Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 28

Weeyongere Okuweereza Yakuwa nga Tuwereddwa

Weeyongere Okuweereza Yakuwa nga Tuwereddwa

“Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.”​—BIK. 4:19, 20.

OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!

OMULAMWA *

1-2. (a) Lwaki tekyanditwewuunyisizza singa omulimu gwaffe guwerebwa? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

MU 2018, ababuulizi abasukka mu 223,000 be baali babeera mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa oba gye gukugirwa. Ekyo tekyewuunyisa. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Abakristaayo ab’amazima basuubira okuyigganyizibwa. (2 Tim. 3:12) Ka wabe wa we tubeera, ab’obuyinza bayinza okuwera omulimu gwaffe nga tetukisuubira.

2 Singa mu nsi mw’obeera gavumenti esalawo okuwera Abajulirwa ba Yakuwa, oyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Okuyigganyizibwa kuno kulaga nti Yakuwa takyatusiima? Kunaatulemesa okweyongera okuweereza Yakuwa? Ŋŋende mu nsi endala gye nsobola okusinziza Yakuwa kyere?’ Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okuweereza Yakuwa ng’omulimu gwaffe guwereddwa, n’obutego bwe tulina okwewala.

OKUYIGGANYIZIBWA KUBA KULAGA NTI YAKUWA TAKYATUSIIMA?

3. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 11:23-27, kuyigganyizibwa ki omutume Pawulo kwe yayolekagana nakwo, era tumuyigirako ki?

3 Singa gavumenti ewera omulimu gwaffe, mu bukyamu tuyinza okulowooza nti Yakuwa takyatusiima. Naye kijjukire nti okuyigganyizibwa tekiraga nti Yakuwa tatusiima. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mutume Pawulo. Awatali kubuusabuusa Katonda yali amusiima. Pawulo yafuna enkizo okuwandiika amabaluwa 14 ag’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, era yali mutume eri ab’amawanga. Wadde kyali kityo, yayigganyizibwa nnyo. (Soma 2 Abakkolinso 11:23-27.) Ekyokulabirako kya Pawulo kiraga nti Yakuwa aleka abaweereza be abeesigwa okuyigganyizibwa.

4. Lwaki ensi etukyawa?

4 Yesu yalaga ensonga lwaki twandisuubidde okuyigganyizibwa. Yagamba nti twandikyayiddwa olw’okuba tetuli ba nsi. (Yok. 15:18, 19) Okuyigganyizibwa tekiraga nti Yakuwa tatusiima, wabula kiraga nti tukola ekituufu!

OKUWEREBWA KUNAATULEMESA OKWEYONGERA OKUWEEREZA YAKUWA?

5. Abantu obuntu basobola okusaanyaawo okusinza kwa Yakuwa? Nnyonnyola.

5 Abantu obuntu tebasobola kusaanyaawo kusinza kwa Yakuwa, Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. Bangi bagezezzaako ne balemwa. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu Ssematalo II. Mu kiseera ekyo, gavumenti mu nsi nnyingi zaayigganya nnyo abantu ba Katonda. Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwawerebwa mu Bugirimaani, mu Australia, mu Canada, ne mu nsi endala. Naye lowooza ku ekyo ekyaliwo. Mu 1939 olutalo we lwatandikira, waaliwo abaweereza ba Yakuwa 72,475 mu nsi yonna. Lipoota zaalaga nti olutalo we lwaggweera mu 1945, waaliwo Abajulirwa ba Yakuwa 156,299. Omuwendo gw’ababuulizi gwali gukubisizzaamu emirundi ebiri n’okusukkawo!

