Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 18

Okwagala n’Obwenkanya mu Kibiina Ekikristaayo

Okwagala n’Obwenkanya mu Kibiina Ekikristaayo

“Buli muntu yeetikkenga omugugu gwa munne, mu ngeri eyo mujja kuba mutuukiriza etteeka lya Kristo.”​—BAG. 6:2.

OLUYIMBA 12 Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo

OMULAMWA *

1. Tuli bakakafu ku bintu ki ebibiri?

YAKUWA KATONDA ayagala nnyo abaweereza be era ajja kweyongera okubaagala. Ate era ayagala obwenkanya. (Zab. 33:5) N’olwekyo tuli bakakafu ku bintu bino bibiri: (1) Yakuwa ayisibwa bubi abaweereza be bwe bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. (2) Ajja kukakasa nti balagibwa obwenkanya. Mu kitundu ekyasooka ku bitundu bino ebina, * twakiraba nti Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gaali geesigamiziddwa ku kwagala. Gaalagira abantu okuba abenkanya eri bonna, nga mw’otwalidde n’abatalina mwasirizi. (Ma. 10:18) Amateeka ago galaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza be.

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Amateeka ga Musa gaakoma mu mwaka gwa 33 E.E., ekibiina Ekikristaayo bwe kyatandikawo. Kati olwo bo Abakristaayo tebandibadde na mateeka geesigamiziddwa ku kwagala n’obwenkanya? Si bwe kiri! Abakristaayo baaweebwa etteeka eriggya. Mu kitundu kino, tugenda kusooka tulabe etteeka eryo lye liruwa. Oluvannyuma tujja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Lwaki tugamba nti etteeka eryo lyesigamiziddwa ku kwagala? Lwaki tugamba nti etteeka eryo likubiriza abantu okuba abenkanya? Okusinziira ku tteeka eryo, abo abalina obuyinza basaanidde kuyisa batya abalala?

“ETTEEKA LYA KRISTO” KYE KI?

3. “Etteeka lya Kristo” eryogerwako mu Abaggalatiya 6:2 lizingiramu ki?

3 Soma Abaggalatiya 6:2. Abakristaayo bali wansi ‘w’etteeka lya Kristo.’ Yesu teyawa Bakristaayo lukalala lw’amateeka ge balina okugoberera, naye yabawa obulagirizi, ebiragiro, n’emisingi bye basaanidde okutambulizaako obulamu bwabwe. “Etteeka lya Kristo” lizingiramu ebintu byonna Yesu bye yayigiriza. Mu butundu obuddako tugenda kulaba ebisingawo ku tteeka lino.

4-5. Yesu yayigiriza atya abantu, era yayigiriza ddi?

4 Yesu yayigiriza atya abantu? Ekisooka, yabayigiriza okuyitira mu ebyo bye yayogera. Ebigambo bye byalina amaanyi kubanga yayogeranga amazima agakwata ku Katonda, yalaga abantu ekigendererwa ky’obulamu, era yakiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu. (Luk. 24:19) Yesu era yayigiriza okuyitira mu kyokulabirako kye yassaawo. Engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe yayamba abagoberezi be okumanya engeri gye basaanidde okutambuzaamu obulamu bwabwe.​—Yok. 13:15.

5 Ddi Yesu lwe yayigiriza? Yayigiriza mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi. (Mat. 4:23) Era yayigiriza abagoberezi be oluvannyuma lw’okuzuukira. Ng’ekyokulabirako, yalabikira abayigirizwa be, oboolyawo abasukka mu 500, n’abawa ekiragiro ‘ky’okufuula abantu abayigirizwa.’ (Mat. 28:19, 20; 1 Kol. 15:6) Ng’omutwe gw’ekibiina, Yesu yeeyongera okuwa abayigirizwa be obulagirizi n’oluvannyuma lw’okuddayo mu ggulu. Ng’ekyokulabirako, awo nga mu mwaka gwa 96 E.E., Kristo alina obubaka bwe yawa Yokaana abuwe Abakristaayo abaafukibwako amafuta okubazzaamu amaanyi n’okubawabula.​—Bak. 1:18; Kub. 1:1.

