Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 27

Weeteekereteekere Kati Okuyigganyizibwa

Weeteekereteekere Kati Okuyigganyizibwa

“Abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.”​—2 TIM. 3:12.

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

OMULAMWA *

1. Lwaki twetaaga okweteekerateekera okuyigganyizibwa?

MU KIRO ekyasembayo amale attibwe, Yesu yagamba nti abo bonna abasalawo okuba abayigirizwa be bajja kukyayibwa. (Yok. 17:14) Okuva mu kiseera ekyo n’okutuusa leero Abakristaayo ab’amazima bazzenga bayigganyizibwa abo abataagala kusinza okw’amazima. (2 Tim. 3:12) Ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira abalabe baffe okweyongera okutuyigganya.​—Mat. 24:9.

2-3. (a) Kiki kye tusaanidde okumanya ku kutya? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Tusobola tutya okweteekerateekera okuyigganyizibwa? Tekitwetaagisa kudda awo kulowooza ku bintu byonna ebiyinza okututuukako. Ekyo bwe tukikola, kiyinza okutuleetera okutya ennyo n’okweraliikirira, era kiyinza okutuviirako okulekera awo okuweereza Yakuwa nga tetunnaba na kwolekagana na kuyigganyizibwa. (Nge. 12:25; 17:22) Okutya kya kulwanyisa kya maanyi ‘omulabe waffe Omulyolyomi’ ky’akozesa ng’agezaako okutulwanyisa. (1 Peet. 5:8, 9) Kiki kye tuyinza okukola kati okweteekerateekera okuyigganyizibwa?

3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era n’ensonga lwaki kikulu okukikola kati. Era tugenda kulaba kye tusaanidde okukola okwongera okuba abavumu. Ate era tugenda kulaba bye tuyinza okukola nga tukyayiddwa.

ENGERI GY’OYINZA OKUNYWEZA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA

4. Okusinziira ku Abebbulaniya 13:5, 6, tusaanidde kuba bakakafu ku ki, era lwaki?

4 Ba mukakafu nti Yakuwa akwagala era nti talikwabulira. (Soma Abebbulaniya 13:5, 6.) Emyaka mingi emabega, Watchtower emu yagamba nti: “Omuntu amanyi obulungi Katonda, amwesiga nnyo mu biseera ebizibu.” Ekyo kituufu ddala! Okusobola okugumira okuyigganyizibwa, tulina okwagala Yakuwa n’okumwesiga nga tetuliimu kubuusabuusa kwonna nti atwagala nnyo.​—Mat. 22:36-38; Yak. 5:11.

5. Kiki ekinaakuyamba okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala?

5 Soma Bayibuli buli lunaku ng’olina ekigendererwa eky’okwongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Ng’osoma Bayibuli, fumiitiriza ku ngeri za Yakuwa. Gezaako okulaba engeri ebyo bye yayogera ne bye yakola gye biraga nti akwagala nnyo. (Kuv. 34:6) Abamu kiyinza okubazibuwalira okukikkiriza nti Katonda abaagala kubanga tebalagibwangako kwagala. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’owulira, buli lunaku gezaako okuwandiika ebintu ebiraga engeri Yakuwa gy’aba akulazeemu ekisa n’obusaasizi. (Zab. 78:38, 39; Bar. 8:32) Bw’olowooza ku ebyo by’oyiseemu era n’ofumiitiriza ne ku ebyo by’osoma mu Kigambo kya Katonda, ojja kusobola okulaba ebintu bingi Yakuwa by’akukoledde. Ggy’okoma okusiima ebintu Yakuwa by’akukolera, enkolagana yo naye gy’ejja okukoma okweyongera okunywera.​—Zab. 116:1, 2.

6. Okusinziira ku Zabbuli 94:17-19, okweyabiza Yakuwa kiyinza kukuyamba kitya?

6 Sabanga obutayosa. Lowooza ku mwana ali ne kitaawe nga kitaawe amuwambaatidde. Omwana oyo aba awulira bulungi era abuulira kitaawe ebintu ebirungi n’ebibi by’ayiseemu mu lunaku. Naawe osobola okuba n’enkolagana ng’eyo ne Yakuwa bw’omusaba buli lunaku. (Soma Zabbuli 94:17-19.) Ng’osaba Yakuwa, mweyabize omubuulire ebikweraliikiriza n’ebikutiisa. (Kung. 2:19) Kiki ekinaavaamu? Ojja kufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Baf. 4:6, 7) Gy’onookoma okusaba Yakuwa bw’otyo, gy’ojja okukoma okumusemberera.​—Bar. 8:38, 39.