6. Birungi ki ebiyinza okuva mu kuyigganyizibwa? Waayo ekyokulabirako.

6 Mu kifo ky’okutuleetera okutya, okuyigganyizibwa kusobola okutuleetera okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu ne mukyala we abaalina omwana omuto, gavumenti y’ensi mwe babeera yasalawo okuwera omulimu gwaffe. Mu kifo ky’okutya, baasalawo okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Mwannyinaffe yalekayo n’omulimu gwe ogwali gumusasula obulungi. Ow’oluganda agamba nti, okuwerebwa kwaleetera abantu bangi okwagala okumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kyakifuula kyangu gy’ali okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Waliwo ebirungi ebirala ebyava mu kuwerebwa okwo. Omukadde omu mu nsi eyo yagamba nti, bangi ku abo abaali bawoze mu by’omwoyo baddamu okujja mu nkuŋŋaana n’okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.

7. (a) Kiki kye tuyigira ku Eby’Abaleevi 26:36, 37? (b) Kiki kye tusaanidde okukola nga tuwereddwa?

7 Abalabe baffe bwe batuwera, baba basuubira nti tujja kutya tulekere awo okuweereza Yakuwa. Ng’oggyeeko okutuwera, bayinza okutwogerako ebintu eby’obulimba, okusindika abasirikale okwaza amayumba gaffe, okutukuba mu mbuga z’amateeka, oba n’okusiba abamu ku ffe. Baba basuubira nti tujja kutya olw’okuba basibyeko abamu ku ffe. Bwe tubakkiriza okutuleetera okutya, tuyinza okwesanga nga ffe ffennyini “tweweze.” Tetwagala kuba ng’abo aboogerwako mu Eby’Abaleevi 26:36, 37. (Soma.) Tetusaanidde kukkiriza kutya kutuleetera kuddirira oba kulekera awo kuweereza Yakuwa. Twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna era tetukkiriza kutiisibwatiisibwa. (Is. 28:16) Tusaba Yakuwa era tunoonya obulagirizi bwe. Olw’okuba Yakuwa atuyamba, ne gavumenti z’abantu ezisingayo okuba ez’amaanyi tezisobola kutulemesa kusinza Yakuwa.​—Beb. 13:6.

ŊŊENDE MU NSI ENDALA?

8-9. (a) Kiki buli mutwe gw’amaka oba buli muntu ky’alina okwesalirawo? (b) Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okusalawo obulungi?

8 Singa gavumenti y’ensi mw’obeera ewera omulimu gwaffe oyinza okwebuuza obanga wandisengukidde mu nsi endala gy’osobola okuweerereza Yakuwa kyere. Kino kintu ky’olina okwesalirawo ku lulwo. Omuntu nga tannasalawo kya kukola, ayinza okusoma ku ekyo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kye baakola nga wazzeewo okuyigganyizibwa. Abalabe bwe baamala okutta Siteefano, abayigirizwa abaali mu Yerusaalemi baasaasaanira mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, ne mu bitundu eby’ewala, gamba nga, Foyiniikiya, Kupulo, ne Antiyokiya. (Mat. 10:23; Bik. 8:1; 11:19) Kyokka omuntu omulala ayinza okukiraba nti bwe wajjawo okuyigganyizibwa okulala, omutume Pawulo yasalawo obutava mu bitundu Abakristaayo gye baali bayigganyizibwa. Mu kifo ky’ekyo, yassa obulamu bwe mu kabi okusobola okubuulira amawulire amalungi n’okuzzaamu amaanyi ab’oluganda abaali babeera mu bibuga omwali okuyigganyizibwa okw’amaanyi.​—Bik. 14:19-23.

9 Kiki kye tuyigira ku Bakristaayo abo? Kiri eri buli mutwe gw’amaka okusalawo obanga ye n’abomu maka ge banaagenda mu nsi endala oba nedda. Ekyo nga tannakisalawo, asaanidde okusaba ennyo, okufumiitiriza ku mbeera y’ab’omu maka ge, n’okufumiitiriza ku birungi n’ebibi ebiyinza okuba mu kusengukira mu nsi endala. Mu nsonga eno, buli Mukristaayo ‘alina okwetikka obuvunaanyizibwa bwe.’ (Bag. 6:5) Tetusaanidde kusalira balala musango olw’ekyo kye baba basazeewo.

