Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 20

Okubudaabuda Abo Abaakabasanyizibwa

Okubudaabuda Abo Abaakabasanyizibwa

“Katonda ow’okubudaabuda kwonna atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.”​—2 KOL. 1:3, 4.

OLUYIMBA 134 Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva eri Katonda

OMULAMWA *

1-2. (a) Kyakulabirako ki ekiraga nti kya mu butonde abantu okwagala okubudaabudibwa era nti balina obusobozi obw’okubudaabuda abalala? (b) Abaana abamu bakosebwa batya?

ABANTU bonna baagala okubudaabudibwa era balina obusobozi obw’okubudaabuda abalala. Ng’ekyokulabirako, omwana bw’aba azannya n’agwa n’anuubuka, ayinza okuddukira eri maama we oba taata we ng’akaaba. Bazadde be baba tebasobola kuwonya kiwundu ky’aba afunye, naye baba basobola okumubudaabuda. Bayinza okumubuuza ekibaddewo, ne bamusangula amaziga, ne mugamba ebigambo ebimubudaabuda, era oboolyawo ne bateeka eddagala ku kiwundu kye oba ne bakisibako bandeegi. Wayita akaseera katono omwana n’alekera awo okukaaba, era oboolyawo n’addayo n’azannya. Oluvannyuma lw’ekiseera ekiwundu ekyo kiwona.

2 Naye ebiseera ebimu abaana batuukibwako ebintu ebibi ebibakosa ennyo n’okusingawo. Abamu bakabasanyizibwa. Omwana ayinza okukabasanyizibwa omulundi gumu oba ayinza okukabasanyizibwa okumala emyaka egiwerako. K’abe ng’akabasanyiziddwa omulundi gumu oba emirundi mingi, ekyo kikosa nnyo enneewulira ye. Mu mbeera ezimu omuntu eyakabasanya omwana akwatibwa era n’abonerezebwa. Ate mu mbeera endala, ayinza okulabika ng’asimattuse okubonerezebwa. Ka kibe nti oyo akoze ekikolwa ekyo abonerezeddwa mangu, omwana akabasanyiziddwa ayinza okukosebwa obulamu bwe bwonna.

3. Nga bwe kiragibwa mu 2 Abakkolinso 1:3, 4, kiki Yakuwa ky’ayagala, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

3 Omukristaayo eyakabasanyizibwa ng’akyali muto bw’aba ng’akyalina obulumi ku mutima, kiki ekisobola okumuyamba? (Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.) Yakuwa ayagala endiga ze zonna okulagibwa okwagala n’okubudaabudibwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: (1) Lwaki abo abaakabasanyizibwa nga bakyali bato bayinza okwetaaga okubudaabudibwa? (2) Baani abayinza okubabudaabuda? (3) Tuyinza tutya okubabudaabuda?

LWAKI BEETAAGA OKUBUDAABUDIBWA?

4-5. (a) Lwaki kikulu okukimanya nti abaana ba njawulo ku bantu abakulu? (b) Omwana bw’akabasanyizibwa kikwata kitya ku bwesige bw’alina mu balala?

4 Abantu abamu abaakabasanyizibwa nga bakyali bato bayinza okwetaaga okubudaabudibwa ne bwe baba nga kati bakuze. Lwaki? Okusobola okutegeera ekyo, tulina okukimanya nti abaana ba njawulo nnyo ku bantu abakulu. Emirundi mingi engeri omwana gy’akwatibwako ng’ayisiddwa bubi ya njawulo ku ngeri omuntu omukulu gy’akwatibwako. Lowooza ku bino wammanga.

5 Abaana beetaaga okuba n’enkolagana ey’oku lusegere era n’okwesiga abo ababalabirira. Ekyo kireetera abaana okuwulira nga balina obukuumi era kibayamba okuyiga okwesiga abo ababaagala. (Zab. 22:9) Eky’ennaku, abantu abakabasanya abaana batera kuba baŋŋanda zaabwe oba mikwano gy’ab’omu maka gaabwe. Omwana bw’akabasanyizibwa omuntu gw’abadde yeesiga kimubeerera kizibu okuddamu okwesiga abantu abalala ka wabe nga wayise emyaka mingi.