Bwe twesiga Yakuwa n’Obwakabaka bwe kituyamba okuba abavumu

Okumanya obulungi ebikwata ku Bwakabaka kyayamba Stanley Jones okuba n’okukkiriza okunywevu (Laba akatundu 7)

7. Lwaki osaanidde okuba omukakafu nti emikisa Katonda gye yasuubiza okuleeta okuyitira mu Bwakabaka gijja kujja?

7 Ba mukakafu nti emikisa gy’Obwakabaka bwa Katonda gijja kujja. (Kubal. 23:19) Okukkiriza kw’olina mu bisuubizo bya Katonda bwe kutaba kunywevu, kiba kyangu Sitaani n’abagoberezi be okukuleetera okutya. (Nge. 24:10; Beb. 2:15) Oyinza otya okunyweza okukkiriza kw’olina mu Bwakabaka bwa Katonda? Waayo ebiseera okusoma n’okunoonyereza ku mikisa Obwakabaka bwa Katonda gye bugenda okuleeta n’ensonga lwaki twandibadde bakakafu nti gijja kujja. Ekyo kinaakuyamba kitya? Lowooza ku Stanley Jones, eyasibibwa mu kkomera okumala emyaka musanvu olw’okukkiriza kwe. * Kiki ekyamuyamba okugumiikiriza? Yagamba nti: “Okukkiriza kwange kwali kunywevu kubanga nnali mmanyi ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebyo bye bugenda okukola era nnali sibibuusabuusa. N’olwekyo, tewali n’omu eyali asobola kundeetera kuva ku Yakuwa.” Bw’oba n’okukkiriza okunywevu mu bisuubizo bya Katonda, ojja kuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye era okutya tekujja kukuleetera kumuvaako.​—Nge. 3:25, 26.

8. Endowooza gye tulina ku kubangawo mu nkuŋŋaana etulaga ki? Nnyonnyola.

8 Beerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Enkuŋŋaana zituyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Endowooza gye tulina ku kubangawo mu nkuŋŋaana etuyamba okumanya obanga tunaasobola okugumira okuyigganyizibwa mu biseera eby’omu maaso. (Beb. 10:24, 25) Lwaki kiri kityo? Bwe tuba nga tukkiriza obuntu obutonotono okutulemesa okubaawo mu nkuŋŋaana, kati olwo kinaaba kitya mu biseera eby’omu maaso nga kitwetaagisa okussa obulamu bwaffe mu kabi okusobola okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe? Ku luuyi olulala, bwe tuba abamalirivu okubangawo mu nkuŋŋaana, abalabe baffe ne bwe banaaba bagezaako okutulemesa okukuŋŋaana, tetujja kulekayo kukuŋŋaana wamu. Tusaanidde okwagala ennyo okukuŋŋaana awamu. Bwe tuba nga twagala nnyo okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe, tewali kuyigganyizibwa, oba kuwerebwa gavumenti, kujja kutulemesa kugondera Katonda, so si bantu.​—Bik. 5:29.

Okukwata ebyawandiikibwa n’ennyimba z’Obwakabaka kisobola okukuyamba mu kiseera eky’okuyigganyizibwa (Laba akatundu 9) *

9. Lwaki okubaako ebyawandiikibwa bye tukwata kituyamba okweteekerateekera okuyigganyizibwa?

9 Fuba okukwata mu mutwe ebyawandiikibwa by’osinga okwagala. (Mat. 13:52) Oyinza okuba ng’oli muntu eyeerabira amangu, naye Yakuwa asobola okukozesa omwoyo gwe omutukuvu okukuyamba okujjukira ebyawandiikibwa ebyo. (Yok. 14:26) Lowooza ku w’oluganda omu mu Bugirimaani eyakwatibwa n’asibibwa yekka mu kaduukulu. Yagamba nti: “Kyannyamba nnyo okuba nti nnali nkutte ebyawandiikibwa bingi mu mutwe! Wadde nga nnali nzekka mu kaduukulu, sadda awo kwekubagiza kubanga nnafumiitirizanga ku bintu bingi ebiri mu Bayibuli.” Ebyawandiikibwa ebyo byayamba muganda waffe oyo okusigala ng’anyweredde ku Yakuwa n’okugumiikiriza.

(Laba akatundu 10) *

10. Lwaki tulina okukwata ennyimba?

10 Fuba okukwata ennyimba ezitendereza Yakuwa era ziyimbenga. Pawulo ne Siira bwe baali basibiddwa mu kkomero mu Firipi, baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa ze baali baakwata. (Bik. 16:25) Ekyo kye kyayamba ne bakkiriza bannaffe abaali mu Soviet Union abaawaŋŋangusibwa e Siberia. Mwannyinaffe Mariya Fedun yagamba nti: “Twayimba ennyimba zonna ze twali tumanyi mu katabo kaffe ak’ennyimba.” Yagamba nti ennyimba ezo zaabazzangamu nnyo amaanyi era ne zibayamba okuwulira nga bali kumpi ne Yakuwa. Naawe owulira ng’oziddwamu amaanyi bw’oyimba ennyimba ez’eby’omwoyo z’osinga okwagala? Fuba okukwata ennyimba ezo kati!​—Laba akasanduuko “ Mpa Obuvumu.”