TUNAASINZA TUTYA YAKUWA NGA TUWEREDDWA?

10. Bulagirizi ki ofiisi y’ettabi n’abakadde bwe banaatuwa?

10 Oyinza otya okweyongera okuweereza Yakuwa nga tuwereddwa? Ofiisi y’ettabi ejja kuwa abakadde obulagirizi n’amagezi ku ngeri y’okufunamu emmere ey’eby’omwoyo, ku ngeri y’okukuŋŋaanangamu awamu, ne ku ngeri y’okubuuliramu amawulire amalungi. Ofiisi y’ettabi bw’eba nga tesobola kuwuliziganya n’abakadde, abakadde bajja kukuyamba awamu n’abalala bonna mu kibiina okumanya engeri gye muyinza okweyongera okusinza Yakuwa. Bajja kubawa obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa.​—Mat. 28:19, 20; Bik. 5:29; Beb. 10:24, 25.

11. Lwaki osaanidde okuba omukakafu nti ojja kweyongera okufuna emmere ey’eby’omwoyo, era kiki ky’oyinza okukola okukuuma emmere yo ey’eby’omwoyo?

11 Yakuwa yasuubiza nti abaweereza be bajja kuliisibwa bulungi mu by’omwoyo. (Is. 65:13, 14; Luk. 12:42-44) N’olwekyo ba mukakafu nti ekibiina kya Yakuwa kijja kukola kyonna ekisoboka okukuwa byonna bye weetaaga okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo. Naye waliwo naawe ky’osaanidde okukola. Gavumenti bw’etuwera, funa ekifo ekirungi mw’oyinza okukweka Bayibuli yo n’ebitabo ebirala by’olina ebikubibwa omuddu omwesigwa. Weegendereze obutaleka bintu ng’ebyo, ka bibe nga bikube mu kyapa oba nga biri ku ssimu, mu kifo abantu mwe basobola okubizuula amangu. Buli omu ku ffe asaanidde okukola kyonna ekisoboka okusigala nga munywevu mu by’omwoyo.

Olw’okuba Yakuwa atuyamba, tusobola okukuŋŋaana awamu okumusinza (Laba akatundu 12) *

12. Abakadde bayinza batya okutegeka enkuŋŋaana mu ngeri etaleetera balabe kukimanya?

12 Ate zo enkuŋŋaana ze tuba nazo buli wiiki? Abakadde bajja kuteekateeka enkuŋŋaana mu ngeri etaleetera batuyigganya kukimanya. Abakadde bayinza okubagamba okukuŋŋaaniranga mu bubinja obutono n’okukyusakyusa mu bifo we mukuŋŋaanira n’essaawa ze mukuŋŋaanirako. Oyinza okwewala okusuula baganda bo mu buzibu ng’oyogerera mu ddoboozi erya wansi bw’oba ng’ojja oba ng’ova mu nkuŋŋaana. Ate era kiyinza okukwetaagisa okwambala mu ngeri etaleetera balabe kuteebereza nti ojja mu nkuŋŋaana.

Gavumenti ne bw’ewera omulimu gwaffe, tetusobola kulekera awo kubuulira (Laba akatundu 13) *

13. Kiki kye tuyigira ku baganda baffe abaali mu Soviet Union?

13 Ate bwe kituuka ku kubuulira, engeri gye tukolamu omulimu ogwo ekyuka okusinziira ku mbeera eba eriwo. Twagala nnyo Yakuwa era twagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwe. N’olwekyo tukola kyonna ekisoboka okubuulira. (Luk. 8:1; Bik. 4:29) Ng’ayogera ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu Soviet Union gye baabuuliramu, munnabyafaayo Emily B. Baran yagamba nti: “Gavumenti bwe yagaana Abajulirwa ba Yakuwa okubuulira, baabuuliranga baliraanwa baabwe, bakozi bannaabwe, ne mikwano gyabwe nga balinga abanyumya nabo. Ekyo bwe kyabaviirako okutwalibwa mu nkambi z’abasibe, Abajulirwa ba Yakuwa baabuuliranga basibe bannaabwe.” Wadde nga baganda baffe abo ab’omu Soviet Union baali bawereddwa, tebaalekayo kubuulira. N’olwekyo singa omulimu gw’okubuulira guwerebwa mu kitundu gy’obeera, naawe beera mumalirivu okweyongera okubuulira nga baganda baffe abo.