6. Lwaki okukabasanya abaana kikolwa kya ttima?

6 Abaana tebasobola kwerwanako, era okubakabasanya kiba kikolwa kya ttima. Omwana aba akyali muto mu mubiri, mu birowoozo, ne mu nneewulira, era aba tannatuuka kwenyigira mu kikolwa eky’okwegatta ekirina okubaawo wakati w’abafumbo bokka. N’olwekyo, okwegatta n’omwana kimukosa nnyo. Okukabasanya abaana kibaleetera okuba n’endowooza enkyamu ku kwegatta. Kibaleetera okuwulira nga tebalina mugaso era balekera awo okwesiga omuntu yenna.

7. (a) Lwaki kyangu omuntu okulimbalimba omwana n’amukabasanya, era ayinza kumulimbalimba atya? (b) Kiki ekiyinza okuva mu bulimba ng’obwo?

7 Abaana baba tebannafuna busobozi bwa kulowooza bulungi oba bwa kulengerera wala kabi ne bakeewala. (1 Kol. 13:11) N’olwekyo kyangu nnyo omuntu okubalimbalimba n’abakabasanya. Abo abakabasanya abaana bababuulira ebintu eby’obulimba. Ng’ekyokulabirako, omuntu aba akabasanyizza omwana ayinza okugamba omwana nti y’aliko omusango, oba nti talina kubuulirako muntu mulala yenna ku kintu ekyo, oba nti tewali n’omu ajja kumuwuliriza singa anaagezaako okumuloopa, oba nti omuntu omukulu okwegatta n’omwana kikolwa kya kwagala era kikkirizibwa. Kitwalira omwana emyaka mingi okukitegeera nti ebintu ebyo byonna bya bulimba. Omwana ng’oyo akula alowooza nti yayonooneka, tasobola kwagalibwa, era nti tasaana kubudaabudibwa.

8. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa asobola okubudaabuda abo ababa bakoseddwa ebikolwa ebibi?

8 N’olwekyo tekyewuunyisa nti okukabasanya abaana kiyinza okubakosa okumala emyaka mingi. Mazima ddala ekikolwa ekyo kibi nnyo! Okuba nti omuze ogw’okukabasanya abaana gubunye nnyo kiragira ddala nti tuli mu nnaku ez’enkomerero, ng’abantu bangi ‘tebaagala baŋŋanda’ era ‘ng’abantu ababi n’abalimba beeyongeredde ddala okuba ababi.’ (2 Tim. 3:1-5, 13) Mu butuufu enkola za Sitaani mbi nnyo, era kinakuwaza nnyo okulaba ng’abantu bangi bakola ebintu ebisanyusa Sitaani. Naye Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga Sitaani n’abagoberezi be. Yakuwa amanyi bulungi ebyo Sitaani by’akola. Ate era amanyi bulungi okubonaabona kwe tuyitamu, era asobola okutubudaabuda. Twesiimye nnyo okuba nti tuweereza “Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna, naffe tusobole okubudaabuda abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri nga tuyitira mu kubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.” (2 Kol. 1:3, 4) Naye baani Yakuwa b’akozesa okubudaabuda abalala?

BAANI ABASOBOLA OKUBABUDAABUDA?

9. Okusinziira ku bigambo bya Kabaka Dawudi ebiri mu Zabbuli 27:10, kiki Yakuwa ky’akolera abo abatakuumibwa bazadde baabwe?

9 Abo bazadde baabwe be bataasobola kukuuma ne bakabasanyizibwa oba abo abaakabasanyizibwa abantu baabwe ab’oku lusegere beetaaga nnyo okubudaabudibwa. Kabaka Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa y’asingayo okubudaabuda. (Soma Zabbuli 27:10.) Yali mukakafu nti Yakuwa asembeza abo abayisiddwa obubi ab’eŋŋanda zaabwe. Ekyo Yakuwa akikola atya? Akozesa abaweereza be abeesigwa. Bakkiriza bannaffe baganda baffe ab’eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, abo abeegatta ku Yesu ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa, Yesu yabayita baganda be, bannyina, era bamaama be.​—Mat. 12:48-50.