ENGERI GY’OYINZA OKWEYONGERA OKUBA OMUVUMU

11-12. (a) Okusinziira 1 Samwiri 17:37, 45-47, lwaki Dawudi yali muvumu? (b) Kintu ki ekikulu kye tuyigira ku Dawudi?

11 Okusobola okugumira okuyigganyizibwa, kikwetaagisa okuba omuvumu. Bw’oba owulira nti toli muvumu, kiki ky’oyinza okukola? Kijjukire nti okuba omuvumu tekisinziira ku buwanvu bwo, ku bunene, ku maanyi, oba ku busobozi bwo. Lowooza ku Dawudi lwe yagenda okwaŋŋanga Goliyaasi. Bw’omugeraageranya ku Goliyaasi, Dawudi yali mutono nnyo, wa maanyi matono, era nga kumpi talina kyakulwanyisa. Dawudi teyalina wadde na kitala. Wadde kyali kityo, yali muvumu nnyo. Dawudi yadduka nga tatya n’agenda okulwanyisa omusajja oyo eyali omuwagguufu.

12 Lwaki Dawudi yali muvumu nnyo? Yali mukakafu nti Yakuwa yali naye. (Soma 1 Samwiri 17:37, 45-47.) Dawudi teyassa birowoozo bye ku buwagguufu bwa Goliyaasi. Mu kifo ky’ekyo, yalowooza nnyo ku ky’okuba nti Goliyaasi yali mutono nnyo bw’omugeraageranya ku Yakuwa. Ekyo kituyigiriza ki? Tujja kuba bavumu singa tuba bakakafu nti Yakuwa ali naffe era nti abalabe baffe batono nnyo bw’obageraageranya ku Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. (2 Byom. 20:15; Zab. 16:8) Tuyinza tutya okwongera okuba abavumu ng’okuyigganyizibwa tekunnajja?

13. Tuyinza tutya okwongera okuba abavumu? Nnyonnyola.

13 Tusobola okwongera okuba abavumu kati nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Lwaki? Kubanga okubuulira kutuyigiriza okwesiga Yakuwa n’okuggwaamu okutya abantu. (Nge. 29:25) Ng’ebinywa by’omubiri gwaffe bwe byeyongera okuguma nga tukola dduyiro, n’obuvumu bwaffe bweyongera bwe tubuulira nnyumba ku nnyumba, mu bifo ebya lukale, embagirawo, ne mu bifo omukolerwa bizineesi. Bwe tufuna obuvumu okubuulira, tujja kweyongera okubuulira omulimu gwaffe ne bwe gunaaba guwereddwa.​—1 Bas. 2:1, 2.

Nancy Yuen yagaana okulekera awo okubuulira amawulire amalungi (Laba akatundu 14)

14-15. Biki bye tuyigira ku Nancy ne Valentina?

14 Waliwo bye tuyinza okuyigira ku bannyinaffe babiri abaayoleka obuvumu. Wadde nga Nancy Yuen yali mumpi, yali tamala gatiisibwatiisibwa. * Yagaana okulekera awo okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Bwe kityo, yasibibwa mu kkomera okumala emyaka 20 mu China. Abasirikale baagamba nti “ye muntu eyali asingayo okuba ow’emputtu” mu si yaabwe!

Valentina Garnovskaya yali mukakafu nti Yakuwa yali naye (Laba akatundu 15)

15 Mu ngeri y’emu, Valentina Garnovskaya yasibibwa mu kkomera mu Soviet Union emirundi esatu egy’enjawulo, era emyaka gyonna awamu gye yamala mu kkomera gyali 21. * Lwaki yasibibwa? Yali mumalirivu okubuulira ne kiba nti ab’obuyinza baagamba nti “ye mumenyi w’amateeka eyali asingayo okuba ow’omutawaana.” Kiki ekyaleetera bannyinaffe abo okuba abavumu ennyo? Baali bakakafu nti Yakuwa yali nabo.

16. Kiki ekinaatuyamba okuba abavumu?

16 Nga bwe tulabye, okusobola okuba abavumu, tetusaanidde kwesigama ku maanyi gaffe oba ku busobozi bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, tulina okuba abakakafu nti Yakuwa ali naffe era nti y’atulwanirira. (Ma. 1:29, 30; Zek. 4:6) Ekyo kye kijja okutuyamba okuba abavumu.