6-7. (a) Ebyo Yesu bye yayigiriza bisangibwa wa? (b) Tugondera tutya etteeka lya Kristo?

6 Ebyo Yesu bye yayigiriza bisangibwa wa? Ebitabo by’Enjiri ebina birimu ebintu bingi Yesu bye yayogera ne bye yakola ng’ali ku nsi. Ebitabo ebirala eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, nga bino byawandiikibwa abasajja abaaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu era abaalina “endowooza ya Kristo,” nabyo bituyamba okutegeera endowooza Yesu gy’alina ku bintu ebitali bimu.​—1 Kol. 2:16.

7 Eby’okuyiga: Ebyo Yesu bye yayigiriza bikwata ku mbeera zonna ez’obulamu. N’olwekyo, etteeka lya Kristo likwata ku ebyo bye tukola awaka, ku mirimu oba ku ssomero, ne mu kibiina. Etteeka lino tuliyiga bwe tusoma Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani era ne tubifumiitirizaako. Tukwata etteeka eryo bwe tukolera ku bulagirizi, ebiragiro, n’emisingi ebiri mu Byawandiikibwa ebyo. Bwe tugondera etteeka lya Kristo, tuba tugondera Yakuwa Katonda waffe ow’okwagala, Ensibuko y’ebyo byonna Yesu bye yayigiriza.​—Yok. 8:28.

ETTEEKA ERYESIGAMIZIDDWA KU KWAGALA

8. Etteeka lya Kristo lyesigamiziddwa ku musingi ki?

8 Ennyumba ennungi ezimbiddwa ku musingi omunywevu ereetera abagisulamu obutaba na kweraliikirira nti eneebakuba. Mu ngeri y’emu, etteeka eddungi eryesigamiziddwa ku musingi omunywevu lireetera abo abalikolerako okuba abagumu nti okulikolerako kivaamu ebirungi. Etteeka lya Kristo lyesigamiziddwa ku musingi ogusingayo obulungi, nga kuno kwe kwagala. Lwaki tugamba bwe tutyo?

Bwe tulaga abalala okwagala, tuba tugondera “etteeka lya Kristo” (Laba akatundu 9-14) *

9-10. Byakulabirako ki ebiraga nti buli kimu Yesu kye yakolanga yakikola lwa kwagala, era tuyinza tutya okumukoppa?

9 Ekisooka, buli kimu Yesu kye yakolanga yakikola lwa kwagala. Omuntu asaasira oba alumirirwa abalala aba ayoleka okwagala. Olw’okuba Yesu yali alumirirwa abalala, yayigirizanga abantu, yawonyanga abalwadde, yaliisanga abalumwa enjala, era yazuukiza n’abafu. (Mat. 14:14; 15:32-38; Mak. 6:34; Luk. 7:11-15) Wadde ng’ekyo kyamwetaagisanga okuwaayo obudde n’amaanyi ge, Yesu yakulembezanga ebyetaago by’abalala. N’ekisinga byonna, Yesu yalaga okwagala kungi nnyo bwe yawaayo obulamu bwe ku lw’abalala.​—Yok. 15:13.

10 Eby’okuyiga: Tusobola okukoppa Yesu nga tukulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe. Ate era tusobola okumukoppa nga tulumirirwa abantu abali mu bitundu mwe tubuulira. Okulumirirwa abalala bwe kituleetera okubabuulira amawulire amalungi n’okubayigiriza, tuba tugondera etteeka lya Kristo.

11-12. (a) Biki ebiraga nti Yakuwa atufaako nnyo? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu kwoleka okwagala?

11 Eky’okubiri, Yesu yayamba abantu okukimanya nti Kitaawe abaagala nnyo. Mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi, Yesu yakyoleka bulungi nti Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza be. Ebimu ku bintu Yesu bye yayigiriza bye bino: Buli omu ku ffe wa muwendo nnyo eri Kitaffe ow’omu ggulu. (Mat. 10:31) Yakuwa mwetegefu okuddamu okusembeza endiga eyabula, bwe yeenenya n’ekomawo mu kibiina. (Luk. 15:7, 10) Yakuwa yakyoleka nti atwagala nnyo bwe yawaayo Omwana we okutufiirira.​—Yok. 3:16.