10. Omutume Pawulo yayogera ki ku mulimu gwe ng’omukadde mu kibiina?

10 Mu katundu kano n’akaddako tugenda kulaba engeri bakkiriza bannaffe gye bayinza okuba ng’ab’eŋŋanda zaffe. Omutume Pawulo yali mukadde omwesigwa eyaweereza n’obunyiikivu. Yassaawo ekyokulabirako ekirungi era yaluŋŋamizibwa n’okuwandiika nti abalala bamukoppe nga naye bwe yakoppa Kristo. (1 Kol. 11:1) Lowooza ku ebyo Pawulo bye yayogera ku mulimu gwe ng’omukadde mu kibiina. Yagamba nti: “Bwe twali mu mmwe twabakwata n’obwegendereza nga maama ayonsa bw’alabirira abaana be.” (1 Bas. 2:7) Leero, abakadde abeesigwa bakozesa ebigambo eby’ekisa nga beeyambisa Ebyawandiikibwa okubudaabuda abo abeetaaga okubudaabudibwa.

Abakristaayo abakulu mu by’owoyo basobola bulungi okubudaabuda abalala (Laba akatundu 11) *

11. Kiki ekiraga nti abakadde si be bokka abalina okubudaabuda abalala?

11 Abakadde be bokka abalina okubudaabuda abo abaakabasanyizibwa? Nedda. Buli omu ku ffe alina ‘okubudaabuda munne.’ (1 Bas. 4:18) Okusingira ddala bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo basobola okubudaabuda bannyinaffe ababa beetaaga okubudaabudibwa. Nga kituukirawo okuba nti Yakuwa yeegeraageranya ku maama abudaabuda omwana we! (Is. 66:13) Bayibuli erimu ebyokulabirako eby’abakazi abaabudaabuda abo abaali mu nnaku. (Yob. 42:11) Yakuwa ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo bw’alaba abakazi Abakristaayo nga babudaabuda bannyinaffe abali mu nnaku! Oluusi omukadde omu oba babiri bayinza okutuukirira mwannyinaffe omukulu mu by’omwoyo ne bamusaba okubudaabuda mwannyinaffe omulala ali mu nnaku. *

TUYINZA TUTYA OKUBABUDAABUDA?

12. Kiki kye tusaanidde okwegendereza?

12 Bwe tuba tubudaabuda mukkiriza munnaffe, tusaanidde okwegendereza tuleme kumubuuza bintu by’atayagala kwogerako. (1 Bas. 4:11) Naye biki bye tuyinza okukola okuyamba abo abeetaaga okubudaabudibwa? Ka tulabeyo ebintu bitaano okuva mu Bayibuli bye tuyinza okukola okubudaabuda abalala.

13. Nga bwe kiragibwa mu 1 Bassekabaka 19:5-8, kiki malayika wa Yakuwa kye yakolera Eriya, era tuyinza tutya okumukoppa?

13 Baako ebintu by’obakolera. Nnabbi Eriya bwe yali adduka abo abaali baagala okumutta, yennyamira nnyo n’atuuka n’okwagala okufa. Yakuwa yatuma malayika okumuzzaamu amaanyi. Malayika alina ebintu bye yakolera Eriya okumuyamba. Yafumbira Eriya eky’okulya era n’amukubiriza okulya. (Soma 1 Bassekabaka 19:5-8.) Ekyo kituyamba okukiraba nti oluusi ekintu ekitono kye tukolera omuntu kisobola okumuyamba ennyo. Oboolyawo okufumbira muganda waffe ali mu nnaku emmere, okumuwaayo akalabo, oba okumuwandiikirayo akabaluwa kisobola okumukakasa nti tumwagala era nti tumufaako. Bwe kiba nga kitukaluubirira okwogera n’omuntu ku nnaku gy’ayitamu, tusobola okumukolera ebintu ng’ebyo okulaga nti tumufaako.

