Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 11

Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa

Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa

“Ono ye Mwana wange . . . Mumuwulire.”​—MAT. 17:5.

OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa

OMULAMWA *

1-2. (a) Yakuwa azze ayogera atya n’abantu? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

YAKUWA ayagala okwogera naffe. Edda yayogera n’abantu ng’ayitira mu bannabbi, bamalayika, n’Omwana we Yesu Kristo. (Am. 3:7; Bag. 3:19; Kub. 1:1) Leero ayogera naffe ng’ayitira mu Kigambo kye, Bayibuli. Yatuwa Bayibuli tusobole okumanya endowooza ye n’amakubo ge.

2 Yesu bwe yali ku nsi, emirundi esatu Yakuwa yayogera ng’asinziira mu ggulu. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebyo Yakuwa bye yayogera, kye tuyigira mu bigambo bye, n’engeri gye tuganyulwa mu ebyo bye yayogera.

“GGWE MWANA WANGE OMWAGALWA”

3. Okusinziira ku Makko 1:9-11, bigambo ki Yakuwa bye yayogera Yesu bwe yabatizibwa, era bintu ki ebikulu ebisatu ebigambo ebyo bye byalaga?

3 Mu Makko 1:9-11 mwe tusanga ebigambo Yakuwa bye yayogera ku mulundi gwe yasooka okwogera ng’asinziira mu ggulu. (Soma.) Yagamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.” Yesu ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo okuwulira Kitaawe ng’ayogera ebigambo ebyo ebyali biraga nti amwagala era nti amwesiga! Ebigambo bya Yakuwa ebyo bitulaga ebintu bisatu ebikwata ku Yesu. Ekisooka, Yesu Mwana wa Katonda. Eky’okubiri, Yakuwa ayagala nnyo Omwana we. N’eky’okusatu, Yakuwa asiima Omwana we. Ka twekenneenye ebintu ebyo ebisatu.

4. Ku lunaku Yesu lwe yabatizibwa, nkolagana ki ey’enjawulo gye yafuna ne Katonda?

4 “Ggwe Mwana wange.” Mu bigambo ebyo, Yakuwa yakiraga nti Omwana we omwagalwa, Yesu, yali afunye enkolagana ey’enjawulo naye. Yesu bwe yali tannajja ku nsi, yali mwana wa Katonda ow’omwoyo. Naye bwe yamala okubatizibwa, Katonda yamufukako omwoyo omutukuvu. Bwe kityo Katonda yakiraga nti Yesu, kati eyali afuuse Omwana we eyafukibwako amafuta, era nti kati yalina essuubi ery’okuddayo mu ggulu okuba Kabaka omulonde era Kabona Asinga Obukulu. (Luk. 1:31-33; Beb. 1:8, 9; 2:17) Ekyo kituyamba okulaba ensonga lwaki Yesu bwe yabatizibwa Yakuwa yamugamba nti: “Ggwe Mwana wange.”​—Luk. 3:22.

Abalala bwe batusiima, kituzzaamu amaanyi (Laba akatundu 5) *

5. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu kulaga okwagala n’okusiima?

5 “Ggwe . . . omwagalwa.” Okuba nti Yakuwa yakyoleka nti ayagala Omwana we era nti amusiima, kituyigiriza nti tulina okukozesa buli kakisa ke tufuna okuzzaamu abalala amaanyi. (Yok. 5:20) Kituzzaamu nnyo amaanyi omuntu gwe twagala bw’akiraga nti atwagala era bw’atusiima olw’ebirungi bye tuba tukoze. Mu ngeri y’emu, baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina, beetaaga okukiraba nti tubaagala era tusaanidde okubazzaamu amaanyi. Bwe tusiima abalala, kinyweza okukkiriza kwabwe era kibayamba okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Okusingira ddala abazadde basaanidde okuzzaamu abaana baabwe amaanyi. Abazadde bwe basiima abaana baabwe mu bwesimbu era ne bakiraga nti babaagala, kizzaamu nnyo abaana baabwe amaanyi.

