Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Gye Tuyinza Okwekuumamu Ogumu ku Mitego gya Sitaani

Engeri Gye Tuyinza Okwekuumamu Ogumu ku Mitego gya Sitaani

ABAYISIRAYIRI bwe baali beeteekateeka okusomoka Omugga Yoludaani bayingire mu nsi Katonda gye yali abasuubizza, waliwo abantu abajja okubakyalira. Abantu abo baali bakazi abataali Bayisirayiri era baayita abasajja Abayisirayiri ku kijjulo. Ako kaali kalabika ng’akakisa ak’enjawulo abasajja Abayisirayiri ke baali bafunye. Baali bagenda kufuna emikwano emipya, okuzina, n’okulya ekijjulo. Wadde ng’obuwangwa n’empisa z’abakazi abo byali bikontana n’Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, abamu ku basajja Abayisirayiri bayinza okuba nga muli baagamba nti, ‘Tujja kwegendereza. Tebajja kutusendasenda.’

Kiki ekyabaawo? Bayibuli egamba nti: ‘Abantu baatandika okwenda ku bawala ba Mowaabu.’ Mu butuufu, abakazi abo baali baagala abasajja Abayisirayiri basinze bakatonda ab’obulimba. Era ekyo abasajja abo baakikola! Tekyewuunyisa nti ‘Yakuwa yasunguwalira Isirayiri.’​—Kubal. 25:1-3.

Abayisirayiri abo baamenya Amateeka ga Katonda mu ngeri bbiri: Baavunnamira ebifaananyi era ne beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Abantu nkumi na nkumi baafa olw’okujeemera Yakuwa. (Kuv. 20:4, 5, 14; Ma. 13:6-9) Lwaki ekyo kyali kinakuwaza nnyo? Kubanga kyaliwo mu kiseera ng’Abayisirayiri bagenda okusomoka Yoludaani bayingire mu Nsi Ensuubize. Abayisirayiri abo baafiirwa obulamu bwabwe nga banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize.​—Kubal. 25:5, 9.

Ng’ayogera ku ebyo ebyaliwo, omutume Pawulo yagamba nti: “Ebintu bino byabatuukako bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.” (1 Kol. 10:7-11) Tewali kubuusabuusa Sitaani yasanyuka nnyo okuba nti abamu ku Bayisirayiri baakola ekibi eky’amaanyi ne balemererwa okuyingira mu Nsi Ensuubize. Tusaanidde okuyigira ku nsobi Abayisirayiri abo gye baakola kubanga naffe tukimanyi nti Sitaani tayagala tuyingire mu nsi ya Katonda empya!

OMUTEGO OGW’OMUTAWAANA

Sitaani agezaako okukwasa Abakristaayo ng’akozesa emitego gy’azze akozesa okukwasa abantu. Nga bwe tulabye, Sitaani yakwasa Abayisirayiri ng’akozesa ebikolwa eby’obugwenyufu. Ne leero obugwenyufu gukyali mutego gwa mutawaana nnyo. Engeri emu gye tuyinza okugwa mu mutego ogwo kwe kulaba ebifaananyi eby’obuseegu.

Leero omuntu asobola okulaba ebifaananyi eby’obuseegu nga tewali muntu mulala yenna akitegeddeko. Edda omuntu bwe yabanga ayagala okulaba ebintu eby’obuseegu yalinanga okugenda mu bifo gye balagira firimu ez’obuseegu oba mu maduuka agaatundanga ebintu ebirimu eby’obuseegu. Kirabika olw’okutya okuswala abantu bangi tebaagendanga mu bifo ng’ebyo. Naye kati omuntu bw’aba alina Intaneeti, asobola okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ng’ali ku mulimu oba ng’ali mu motoka. Era mu nsi nnyingi, omuntu asobola okulaba ebifaananyi eby’obuseegu nga tavudde na waka.

