Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 23

“Mwegendereze Waleme Kubaawo Abafuula Abaddu”!

“Mwegendereze Waleme Kubaawo Abafuula Abaddu”!

“Mwegendereze waleme kubaawo abafuula abaddu ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu.”​—BAK. 2:8.

OLUYIMBA 96 Ekitabo kya Katonda​—Kya Bugagga

OMULAMWA *

1. Okusinziira ku Abakkolosaayi 2:4, 8, Sitaani agezaako atya okwonoona endowooza yaffe?

SITAANI ayagala okutuggya ku Yakuwa. Okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye ekyo, agezaako okwonoona endowooza yaffe. Akozesa ebintu ebisikiriza ng’agezaako okutusendasenda oba okutulimbalimba tukole by’ayagala.​—Soma Abakkolosaayi 2:4, 8.

2-3. (a) Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku kulabula okuli mu Abakkolosaayi 2:8? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Ddala naffe Sitaani asobola okutubuzaabuza? Yee! Kijjukire nti okulabula okuli mu Abakkolosaayi 2:8 Pawulo teyakuwandiikira batali bakkiriza. Yakuwandiikira Bakristaayo abaali baafukibwako omwoyo omutukuvu. (Bak. 1:2, 5) Abakristaayo abo baali mu kabi ak’okubuzaabuzibwa Sitaani. Ate ffe tuli mu kabi ka maanyi n’okusingawo. (1 Kol. 10:12) Lwaki tugamba bwe tutyo? Sitaani yasuulibwa ku nsi era akola kyonna ekisoboka okubuzaabuza abaweereza ba Katonda abeesigwa. (Kub. 12:9, 12, 17) Ate era tuli mu kiseera ng’abantu ababi n’abalimba ‘beeyongerera ddala okuba ababi.’​—2 Tim. 3:1, 13.

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Sitaani gy’akozesaamu “eby’obulimba ebitaliimu” okugezaako okwonoona endowooza yaffe. Tugenda kulabayo “enkwe” za mirundi esatu Sitaani z’akozesa. (Bef. 6:11) Ate mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tuyinza okweggyamu endowooza enkyamu Sitaani z’ayinza okuba nga yatuteekamu. Naye ka tusooke tulabe kye tuyigira ku ngeri Sitaani gye yabuzaabuzaamu Abayisirayiri nga bamaze okuyingira mu Nsi Ensuubize.

YABASENDASENDA OKUSINZA EBIFAANANYI

4-6. Okusinziira ku Ekyamateeka 11:10-15, nkyukakyuka ki mu by’obulimi Abayisirayiri gye baalina okukola nga bayingidde mu Nsi Ensuubize?

4 Sitaani yasendasenda Abayisirayiri okwenyigira mu kusinza ebifaananyi. Ekyo yakikola atya? Yali akimanyi nti beetaaga emmere era ekyo yakikozesa okubaleetera okukola by’ayagala. Abayisirayiri bwe baayingira mu Nsi Ensuubize baalina okukyusa mu ngeri gye baalimangamu emmere. Abayisirayiri bwe baali mu Misiri, baafukiriranga ennimiro zaabwe nga bakozesa amazzi ge baggyanga mu Mugga Kiyira. Naye ennimiro z’omu Nsi Ensuubize tezaafukirirwanga na mazzi gava mu mugga, wabula enkuba n’omusulo bye byafukiriranga ennimiro ezo. (Soma Ekyamateeka 11:10-15; Is. 18:4, 5) N’olwekyo Abayisirayiri baalina okuyiga engeri endala ey’okulimamu emmere. Ekyo tekyandibadde kyangu kubanga bangi ku abo abaalina obumanyirivu mu kulima baali bafiiridde mu ddungu.

Sitaani yasobola atya okwonoona endowooza y’Abayisirayiri abalimi? (Laba akatundu 4-6) *

5 Yakuwa yategeeza abantu be nti embeera yaabwe yali ekyuse. Ate era yabawa n’okulabula, mu kusooka okuyinza okulabika ng’okutaalina kakwate na bya bulimi. Yabagamba nti: “Mwegendereze emitima gyammwe gireme kutwalirizibwa ne mukyuka okusinza bakatonda abalala era ne mubavunnamira.” (Ma. 11:16, 17) Lwaki Yakuwa bwe yali ayogera ku ngeri empya ey’okulimamu, yalabula abantu be ku kusinza bakatonda ab’obulimba?