6. Lwaki tusaanidde okwesiga Yesu?

6 “Nkusanyukira.” Ebigambo ebyo biraga nti Yakuwa yali yeesiga Yesu nti yandikoze ebyo Yakuwa by’ayagala. Olw’okuba Yakuwa yeesiga nnyo Yesu, naffe tusaanidde okwesiga Yesu nti ajja kutuukiriza ebyo byonna Yakuwa bye yasuubiza. (2 Kol. 1:20) Bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako Yesu kye yassaawo, tuba bamalirivu okumuyigirako, n’okutambulira mu bigere bye. Yakuwa era yeesiga abaweereza be bonna awamu ng’ekibiina nti bajja kweyongera okuyigira ku Mwana we.​—1 Peet. 2:21.

“MUMUWULIRE”

7. Okusinziira ku Matayo 17:1-5, mulundi ki omulala Yakuwa lwe yayogera ng’asinziira mu ggulu, era kiki kye yagamba?

7 Soma Matayo 17:1-5. Omulundi ogw’okubiri Yakuwa lwe yayogera ng’asinziira mu ggulu, lwelwo Yesu lwe ‘yafuusibwa.’ Yesu yali agenze ne Peetero, Yakobo, ne Yokaana ku lusozi oluwanvu. Bwe baali eyo, baafuna okwolesebwa ne balaba ebintu ebyewuunyisa. Yesu yayakaayakana mu maaso era n’ebyambalo bye ne byakaayakana. Walabikawo abasajja babiri abaali bakiikirira Musa ne Eriya era ne batandika okwogera ne Yesu ebikwata ku kufa kwe ne ku kuzuukira kwe. Wadde ng’abatume abo abasatu “baali beebase,” bwe baazuukuka baalaba okwolesebwa okwo okwewuunyisa. (Luk. 9:29-32) Oluvannyuma ekire ekimasamasa kyababikka era ne bawulira eddoboozi lya Katonda okuva mu kire! Nga bwe kyali ku kubatizibwa kwa Yesu, ne ku luno Yakuwa yakiraga nti asiima Omwana we era nti amwagala bwe yagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima.” Naye ku mulundi guno Yakuwa yagattako nti: “Mumuwulire.”

8. Okwolesebwa okwo kwakwata kutya ku Yesu n’abayigirizwa be?

8 Okwolesebwa okwo kwalaga ekitiibwa n’obuyinza Yesu bye yali agenda okuba nabyo ng’afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda. Awatali kubuusabuusa Kristo yazzibwamu amaanyi n’aba mwetegefu okuyita mu kubonaabona n’okuttibwa mu bulumi. Okwolesebwa okwo era kwanyweza okukkiriza kw’abatume ne baba beetegefu okwaŋŋanga ebigezo bye baali bagenda okufuna n’okukola omulimu ogw’amaanyi ogwali gubalindiridde. Nga wayise emyaka nga 30, omutume Peetero yayogera ku kwolesebwa okwo, ekiraga nti yali akyakujjukira bulungi.​—2 Peet. 1:16-18.

9. Kubuulirira ki okulungi Yesu kwe yawa abayigirizwa be?

9 “Mumuwulire.” Yakuwa yakyoleka kaati nti ayagala tuwulirize ebigambo by’Omwana we era tubikolereko. Yesu bwe yali ku nsi biki bye yayogera? Yayogera ebintu bingi bye tusaanidde okuwuliriza! Ng’ekyokulabirako, yayigiriza abagoberezi be engeri y’okubuuliramu amawulire amalungi, era enfunda n’enfunda yabakubiriza okubeera obulindaala. (Mat. 24:42; 28:19, 20) Yabakubiriza okuba abanyiikivu, era yabakubiriza obutakoowa. (Luk. 13:24) Ate era Yesu yakubiriza abagoberezi be okwagalana, okusigala nga bali bumu, n’okukwata ebiragiro bye. (Yok. 15:10, 12, 13) Okubuulirira okwo Yesu kwe yawa abayigirizwa be kwali kukulu nnyo era kukyali kukulu nnyo ne leero!

10-11. Tuyinza tutya okukiraga nti tuwuliriza Yesu?

10 Yesu yagamba nti: “Buli ali ku ludda lw’amazima awulira eddoboozi lyange.” (Yok. 18:37) Tukiraga nti tuwuliriza eddoboozi lya Yesu bwe ‘tweyongera okugumiikirizigana n’okusonyiwagana.’ (Bak. 3:13; Luk. 17:3, 4) Ate era tukiraga nti tuwulira eddoboozi lye nga tubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu “mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu.”​—2 Tim. 4:2.