14. Kiki ekirala kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Eriya?

14 Oyo ali mu nnaku muyambe okuwulira nti alina obukuumi. Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Eriya. Mu ngeri ey’ekyamagero Yakuwa yawa nnabbi oyo obuyambi bwe yali yeetaaga okusobola okutambula olugenda oluwanvu okugenda ku Lusozi Kolebu. Oboolyawo Eriya yawulira ng’alina obukuumi bwe yali mu kifo ekyo ekyali kyesudde, Yakuwa gye yali yakolera endagaano n’abantu be emyaka mingi emabega. Eriya ayinza okuba nga yawulira nti abo abaali baagala okumutta kati baali tebasobola kumutuukako. Ekyo kituyigiriza ki? Bwe tuba twagala okubudaabuda abo abaakabasanyizibwa, tulina okusooka okubayamba okuwulira nti balina obukuumi. Ng’ekyokulabirako, abakadde basaanidde okukijjukira nti mwannyinaffe ayinza okuwulira nti obulamu bwe tebuli mu kabi bw’ayogera nabo ng’ali waka we okusinga bwe yandyogedde nabo ng’ali ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Ate omulala ayinza okwagala okwogera nabo nga bali ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

Tusobola okubudaabuda abalala nga tubawuliriza bulungi, nga tusabira wamu nabo, era nga tukozesa ebigambo eby’ekisa (Laba akatundu 15-20) *

15-16. Kiki ekizingirwa mu kuwuliriza obulungi?

15 Muwulirize bulungi. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu abenga mwangu okuwuliriza, alwengawo okwogera.” (Yak. 1:19) Tuli bawuliriza balungi? Oboolyawo tuyinza okulowooza nti okuba omuwuliriza omulungi kitegeeza kubeera awo n’otunuulira butunuulizi omuntu ng’ayogera nga ggwe tolina ky’oddamu. Naye okuba omuwuliriza omulungi kisingawo ku ekyo. Ng’ekyokulabirako, Eriya yamala n’ategeeza Yakuwa obulumi bwe yalina ku mutima, era Yakuwa yamuwuliriza bulungi. Yakuwa yakiraba nti Eriya yali atidde, ng’awulira nti asigadde bw’omu, era ng’alowooza nti byonna bye yali akoze mu buweereza bwe yali abikoledde bwereere. Yakuwa yamugumya ng’ayogera ku bintu ebyo byonna ebyali bimweraliikiriza era n’amuyamba okubivvuunuka. Yakuwa yakiraga nti yali awulirizza bulungi Eriya.​—1 Bassek. 19:9-11, 15-18.

16 Bwe tuba tuwuliriza ow’oluganda oba mwannyinaffe, tuyinza tutya okukiraga nti tumulumirirwa? Oluusi ebigambo ebitonotono ebituukirawo biyinza okulaga nti tumulumirirwa. Oyinza okumugamba nti: “Nga walaba n’ekyo ekyakutuukako! Tewali mwana agwana kutuukibwako kintu ng’ekyo!” Oyinza n’okumubuuzaayo ekibuuzo kimu oba bibiri okukakasa nti otegedde bulungi by’akugamba. Oyinza okumubuuza nti, “Nsaba onnyambe okutegeera ky’otegeeza?” oba “Bw’ogambye bw’oti, nkitegedde bwe nti . . . Ekyo ky’obadde otegeeza?” Ebigambo ng’ebyo bisobola okuyamba omuntu okukiraba nti ddala omuwuliriza era nti ofuba okutegeera ky’agamba.​—1 Kol. 13:4, 7.

17. Lwaki tulina okuba abagumiikiriza ‘n’okulwawo okwogera’?

17 Kyokka weegendereze oleme ‘kwanguwa kwogera.’ Weewale okusala omuntu ekirimu ng’oyagala okumuwa amagezi oba okutereeza endowooza ye era beera mugumiikiriza! Eriya bwe yali agamba Yakuwa ebyamuli ku mutima yayogera alina ennyiike nnyingi nnyo. Yakuwa bwe yamala okugumya Eriya, Eriya yaddamu okumugamba ebintu bye bimu. (1 Bassek. 19:9, 10, 13, 14) Ekyo kituyigiriza ki? Oluusi abantu abalina ennaku ku mutima baba baagala okwogera ekibali ku mutima omulundi ogusukka mu gumu. Okufaananako Yakuwa, naffe tusaanidde okubawuliriza n’obugumiikiriza. Mu kifo ky’okugezaako okubawa amagezi, tusaanidde okubasaasira n’okulaga nti tubalumirirwa.​—1 Peet. 3:8.

