Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 34

Okufuna Essanyu mu Buweereza Obupya

Okufuna Essanyu mu Buweereza Obupya

“Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.”​—BEB. 6:10.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

OMULAMWA *

1-3. Biki ebiyinza okuviirako bagamba baffe abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna okulekayo oba okukyusa obuweereza bwabwe?

OW’OLUGANDA Robert Jo ne mukyala we Mary bagamba nti: “Oluvannyuma lw’okumala emyaka 21 nga tuweereza ng’abaminsani, bazadde baffe bonna abana baalwala. Twasalawo okuddayo okubajjanjaba. Naye kyatuluma nnyo okuleka obuweereza bwaffe bwe twali twagala ennyo.”

2 William ne Terrie bagamba nti: “Bwe twakimanya nti embeera y’obulamu bwaffe yali tetusobozesa kuddayo mu buweereza bwaffe, twakaaba. Twali tunyumirwa nnyo okuweereza Yakuwa mu nsi endala naye kati kyali tekikyasoboka.”

3 “Ow’oluganda Aleksey agamba nti: “Twali tukimanyi nti abaali batuyigganya baali baagala okuggala ofiisi y’ettabi lyaffe. Wadde kyali kityo, bwe baggala ettabi lyaffe ne tuba nga tulina okuva ku Beseri, kyatukuba wala.”

4. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

4 Waliwo ne baganda baffe abalala bangi abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, omuli n’abo abaali baweereza ku Beseri, abaasindikibwa mu buweereza obulala. * Tekiba kyangu eri baganda baffe ng’abo ne bannyinaffe abeesigwa okulekayo obuweereza bwabwe bwe baba baagala ennyo. Kiki ekisobola okubayamba okwaŋŋanga enkyukakyuka eyo? Oyinza otya okubayamba? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo ffenna bisobola okutuyamba okwaŋŋanga enkyukakyuka ze tufuna mu bulamu.

OKWAŊŊANGA ENKYUKAKYUKA

Lwaki tekiba kyangu eri abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna okuva mu buweereza bwabwe? (Laba akatundu 5) *

5. Okukyusibwa mu buweereza kiyinza kutukwatako kitya?

5 Ka tube nga tuli babuulizi ab’ekiseera kyonna oba nga tuweereza ku Beseri, tuba twagala abantu be tuweererezaamu n’ekifo mwe tuweerereza. Bwe wabaawo ekituleetera okulekayo obuweereza bwaffe obwo, kitunakuwaza nnyo. Tuba tetwagala kuleka baganda baffe ne bannyinaffe, era tusigala tubeeraliikirira naddala bwe kiba nti tuvuddeyo lwa kuyigganyizibwa. (Mat. 10:23; 2 Kol. 11:28, 29) Ate era okugenda mu buweereza obulala, k’obe ng’odda wammwe, tekiba kyangu kutuukana na mbeera za mu kitundu. Robert Jo ne Mary bagamba nti: “Twali tetukyamanyi bulungi buwangwa bwaffe na kubuulira bulungi mu lulimi lwaffe. Twali ng’abagwira mu nsi yaffe.” Abamu ku abo abakyusibwa mu buweereza boolekagana n’obuzibu bw’eby’enfuna bwe baba batasuubira. Bayinza okweraliikirira n’okuggwaamu amaanyi. Kiki ekisobola okubayamba?

Kikulu nnyo okwongera okusemberera Yakuwa n’okumwesiga (Laba akatundu 6-7) *

6. Tuyinza tutya okusigala nga tuli kumpi ne Yakuwa?

6 Sigala ng’oli kumpi ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tusaanidde okumwesiga nti “awulira okusaba.” (Zab. 65:2) Zabbuli 62:8 wagamba nti: “Mumubuulire ebibali ku mitima.” Yakuwa asobola “okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza.” (Bef. 3:20) Yakuwa tatuwa ebyo byokka bye tumusaba mu ssaala. Ayinza okukola ku kizibu kyaffe mu ngeri gye tubadde tutasuubira.

7. (a) Kiki ekinaatuyamba okusigala okumpi ne Yakuwa? (b) Okusinziira ku Abebbulaniya 6:10-12, kiki ekivaamu bwe tweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa?