OBUTEGO BWE TUSAANIDDE OKWEWALA

Tulina okumanya ddi lwe tusaanidde okusirika (Laba akatundu 14) *

14. Zabbuli 39:1 eyinza kutuyamba kwewala kugwa mu katego ki?

14 Weegendereze by’obuulira abalala. Bwe tuba nga tuwereddwa, tulina okumanya ddi lwe kitwetaagisa ‘okusirika.’ (Mub. 3:7) Tulina okwegendereza obutabuulira balala bintu, gamba nga amannya ga bakkiriza bannaffe, ebifo mwe tukuŋŋaanira, engeri gye tubuuliramu, n’engeri gye tufunamu emmere ey’eby’omwoyo. Ebintu ebyo tetubibuulira ba buyinza, era tetubibuulira mikwano gyaffe oba baŋŋanda zaffe ababeera mu nsi yaffe oba mu nsi endala. Bwe tugwa mu katego ako, tussa obulamu bwa bakkiriza bannaffe mu kabi.​—Soma Zabbuli 39:1.

15. Kiki Sitaani ky’ajja okugezaako okutuleetera, era tuyinza tutya okwewala okugwa mu katego ako?

15 Tokkiriza buntu butaliimu kutwawula. Sitaani amanyi nti amaka bwe geeyawulamu, tegasobola kusigalawo. (Mak. 3:24, 25) Ajja kugezaako okutuleetamu anjawukana. Aba ayagala tulwanyise baganda baffe mu kifo ky’okulwanyisa ye.

16. Kyakulabirako ki ekirungi mwannyinaffe Gertrud Poetzinger kye yassaawo?

16 N’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo balina okwegendereza baleme kugwa mu katego ako. Lowooza ku bannyinaffe abaafukibwako amafuta babiri, Gertrud Poetzinger ne Elfriede Löhr. Baasibibwa wamu mu nkambi y’abasibe ne bannyinaffe abalala. Elfriede bwe yawa emboozi ezazzaamu bannyinaffe amaanyi, Gertrud yamukwatirwa obuggya. Oluvannyuma Gertrud yakiraba nti ekyo kyali kikyamu era n’asaba Yakuwa amuyambe. Yagamba nti, “Abalala bwe baba nga batusinga mu kintu ekimu, oba nga baweereddwa obuvunaanyizibwa obusinga obwaffe, tulina okukikkiriza.” Mwannyinaffe oyo yavvuunuka atya obuggya? Yassa ebirowoozo bye ku ngeri za Elfriede ennungi. Ekyo kyamuyamba okuzzaawo enkolagana ye ne Elfriede. Bannyinaffe abo bombi baamala ne bateebwa era baaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe baamaliriza obuweereza bwabwe obw’oku nsi. Bwe tufuba okumalawo obutategeeragana bwe tuba tulina ne baganda baffe, kituyamba obutakkiriza kintu kyonna kutwawulayawulamu.​—Bak. 3:13, 14.