18. Essaala zaffe ziyinza zitya okubudaabuda abo abalina ennaku?

18 Sabira wamu n’oyo ali mu nnaku. Abo abalina ennaku ey’amaanyi bayinza okuwulira nga tebasobola kusaba. Omuntu ali mu nnaku ayinza okuwulira nga tasaana kutuukirira Yakuwa. Okusobola okubudaabuda omuntu ng’oyo, tuyinza okusabira awamu naye nga twogera ku linnya lye mu ssaala. Tuyinza okutegeeza Yakuwa nti omuntu oyo wa muwendo nnyo gye tuli n’eri ekibiina. Tusobola okusaba Yakuwa abudaabude endiga ye eyo ey’omuwendo. Essaala ng’ezo zibudaabuda nnyo.​—Yak. 5:16.

19. Kiki ekiyinza okutuyamba okweteekateeka okubudaabuda omuntu?

19 Kozesa ebigambo ebiwonya era ebibudaabuda. Lowooza nga tonnayogera. Ebigambo by’oyogera nga tosoose kulowooza bisobola okulumya omuntu. Ebigambo eby’ekisa biwonya. (Nge. 12:18) N’olwekyo saba Yakuwa akuyambe okufuna ebigambo eby’ekisa era ebibudaabuda. Kijjukirenga nti tewali bigambo birina maanyi kusinga ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Bayibuli.​—Beb. 4:12.

20. Baganda baffe ne bannyinaffe abamu abaakabasanyizibwa bayinza kuba nga beetwala batya, era kiki kye tusaanidde okubajjukiza?

20 Abantu ababa baakabasanyizibwa bayinza okuwulira nti bacaafu, tebalina mugaso, tebaagalibwa, oba nti tewali asobola kubaagala. Ekyo si kituufu n’akamu! N’olwekyo kozesa Ebyawandiikibwa okubajjukiza nti ba muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. (Laba akasanduuko “ Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa.”) Jjukira engeri malayika gye yazzaamu Danyeri amaanyi, Danyeri bwe yali ng’aweddemu amaanyi era nga yennyamidde. Yakuwa yali ayagala omuweereza we oyo okukimanya nti yali wa muwendo gy’ali. (Dan. 10:2, 11, 19) Mu ngeri y’emu, ne baganda baffe awamu ne bannyinaffe abali mu nnaku ba muwendo eri Yakuwa!

21. Kiki ekinaatuuka ku abo bonna abakola ebibi era abateenenya, era kiki ffenna kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

21 Bwe tubudaabuda abalala tubayamba okukijjukira nti Yakuwa abaagala. Ate era tetusaanidde kukyerabira nti Yakuwa Katonda mwenkanya. Tewali kikolwa kyonna ekibi ekikolebwa ku muntu kikwekeddwa mu maaso ge. Byonna abiraba, era ajja kukakasa nti abo bonna abakabasanya abalala era abateenenya babonerezebwa. (Kubal. 14:18) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tufube okulaga okwagala abo abaakabasanyizibwa. Ate era kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuwonyeza ddala abo bonna abakoleddwako ebintu ebibi mu nsi ya Sitaani eno! Ebintu ebyo tebiriddamu kujjukirwa nate.​—Is. 65:17.

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

^ lup. 5 Abo abaakabasanyizibwa nga bakyali bato bayinza okwolekagana n’okusoomooza kungi n’oluvannyuma lw’emyaka mingi okuyitawo. Ekitundu kino kijja kutuyamba okumanya ensonga lwaki kiri bwe kityo. Era tugenda kulaba baani abasobola okubudaabuda abantu ng’abo. Ate era tujja kulaba ebintu ebitali bimu bye tusobola okukola okubudaabuda abantu ng’abo.

^ lup. 11 Kiri eri omuntu eyakabasanyizibwa okusalawo obanga anaagenda eri omusawo eyatendekebwa mu nsonga z’okubudaabuda amuyambe.

^ lup. 76 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe omukulu mu by’omwoyo abudaabuda mwannyinaffe omulala alina ennaku.

^ lup. 78 EBIFAANANYI: Abakadde babiri nga bakyalidde mwannyinaffe ali mu nnaku. Mwannyinaffe oyo ayise mwannyinaffe omulala omukulu mu by’omwoyo okubaawo.