6 Yakuwa yali akimanyi nti Abayisirayiri baali bayinza okusendebwasendebwa okuyigira ku bantu abakaafiiri abaali babeetoolodde engeri y’okulimamu. Kyo kituufu nti abantu abo baalina obumanyirivu mu kulima okusinga Abayisirayiri, era Abayisirayiri baali basobola okubaako ebintu eby’omugaso bye babayigirako. Naye waaliwo obuzibu. Abakanani abo abalimi baali basinza Bbaali era ekyo kirina kye kyali kikoze ku ndowooza yaabwe. Abakanani baali bakitwala nti Bbaali ye nnannyini ggulu era nti y’agaba enkuba. Yakuwa yali tayagala bantu be kutwalirizibwa bulimba ng’obwo. Naye enfunda n’enfunda Abayisirayiri baasalawo okusinza Bbaali. (Kubal. 25:3, 5; Balam. 2:13; 1 Bassek. 18:18) Kati weetegereze engeri Sitaani gye yafuulamu Abayisirayiri abaddu.

OBUKODYO BUSATU SITAANI BWE YAKOZESA OKUTEEKA ABAYISIRAYIRI MU BUDDU BWE

7. Okukkiriza kw’Abayisirayiri kwagezesebwa kutya nga bali mu Nsi Ensuubize?

7 Akakodyo akasooka Sitaani ke yakozesa okukwasa Abayisirayiri kye kintu buli Muyisirayiri kye yali yeetaaga, kwe kugamba, enkuba okutonnya efukirire ensi yaabwe. Okuva awo ng’omwezi gwa Apuli gunaatera okuggwako okutuuka ku nkomerero ya Ssebutemba enkuba yabeeranga ntono nnyo mu Nsi Ensuubize. Enkuba eyatandikanga okutonnya awo nga mu mwezi gwa Okitobba ye yasobozesanga Abayisirayiri okuba n’emmere emala. Sitaani yaleetera Abayisirayiri okulowooza nti okusobola okuba n’emmere mu bungi, baalina okukola obulombolombo obwakolebwanga abantu abakaafiiri abaali babeetoolodde. Abantu abo abaali batasinza Yakuwa baakolanga obulombolombo obutali bumu bwe baalowoozanga nti bwaleeteranga bakatonda baabwe okutonnyesa enkuba. Abayisirayiri abataalina kukkiriza baatandika okulowooza nti okusobola okwewala okuba n’ekyeya, baali beetaaga okukola obulombolombo obwo okusobola okusanyusa katonda ow’obulimba eyali ayitibwa Bbaali.

8. Kakodyo ki ak’okubiri Sitaani ke yakozesa? Nnyonnyola.

8 Waliwo akakodyo ak’okubiri Sitaani ke yakozesa okukwasa Abayisirayiri. Yabasendasenda okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Abantu b’amawanga agaali gatasinza Yakuwa beenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu nga basinza bakatonda baabwe. Baabanga ne bamalaaya b’omu yeekaalu abakazi n’abasajja. Okulya ebisiyaga n’ebikolwa ebirala eby’obugwenyufu byalinga bintu bya bulijjo gye bali! (Ma. 23:17, 18; 1 Bassek. 14:24) Abantu abo baali balowooza nti okukola ebintu ebyo kyaleeteranga bakatonda baabwe okugimusa ettaka lyabwe. Abayisirayiri bangi baasikirizibwa okwenyigira mu bikolwa ebyo eby’obugwenyufu ne kibaviirako okusinza bakatonda ab’obulimba. Mu ngeri eyo, Sitaani yabafuula baddu.

9. Okusinziira ku Koseya 2:16, 17, Sitaani yaleetera atya Abayisirayiri obutategeera bulungi Yakuwa?

9 Sitaani alina n’akakodyo ak’okusatu ke yakozesa. Yaleetera Abayisirayiri obutategeera bulungi Yakuwa. Mu nnaku za nnabbi Yeremiya, Yakuwa yagamba nti bannabbi ab’obulimba baaleetera abantu be okwerabira erinnya lye “olwa Bbaali.” (Yer. 23:27) Kirabika abantu ba Katonda baalekera awo okukozesa erinnya lya Yakuwa era mu kifo kyalyo ne bakozesa erinnya Bbaali eritegeeza, “Nnannyini” oba “Mukama.” Ekyo kyakifuula kizibu eri Abayisirayiri okumanya enjawulo eyaliwo wakati wa Yakuwa ne Bbaali ne kiba kyangu gye bali okugattika obulombolombo obwakolebwanga mu kusinza Bbaali n’okusinza okulongoofu.​—Soma Koseya 2:16, 17 n’obugambo obuli wansi.

