Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Omuntu yakolanga atya enteekateeka ey’okutambulira ku mmeeri mu biseera by’edda?

OKUTWALIRA awamu, mu kiseera kya Pawulo, tewaabangawo mmeeri zisaabaza basaabaze bokka. Omuntu okusobola okufuna emmeeri gy’anaatambuliramu, yalinanga okubuuza abantu abalala obanga waliwo emmeeri yonna gye bamanyi egenda mu kitundu gy’ayagala okugenda era obanga basobola okukkiriza abasaabaze okugenderako. (Bik. 21:2, 3) Emmeeri ne bwe yabanga tegenda mu kifo kyennyini omuntu gye yabanga agenda, bwe yayimiranga ku myalo egitali gimu, omuntu yabanga asobola okuvaamu n’anoonya emmeeri endala eyabanga esobola okumutwala okumpi n’ekitundu gye yabanga agenda.​—Bik. 27:1-6.

Emmeeri zaasaabalanga biseera bimu na bimu mu mwaka, era tezaalina ssaawa ngereke za kusimbulirako oba kutuukirako. Oluusi abagoba b’emmeeri baalwangawo okusimbula ng’embeera y’obudde ku nnyanja si nnungi oba nga balina ekintu kye beekengedde. Ng’ekyokulabirako, bwe baalabanga nnamuŋŋoona ng’ekaabira ku miguwa gy’amatanga oba bwe baalabanga nga waliwo emmeeri efunye akabenje, ng’olwo balindako okusimbula. Abagoba b’emmeeri baasinziiranga nnyo ku mpewo z’oku nnyanja. Empewo bwe zaabanga zidda ku ludda lutuufu, ng’olwo basimbula okuva ku mwalo. Omusaabaze bwe yafunanga emmeeri eyali esobola okumutwala, yaleetanga emigugu gye okumpi n’omwalo n’abeera kumpi awo n’alindirira okutuusa lwe balanga nti emmeeri eneetera okusimbula.

Munnabyafaayo ayitibwa Lionel Casson agamba nti: “Rooma yalina enkola eyakifuulanga ekyangu eri abantu okumanya emmeeri gye baali basobola okutambulirako nga tekibeetaagisizza kunoonya nnyo. Omwalo gwayo gwali mu kitundu Omugga Tiberi we gwegattira ku nnyanja. Mu kabuga akayitibwa Ostia mwalimu ekibangirizi ekinene nga kiriko ofiisi eziwerako. Nnyingi ku ofiisi ezo zaali z’abo abaasaabazanga eby’amaguzi ku myalo egitali gimu, omwali ogw’e Narbonne [kati eyitibwa Bufalansa], ogw’e Carthage [kati eyitibwa Tunisia], . . . n’emirala. Omuntu yenna eyabanga anoonya emmeeri ey’okugenderako, yagendanga bugenzi ku ofiisi z’ebibuga ebyali ku ludda gye yabanga agenda.”

Okusaabalira ku nnyanja kwataasanga obudde, naye kwalimu emitawaana. Pawulo bwe yali ku ŋŋendo ze ez’obuminsani, emirundi egiwerako emmeeri mwe yabanga atambulidde yamenyekamenyekanga.​—2 Kol. 11:25.