17. Lwaki bulijjo tusaanidde okugoberera obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa?

17 Weewale okwetulinkiriza. Bwe tukolera ku bulagirizi obutuweebwa ab’oluganda abeesigika abatukulembera, kituyamba okwewala okugwa mu bizibu. (1 Peet. 5:5) Ng’ekyokulabirako, mu nsi emu omulimu gwaffe gye gwawerebwa ab’oluganda baalagira ababuulizi obutagabira bantu bitabo nga babuulira. Naye ow’oluganda omu eyali aweereza nga payoniya teyagoberera bulagirizi obwo era n’agabira abantu ebitabo. Kiki ekyavaamu? Waayita akaseera katono nga ye ne banne bamaze okubuulira embagirawo, abapoliisi ne babakwata ne babaako bye bababuuza. Kirabika abapoliisi baali bazze babalondoola, era ne baggya ku bantu ebitabo ab’oluganda abo bye baali babagabidde. Kiki kye tuyigira ku ekyo ekyaliwo? Tusaanidde okugoberera obulagirizi obutuweebwa ne bwe tuba nga tetukkiriziganya nabwo. Bwe tugondera ab’oluganda Yakuwa b’ataddewo okutukulembera, atuwa emikisa.​—Beb. 13:7, 17.

18. Lwaki tulina okwewala okuteerawo ab’oluganda amateeka agateetaagisa?

18 Tossaawo mateeka gateetaagisa. Abakadde bwe bassaawo amateeka agateetaagisa, baba bakaluubiriza abalala. Ow’oluganda Juraj Kaminský ajjukira ekyaliwo ng’omulimu gwaffe guwereddwa mu nsi eyali eyitibwa Czechoslovakia. Agamba nti: “Ab’oluganda abaalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa n’abakadde bangi bwe baasibibwa, abamu ku bakadde n’abalabirizi abakyalira ebibiina abaali batasibiddwa baatandika okuteerawo ab’oluganda olukunkumuli lw’amateeka ku bye baalina okukola ne bye bataalina kukola.” Yakuwa teyatuwa buyinza kuteerawo baganda baffe mateeka. Omuntu ateerawo ab’oluganda amateeka agateetaagisa aba tabayamba, wabula aba yeefudde oyo alina obuyinza ku kukkiriza kwabwe.​—2 Kol. 1:24.

TOLEKANGAYO KUSINZA YAKUWA

19. Okusinziira ku 2 Ebyomumirembe 32:7, 8, lwaki tusaanidde okusigala nga tuli bavumu ka kibe ki Sitaani ky’akola?

19 Omulabe waffe omukulu, Sitaani Omulyolyomi, tajja kulekayo kuyigganya baweereza ba Yakuwa abeesigwa. (1 Peet. 5:8; Kub. 2:10) Sitaani n’abo abamuwagira bajja kugezaako okutulemesa okusinza Yakuwa. Naye ne bwe batutiisa batya, tetusaanidde kulekera awo kusinza Yakuwa! (Ma. 7:21) Yakuwa ali ku ludda lwaffe, era ajja kweyongera okutuyamba, omulimu gwaffe ne bwe guwerebwa.​—Soma 2 Ebyomumirembe 32:7, 8.

20. Omaliridde kukola ki?

20 Tusaanidde okuba abamalirivu nga baganda baffe abaaliwo mu kyasa ekyasooka abaagamba ab’obuyinza nti: “Bwe kiba nga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe mu kifo ky’okuwulira Katonda, mwesalirewo. Naye ffe tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.”​—Bik. 4:19, 20.

OLUYIMBA 73 Tuwe Obuvumu

^ lup. 5 Kiki kye tusaanidde okukola singa gavumenti etulagira okulekera awo okuweereza Yakuwa? Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bye tusaanidde okukola ne bye tusaanidde okwewala tuleme kulekera awo kusinza Katonda waffe!

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Ebifaananyi byonna biraga abaweereza ba Yakuwa mu nsi omulimu gwaffe gye guziyizibwa. Ekifaananyi kino kiraga ab’oluganda abatonotono nga bali mu lukuŋŋaana mu nnyumba y’ow’oluganda omu.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe (ku kkono) ng’anyumya n’omukazi alabe oba ng’asobola okufuna akakisa okumubuulira.

^ lup. 63 EBIFAANANYI: Ow’oluganda omu ng’abapoliisi baliko ebibuuzo bye bamubuuza naye ng’agaanye okubabuulira ebikwata ku b’oluganda abali mu kibiina kye.