11 Yesu yagamba nti: “Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange.” (Yok. 10:27) Abagoberezi ba Yesu Kristo bakiraga nti bamuwuliriza nga bassaayo omwoyo ku bigambo bye era nga babikolerako. Tebakkiriza bintu ‘ebyeraliikiriza mu bulamu’ okubawugula. (Luk. 21:34) Bakitwala nti kikulu nnyo okugondera ebiragiro bya Yesu ne bwe kiba nga si kyangu. Baganda baffe bangi boolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi, nga muno mwe muli okuyigganyizibwa, obwavu obungi ennyo, n’obutyabaga. Mu mbeera ezo zonna basigala nga beesigwa eri Yakuwa. Baganda baffe abo Yesu abakakasa nti: “Oyo akkiriza ebiragiro byange n’abikwata, y’oyo anjagala. Era oyo anjagala Kitange ajja kumwagala.”​—Yok. 14:21.

Omulimu gw’okubuulira gutuyamba obutawugulibwa (Laba akatundu 12) *

12. Engeri endala gye tulagamu nti tuwuliriza Yesu y’eruwa?

12 Engeri endala gye tulagamu nti tuwuliriza eddoboozi lya Yesu kwe kugondera abo b’alonze okutukulembera. (Beb. 13:7, 17) Ekibiina kya Yakuwa kikoze enkyukakyuka ezitali zimu mu myaka egiyise, nga muno mwe muli ebintu bye tukozesa mu kubuulira, engeri gye tubuuliramu, engeri enkuŋŋaana ezibaawo wakati mu wiiki gye zikubirizibwamu, n’engeri Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka gye bizimbibwamu ne gye biddaabirizibwamu. Tusiima nnyo obulagirizi obulungi obutuweebwa! Bwe tugoberera obulagirizi obutuweebwa ekibiina, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.

13. Miganyulo ki egiri mu kuwuliriza Yesu?

13 Bwe tukolera ku ebyo byonna Yesu bye yayigiriza, kituganyula nnyo. Yesu yagamba abayigirizwa be nti ebyo bye yayigiriza byandibayambye okufuna ekiwummulo. Yagamba nti: “Mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu okusitula n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11:28-30) Ekigambo kya Katonda, omuli n’Enjiri ennya ezoogera ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, kituzzaamu amaanyi mu by’omwoyo era kitugeziwaza. (Zab. 19:7; 23:3) Yesu yagamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”​—Luk. 11:28.

‘NJA KUGULUMIZA ERINNYA LYANGE’

14-15. (a) Okusinziira ku Yokaana 12:27, 28, mulundi ki omulala Yakuwa lwe yayogera ng’asinziira mu ggulu? (b) Lwaki ebigambo bya Yakuwa biteekwa okuba nga byabudaabuda Yesu era ne bimugumya?

14 Soma Yokaana 12:27, 28. Enjiri ya Yokaana eyogera ku mulundi ogw’okusatu Yakuwa lwe yayogera ng’asinziira mu ggulu. Yesu bwe yali abuzaayo ennaku ntono attibwe, yagenda mu Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako gye yasembayo okukwata. Yesu yagamba nti: “Ndi mweraliikirivu nnyo.” Oluvannyuma yasaba nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Kitaawe yamuddamu ng’asinziira mu ggulu nti: “Ndigulumizza era nja kuligulumiza nate.”

15 Yesu yali mweraliikirivu olw’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe yalina obw’okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Yesu yali akimanyi nti yali agenda kuttibwa mu bulumi obutagambika. (Mat. 26:38) Ekintu Yesu kye yali asinga okutwala nga kikulu kwe kugulumiza erinnya lya Kitaawe. Yesu baamusibako omusango ogw’okuvvoola, era yali mweraliikirivu nti engeri gye yandittiddwamu yandireese ekivume ku Katonda. Ebigambo bya Yakuwa ebyo nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Yesu amaanyi! Yakuwa yamukakasa nti erinnya lye lyandigulumiziddwa. Ebigambo bya Kitaawe ebyo biteekwa okuba nga byabudaabuda nnyo Yesu era ne bimuyamba okuba omwetegefu okwaŋŋanga embeera enzibu gye yali agenda okuyitamu. Wadde nga mu bantu abaaliwo ku olwo, Yesu ayinza okuba nga ye yekka eyategeera ebyo Kitaawe bye yayogera, Yakuwa yakakasa nti ebigambo ebyo biwandiikibwa mu Kigambo kye tusobole okubisoma.​—Yok. 12:29, 30.