BYE TUYINZA OKUKOLA NGA TUKYAYIDDWA

17-18. Okusinziira ku Yokaana 15:18-21, kiki Yesu kye yagamba ekyandituuse ku bagoberezi be, era lwaki?

17 Kitusanyusa abantu bwe batuwa ekitiibwa. Naye abantu bwe batukyawa ekyo tekisaanidde kutuleetera kulowooza nti tetulina mugaso. Yesu yagamba nti: “Mulina essanyu abantu bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga, era ne bavumaganya n’erinnya lyammwe ku lw’Omwana w’omuntu.” (Luk. 6:22) Kiki Yesu kye yali ategeeza?

18 Yesu yali tategeeza nti Abakristaayo kyandibasanyusizza okukyayibwa abalala. Mu kifo ky’ekyo, yali atulabula ku ekyo ekyanditutuuseeko. Tetuli ba nsi. Tukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza era tubuulira obubaka bwe yabuulira. Eyo ye nsonga lwaki ensi etukyawa. (Soma Yokaana 15:18-21.) Twagala okusanyusa Yakuwa. Abantu bwe batukyawa olw’okuba twagala Kitaffe ow’omu ggulu, obwo buzibu bwabwe.

19. Tuyinza tutya okukoppa abatume?

19 Tokkirizanga kintu kyonna abantu obuntu kye boogera oba kye bakola kukulemesa kwemanyisa nti oli Mujulirwa wa Yakuwa. (Mi. 4:5) Tusobola okwewala okutya abantu bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako abatume abaali mu Yerusaalemi kye bassaawo nga wayise ekiseera kitono bukya Yesu attibwa. Baali bakimanyi bulungi nti abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali tebabaagala. (Bik. 5:17, 18, 27, 28) Wadde kyali kityo, buli lunaku baagendanga mu yeekaalu ne babuulira, bwe batyo ne bakiraga mu lujjudde nti baali bayigirizwa ba Yesu. (Bik. 5:42) Okutya tekwabalemesa kubuulira. Naffe tusobola okulekera awo okutya abantu singa bulijjo twemanyisa eri abalala nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa, ka tube ku mulimu, ku ssomero, oba mu bitundu gye tubeera.​—Bik. 4:29; Bar. 1:16.

20. Lwaki abatume baali basanyufu wadde nga baali tebaagalibwa?

20 Lwaki abatume baali basanyufu? Baali bamanyi ensonga lwaki baali bakyayiddwa, era baagitwala nga nkizo okubonyaabonyezebwa olw’okukola Yakuwa by’ayagala. (Luk. 6:23; Bik. 5:41) Omutume Peetero yagamba nti: “Ne bwe mubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu muba basanyufu.” (1 Peet. 2:19-21; 3:14) Bwe tukimanya nti tukyayibwa olw’okukola ekituufu, tetujja kulekera awo kuweereza Yakuwa, abantu ne bwe batukyawa.

OKWETEEKATEEKA KIJJA KUKUGANYULA

21-22. (a) Biki by’omaliridde okukola okusobola okwetegekera okuyigganyizibwa? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

21 Tetumanyi ddi bantu lwe banaatandika kutuyigganya oba ddi ab’obuyinza lwe banaawera mulimu gwaffe. Naye tukimanyi nti tusobola okweteekateeka kati nga tunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, nga tukola ebintu ebituyamba okweyongera okuba abavumu, era nga tuyiga okwaŋŋanga obukyayi bw’abantu. Bwe tweteekateeka kati, kijja kutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu biseera eby’omu maaso.

22 Naye watya singa tuwerebwa? Ekitundu ekiddako kijja kulaga emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa wadde nga tuweereddwa.

OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”

^ lup. 5 Tetwagala kukyayibwa. Naye ekiseera kijja kutuuka buli omu ku ffe ayolekagane n’okuyigganyizibwa. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okuba abavumu n’okweteekerateekera okuyigganyizibwa.

^ lup. 7 Laba Watchtower eya Ddesemba 15, 1965, lup. 756-767.

^ lup. 14 Laba Watchtower eya Jjulaayi 15, 1979, lup. 4-7. Laba ne vidiyo Jehovah’s Name Will Be Made Known ku JW Broadcasting®. Genda wansi wa INTERVIEWS AND EXPERIENCES.

^ lup. 15 Laba Yearbook eya 2008, lup. 191-192.

^ lup. 67 EBIFAANANYI: Mu kusinza kw’amaka, abazadde nga bakozesa obupande okuyamba abaana baabwe okukwata ebyawandiikibwa.

^ lup. 70 EBIFAANANYI: Ab’omu maka nga bali mu mmotoka nga bagenda mu lukuŋŋaana era nga beegezaamu ennyimba z’Obwakabaka.