OBUKODYO SITAANI BW’AKOZESA LEERO

10. Bukodyo ki Sitaani bw’akozesa leero?

10 Sitaani akozesa obukodyo obwo bwe bumu ne leero. Akwasa abantu ng’akozesa ebintu ebya bulijjo abantu bye baagala, akozesa ebikolwa eby’obugwenyufu, era aleetera abantu obutategeera bulungi Yakuwa. Ka tusooke twekenneenye engeri gy’akozesaamu akakodyo ako ak’okusatu.

11. Sitaani akifudde atya ekizibu eri abantu okumanya Yakuwa?

11 Sitaani aleetera abantu obutategeera bulungi Yakuwa. Oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, abamu ku abo abaali beetwala okuba Abakristaayo, baatandika okuyigiriza eby’obulimba. (Bik. 20:29, 30; 2 Bas. 2:3) Bakyewaggula abo baatandika okuleetera abantu obutategeera bulungi Katonda ow’amazima. Ng’ekyokulabirako, baalekera awo okukozesa erinnya lya Katonda mu nkyusa zaabwe eza Bayibuli, mu kifo we lirina okuba ne bassaawo ebigambo gamba nga “Mukama.” Mu kuggya erinnya lya Katonda mu nkyusa zaabwe eza Bayibuli, mu kifo kyalyo ne bakozesa ekigambo “Mukama,” baakifuula kizibu eri omusomi wa Bayibuli okulaba enjawulo eriwo wakati wa Yakuwa ne “bamukama” abalala aboogerwako mu Byawandiikibwa. (1 Kol. 8:5) Ate era baakozesa ekigambo “Mukama” nga bategeeza Yakuwa, ate awalala nga bategeeza Yesu, bwe batyo ne bakifuula kizibu eri omuntu okukiraba nti Yakuwa ne Yesu ba njawulo era nti balina ebifo bya njawulo. (Yok. 17:3) Okutabulatabula okwo kulina kye kwakola ku kutumbula enjigiriza etali ya mu Byawandiikibwa egamba nti mu Katonda omu mulimu Bakatonda basatu. N’ekivuddemu abantu bangi balowooza nti Katonda tategeerekeka era nti tetusobola kumumanya. Obwo bulimba bwennyini!​—Bik. 17:27.

Sitaani akozesezza atya amadiini ag’obulimba okuleetera abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu? (Laba akatundu 12) *

12. Kiki amadiini ag’obulimba kye galeetedde abantu okukola, era okusinziira ku Abaruumi 1:28-31 biki ebivuddemu?

12 Sitaani aleetera abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Mu Isirayiri ey’edda, Sitaani yakozesa okusinza okw’obulimba okuleetera abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ne leero Sitaani akozesa akakodyo ako. Amadiini ag’obulimba gabuusa amaaso ebikolwa eby’obugwenyufu era gabireetera okulabika ng’ebya bulijjo. N’ekivuddemu, abantu bangi abagamba nti basinza Katonda basambajja emitindo gya Katonda egikwata ku mpisa. Ebyo ebivuddemu biragibwa bulungi mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abaruumi. (Soma Abaruumi 1:28-31.) Ebimu ku ‘bintu ebitasaana’ bye bikolwa eby’obugwenyufu ebya buli ngeri, gamba ng’okulya ebisiyaga. (Bar. 1:24-27, 32; Kub. 2:20) Kikulu nnyo gye tuli okunywerera ku njigiriza za Bayibuli!

13. Kakodyo ki akalala Sitaani k’akozesa?

13 Sitaani akwasa abantu ng’akozesa ebintu ebya bulijjo bye baagala. Abantu okutwalira awamu twagala okubaako ebintu bye tuyiga tusobole okweyimirizaawo awamu n’ab’omu maka gaffe. (1 Tim. 5:8) Emirundi mingi ebintu ebyo tubiyigira ku masomero era ng’okusobola okubiyiga tulina okussaayo omwoyo ku misomo gyaffe. Naye tulina okwegendereza. Mu nsi nnyingi, amasomero tegakoma ku kuyigiriza bantu bintu bibasobozesa kweyimirizaawo naye era gabayigiriza n’obufirisoofo bw’abantu. Abasomesa batera okuleetera abayizi okubuusabuusa obanga ddala Katonda gy’ali n’obutassa kitiibwa mu Bayibuli. Abayizi bayigirizibwa nti abantu bonna abategeevu bakkiriza nti ebintu tebyatondebwa wabula nti byajjawo byokka. (Bar. 1:21-23) Enjigiriza ng’ezo zikontana ‘n’amagezi ga Katonda.’​—1 Kol. 1:19-21; 3:18-20.