Yakuwa ajja kugulumiza erinnya lye era ajja kununula abantu be (Laba akatundu 16) *

16. Lwaki oluusi tuyinza okweraliikirira olw’ekivume ekiyinza okuleetebwa ku linnya lya Katonda?

16 Okufaananako Yesu, naffe oluusi tuyinza okweraliikirira olw’ekivume ekiyinza okuleetebwa ku linnya lya Yakuwa. Oboolyawo okufaananako Yesu naffe tuyinza okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Oba tuyinza okuba nga tuyisibwa bubi olw’ebintu eby’obulimba abo abatuyigganya bye batwogerako. Tuyinza okulowooza ku kivume ebintu ebyo kye bireeta ku linnya lya Yakuwa ne ku kibiina kye. Mu mbeera ng’ezo, ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Yokaana 12:27, 28 bitubudaabuda nnyo. Tetusaanidde kweraliikirira kisukkiridde. Tuli bakakafu nti ‘emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe okuyitira mu Kristo Yesu.’ (Baf. 4:6, 7) Yakuwa tasobola kulemererwa kugulumiza linnya lye. Okuyitira mu Bwakabaka bwe, ajja kujjawo ebintu byonna ebibi Sitaani n’abantu be bye bakola abaweereza be.​—Zab. 94:22, 23; Is. 65:17.

OKUWULIRIZA EDDOBOOZI LYA YAKUWA KIKUGANYULA

17. Nga Isaaya 30:21 bwe walaga, Yakuwa ayogera atya naffe leero?

17 Yakuwa akyayogera naffe leero. (Soma Isaaya 30:21.) Kyo kituufu nti tayogera naffe butereevu ng’asinziira mu ggulu. Naye yatuwa Ekigambo kye Bayibuli mw’ayitira okutuwa obulagirizi. Ate era omwoyo gwa Yakuwa gusobozesa “omuwanika omwesigwa” okuwanga abantu ba Katonda emmere ey’eby’omwoyo. (Luk. 12:42) Tufuna emmere nnyingi ey’eby’omwoyo okuyitira mu bitabo ebikubibwa mu kyapa n’ebyo ebiteekebwa ku Intaneeti, okuyitira mu vidiyo, awamu n’ebintu ebirala!

18. Ebigambo bya Yakuwa binyweza bitya okukkiriza kwo, era bikuyamba bitya okuba omuvumu?

18 Ka bulijjo tujjukirenga ebigambo Yakuwa bye yayogera ng’Omwana we ali ku nsi! Ebigambo ebyo Katonda kennyini bye yayogera ka bituyambe okuba abakakafu nti Yakuwa embeera emuli mu ttaano era nti ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi Sitaani n’abantu be bye bakola abaweereza be. Era ka tube bamalirivu okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okugumira ebizibu byonna bye twolekagana nabyo kati awamu n’ebyo bye tujja okufuna mu biseera ebijja. Bayibuli etugamba nti: “Mwetaaga okugumiikiriza musobole okufuna ekyo kye yasuubiza nga mumaze okukola Katonda by’ayagala.”​—Beb. 10:36.

OLUYIMBA 4 “Yakuwa Ye Musumba Wange”

^ lup. 5 Yesu bwe yali ku nsi, emirundi esatu Yakuwa yayogera ng’asinziira mu ggulu. Mu gumu ku mirundi egyo, Yakuwa yagamba abayigirizwa ba Kristo okuwuliriza Omwana we. Leero Yakuwa ayogera naffe okuyitira mu Kigambo kye, mwe tusanga ebyo Yesu bye yayigiriza, era eyogera naffe ng’ayitira mu kibiina kye. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri okuwuliriza Yakuwa ne Yesu gye kituganyulamu.

^ lup. 52 EBIFAANANYI: Omukadde yeetegereza omuweereza ng’ayonja Ekizimbe ky’Obwakabaka era oluvannyuma ng’akola ku bitabo. Omukadde oyo yeebaza omuweereza mu bwesimbu.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we mu Sierra Leone nga bawa omuvubi akapapula akayita abantu okujja mu nkuŋŋaana.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa nga bakuŋŋaanidde mu maka agamu. Bambadde mu ngeri ya kisaazisaazi ab’obuyinza baleme kubagwamu.