna tetutuukiridde era nti tukola ensobi. Naye era nnakitegeera nti Yakuwa atwagala era atusonyiwa ng’asinziira ku kinunulo.” Okwagala Makayla kwe yalina eri Yakuwa kweyongera ne yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa.

(Laba akatundu 16) *

16. Kiki ekyayamba Miles okuvvuunuka okutya okuyigganyizibwa?

16 Miles, eyali atya nti maama we yandimuyigganyizza ng’asazeewo okubatizibwa yasaba omulabirizi akyalira ebibiina amuwe ku magezi. Miles agamba nti, “Omulabirizi oyo naye yali yakulira mu maka ng’omu ku bazadde be si muweereza wa Yakuwa. Yannyamba okulowooza ku ebyo bye nnali nsobola okugamba maama asobole okukitegeera nti nze nnali nneesaliddewo okubatizibwa so si nti taata ye yali ampaliriza.” Maama wa Miles teyasanyukira ekyo Miles kye yasalawo. Oluvannyuma Miles yalina okuva ewa maama we, naye yanywerera ku ekyo kye yali asazeewo. Agamba nti: “Okumanya ebintu ebirungi Yakuwa by’ankoledde kyankwatako nnyo. Bwe nnafumiitiriza ku ssaddaaka ya Yesu, nnakiraba nti Yakuwa anjagala nnyo. Ekyo kyandeetera okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa.”

NYWERERA KU KY’OSAZEEWO

Tusobola okukiraga nti tusiima ebyo Yakuwa by’atukoledde (Laba akatundu 17)

17. Kiki buli omu ku ffe ky’asobola okulaga?

17 Kaawa bwe yalya ku muti mu Edeni, yajeemera Kitaawe. Adamu bwe yamwegattako mu bujeemu obwo, yakiraga nti yali tasiima birungi byonna Yakuwa bye yali amukoledde. Buli omu ku ffe asobola okukiraga nti tali nga Adamu ne Kaawa. Tusaanidde okukiraga nti tusiima ebirungi byonna Yakuwa by’atukoledde. Bwe tubatizibwa, tukiraga nti tukkiriza nti Yakuwa y’alina okututeerawo emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Tukiraga nti tumwagala era nti tumwesiga.

18. Oyinza otya okuweereza obulungi Yakuwa?

18 Oluvannyuma lw’okubatizibwa, tuba tulina okweyongera okutambulira ku mitindo gya Yakuwa, so si egyaffe. Abaweereza ba Yakuwa bangi bwe batyo bwe bakola. Naawe osobola okuba nga bo singa weeyongera okuyiga ebiri mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli; okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza banno; n’okubuulirako abalala ebyo by’oyize ku Kitaawo. (Beb. 10:24, 25) Bw’oba ng’olina by’osalawo, kolera ku bulagirizi Yakuwa bw’akuwa okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye. (Is. 30:21) Bw’okola bw’otyo, buli ky’okola kijja kukugendera bulungi.​—Nge. 16:3, 20.

19. Kiki ky’osaanidde okweyongera okufumiitirizaako, era lwaki?

19 Bwe weeyongera okufumiitiriza ku ngeri gy’oganyulwa mu kukolera ku bulagirizi obuva eri Yakuwa, okwagala kw’olina gy’ali n’eri emitindo gye kujja kweyongera. N’ekinaavaamu, tewali kintu Sitaani ky’ayinza kukusuubiza kisobola kukuleetera kulekera awo kuweereza Yakuwa. Lowooza ku bulamu bw’olibaamu emyaka lukumi okuva kati. Ojja kukiraba nti bwe wasalawo okubatizibwa, wakola kya magezi nnyo!

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

^ lup. 5 Okusalawo okubatizibwa oba obutabatizibwa kye kintu ekisinga obukulu omuntu ky’ayinza okusalawo. Lwaki okusalawo okwo kukulu nnyo? Ekitundu kino kijja kuddamu ekibuuzo ekyo. Ate era kijja kuyamba abo abalowooza ku ky’okubatizibwa okuvvuunuka ebintu ebiyinza okuba nga bibalemesa okubatizibwa.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Okwetya: Omuvubuka atya okubaako ky’addamu.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Emikwano: Omuwala Omujulirwa wa Yakuwa ng’ali ne mukwano gwe atali mulungi era akwatibwa ensonyi ng’alengedde bakkiriza banne.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Okukola ensobi: Omuwala omu atya nti naye ayinza okukola ensobi olw’okuba mwannyina yagobebwa mu kibiina.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Okuyigganyizibwa: Omulenzi atya okusaba nga maama we atali muweereza wa Yakuwa w’ali.

^ lup. 65 EBIFAANANYI: Okwetya: Omuvubuka ayongera amaanyi mu kwesomesa.

^ lup. 67 EBIFAANANYI: Emikwano: Omuwala ayiga okwenyumiririza mu kuba Omujulirwa wa Yakuwa.

^ lup. 69 EBIFAANANYI: Okukola ensobi: Omuwala afuula amazima agage era n’abatizibwa.

^ lup. 71 EBIFAANANYI: Okuyigganyizibwa: Omulenzi afuna obuvumu n’annyonnyola maama we ebikwata ku nzikiriza ye.