12 Eby’okuyiga: Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu kwoleka okwagala? (Bef. 5:1, 2) Buli omu ku bakkiriza bannaffe tusaanidde okumutwala nga wa muwendo nnyo, era tusaanidde okwaniriza n’essanyu “endiga eyabula” eba ekomyewo eri Yakuwa. (Zab. 119:176) Tukiraga nti twagala bakkiriza bannaffe nga tuba beetegefu okubayamba, nnaddala nga beetaaga obuyambi. (1 Yok. 3:17) Bwe tulaga abalala okwagala tuba tugondera etteeka lya Kristo.

13-14. (a) Okusinziira ku Yokaana 13:34, 35, kiki Yesu kye yalagira abagoberezi be okukola, era lwaki etteeka eryo liggya? (b) Tugondera tutya etteeka eriggya?

13 Eky’okusatu, Yesu yalagira abagoberezi be okwoleka okwagala okw’okwefiiriza. (Soma Yokaana 13:34, 35.) Etteeka lya Kristo liyitibwa liggya kubanga lyetaagisa abantu okwoleka okwagala mu ngeri ey’enjawulo ku eyo eyali mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri: Tulina okwagala baganda baffe nga Yesu bwe yatwagala. Ekyo okusobola okukikola, tulina okwoleka okwagala okw’okwefiiriza. * Tulina okwagala bakkiriza bannaffe n’okusinga bwe tweyagala. Tulina okubaagala ennyo ne kiba nti tusobola n’okuwaayo obulamu bwaffe ku lwabwe nga Yesu bwe yakola.

14 Eby’okuyiga: Tuyinza tutya okugondera etteeka eriggya? Tulina okwefiiriza ku lwa bakkiriza bannaffe. Ng’oggyeeko okuba abeetegefu okuwaayo obulamu bwaffe ku lwa baganda baffe, tulina n’okuba abeetegefu okwefiiriza ebintu ebitonotono ku lwabwe. Ng’ekyokulabirako, bwe tuyambako muganda waffe oba mwannyinaffe akaddiye okujjanga mu nkuŋŋaana obutayosa, oba bwe tubaako ekintu kye twerekereza okusobola okusanyusa munnaffe, oba bwe tusabayo akadde okuva ku mirimu gyaffe ne tugenda okuyambako bakkiriza bannaffe abakoseddwa akatyabaga, tuba tugondera etteeka lya Kristo. Ate era tuba tufuula ekibiina kyaffe ekifo ekyeyagaza buli omu.

ETTEEKA ERIKUBIRIZA OBWENKANYA

15-17. (a) Engeri Yesu gye yeeyisaamu yalaga etya nti mwenkanya? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yesu?

15 Okusinziira ku Bayibuli, ekigambo “obwenkanya” kitegeeza okukola ekyo Katonda ky’atwala nti kituufu era okukikola awatali kyekubiira. Lwaki tuyinza okugamba nti etteeka lya Kristo likubiriza obwenkanya?

Yesu yalaganga abakazi ekisa era yabawanga ekitiibwa, nga mw’otwalidde n’abo abaali banyoomebwa abalala (Laba akatundu 16) *

16 Ekisooka, lowooza ku ngeri Yesu gye yeeyisaamu. Engeri gye yeeyisaamu yakiraga nti mwenkanya. Mu kiseera kye abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali tebaagala bantu batali Bayudaaya, baali banyooma Abayudaaya aba bulijjo, era baali banyooma abakazi. Naye Yesu yali tasosola mu bantu era bonna yabayisanga bulungi. Yakkiriza abantu abataali Bayudaaya abaalina okukkiriza okufuuka abagoberezi be. (Mat. 8:5-10, 13) Yabuuliranga abantu bonna, abagagga n’abaavu, awatali kusosola. (Mat. 11:5; Luk. 19:2, 9) Teyayisanga bubi bakazi. Yawanga abakazi ekitiibwa era yabalaganga ekisa, nga mw’otwalidde n’abo abaali banyoomebwa abalala.​—Luk. 7:37-39, 44-50.