Okugatta ku ekyo, amasimu ne bukompyuta obw’omu ngalo bikifudde kyangu eri abantu okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Abantu bwe baba batambula ku nguudo oba nga bali mu takisi oba bbaasi, basobola okukozesa amasimu ne bukompyuta obw’omu ngalo okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.

Okuva bwe kyeyongedde okuba ekyangu okulaba ebifaananyi eby’obuseegu era ng’omuntu asobola okubiraba nga tewali n’omu akimanyiiko, abantu bangi bagwa mu mutego ogwo okusinga bwe kyali edda. Abantu abalaba ebifaananyi eby’obuseegu boonoona obufumbo bwabwe, baggwaamu ekitiibwa, era omuntu waabwe ow’omunda ayonooneka. N’ekisinga obubi, enkolagana yaabwe ne Katonda eyonooneka. Kya lwatu nti ebifaananyi eby’obuseegu byonoona abo ababiraba. Emirundi mingi ebifaananyi ebyo bireeta ebiwundu ku mutima gw’omuntu. Wadde ng’ebiwundu ebyo biyinza okugenda nga biwona mpolampola, birekera omuntu enkovu.

Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa asobola okutukuuma ne tutagwa mu mutego gwa Sitaani ogwo. Yakuwa bw’aba ow’okutukuuma, tulina okukola ekyo Abayisirayiri ab’edda kye baalemererwa okukola. Tulina ‘okuwuliriza Yakuwa n’obwegendereza.’ (Kuv. 19:5) Tusaanidde okukimanya nti Katonda akyayira ddala ebifaananyi eby’obuseegu. Lwaki tugamba bwe tutyo?

BIKYAWE NGA YAKUWA BW’ABIKYAWA

Lowooza ku kino: Amateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri gaali ga njawulo nnyo ku mateeka g’amawanga gonna agaaliwo mu kiseera ekyo. Gaali nga bbugwe eyali akuuma Abayisirayiri baleme kwonoonebwa mpisa mbi ez’abantu abaali babeetoolodde. (Ma. 4:6-8) Amateeka ago gaakyoleka bulungi nti Yakuwa ekyayira ddala ebikolwa eby’obugwenyufu.

Yakuwa bwe yali ayogera ku bikolwa eby’obugwenyufu amawanga bye gaali gakola, yagamba Abayisirayiri nti: “Temukolanga ebyo ebikolebwa mu nsi ya Kanani gye mbatwalamu. . . . Ensi efuuse etali nnongoofu, era nja kugibonereza olw’ensobi zaayo.” Mu maaso ga Katonda wa Isirayiri omutukuvu, empisa z’Abakanani zaali mbi nnyo ne kiba nti ensi yaabwe yali agitwala nga si nnoongoofu.​—Leev. 18:3, 25.

Wadde nga Yakuwa yabonereza Abakanani, abantu abalala beeyongera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Nga wayise emyaka egisukka mu 1,500, omutume Pawulo bwe yali ayogera ku bantu mu mawanga Abakristaayo mwe baali babeera, yagamba nti: “Tebakyalina nsonyi.” Mu butuufu abantu abo baali “beewaayo mu bugwagwa nga balulunkanira okwenyigira mu butali bulongoofu obwa buli ngeri.” (Bef. 4:17-19) Ne leero abantu bagwenyufu nnyo era tabakyalina nsonyi. N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa ab’amazima balina okukola kyonna ekisoboka okwewala okulaba ebintu eby’obugwenyufu abantu mu nsi bye bakola.

Ebifaananyi eby’obuseegu tebiweesa Katonda kitiibwa. Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye. Yatutonda nga tulina obusobozi bw’okumanya nti ekintu kituufu oba nti kikyamu. Katonda alina amateeka ge yassawo agakwata ku by’okwegatta. Okwegatta kulina kubaawo wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo. (Lub. 1:26-28; Nge. 5:18, 19) Naye kiki abo abakola n’abo abasaasaanya firimu n’ebitabo ebirimu ebintu eby’obuseegu kye bakola? Basambajja emitindo gya Katonda egikwata ku mpisa. Abantu abo tebassa kitiibwa mu Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti Katonda ajja kubasalira omusango.​—Bar. 1:24-27.