7 Okusobola okusigala ng’oli kumpi ne Yakuwa, soma Ebyawandiikibwa buli lunaku era obifumiitirizeeko. Ow’oluganda omu eyali aweereza ng’omuminsani agamba nti: “Nywerera ku nteekateeka yo ey’okusinza kw’amaka n’okutegeka enkuŋŋaana nga bwe wali okola mu buweereza bwe walimu.” Ate era weeyongere okwenyigira mu bujjuvu mu kubuulira amawulire amalungi mu kibiina ekipya mw’oba ogenze. Yakuwa tasobola kwerabira abo bonna abeeyongera okumuweereza n’obwesigwa, ne bwe baba nga tebakyasobola kumuweereza nga bwe baakolanga edda.​—Soma Abebbulaniya 6:10-12.

8. Ebigambo ebiri mu 1 Yokaana 2:15-17 biyinza bitya okukuyamba okukulembeza ebintu ebisinga obukulu?

8 Kulembeza ebintu ebisinga obukulu. Tokkiriza bintu ebyeraliikiriza ebiri mu nsi ya Sitaani okukuleetera kuddirira mu by’omwoyo. (Mat. 13:22) Tokkiriza bantu mu nsi oba mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo kukuleetera kulowooza nti weetaaga okufuna ssente nnyingi okusobola okuba n’obulamu obulungi. (Soma 1 Yokaana 2:15-17.) Weesige Yakuwa asuubiza okutuwa bye twetaaga ‘mu kiseera we tubyetaagira.’ Atuyamba okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza, nga tuli bakkakkamu, era atuwa ebyetaago byaffe eby’omubiri.​—Beb. 4:16; 13:5, 6.

9. Okusinziira ku Engero 22:3, 7, lwaki kikulu okwewala amabanja agateetaagisa, era kiki ekisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

9 Weewala amabanja agateetaagisa. (Soma Engero 22:3, 7.) Okusenguka kusobola okutwala ssente nnyingi, era kyangu okugwa mu mabanja. Okusobola okwewala amabanja, teweewola ssente kugula bintu by’oteetaaga. Bwe tuba nga tulina ebintu ebitweraliikiriza ennyo, gamba ng’okulabirira omulwadde, kiyinza obutatubeerera kyangu kumanya ssente mmeka ze twetaaga okwewola. Mu mbeera ng’ezo, kijjukire nti ‘okusaba n’okwegayirira’ bisobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Yakuwa asobola okuddamu essaala yo ng’akuwa emirembe ‘egikuuma omutima gwo n’ebirowoozo byo,’ n’osigala ng’oli mukkakkamu n’osobola okusalawo obulungi.​—Baf. 4:6, 7; 1 Peet. 5:7.

10. Tuyinza tutya okufuna emikwano emipya?

10 Ba n’emikwano emirungi. Buulirako mikwano gyo egy’oku lusegere engeri gye weewuliramu n’ebizibu by’osanga, naddala abo abaayitako mu mbeera gy’oyitamu. Ekyo kisobola okukuyamba okuwulira obulungi. (Mub. 4:9, 10) Ab’emikwano be waleka mu kibiina oba mu buweereza gye wali bajja kusigala nga mikwano gyo. Kati mu buweereza bwo obupya kikwetaagisa okukola emikwano emipya. Kijjukire nti okusobola okufuna emikwano, ggwe kennyini olina okuba ow’omukwano. Oyinza otya okufuna emikwano emipya? Buulirako abalala ku birungi by’ofunye mu kuweereza Yakuwa basobole okulaba essanyu ly’olina. Abamu mu kibiina bayinza obutategeera nsonga lwaki oyagala nnyo obuweereza obw’ekiseera kyonna, naye abalala bayinza okukwatibwako by’obagamba ne bafuuka mikwano gyo. Naye weewale okweyogerako ennyo oba okwogera ennyo ku bintu by’okoze mu buweereza bwo, oba ku bintu ebikumalako essanyu.

11. Muyinza mutya okusigala nga muli basanyufu mu bufumbo bwammwe?

11 Bwe kiba nti mwalina okuva mu buweereza bwammwe olw’okuba munno mu bufumbo yali mulwadde, tomunenya. Ate bwe kiba nti mwava mu buweereza obwo olw’okuba ggwe wali omulwadde, teweesalira musango ng’olowooza nti wafiiriza munno. Kijjukire nti muli “omubiri gumu,” era mwasubizagana mu maaso ga Yakuwa nti buli omu ajja kulabirira munne mu mbeera zonna. (Mat. 19:5, 6) Ate bwe muba nga mwava mu buweereza olw’okufuna omwana gwe mwali muteetegekedde, mufube okukakasa omwana wammwe nti wa muwendo nnyo okusinga obuweereza bwe mwalimu. Omwana wammwe mumutegeeze nti mumutwala ng’ekirabo okuva eri Katonda. (Zab. 127:3-5) Ate era mumubuulire ku birungi bye mwafuna mu buweereza bwammwe. Ekyo kisobola okumuyamba okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna nga nammwe bwe mwakola.