17 Eby’okuyiga: Tusobola okukoppa Yesu nga tetusosola balala era nga tubuulira abantu bonna abeetegefu okutuwuliriza, ka babe nga bali mu mbeera ki oba nga ba ddiini ki. Abasajja Abakristaayo bakoppa ekyokulabirako kya Yesu nga bayisa bulungi abakazi. Bwe tukola ebintu ng’ebyo tuba tugondera etteeka lya Kristo.

18-19. Biki Yesu bye yayigiriza ku bwenkanya, era tubiyigirako ki?

18 Eky’okubiri, lowooza ku ebyo Yesu bye yayigiriza ku bwenkanya. Yayigiriza abagoberezi be emisingi egyandibayambye okuyisa abalala mu bwenkanya. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku tteeka eritukubiriza okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise. (Mat. 7:12) Ffenna twagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. N’olwekyo, tusaanidde okuyisa abalala mu ngeri ey’obwenkanya. Bwe tukola bwe tutyo, nabo bayinza okutuyisa mu ngeri ey’obwenkanya. Naye watya singa tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? Yesu era yayigiriza abagoberezi be okwesiga Yakuwa nti ajja kukakasa nti “obwenkanya bubaawo eri [abo] abamukaabirira emisana n’ekiro.” (Luk. 18:6, 7) Ebigambo ebyo bitukakasa nti Katonda waffe ow’obwenkanya amanyi bulungi ebigezo bye twolekagana nabyo mu nnaku zino ez’enkomerero era ajja kulaba nti tulagibwa obwenkanya mu kiseera kye ekituufu.​—2 Bas. 1:6.

19 Eby’okuyiga: Bwe tukolera ku misingi Yesu gye yayigiriza, tujja kuyisa abalala mu ngeri ey’obwenkanya. Ate bwe tuba nga twayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa ajja kukakasa nti tulagibwa obwenkanya.

ABO ABALINA OBUYINZA BASAANIDDE KUYISA BATYA ABALALA?

20-21. (a) Abo abalina obuyinza basaanidde kuyisa batya abalala? (b) Omwami ayinza atya okulaga okwagala okw’okwefiiriza, era taata asaanidde kuyisa atya abaana be?

20 Okusinziira ku tteeka lya Kristo, abo abalina obuyinza basaanidde kuyisa batya abalala? Abo abalina obuyinza basaanidde okuyisa abo be balinako obuyinza mu ngeri eraga nti babawa ekitiibwa era basaanidde okubalaga okwagala. Basaanidde okukijjukira nti Kristo ayagala twoleke okwagala mu buli kimu kye tukola.

21 Mu maka. Omwami alina okwagala mukyala we ‘nga Kristo bw’ayagala ekibiina.’ (Bef. 5:25, 28, 29) Okufaananako Kristo, omwami asaanidde okwoleka okwagala okw’okwefiiriza ng’akulembeza ebyetaago bya mukyala we mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Abasajja abamu kibazibuwalira okulaga okwagala ng’okwo, oboolyawo olw’okuba baakulira mu mbeera nga tekitwalibwa nga kikulu okuyisa abalala mu ngeri ey’obwenkanya era ey’okwagala. Kiyinza okubazibuwalira okulekayo enneeyisa eyo embi, naye ekyo balina okukikola bwe baba ab’okugondera etteeka lya Kristo. Omwami alaga okwagala okw’okwefiiriza assibwamu nnyo ekitiibwa mukyala we. Taata ayagala abaana be tayogera nabo bubi era tabayisa bubi. (Bef. 4:31) Mu kifo ky’ekyo, alaga abaana be nti abaagala era nti abasiima era ekyo kireetera abaana be okuwulira obulungi. Taata ng’oyo aba ayagalibwa nnyo abaana be era baba bamwesiga.

22. Nga bwe kiragibwa mu 1 Peetero 5:1-3, “endiga” zaani, era zisaanidde kuyisibwa zitya?

22 Mu kibiina. Abakadde basaanidde okukijjukira nti “endiga” si zaabwe. (Yok. 10:16; soma 1 Peetero 5:1-3.) Ebigambo “ekisibo kya Katonda,” “mu maaso ga Katonda,” ne “b’alinako obwannannyini” bijjukiza abakadde nti endiga za Yakuwa. Yakuwa ayagala endiga ze okulagibwa okwagala n’okuyisibwa obulungi. (1 Bas. 2:7, 8) Abakadde abatuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okulunda ekisibo basiimibwa nnyo Yakuwa. Abakadde ng’abo baagalibwa nnyo bakkiriza bannaabwe era bassibwamu ekitiibwa.