Ate abo mu bugenderevu abasoma oba abalaba ebintu eby’obuseegu? Abamu balowooza nti ekyo tekirina mutawaana gwonna. Naye abo abalaba oba abasoma ebintu eby’obuseegu bawagira abo abasambajja emitindo gya Yakuwa. Ekyo kiyinza okuba nga si kye kyali ekigendererwa kyabwe nga batandika okulaba oba okusoma ebintu ebyo. Naye Bayibuli ekiraga bulungi nti abantu abasinza Katonda ow’amazima balina okukyayira ddala ebintu eby’obuseegu. Bayibuli egamba nti: “Mmwe abaagala Yakuwa mukyawe ebibi.”​—Zab. 97:10.

N’abo abaagala okwewala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kiyinza obutabanguyira kukikola. Tetutuukiridde, era kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okulwanyisa okwegomba okubi okukwata ku by’okwegatta. Ate era olw’okuba omutima gwaffe mukuusa, guyinza ogutuleetera okubaako obusongasonga bwe twekwasa okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. (Yer. 17:9) Naye waliwo bangi abafuuse Abakristaayo abasobodde okuwangula olutalo olwo. Okumanya ekyo kisobola okukuyamba okukiraba nti naawe osobola okwewala ebifaananyi eby’obuseegu. Lowooza ku ngeri Ekigambo kya Katonda gye kisobola okukuyamba okwewala omutego gwa Sitaani ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.

WEEWALE OKUSSA EBIROWOOZO BYO KU BINTU EBY’OBUGWENYUFU

Nga bwe tulabye, Abayisirayiri bangi bakkiriza okwegomba okubi okubaviirako okukola ekibi eky’amaanyi ekyabaviiramu emitawaana. Naffe ekyo kisobola okututuukako. Yakobo muganda wa Yesu yagamba nti: ‘Buli muntu atwalirizibwa era asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi.’ (Yak. 1:14, 15) Omuntu bw’aleka okwegomba okubi okukula mu mutima gwe, emirundi mingi kumuviirako okukola ekibi. N’olwekyo bwe tufuna ebirowoozo ebibi, tulina okubyeggyamu mu bwangu.

Bwe weesanga ng’olowooza ku bintu eby’obugwenyufu, baako ky’okolawo mu bwangu. Yesu yagamba nti: “Singa omukono gwo oba ekigere kyo kikuleetera okwesittala, kitemeko okisuule. . . . Era singa eriiso lyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule.” (Mat. 18:8, 9) Yesu yali tategeeza nti tulina okwesalako ebimu ku bitundu byaffe eby’omubiri. Yakozesa ekyokulabirako ekyo okulaga nti tusaanidde okweggyako mu bwangu ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okufuna ebirowoozo ebibi. Tusobola tutya okukolera ku musingi ogwo bwe kituuka ku bifaananyi eby’obuseegu?

Singa mu butali bugenderevu weesanga ng’otunudde ku bifaananyi eby’obuseegu, todda mu kugamba nti, ‘Tebirina kye bijja kunkolako.’ Tunula ebbali mu bwangu. Ggyako ttivi, oba kompyuta, oba essimu mu bwangu. Lowooza ku kintu ekirungi. Ekyo kisobola okukuyamba okufuga ebirowoozo byo mu kifo ky’okuleka ebirowoozo ebibi okukufuga.

WATYA SINGA ODDAMU OKULOWOOZA KU BIFAANANYI EBY’OBUSEEGU BYE WALABA EDDA?