14. Obufirosoofo bw’abantu bukola ki ku bantu?

14 Obufirosoofo bw’abantu bukontana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Tebusobozesa bantu kukulaakulanya kibala kya mwoyo gwa Katonda omutukuvu, wabula bubaleetera okukola “ebikolwa eby’omubiri.” (Bag. 5:19-23) Buleetera abantu okwegulumiza n’okuba ab’amalala, era bubaleetera ‘okweyagala bokka.’ (2 Tim. 3:2-4) Engeri ezo za njawulo nnyo ku ngeri gamba ng’obuwombeefu n’obwetoowaze, Katonda z’ayagala abaweereza be okuba nazo. (2 Sam. 22:28) Abamu ku Bakristaayo abaafuna obuyigirize bw’oku yunivasite endowooza yaabwe yatwalirizibwa endowooza z’abantu. Ka tulabeyo ekyokulabirako ekiraga ebimu ku ebyo ebiyinza okuva mu kutwalirizibwa endowooza z’abantu.

Endowooza yaffe eyinza etya okutwalirizibwa obufirosoofo bw’abantu? (Laba akatundu 14-16) *

15-16. Kiki ky’oyigidde ku ekyo ekyatuuka ku mwannyinaffe omu?

15 Mwannyinaffe amaze emyaka egisukka mu 15 mu buweereza obw’ekiseera kyonna agamba nti: “Nnasomanga era ne mpulira ku kabi akali mu kufuna obuyigirize bwa yunivasite, naye ng’okulabula okwo sikutwala ng’okukulu. Nnali ndowooza nti okulabula okwo kwali tekunkwatako.” Kusoomooza ki kwe yafuna? Agamba nti: “Olw’okuba nnalina okusoma ennyo ebitabo, nnatuuka ekiseera ne mba nga sikyasobola kuwaayo kiseera kimala kusaba Yakuwa nga bwe nnakolanga edda, nnabanga mukoowu nnyo nga kinzibuwalira okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Bayibuli, era saategekanga bulungi nkuŋŋaana. Naye bwe nnakiraba nti obuyigirize obwa waggulu bwali bwonoona enkolagana yange ne Yakuwa, nnasalawo okubuleka.”

16 Obuyigirize obwa waggulu bwakola ki ku ndowooza ya mwannyinaffe oyo? Agamba nti: “Kinkwasa n’ensonyi okukyogera nti obuyigirize obwo bwandeetera okuba nga nkolokota nnyo abalala naddala bakkiriza bannange, nga mbasuubiramu bingi, era nga sibeewa. Kyantwalira ekiseera okweggyamu endowooza ezo. Ebyo ebyantuukako byannyamba okukiraba nti kya kabi nnyo obutawuliriza kulabula Kitaffe ow’omu ggulu kw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Yakuwa ammanyi bulungi okusinga bwe nneemanyi. Kyali kya busirusiru obutamuwuliriza!”

17. (a) Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Ba mumalirivu obutakkiriza kutwalirizibwa ‘bufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu’ eby’ensi ya Sitaani. Bulijjo weekuumenga oleme kugwa mu butego bwa Sitaani. (1 Kol. 3:18; 2 Kol. 2:11) Tokkiriza Sitaani kukuleetera kwerabira Yakuwa n’okwerabira engeri Yakuwa gy’ayagala omusinzeemu. Obulamu bwo butambulizenga ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Ate era tokkiriza Sitaani kukuleetera kusambajja magezi Yakuwa g’atuwa. Naye watya singa okukiraba nti mu ngeri emu oba endala otwaliriziddwa endowooza y’ensi? Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri Ekigambo kya Katonda gye kiyinza okutuyamba okusiguukulula endowooza n’enneeyisa embi “ebyasimba amakanda.”​—2 Kol. 10:4, 5.

OLUYIMBA 49 Okusanyusa Omutima gwa Yakuwa

^ lup. 5 Sitaani mukugu nnyo mu kulimbalimba abantu. Aleetedde abantu bangi okulowooza nti ba ddembe naye ng’ekituufu kiri nti yabafuula baddu. Ekitundu kino kigenda kulaga obukoddyo obw’enjawulo Sitaani bw’akozesa okulimba abantu.

^ lup. 48 EBIFAANANYI: Abayisirayiri nga bali n’Abakanani nga babasendasenda okusinza Bbaali n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.

^ lup. 51 EBIFAANANYI: Ekipande ku ssinzizo erimu erikkiriza omuze ogw’okulya ebisiyaga.

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe ng’ali ku yunivasite. Omusomesa waabwe abayigiriza nti ssaayansi ne tekinologiya bisobola okugonjoola ebizibu by’abantu. Oluvannyuma ng’ali mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka tanyumirwa biyigirizibwa era abibuusabuusa.