ENGERI ABALALA GYE BAYINZA OKUYAMBA

12. (a) Tuyinza tutya okuyamba abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna okugenda mu maaso n’obuweereza bwabwe? (b) Tuyinza tutya okukifuula ekyangu gye bali okwaŋŋanga enkyukakyuka gye baba bafunye?

12 Kya ssanyu okuba nti ebibiina bingi ne baganda baffe bangi bayamba abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna okusigala mu buweereza bwabwe. Ekyo bakikola nga babakubiriza okunywerera mu buweereza bwabwe, nga babayamba mu by’ensimbi oba mu bintu ebirala, oba nga babayambako okulabirira bazadde baabwe be baaleka eka. (Bag. 6:2) Abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bwe bajja mu kibiina kyammwe, tokitwala nti okubakyusa kitegeeza nti balina kye baalemererwa okukola oba nti bakangavvulwa. * Mu kifo ky’ekyo, bayambe okwanguyirwa okwaŋŋanga enkyukakyuka gye bafunye. Baanirize n’essanyu era obeebaze olw’emirimu gye bakoze mu buweereza bwabwe, ne bwe kiba nti kati obulwadde tebubasobozesa kuweereza nga bwe baaweerezanga. Fuba okubamanya. Yigira ku bintu ebingi bye bamanyi, bye bayiseemu, ne ku kutendekebwa kwe bafunye.

13. Tuyinza tutya okuyamba abo ababa bakyusiddwa mu buweereza?

13 Mu kusooka abo ababa bakyusiddwa mu buweereza bayinza okuba nga beetaaga okuyambibwako okufuna ennyumba, entambula, omulimu, n’ebyetaago ebirala eby’obulamu. Era bayinza okuba nga beetaaga okumanya wa ssentebe w’ekyalo w’abeera, wa we bayinza okugula ebintu ebitali ku buseere, n’ebirala. Naye kye basinga okwetaaga kwe kuba nti otegeera embeera yaabwe. Bayinza okuba nga beeraliikirira olw’obulwadde obubatawaanya oba obutawaanya omu ku b’eŋŋanda zaabwe. Bayinza okuba nga balina ennaku olw’okufiirwa omuntu waabwe. * Ate era bayinza okuba nga balina ennaku olw’okuleka baganda baabwe ab’eby’omwoyo be baali nabo mu buweereza gye baali. Kitwala ekiseera okuvvuunuka enneewulira ng’ezo.

14. Ab’oluganda mu kibiina baayamba batya mwannyinaffe omu okumanyiira obuweereza bwe obupya?

14 Bw’obuulirako n’ab’oluganda ng’abo era n’ossaawo ekyokulabirako ekirungi, kibayamba okumanyiira embeera. Mwannyinaffe omu eyamala emyaka mingi ng’aweereza mu nsi endala agamba nti: “Mu buweereza bwe nnalimu mu kusooka nnayigirizanga abayizi ba Bayibuli buli lunaku. Naye bwe nnatwalibwa mu kitundu ekirala, kyali kizibu okufuna omuntu akukkiriza okumubikkulira Bayibuli oba okumulaga vidiyo. Naye ab’oluganda mu kibiina ekyo ekipya baŋŋambanga mbawerekereko nga baddayo eri abantu abaalaga okusiima oba nga bagenda okuyigiriza abayizi baabwe. Okulaba ab’oluganda abo abeesigwa era abanyiikivu nga bayigiriza abayizi ba Bayibuli abakulaakulana, kyannyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kitundu ekyo. Nnayiga engeri y’okutandikamu emboozi n’abantu mu kitundu ekyo. Ebyo byonna byannyamba okuddamu okufuna essanyu.”

WEEYONGERE OKUKOLA KYONNA KY’OSOBOLA

Noonya engeri y’okugaziya ku buweereza bwo mu kitundu kyammwe (Laba akatundu 15-16) *

15. Oyinza otya okunyumirwa obuweereza bwo obupya?

15 Osobola okunyumirwa obuweereza bwo obupya. Tokitwala nti wali tokola bulungi mu buweereza bwe walimu oba nti kati tokyali wa mugaso nnyo. Laba engeri Yakuwa gy’akuyambamu era weeyongere okubuulira. Koppa Abakristaayo abeesigwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Yonna gye baagendanga “balangirira amawulire amalungi ag’ekigambo kya Katonda.” (Bik. 8:1, 4) Bwe weeyongera okubuulira n’obunyiikivu osobola okufuna ebibala. Ng’ekyokulabirako, waliwo bapayoniya be baagoba mu nsi emu ne bagenda mu nsi endala nayo awaali obwetaavu bw’ababuulizi mu lulimi lwabwe. Nga wayise emyezi mitono ebibinja ebitali bimu byatandikibwawo.