Watya singa wavvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu naye ng’oluusi n’oluusi ojjukira ebifaananyi ebyo? Ebirowoozo ebikwata ku bintu eby’obugwenyufu oba ebifaananyi eby’obuseegu biyinza okusigala mu bwongo bw’omuntu okumala ekiseera kiwanvu. Bisobola okukujjira ekiseera kyonna. Ekyo bwe kibaawo, oyinza okuwulira ng’oyagala okukola ekintu ekibi, gamba ng’okwemazisa. N’olwekyo osaanidde okukimanya nti ebirowoozo ebyo bisobola okukujjira ekiseera kyonna era beera mwetegefu okubirwanyisa.

Ba mumalirivu okutuukanya ebirowoozo n’ebikolwa byo n’ebyo Katonda by’ayagala. Beera ng’omutume Pawulo eyali omwetegefu ‘okukuba omubiri gwe n’okugufuga ng’omuddu.’ (1 Kol. 9:27) Tokkiriza kwegomba kubi kukufuga. ‘Kyusibwa ofune endowooza empya, olyoke weekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.’ (Bar. 12:2) Kijjukire nti: Bw’okola Katonda by’ayagala ojja kuba musanyufu, ate bw’okola ebintu eby’obugwenyufu tojja kuba musanyufu.

Bw’okola Katonda by’ayagala ojja kuba musanyufu, ate bw’okola ebintu eby’obugwenyufu tojja kuba musanyufu

Baako ebyawandiikibwa by’okwata mu mutwe. Bw’ofuna ebirowoozo ebibi, fumiitiriza ku byawandiikibwa ebyo. Ebyawandiikibwa gamba nga Zabbuli 119:37; Isaaya 52:11; Matayo 5:28; Abeefeso 5:3; Abakkolosaayi 3:5; ne 1 Abassessalonika 4:4-8 bisobola okukuyamba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa ku bifaananyi eby’obuseegu n’okumanya ekyo ky’ayagala okole.

Watya singa oluusi owulira nga tosobola kuziyiza kikemo kya kulaba oba kulowooza ku bintu eby’obugwenyufu? Koppa Yesu. (1 Peet. 2:21) Oluvannyuma lwa Yesu okubatizibwa, Sitaani yamukema enfunda eziwera. Kiki Yesu kye yakola? Yeeyongera okuziyiza Sitaani. Yakozesa ebyawandiikibwa ebitali bimu okwewala okugwa mu bikemo bya Sitaani. Yagamba nti: “Vaawo genda Sitaani!” era Sitaani yamuleka. Nga Yesu bw’ataakoowa kulwanyisa Sitaani, naawe tosaanidde kukoowa. (Mat. 4:1-11) Sitaani n’ensi ye bajja kweyongera okugezaako okukuleetera ebirowoozo ebibi, naye tolekera awo kubalwanyisa. Osobola okuwangula olutalo olw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Yakuwa asobola okukuyamba okuwangula omulabe wo oyo.

SABA YAKUWA ERA MUGONDERE

Weeyongere okusaba Yakuwa akuyambe. Pawulo yagamba nti: “Mutegeezenga Katonda bye mwetaaga . . . era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Baf. 4:6, 7) Katonda ajja kukuwa emirembe ku mutima kikuyambe okwewala okukola ekibi. Bw’osemberera Yakuwa, ‘naye ajja kukusemberera.’​—Yak. 4:8.

Bwe tukuuma enkolagana yaffe n’Omufuzi w’obutonde bwonna nga nnywevu, tetujja kugwa mu mitego gya Sitaani. Yesu yagamba nti: “[Sitaani] omufuzi w’ensi ajja, era tanninaako buyinza.” (Yok. 14:30) Lwaki Yesu yali mukakafu bw’atyo? Lumu yagamba nti: “Oyo eyantuma ali nange; tanjabuliranga, kubanga bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.” (Yok. 8:29) Bwe weeyongera okukola ebintu ebisanyusa Yakuwa, naawe tajja kukwabulira. Bwe weewala ebifaananyi eby’obuseegu, Sitaani tajja kusobola kukukwasa.