23-24. (a) Abakadde baba na buvunaanyizibwa ki nga waliwo omuntu mu kibiina akoze ekibi eky’amaanyi? (b) Abakadde bwe baba bakola ku nsonga ng’ezo, biki bye basaanidde okwebuuza?

23 Buvunaanyizibwa ki abakadde bwe balina nga waliwo akoze ekibi eky’amaanyi? Obuvunaanyizibwa bwabwe bwawukana ku bw’abalamuzi n’abakadde abaali bakolera wansi w’Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri. Wansi w’Amateeka ago, abakadde n’abalamuzi baakolanga ku nsonga ez’eby’omwoyo ne ku nsonga endala ezitaabanga na kakwate na kusinza Yakuwa. Naye wansi w’etteeka lya Kristo, omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi, obuvunaanyizibwa bw’abakadde bukoma ku bintu bya mwoyo. Bakimanyi nti obuvunaanyizibwa obw’okukola ku misango egy’obumenyi bw’amateeka Katonda yabulekera ba buyinza. Ab’obuyinza be bavunaanyizibwa ku kuwa abo abazizza emisango ng’egyo ebibonerezo gamba ng’okubaweesa engassi oba okubasiba mu kkomera.​—Bar. 13:1-4.

24 Bwe wabaawo omuntu akoze ekibi eky’amaanyi, abakadde bakwata batya ensonga? Bakozesa Ebyawandiikibwa okwekenneenya ensonga eyo, awo ne balyoka basalawo. Bakijjukira nti etteeka lya Kristo lyesigamiziddwa ku kwagala. Okwagala kuleetera abakadde okwebuuza nti: Kiki ekyetaagisa okukolebwa okuyamba omuntu aba akoleddwako ekintu ekibi? Omuntu bw’akola ekibi, okwagala kuleetera abakadde okwebuuza nti: Yeenenyezza? Tusobola okumuyamba okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa?

25. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

25 Nga twesiimye nnyo okuba wansi w’etteeka lya Kristo! Ffenna bwe tufuba okugondera etteeka eryo, kisobozesa buli omu mu kibiina okuwulira nti ayagalibwa, wa muwendo, era nti alina obukuumi. Wadde kiri kityo, tuli mu nsi ‘ng’abantu ababi’ beeyongeredde ddala “okuba ababi.” (2 Tim. 3:13) N’olwekyo tulina okusigala nga tuli bulindaala. Ekibiina kya Yakuwa kiyinza kitya okwoleka obwenkanya bwa Yakuwa nga kikola ku nsonga ezikwata ku kukabasanya abaana? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 15 Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye!

^ lup. 5 Ekitundu kino n’ebirala ebibiri ebikiddirira bye bimu ku bitundu ebina ebituyamba okukiraba nti Yakuwa Katonda wa kwagala era wa bwenkanya. Ayagala abantu be bayisibwe mu ngeri ey’obwenkanya era abudaabuda abo abayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya mu nsi eno embi.

^ lup. 1 Laba ekitundu “Okwagala n’Obwenkanya mu Isirayiri ey’Edda” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2019.

^ lup. 13 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Okwagala okw’okwefiiriza kutuleetera okukulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe. Tuba beetegefu okubaako bye twerekereza oba bye twefiiriza okusobola okuyamba abalala.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Yesu ng’atunuulira nnamwandu afiiriddwa omwana we omu yekka. Amukwatirwa ekisa n’azuukiza omwana oyo.

^ lup. 63 EBIFAANANYI: Yesu ng’ali ku kijjulo mu maka g’Omufalisaayo ayitibwa Simooni. Omukazi, oboolyawo malaaya, yaakamala okunaaza ebigere bya Yesu ng’akozesa amaziga ge, n’abisiimuula ng’akozesa enviiri ze era n’abifukako amafuta. Simooni tasanyukira ekyo omukazi ky’akoze, naye Yesu awolereza omukazi.