16. Osobola otya okufuna essanyu mu buweereza bwo obupya?

16 Bayibuli egamba nti: “Essanyu lya Yakuwa ge maanyi gammwe.” (Nek. 8:10, obugambo obuli wansi) Okusingira ddala essanyu lyaffe lirina kuva ku nkolagana gye tulina ne Yakuwa so si ku buweereza bwaffe ne bwe tuba nga tubwagala nnyo. N’olwekyo weeyongere okutambula ne Yakuwa, ng’omusaba akuwe amagezi, obulagirizi, n’obuyambi. Kijjukire nti ekyakuleetera okwagala obuweereza bwo kwe kwagala okungi kwe walina eri abantu b’omu kitundu gye wali. Weemalire ku buweereza bwo obupya era Yakuwa ajja kukuyamba nabwo okubwagala.​—Mub. 7:10.

17. Kiki kye tusaanidde okujjukira ku nkizo z’obuweereza ze tulina?

17 Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa tugenda kumuweereza emirembe gyonna, naye zo enkizo ez’obuweereza ze tulina mu kiseera kino, za kiseera buseera. Mu nsi empya ffenna tuyinza okufuna obuweereza obulala. Aleksey, eyayogeddwako ku ntandikwa agamba nti enkyukakyuka ze yafuna zimuyamba okwetegekera enkyukakyuka ezijja mu maaso. Agamba nti: “Bulijjo nnalinga nkimanyi nti Yakuwa wa ddala era nti n’ensi empya ya ddala, naye nga Yakuwa tandi ku lusegere era nga n’ensi empya erabika ng’eri ewala. Naye kati mpulira nga Yakuwa andi ku lusegere era nga n’ensi empya eri kumpi nnyo.” (Bik. 2:25) Ka tube nga tuli mu buweereza bwa ngeri ki, ka tweyongere okutambula ne Yakuwa. Talitwabulira era ajja kutuyamba okufuna essanyu mu byonna bye tufuba okukola okumuweereza, ka tube nga tuli wa.​—Is. 41:13.

OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi

^ lup. 5 Oluusi baganda baffe ne bannyinaffe abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna kiyinza okubeetaagisa okulekera awo obuweereza bwabwe obwo oba bayinza okusindikibwa mu buweereza obulala. Ekitundu kino kiraga okusoomooza kwe basanga n’ekiyinza okubayamba okumanyiira. Era kiraga abalala bye bayinza okukola okubazzaamu amaanyi n’okubayamba, era n’emisingi egisobola okutuyamba ffenna okwaŋŋanga enkyukakyuka ze tuba tufunye.

^ lup. 4 Ate era baganda baffe bangi abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bwe baatuuka ku myaka egimu, baalina okukwasa ab’oluganda abakyali abato mu myaka obuvunaanyizibwa bwe baalina. Laba ekitundu “Abakristaayo Abakaddiye Yakuwa Abasiima olw’Obwesigwa Bwe Mwolese,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 2018, ne “Sigala ng’Olina Emirembe ku Mutima Wadde nga Wazzeewo Enkyukakyuka,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 2018.

^ lup. 12 Abakadde mu kibiina mwe babadde baweereza basaanidde okuwandiika mu bwangu ebbaluwa ebanjula, baleme kulwawo kweyongera kuweereza nga bapayoniya, abakadde, oba abaweereza.

^ lup. 13 Laba Zuukuka! Na. 3 eya 2018 erina omutwe “Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe.”

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we nga bava mu buweereza bwabwe obw’obuminsani nga tebeeyagalidde. Nga banakuwavu, basiibula ab’oluganda mu kibiina mwe babadde.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Nga batuuse mu nsi yaabwe, basaba Yakuwa abayambe okwaŋŋanga okusoomooza kwe boolekagana nakwo.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Yakuwa abayamba ne baddamu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Olulimi lwe baayiga nga baweereza ng’abaminsani balukozesa okubuulira abagwira abali mu kitundu ekibiina kyabwe ekipya mwe kibuulira.